Ezekiel 44 (BOLCB)

1 Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogw’ebweru ogw’Awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; gwali muggale. 2 MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Omulyango guno gwa kusigalanga nga muggale. Teguteekwa kugulwanga newaakubadde omuntu yenna okuguyitangamu. Gwa kusigalanga nga muggale kubanga MUKAMA, Katonda wa Isirayiri yaguyitamu. 3 Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango n’aliira mu maaso ga MUKAMA, era nnaayingiranga ng’ayita mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo eryo mw’anaafulumiranga.” 4 Awo omusajja n’ankulembera ne tuyita mu kkubo ery’omulyango ogw’Obukiikakkono n’antwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya MUKAMA nga kijjudde yeekaalu ya MUKAMA, ne nvuunama. 5 MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye n’akugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya MUKAMA. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu n’awafulumirwa wonna aw’Awatukuvu. 6 Tegeeza ennyumba ya Isirayiri enjeemu nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti; ebikolwa byammwe eby’emizizo bikome, mmwe ennyumba ya Isirayiri.’ 7 Ate n’okwogera ku ebyo ebikolwa byammwe eby’emizizo byonna, mukkiriza bannaggwanga, abatali bakomole mu mutima newaakubadde omubiri okuyingira Awatukuvu wange, ne boonoona eyeekaalu yange nga mmwe bwe mumpeerayo emmere, amasavu n’omusaayi ne mumenya endagaano yange. 8 Mu kifo eky’okukola ebibagwanira ng’ebintu byange ebitukuvu bwe biri, abalala bannaggwanga be mwakwasa okuvunaanyizibwa empya zange. 9 Kale MUKAMA Katonda kyava ayogera nti, Tewaliba munnaggwanga n’omu atali mukomole mu mutima newaakubadde omubiri aliyingira mu Watukuvu wange, newaakubadde bannaggwanga ababeera mu Bayisirayiri wakati. 10 “ ‘Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa. 11 Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga. 12 Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 13 Tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza n’eby’ekivve. 14 Naye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, n’eby’okukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo. 15 “ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 16 Abo bokka be banaayingiranga mu watukuvu wange, era be banaasemberanga okumpi n’emmeeza yange okumpeerezanga, n’okukuumanga ebyo bye mbalagira. 17 “ ‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda banaayambalanga ebyambalo ebya linena; tebateekwa kwambalanga byambalo bya byoya by’endiga, nga baweerereza mu miryango egy’oluggya olw’omunda ne munda wa yeekaalu. 18 Baneesibanga ebitambala ku mutwe nga bya linena, n’engoye ez’omunda nga za linena. Tebateekwa kwambalanga kintu n’ekimu ekibatuuyanya. 19 Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe. 20 “ ‘Tebateekwa kumwa mitwe gyabwe newaakubadde okuleka enviiri zaabwe okukula ennyo, naye banaazisalangako ne zisigala nga nto. 21 Tewabanga kabona n’omu anywa nvinnyo ng’ayingidde mu luggya olw’omunda. 22 Tebateekeddwa kuwasa bannamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona. 23 Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati w’ekitukuvu n’ekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu. 24 “ ‘Bwe wanaabangawo enkaayana, bakabona be banaabanga abalamuzi, okusalawo ng’ebiragiro byange bwe biri. Banaakumanga amateeka gange n’ebiragiro byange ku mbaga zange zonna ezaalagirwa, era banaakumanga Ssabbiiti zange nga ntukuvu. 25 “ ‘Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bw’anaabanga y’afudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga. 26 Oluvannyuma olw’okwetukuza, anaalindanga ennaku musanvu ziyite. 27 Awo ku lunaku lw’anaalaganga mu luggya olw’omunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olw’ekibi, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 28 “ ‘Nze nnaabanga omugabo gwa bakabona. Temuubawenga mugabo na gumu mu Isirayiri; nze mugabo gwabwe. 29 Banaalyanga ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, ne buli kintu mu Isirayiri ekiwonge eri MUKAMA kinaabanga kyabwe. 30 Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka ebya buli kika n’ebirabo byonna eby’omuwendo binaabanga bya bakabona. Munaabawanga obutta bwammwe obwasooka okugoyebwa, omukisa gubeerenga ku nnyumba zammwe. 31 Bakabona tebaalyenga kintu na kimu, oba nnyonyi oba nsolo, ebisangiddwa nga bifu olumbe lwabyo nga byataagulwa nsolo.

