Ezra 8 (BOLCB)

1 Bano be bakulu b’ennyumba, n’abo abeewandiisa n’abo abaayambuka nange okuva e Babulooni mu mulembe gwa kabaka Alutagizerugizi: 2 okuva mu bazzukulu ba Finekaasi,Gerusomu;n’okuva mu bazzukulu ba Isamaali,Danyeri;n’okuva mu bazzukulu ba Dawudi,Kattusi 3 muzzukulu wa Sekaniya,n’okuva mu bazzukulu ba Palosi,Zekkaliya, era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano (150); 4 n’okuva mu bazzukulu ba Pakasumowaabu,Eriwenayi mutabani wa Zekkaliya, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri (200); 5 n’okuva mu bazzukulu ba Sekaniya,mutabani wa Yakazyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bisatu (300); 6 n’okuva mu bazzukulu ba Adini,Ebedi mutabani wa Yonasaani, era wamu naye abasajja amakumi ataano (50); 7 n’okuva mu bazzukulu ba Eramu,Yesaya mutabani wa Asaliya, era wamu naye abasajja nsanvu (70); 8 n’okuva mu bazzukulu ba Sefatiya,Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era wamu naye abasajja kinaana (80); 9 n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu,Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218); 10 n’okuva mu bazzukulu ba Seromisi,mutabani wa Yosifiya, era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160); 11 n’okuva mu bazzukulu ba Bebayi,Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana (28); 12 n’okuva mu bazzukulu ba Azugadi,Yokanaani mutabani wa Kakkatani, era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110); 13 n’okuva mu bazzukulu ba Adonikamu,abajja oluvannyuma, Erifereti, ne Yeyeri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga (60); 14 n’okuva mu bazzukulu ba Biguvaayi,Usayi ne Zabudi, era wamu nabo abasajja nsanvu (70). 15 Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogukulukutira e Yakava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Awo bwe nnali nga nneekebejja abantu ne bakabona, ne sirabamu Baleevi. 16 Kyennava ntumya Eryeza ne Alyeri ne Semaaya ne Erunasani ne Yalibu ne Erunasani ne Nasani ne Zekkaliya ne Mesullamu, abaali abakulembeze ne Yoyalibu ne Erunasani, abaali abategeevu, 17 ne mbatuma eri Iddo omukulu w’ekifo eky’e Kasifiya, ne mbategeeza bye baba bagamba Iddo ne baganda be, abaaweerezanga mu yeekaalu mu kifo ekyo eky’e Kasifiya, batuuweereze abaweereza abaliyamba mu nnyumba ya Katonda waffe. 18 Olw’omukono gwa Katonda ogwali awamu naffe, ne batuleetera omusajja omutegeevu, omu ku bazzukulu ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isirayiri, erinnya lye Serebiya, wamu ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja kkumi na munaana; 19 ne Kasabiya, wamu naye Yesaya omu ku bazzukulu ba Merali, ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja amakumi abiri. 