Ezra 6 (BOLCB)

1 Awo kabaka Daliyo n’awa ekiragiro okunoonyereza mu bitabo ebyabeeranga mu ggwanika e Babulooni. 2 Awo omuzingo gw’ekitabo ogwawandiikibwamu ekijjukizo ne guzuulibwa mu kibuga ekikulu Yakumesa eky’essaza ly’e Bumeedi nga kigamba nti:Ekiwandiiko: 3 Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti: Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo eky’okuweerangayo ssaddaaka, n’emisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu (27), ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi (27), 4 ng’erina embu ssatu ez’amayinja amanene, n’olubu olulala nga lwa mbaawo. Omuwendo gwonna gwakusasulibwa okuva mu gwanika lya kabaka. 5 Ate era n’ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu e Yerusaalemi n’abireeta e Babulooni, bizibweyo mu bifo byabyo mu yeekaalu e Yerusaalemi; mulibiteeka mu nnyumba ya Katonda. 6 Kale nno, Tattenayi ow’essaza ery’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi, n’abakungu abeeyo mwewale okutabulatabula. 7 Temuyingirira mulimu ogukolebwa ku yeekaalu ya Katonda eyo. Muleke ow’essaza ly’Abayudaaya n’abakulu b’Abayudaaya bazzeewo ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo. 8 Ate era nteeka etteeka erikwata ku bye muteekwa okukolera abakulu abo ab’Abayudaaya nga bazimba yeekaalu ya Katonda:Ebirikozesebwa abasajja abo byonna, bya kusasulibwa okuva mu ggwanika lya Kabaka, ku misolo egiva emitala w’omugga Fulaati, omulimu guleme okuyimirira. 9 Bwe baliba beetaaze okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w’eggulu, oba nte nnume ento, oba ndiga nnume, oba ndiga nnume ento, oba ŋŋaano, oba munnyo, oba nvinnyo, oba mafuta, muteekwa okuwa bakabona ab’omu Yerusaalemi byonna nga bwe baliba basabye buli lunaku obutayosa, 10 basobole okuwaayo ssaddaaka ezisiimibwa Katonda w’eggulu, era basabire kabaka ne batabani be. 11 Era nteeka etteeka, omuntu yenna bwalikyusa ekiragiro ekyo, empagi eyazimba ennyumba ye eriggyibwa ku nnyumba ye, era n’awanikibwa ku mpagi eyo. N’ennyumba ye erifuulibwa olubungo olw’ekikolwa ekyo. 12 Katonda eyaleetera Erinnya lye okubeera mu kifo ekyo, aggyewo kabaka yenna n’eggwanga eririyimusa omukono gwalyo okukyusa etteeka eryo oba n’okuzikiriza eyeekaalu eyo mu Yerusaalemi.Nze Daliyo ntaddewo etteeka eryo. Likwatibwe butiribiri. 13 Olw’ekiragiro kabaka Daliyo kye yaweereza, Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne bakola bye baalagibwa n’obunyiikivu bwonna. 14 Abakadde b’Abayudaaya ne bagenda mu maaso n’okuzimba era ne balaba omukisa ng’okutegeeza kwa nnabbi Kaggayi n’okwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ng’ekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ng’amateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka b’e Buperusi bwe gaali. 15 Awo yeekaalu eyo n’emalirizibwa ku lunaku olwokusatu olw’omwezi Adali, mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo. 16 Awo abantu ba Isirayiri, bakabona n’Abaleevi n’abalala abaali mu buwaŋŋanguse ne bakomawo mu ssanyu ne bakola embaga ey’okutukuza ennyumba ya Katonda nga balina essanyu. 17 Olw’okutukuza ennyumba eyo eya Katonda, baawaayo ente ennume kikumi, n’endiga ennume ebikumi bibiri, n’endiga ennume ento ebikumi bina, ate n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri, ng’omuwendo bwe gwali ogw’ebika bya Isirayiri. 18 Ne bateeka bakabona mu bibinja byabwe n’Abaleevi mu biti byabwe olw’okuweereza Katonda e Yerusaalemi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. 19 Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye, abawaŋŋaangusibwa baafumba embaga ey’Okuyitako. 20 Bakabona n’Abaleevi baali beetukuzizza era bonna nga balongoofu okukola emikolo. Abaleevi ne batta omwana gw’endiga ogw’Okuyitako, ku lwa baganda baabwe bakabona, nabo bennyini. 21 Awo Abayisirayiri abaava mu buwaŋŋanguse ne bagirya wamu n’abo bonna abaali beeyawudde, nga basinza MUKAMA Katonda wa Isirayiri. 22 Ne bamala ennaku musanvu nga balya n’essanyu Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, kubanga MUKAMA yabajjuza essanyu bwe yakyusa omutima gwa kabaka w’e Bwasuli, n’abayamba mu mulimu ogw’ennyumba ya Katonda wa Isirayiri.