In Other Versions

Ezekiel 44 in the ANGEFD

Ezekiel 44 in the ANTPNG2D

Ezekiel 44 in the AS21

Ezekiel 44 in the BAGH

Ezekiel 44 in the BBPNG

Ezekiel 44 in the BBT1E

Ezekiel 44 in the BDS

Ezekiel 44 in the BEV

Ezekiel 44 in the BHAD

Ezekiel 44 in the BIB

Ezekiel 44 in the BLPT

Ezekiel 44 in the BNT

Ezekiel 44 in the BNTABOOT

Ezekiel 44 in the BNTLV

Ezekiel 44 in the BOATCB

Ezekiel 44 in the BOATCB2

Ezekiel 44 in the BOBCV

Ezekiel 44 in the BOCNT

Ezekiel 44 in the BOECS

Ezekiel 44 in the BOGWICC

Ezekiel 44 in the BOHCB

Ezekiel 44 in the BOHCV

Ezekiel 44 in the BOHLNT

Ezekiel 44 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 44 in the BOICB

Ezekiel 44 in the BOILNTAP

Ezekiel 44 in the BOITCV

Ezekiel 44 in the BOKCV

Ezekiel 44 in the BOKCV2

Ezekiel 44 in the BOKHWOG

Ezekiel 44 in the BOKSSV

Ezekiel 44 in the BOLCB2

Ezekiel 44 in the BOMCV

Ezekiel 44 in the BONAV

Ezekiel 44 in the BONCB

Ezekiel 44 in the BONLT

Ezekiel 44 in the BONUT2

Ezekiel 44 in the BOPLNT

Ezekiel 44 in the BOSCB

Ezekiel 44 in the BOSNC

Ezekiel 44 in the BOTLNT

Ezekiel 44 in the BOVCB

Ezekiel 44 in the BOYCB

Ezekiel 44 in the BPBB

Ezekiel 44 in the BPH

Ezekiel 44 in the BSB

Ezekiel 44 in the CCB

Ezekiel 44 in the CUV

Ezekiel 44 in the CUVS

Ezekiel 44 in the DBT

Ezekiel 44 in the DGDNT

Ezekiel 44 in the DHNT

Ezekiel 44 in the DNT

Ezekiel 44 in the ELBE

Ezekiel 44 in the EMTV

Ezekiel 44 in the ESV

Ezekiel 44 in the FBV

Ezekiel 44 in the FEB

Ezekiel 44 in the GGMNT

Ezekiel 44 in the GNT

Ezekiel 44 in the HARY

Ezekiel 44 in the HNT

Ezekiel 44 in the IRVA

Ezekiel 44 in the IRVB

Ezekiel 44 in the IRVG

Ezekiel 44 in the IRVH

Ezekiel 44 in the IRVK

Ezekiel 44 in the IRVM

Ezekiel 44 in the IRVM2

Ezekiel 44 in the IRVO

Ezekiel 44 in the IRVP

Ezekiel 44 in the IRVT

Ezekiel 44 in the IRVT2

Ezekiel 44 in the IRVU

Ezekiel 44 in the ISVN

Ezekiel 44 in the JSNT

Ezekiel 44 in the KAPI

Ezekiel 44 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 44 in the KBV

Ezekiel 44 in the KJV

Ezekiel 44 in the KNFD

Ezekiel 44 in the LBA

Ezekiel 44 in the LBLA

Ezekiel 44 in the LNT

Ezekiel 44 in the LSV

Ezekiel 44 in the MAAL

Ezekiel 44 in the MBV

Ezekiel 44 in the MBV2

Ezekiel 44 in the MHNT

Ezekiel 44 in the MKNFD

Ezekiel 44 in the MNG

Ezekiel 44 in the MNT

Ezekiel 44 in the MNT2

Ezekiel 44 in the MRS1T

Ezekiel 44 in the NAA

Ezekiel 44 in the NASB

Ezekiel 44 in the NBLA

Ezekiel 44 in the NBS

Ezekiel 44 in the NBVTP

Ezekiel 44 in the NET2

Ezekiel 44 in the NIV11

Ezekiel 44 in the NNT

Ezekiel 44 in the NNT2

Ezekiel 44 in the NNT3

Ezekiel 44 in the PDDPT

Ezekiel 44 in the PFNT

Ezekiel 44 in the RMNT

Ezekiel 44 in the SBIAS

Ezekiel 44 in the SBIBS

Ezekiel 44 in the SBIBS2

Ezekiel 44 in the SBICS

Ezekiel 44 in the SBIDS

Ezekiel 44 in the SBIGS

Ezekiel 44 in the SBIHS

Ezekiel 44 in the SBIIS

Ezekiel 44 in the SBIIS2

Ezekiel 44 in the SBIIS3

Ezekiel 44 in the SBIKS

Ezekiel 44 in the SBIKS2

Ezekiel 44 in the SBIMS

Ezekiel 44 in the SBIOS

Ezekiel 44 in the SBIPS

Ezekiel 44 in the SBISS

Ezekiel 44 in the SBITS

Ezekiel 44 in the SBITS2

Ezekiel 44 in the SBITS3

Ezekiel 44 in the SBITS4

Ezekiel 44 in the SBIUS

Ezekiel 44 in the SBIVS

Ezekiel 44 in the SBT

Ezekiel 44 in the SBT1E

Ezekiel 44 in the SCHL

Ezekiel 44 in the SNT

Ezekiel 44 in the SUSU

Ezekiel 44 in the SUSU2

Ezekiel 44 in the SYNO

Ezekiel 44 in the TBIAOTANT

Ezekiel 44 in the TBT1E

Ezekiel 44 in the TBT1E2

Ezekiel 44 in the TFTIP

Ezekiel 44 in the TFTU

Ezekiel 44 in the TGNTATF3T

Ezekiel 44 in the THAI

Ezekiel 44 in the TNFD

Ezekiel 44 in the TNT

Ezekiel 44 in the TNTIK

Ezekiel 44 in the TNTIL

Ezekiel 44 in the TNTIN

Ezekiel 44 in the TNTIP

Ezekiel 44 in the TNTIZ

Ezekiel 44 in the TOMA

Ezekiel 44 in the TTENT

Ezekiel 44 in the UBG

Ezekiel 44 in the UGV

Ezekiel 44 in the UGV2

Ezekiel 44 in the UGV3

Ezekiel 44 in the VBL

Ezekiel 44 in the VDCC

Ezekiel 44 in the YALU

Ezekiel 44 in the YAPE

Ezekiel 44 in the YBVTP

Ezekiel 44 in the ZBP