20 Ate era ne baleeta n’abaweereza ba yeekaalu Dawudi n’abakungu be baalonda okubeeranga Abaleevi ebikumi bibiri mu abiri. Bonna baali beewandiisizza. 21 Awo ku mugga Akava, ne nangirira okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, nga tumwegayirira okubeera awamu naffe n’abaana baffe n’ebintu byaffe byonna mu lugendo lwaffe. 22 Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi ab’ebigere n’abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.” 23 Kyetwava tusiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eyo, era n’addamu okusaba kwaffe. 24 Awo ne nonda Serebiya ne Kasabiya ne baganda baabwe abalala kkumi, be bantu kkumi na babiri okuva mu bakabona abakulu, 25 ne mbapimira ffeeza ne zaabu n’ebintu kabaka, n’abaami be, n’abakungu be, ne Isirayiri yenna, bye baawaayo ku lw’ennyumba ya Katonda waffe. 26 Ne mbagererera ttani amakumi abiri mu ttaano eza ffeeza, n’ebintu ebya ffeeza obuzito bwabyo ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, ne zaabu ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, 27 ne kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebitundu bibiri eby’ekikomo ebirungi ebizigule, eby’omuwendo nga zaabu. 28 Ne mbategeeza nti, “Muli batukuvu eri MUKAMA, n’ebintu bino bitukuvu eri MUKAMA. Effeeza ne zaabu biweebwayo kyeyagalire eri MUKAMA Katonda wa bajjajjammwe. 29 Mubikuume bulungi era mubituuse bulungi eri bakabona abakulu n’Abaleevi, n’abakulu b’ennyumba za Isirayiri.” 30 Awo bakabona n’Abaleevi ne baweebwa effeeza ne zaabu, n’ebintu ebyawongebwa, ebyali bipimiddwa, okubitwala mu nnyumba ya Katonda waffe e Yerusaalemi. 31 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’olubereberye ne tusitula okuva ku mugga Akava okugenda e Yerusaalemi. Omukono gwa Katonda waffe ne gubeera wamu naffe, n’atukuuma eri abalabe n’abanyazi mu kkubo. 32 Ne tutuuka e Yerusaalemi gye twawumulira okumala ennaku ssatu. 33 Awo ku lunaku olwokuna, nga tuli mu nnyumba ya Katonda waffe, ne tupima ffeeza ne zaabu n’ebintu ebyawongebwa ne tubikwasa Meremoosi kabona, mutabani wa Uliya, ne Eriyazaali mutabani wa Finekaasi eyali awamu naye, ne Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi. 34 Byonna ne bibalibwa ng’omuwendo gwabyo bwe gwali n’obuzito bwabyo bwe bwali era ne biwandiikibwa. 35 Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, n’endiga ennume kyenda mu mukaaga, n’obuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, n’embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA. 36 Ate era ne batuusa n’ebiragiro bya kabaka eri bagavana n’abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati, abafuzi abo ne bayamba abantu ne bawaayo n’obuyambi eri ennyumba ya Katonda.

