Exodus 8 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘MUKAMA agambye bw’ati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze. 2 Naye bw’onoogaana n’otabakkiriza kugenda, laba, nnaasindika ebikere ne bijjula ensi yo yonna. 3 Omugga gulivaamu ebikere enkumu ennyo ebirituuka ne mu lubiri lwo. Biriyingira mu kisenge kyo mw’osula, ne ku kitanda kyo. Biriyingira mu nnyumba z’abaweereza bo ne mu z’abantu bo. Biriyingira ne mu byoto omufumbirwa. 4 Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.” ’ ” 5 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, n’eri emikutu gy’amazzi, n’eri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna ey’e Misiri.’ ” 6 Bw’atyo Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi gonna ag’omu Misiri; ebikere ne bivaayo ne bijjula ensi yonna ey’e Misiri. 7 Abalogo nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama, nabo ne baleeta ebikere mu nsi ey’e Misiri. 8 Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Mwegayirire MUKAMA anziggyeeko ebikere bino era ne ku bantu bange, ndyoke nange ndeke abantu bammwe bagende baweeyo ssaddaaka eri MUKAMA.” 9 Musa n’addamu Falaawo nti, “Weerondere ekiseera nga bw’osiima, w’oyagalira neegayirire MUKAMA ku lulwo ne ku lw’abaweereza bo, ne ku lw’abantu bo, ebikere ebikuliko n’ebiri mu nnyumba zo bizikirizibwe, bisigale mu mugga Kiyira mwokka.” 10 Falaawo n’agamba nti, “Enkya.” Musa n’agamba nti, “Kijja kubeera nga bw’ogambye, olyoke otegeere nga bwe watali n’omu afaanana nga MUKAMA Katonda waffe. 11 Ebikere bijja kukuviira, bive ne mu mayumba go, biviire n’abaweereza bo n’abantu bo; bijja kusigala mu mugga mwokka.” 12 Awo Musa ne Alooni ne bava ewa Falaawo. Musa ne yeegayirira MUKAMA olw’ebikere MUKAMA bye yali aleetedde Falaawo. 13 MUKAMA n’akolera Musa kye yamusaba. Ebikere ne bifiira mu mayumba, ne mu mpya mu byalo, ne mu nnimiro. 14 Ne bikuŋŋaanyizibwa entuumo n’entuumo; ensi n’ejjula ekivundu. 15 Naye Falaawo bwe yalaba nga waliwo wassiza ku mukka, n’akakanyaza omutima gwe, ebya Musa ne Alooni n’alekera awo okubiwuliriza, era nga MUKAMA bwe yali agambye. 16 Awo MUKAMA n’ayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bw’oti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.’ ” 17 Ne bakola nga MUKAMA bw’abagambye; Alooni n’agolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, n’akuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi y’e Misiri n’efuuka nsekere. 18 Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe ag’ekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo. 19 Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino y’ebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n’atabawuliriza, nga MUKAMA bwe yali agambye. 20 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ng’aserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘MUKAMA agambye bw’ati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze. 21 Naye abantu bange bw’otoobakkirize kugenda, laba, ndireeta ebikuukuulu by’ensowera, ku ggwe ne ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zammwe. Ensowera zirijjula mu mayumba ga Bamisiri ne ku ttaka kwe gaazimbibwa. 22 “ ‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera n’akatono, olyoke otegeere nga nze, MUKAMA, ndi wano wakati mu nsi. 23 Nzija kussaawo enjawulo wakati w’abantu bange n’abantu bo. Ekyamagero kino kijja kubaawo enkeera.’ ” 24 MUKAMA n’akola bw’atyo. Ebikuukuulu by’ensowera ne byeyiwa mu lubiri lwa Falaawo, mu nnyumba ye, ne mu mayumba g’abaweereza be, ne mu nsi yonna ey’e Misiri: ensi n’eyonooneka olw’ebikuukuulu by’ensowera. 25 Awo Falaawo n’atumira Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Kale, muweereeyo wano mu nsi eno ssaddaaka eri Katonda wammwe.” 26 Naye Musa n’addamu nti, “Ekyo bwe tukikola, tekijja kuba kituufu. Kubanga ssaddaaka ze tuwaayo eri MUKAMA Katonda waffe, Abamisiri tebajja kuzaagala. Kale singa tuddira ssaddaaka Abamisiri ze bakyawa ennyo bwe batyo, ne tuziwaayo nga balaba, tebajja kutukuba amayinja? 27 Kitugwanira tutambule olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri MUKAMA Katonda waffe nga bw’anaatulagira.” 28 Falaawo n’agamba nti, “Nzija kubaleka mugende muweeyo ssaddaaka eri MUKAMA Katonda wammwe mu ddungu, kyokka temugenda ewala ennyo. Kale munsabire.” 29 Musa n’addamu nti, “Bwe nnaaba nakava wano w’oli nzija kusaba MUKAMA, enkya ensowera ziviire Falaawo n’abakungu be awamu n’abantu be. Naye kirungi Falaawo aleme nate kulimbalimba, n’atakkiriza bantu kugenda kuwaayo ssaddaaka eri MUKAMA.” 30 Musa n’avaayo ewa Falaawo, n’asaba MUKAMA. 31 MUKAMA n’akola nga Musa bwe yamusaba, n’aggyawo ebikuukuulu by’ensowera ewa Falaawo ne mu baweereza be, ne mu bantu be; ne watasigala nsowera n’emu. 32 Kyokka ne ku mulundi guno, Falaawo yakakanyaza omutima gwe, abantu n’atabakkiriza kugenda.