In Other Versions

Ezra 6 in the ANGEFD

Ezra 6 in the ANTPNG2D

Ezra 6 in the AS21

Ezra 6 in the BAGH

Ezra 6 in the BBPNG

Ezra 6 in the BBT1E

Ezra 6 in the BDS

Ezra 6 in the BEV

Ezra 6 in the BHAD

Ezra 6 in the BIB

Ezra 6 in the BLPT

Ezra 6 in the BNT

Ezra 6 in the BNTABOOT

Ezra 6 in the BNTLV

Ezra 6 in the BOATCB

Ezra 6 in the BOATCB2

Ezra 6 in the BOBCV

Ezra 6 in the BOCNT

Ezra 6 in the BOECS

Ezra 6 in the BOGWICC

Ezra 6 in the BOHCB

Ezra 6 in the BOHCV

Ezra 6 in the BOHLNT

Ezra 6 in the BOHNTLTAL

Ezra 6 in the BOICB

Ezra 6 in the BOILNTAP

Ezra 6 in the BOITCV

Ezra 6 in the BOKCV

Ezra 6 in the BOKCV2

Ezra 6 in the BOKHWOG

Ezra 6 in the BOKSSV

Ezra 6 in the BOLCB2

Ezra 6 in the BOMCV

Ezra 6 in the BONAV

Ezra 6 in the BONCB

Ezra 6 in the BONLT

Ezra 6 in the BONUT2

Ezra 6 in the BOPLNT

Ezra 6 in the BOSCB

Ezra 6 in the BOSNC

Ezra 6 in the BOTLNT

Ezra 6 in the BOVCB

Ezra 6 in the BOYCB

Ezra 6 in the BPBB

Ezra 6 in the BPH

Ezra 6 in the BSB

Ezra 6 in the CCB

Ezra 6 in the CUV

Ezra 6 in the CUVS

Ezra 6 in the DBT

Ezra 6 in the DGDNT

Ezra 6 in the DHNT

Ezra 6 in the DNT

Ezra 6 in the ELBE

Ezra 6 in the EMTV

Ezra 6 in the ESV

Ezra 6 in the FBV

Ezra 6 in the FEB

Ezra 6 in the GGMNT

Ezra 6 in the GNT

Ezra 6 in the HARY

Ezra 6 in the HNT

Ezra 6 in the IRVA

Ezra 6 in the IRVB

Ezra 6 in the IRVG

Ezra 6 in the IRVH

Ezra 6 in the IRVK

Ezra 6 in the IRVM

Ezra 6 in the IRVM2

Ezra 6 in the IRVO

Ezra 6 in the IRVP

Ezra 6 in the IRVT

Ezra 6 in the IRVT2

Ezra 6 in the IRVU

Ezra 6 in the ISVN

Ezra 6 in the JSNT

Ezra 6 in the KAPI

Ezra 6 in the KBT1ETNIK

Ezra 6 in the KBV

Ezra 6 in the KJV

Ezra 6 in the KNFD

Ezra 6 in the LBA

Ezra 6 in the LBLA

Ezra 6 in the LNT

Ezra 6 in the LSV

Ezra 6 in the MAAL

Ezra 6 in the MBV

Ezra 6 in the MBV2

Ezra 6 in the MHNT

Ezra 6 in the MKNFD

Ezra 6 in the MNG

Ezra 6 in the MNT

Ezra 6 in the MNT2

Ezra 6 in the MRS1T

Ezra 6 in the NAA

Ezra 6 in the NASB

Ezra 6 in the NBLA

Ezra 6 in the NBS

Ezra 6 in the NBVTP

Ezra 6 in the NET2

Ezra 6 in the NIV11

Ezra 6 in the NNT

Ezra 6 in the NNT2

Ezra 6 in the NNT3

Ezra 6 in the PDDPT

Ezra 6 in the PFNT

Ezra 6 in the RMNT

Ezra 6 in the SBIAS

Ezra 6 in the SBIBS

Ezra 6 in the SBIBS2

Ezra 6 in the SBICS

Ezra 6 in the SBIDS

Ezra 6 in the SBIGS

Ezra 6 in the SBIHS

Ezra 6 in the SBIIS

Ezra 6 in the SBIIS2

Ezra 6 in the SBIIS3

Ezra 6 in the SBIKS

Ezra 6 in the SBIKS2

Ezra 6 in the SBIMS

Ezra 6 in the SBIOS

Ezra 6 in the SBIPS

Ezra 6 in the SBISS

Ezra 6 in the SBITS

Ezra 6 in the SBITS2

Ezra 6 in the SBITS3

Ezra 6 in the SBITS4

Ezra 6 in the SBIUS

Ezra 6 in the SBIVS

Ezra 6 in the SBT

Ezra 6 in the SBT1E

Ezra 6 in the SCHL

Ezra 6 in the SNT

Ezra 6 in the SUSU

Ezra 6 in the SUSU2

Ezra 6 in the SYNO

Ezra 6 in the TBIAOTANT

Ezra 6 in the TBT1E

Ezra 6 in the TBT1E2

Ezra 6 in the TFTIP

Ezra 6 in the TFTU

Ezra 6 in the TGNTATF3T

Ezra 6 in the THAI

Ezra 6 in the TNFD

Ezra 6 in the TNT

Ezra 6 in the TNTIK

Ezra 6 in the TNTIL

Ezra 6 in the TNTIN

Ezra 6 in the TNTIP

Ezra 6 in the TNTIZ

Ezra 6 in the TOMA

Ezra 6 in the TTENT

Ezra 6 in the UBG

Ezra 6 in the UGV

Ezra 6 in the UGV2

Ezra 6 in the UGV3

Ezra 6 in the VBL

Ezra 6 in the VDCC

Ezra 6 in the YALU

Ezra 6 in the YAPE

Ezra 6 in the YBVTP

Ezra 6 in the ZBP