In Other Versions

Ezra 8 in the ANGEFD

Ezra 8 in the ANTPNG2D

Ezra 8 in the AS21

Ezra 8 in the BAGH

Ezra 8 in the BBPNG

Ezra 8 in the BBT1E

Ezra 8 in the BDS

Ezra 8 in the BEV

Ezra 8 in the BHAD

Ezra 8 in the BIB

Ezra 8 in the BLPT

Ezra 8 in the BNT

Ezra 8 in the BNTABOOT

Ezra 8 in the BNTLV

Ezra 8 in the BOATCB

Ezra 8 in the BOATCB2

Ezra 8 in the BOBCV

Ezra 8 in the BOCNT

Ezra 8 in the BOECS

Ezra 8 in the BOGWICC

Ezra 8 in the BOHCB

Ezra 8 in the BOHCV

Ezra 8 in the BOHLNT

Ezra 8 in the BOHNTLTAL

Ezra 8 in the BOICB

Ezra 8 in the BOILNTAP

Ezra 8 in the BOITCV

Ezra 8 in the BOKCV

Ezra 8 in the BOKCV2

Ezra 8 in the BOKHWOG

Ezra 8 in the BOKSSV

Ezra 8 in the BOLCB2

Ezra 8 in the BOMCV

Ezra 8 in the BONAV

Ezra 8 in the BONCB

Ezra 8 in the BONLT

Ezra 8 in the BONUT2

Ezra 8 in the BOPLNT

Ezra 8 in the BOSCB

Ezra 8 in the BOSNC

Ezra 8 in the BOTLNT

Ezra 8 in the BOVCB

Ezra 8 in the BOYCB

Ezra 8 in the BPBB

Ezra 8 in the BPH

Ezra 8 in the BSB

Ezra 8 in the CCB

Ezra 8 in the CUV

Ezra 8 in the CUVS

Ezra 8 in the DBT

Ezra 8 in the DGDNT

Ezra 8 in the DHNT

Ezra 8 in the DNT

Ezra 8 in the ELBE

Ezra 8 in the EMTV

Ezra 8 in the ESV

Ezra 8 in the FBV

Ezra 8 in the FEB

Ezra 8 in the GGMNT

Ezra 8 in the GNT

Ezra 8 in the HARY

Ezra 8 in the HNT

Ezra 8 in the IRVA

Ezra 8 in the IRVB

Ezra 8 in the IRVG

Ezra 8 in the IRVH

Ezra 8 in the IRVK

Ezra 8 in the IRVM

Ezra 8 in the IRVM2

Ezra 8 in the IRVO

Ezra 8 in the IRVP

Ezra 8 in the IRVT

Ezra 8 in the IRVT2

Ezra 8 in the IRVU

Ezra 8 in the ISVN

Ezra 8 in the JSNT

Ezra 8 in the KAPI

Ezra 8 in the KBT1ETNIK

Ezra 8 in the KBV

Ezra 8 in the KJV

Ezra 8 in the KNFD

Ezra 8 in the LBA

Ezra 8 in the LBLA

Ezra 8 in the LNT

Ezra 8 in the LSV

Ezra 8 in the MAAL

Ezra 8 in the MBV

Ezra 8 in the MBV2

Ezra 8 in the MHNT

Ezra 8 in the MKNFD

Ezra 8 in the MNG

Ezra 8 in the MNT

Ezra 8 in the MNT2

Ezra 8 in the MRS1T

Ezra 8 in the NAA

Ezra 8 in the NASB

Ezra 8 in the NBLA

Ezra 8 in the NBS

Ezra 8 in the NBVTP

Ezra 8 in the NET2

Ezra 8 in the NIV11

Ezra 8 in the NNT

Ezra 8 in the NNT2

Ezra 8 in the NNT3

Ezra 8 in the PDDPT

Ezra 8 in the PFNT

Ezra 8 in the RMNT

Ezra 8 in the SBIAS

Ezra 8 in the SBIBS

Ezra 8 in the SBIBS2

Ezra 8 in the SBICS

Ezra 8 in the SBIDS

Ezra 8 in the SBIGS

Ezra 8 in the SBIHS

Ezra 8 in the SBIIS

Ezra 8 in the SBIIS2

Ezra 8 in the SBIIS3

Ezra 8 in the SBIKS

Ezra 8 in the SBIKS2

Ezra 8 in the SBIMS

Ezra 8 in the SBIOS

Ezra 8 in the SBIPS

Ezra 8 in the SBISS

Ezra 8 in the SBITS

Ezra 8 in the SBITS2

Ezra 8 in the SBITS3

Ezra 8 in the SBITS4

Ezra 8 in the SBIUS

Ezra 8 in the SBIVS

Ezra 8 in the SBT

Ezra 8 in the SBT1E

Ezra 8 in the SCHL

Ezra 8 in the SNT

Ezra 8 in the SUSU

Ezra 8 in the SUSU2

Ezra 8 in the SYNO

Ezra 8 in the TBIAOTANT

Ezra 8 in the TBT1E

Ezra 8 in the TBT1E2

Ezra 8 in the TFTIP

Ezra 8 in the TFTU

Ezra 8 in the TGNTATF3T

Ezra 8 in the THAI

Ezra 8 in the TNFD

Ezra 8 in the TNT

Ezra 8 in the TNTIK

Ezra 8 in the TNTIL

Ezra 8 in the TNTIN

Ezra 8 in the TNTIP

Ezra 8 in the TNTIZ

Ezra 8 in the TOMA

Ezra 8 in the TTENT

Ezra 8 in the UBG

Ezra 8 in the UGV

Ezra 8 in the UGV2

Ezra 8 in the UGV3

Ezra 8 in the VBL

Ezra 8 in the VDCC

Ezra 8 in the YALU

Ezra 8 in the YAPE

Ezra 8 in the YBVTP

Ezra 8 in the ZBP