In Other Versions

Exodus 8 in the ANGEFD

Exodus 8 in the ANTPNG2D

Exodus 8 in the AS21

Exodus 8 in the BAGH

Exodus 8 in the BBPNG

Exodus 8 in the BBT1E

Exodus 8 in the BDS

Exodus 8 in the BEV

Exodus 8 in the BHAD

Exodus 8 in the BIB

Exodus 8 in the BLPT

Exodus 8 in the BNT

Exodus 8 in the BNTABOOT

Exodus 8 in the BNTLV

Exodus 8 in the BOATCB

Exodus 8 in the BOATCB2

Exodus 8 in the BOBCV

Exodus 8 in the BOCNT

Exodus 8 in the BOECS

Exodus 8 in the BOGWICC

Exodus 8 in the BOHCB

Exodus 8 in the BOHCV

Exodus 8 in the BOHLNT

Exodus 8 in the BOHNTLTAL

Exodus 8 in the BOICB

Exodus 8 in the BOILNTAP

Exodus 8 in the BOITCV

Exodus 8 in the BOKCV

Exodus 8 in the BOKCV2

Exodus 8 in the BOKHWOG

Exodus 8 in the BOKSSV

Exodus 8 in the BOLCB2

Exodus 8 in the BOMCV

Exodus 8 in the BONAV

Exodus 8 in the BONCB

Exodus 8 in the BONLT

Exodus 8 in the BONUT2

Exodus 8 in the BOPLNT

Exodus 8 in the BOSCB

Exodus 8 in the BOSNC

Exodus 8 in the BOTLNT

Exodus 8 in the BOVCB

Exodus 8 in the BOYCB

Exodus 8 in the BPBB

Exodus 8 in the BPH

Exodus 8 in the BSB

Exodus 8 in the CCB

Exodus 8 in the CUV

Exodus 8 in the CUVS

Exodus 8 in the DBT

Exodus 8 in the DGDNT

Exodus 8 in the DHNT

Exodus 8 in the DNT

Exodus 8 in the ELBE

Exodus 8 in the EMTV

Exodus 8 in the ESV

Exodus 8 in the FBV

Exodus 8 in the FEB

Exodus 8 in the GGMNT

Exodus 8 in the GNT

Exodus 8 in the HARY

Exodus 8 in the HNT

Exodus 8 in the IRVA

Exodus 8 in the IRVB

Exodus 8 in the IRVG

Exodus 8 in the IRVH

Exodus 8 in the IRVK

Exodus 8 in the IRVM

Exodus 8 in the IRVM2

Exodus 8 in the IRVO

Exodus 8 in the IRVP

Exodus 8 in the IRVT

Exodus 8 in the IRVT2

Exodus 8 in the IRVU

Exodus 8 in the ISVN

Exodus 8 in the JSNT

Exodus 8 in the KAPI

Exodus 8 in the KBT1ETNIK

Exodus 8 in the KBV

Exodus 8 in the KJV

Exodus 8 in the KNFD

Exodus 8 in the LBA

Exodus 8 in the LBLA

Exodus 8 in the LNT

Exodus 8 in the LSV

Exodus 8 in the MAAL

Exodus 8 in the MBV

Exodus 8 in the MBV2

Exodus 8 in the MHNT

Exodus 8 in the MKNFD

Exodus 8 in the MNG

Exodus 8 in the MNT

Exodus 8 in the MNT2

Exodus 8 in the MRS1T

Exodus 8 in the NAA

Exodus 8 in the NASB

Exodus 8 in the NBLA

Exodus 8 in the NBS

Exodus 8 in the NBVTP

Exodus 8 in the NET2

Exodus 8 in the NIV11

Exodus 8 in the NNT

Exodus 8 in the NNT2

Exodus 8 in the NNT3

Exodus 8 in the PDDPT

Exodus 8 in the PFNT

Exodus 8 in the RMNT

Exodus 8 in the SBIAS

Exodus 8 in the SBIBS

Exodus 8 in the SBIBS2

Exodus 8 in the SBICS

Exodus 8 in the SBIDS

Exodus 8 in the SBIGS

Exodus 8 in the SBIHS

Exodus 8 in the SBIIS

Exodus 8 in the SBIIS2

Exodus 8 in the SBIIS3

Exodus 8 in the SBIKS

Exodus 8 in the SBIKS2

Exodus 8 in the SBIMS

Exodus 8 in the SBIOS

Exodus 8 in the SBIPS

Exodus 8 in the SBISS

Exodus 8 in the SBITS

Exodus 8 in the SBITS2

Exodus 8 in the SBITS3

Exodus 8 in the SBITS4

Exodus 8 in the SBIUS

Exodus 8 in the SBIVS

Exodus 8 in the SBT

Exodus 8 in the SBT1E

Exodus 8 in the SCHL

Exodus 8 in the SNT

Exodus 8 in the SUSU

Exodus 8 in the SUSU2

Exodus 8 in the SYNO

Exodus 8 in the TBIAOTANT

Exodus 8 in the TBT1E

Exodus 8 in the TBT1E2

Exodus 8 in the TFTIP

Exodus 8 in the TFTU

Exodus 8 in the TGNTATF3T

Exodus 8 in the THAI

Exodus 8 in the TNFD

Exodus 8 in the TNT

Exodus 8 in the TNTIK

Exodus 8 in the TNTIL

Exodus 8 in the TNTIN

Exodus 8 in the TNTIP

Exodus 8 in the TNTIZ

Exodus 8 in the TOMA

Exodus 8 in the TTENT

Exodus 8 in the UBG

Exodus 8 in the UGV

Exodus 8 in the UGV2

Exodus 8 in the UGV3

Exodus 8 in the VBL

Exodus 8 in the VDCC

Exodus 8 in the YALU

Exodus 8 in the YAPE

Exodus 8 in the YBVTP

Exodus 8 in the ZBP