Genesis 16 (BOLCB)

1 Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; 2 Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba MUKAMA tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.”Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi. 3 Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we. 4 Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto.Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we. 5 Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. MUKAMA atulamule nze naawe!” 6 Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali. 7 Malayika wa MUKAMA n’amusanga ku nsulo y’amazzi mu ddungu, ensulo y’amazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli. 8 N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.” 9 Malayika wa MUKAMA n’amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.” 10 Era Malayika n’amugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.” 11 Ate malayika wa MUKAMA n’amugamba nti,“Laba, olina omwana mu nda yo,aliba wabulenzi,olimutuuma Isimayiri,kubanga MUKAMA ategedde okubonaabona kwo. 12 Aliba ng’entulege,anaalwananga na buli muntuera na buli muntu anaalwananga naye,era anaabanga mu bulabene baganda be.” 13 Awo n’akoowoola erinnya lya MUKAMA eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.” 14 Oluzzi kye lwava luyitibwa Beerirakayiro, luli wakati wa Kadesi ne Beredi. 15 Awo Agali n’azaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu n’atuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri. 16 Ibulaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agali bwe yamuzaalira Isimayiri.

In Other Versions

Genesis 16 in the ANGEFD

Genesis 16 in the ANTPNG2D

Genesis 16 in the AS21

Genesis 16 in the BAGH

Genesis 16 in the BBPNG

Genesis 16 in the BBT1E

Genesis 16 in the BDS

Genesis 16 in the BEV

Genesis 16 in the BHAD

Genesis 16 in the BIB

Genesis 16 in the BLPT

Genesis 16 in the BNT

Genesis 16 in the BNTABOOT

Genesis 16 in the BNTLV

Genesis 16 in the BOATCB

Genesis 16 in the BOATCB2

Genesis 16 in the BOBCV

Genesis 16 in the BOCNT

Genesis 16 in the BOECS

Genesis 16 in the BOGWICC

Genesis 16 in the BOHCB

Genesis 16 in the BOHCV

Genesis 16 in the BOHLNT

Genesis 16 in the BOHNTLTAL

Genesis 16 in the BOICB

Genesis 16 in the BOILNTAP

Genesis 16 in the BOITCV

Genesis 16 in the BOKCV

Genesis 16 in the BOKCV2

Genesis 16 in the BOKHWOG

Genesis 16 in the BOKSSV

Genesis 16 in the BOLCB2

Genesis 16 in the BOMCV

Genesis 16 in the BONAV

Genesis 16 in the BONCB

Genesis 16 in the BONLT

Genesis 16 in the BONUT2

Genesis 16 in the BOPLNT

Genesis 16 in the BOSCB

Genesis 16 in the BOSNC

Genesis 16 in the BOTLNT

Genesis 16 in the BOVCB

Genesis 16 in the BOYCB

Genesis 16 in the BPBB

Genesis 16 in the BPH

Genesis 16 in the BSB

Genesis 16 in the CCB

Genesis 16 in the CUV

Genesis 16 in the CUVS

Genesis 16 in the DBT

Genesis 16 in the DGDNT

Genesis 16 in the DHNT

Genesis 16 in the DNT

Genesis 16 in the ELBE

Genesis 16 in the EMTV

Genesis 16 in the ESV

Genesis 16 in the FBV

Genesis 16 in the FEB

Genesis 16 in the GGMNT

Genesis 16 in the GNT

Genesis 16 in the HARY

Genesis 16 in the HNT

Genesis 16 in the IRVA

Genesis 16 in the IRVB

Genesis 16 in the IRVG

Genesis 16 in the IRVH

Genesis 16 in the IRVK

Genesis 16 in the IRVM

Genesis 16 in the IRVM2

Genesis 16 in the IRVO

Genesis 16 in the IRVP

Genesis 16 in the IRVT

Genesis 16 in the IRVT2

Genesis 16 in the IRVU

Genesis 16 in the ISVN

Genesis 16 in the JSNT

Genesis 16 in the KAPI

Genesis 16 in the KBT1ETNIK

Genesis 16 in the KBV

Genesis 16 in the KJV

Genesis 16 in the KNFD

Genesis 16 in the LBA

Genesis 16 in the LBLA

Genesis 16 in the LNT

Genesis 16 in the LSV

Genesis 16 in the MAAL

Genesis 16 in the MBV

Genesis 16 in the MBV2

Genesis 16 in the MHNT

Genesis 16 in the MKNFD

Genesis 16 in the MNG

Genesis 16 in the MNT

Genesis 16 in the MNT2

Genesis 16 in the MRS1T

Genesis 16 in the NAA

Genesis 16 in the NASB

Genesis 16 in the NBLA

Genesis 16 in the NBS

Genesis 16 in the NBVTP

Genesis 16 in the NET2

Genesis 16 in the NIV11

Genesis 16 in the NNT

Genesis 16 in the NNT2

Genesis 16 in the NNT3

Genesis 16 in the PDDPT

Genesis 16 in the PFNT

Genesis 16 in the RMNT

Genesis 16 in the SBIAS

Genesis 16 in the SBIBS

Genesis 16 in the SBIBS2

Genesis 16 in the SBICS

Genesis 16 in the SBIDS

Genesis 16 in the SBIGS

Genesis 16 in the SBIHS

Genesis 16 in the SBIIS

Genesis 16 in the SBIIS2

Genesis 16 in the SBIIS3

Genesis 16 in the SBIKS

Genesis 16 in the SBIKS2

Genesis 16 in the SBIMS

Genesis 16 in the SBIOS

Genesis 16 in the SBIPS

Genesis 16 in the SBISS

Genesis 16 in the SBITS

Genesis 16 in the SBITS2

Genesis 16 in the SBITS3

Genesis 16 in the SBITS4

Genesis 16 in the SBIUS

Genesis 16 in the SBIVS

Genesis 16 in the SBT

Genesis 16 in the SBT1E

Genesis 16 in the SCHL

Genesis 16 in the SNT

Genesis 16 in the SUSU

Genesis 16 in the SUSU2

Genesis 16 in the SYNO

Genesis 16 in the TBIAOTANT

Genesis 16 in the TBT1E

Genesis 16 in the TBT1E2

Genesis 16 in the TFTIP

Genesis 16 in the TFTU

Genesis 16 in the TGNTATF3T

Genesis 16 in the THAI

Genesis 16 in the TNFD

Genesis 16 in the TNT

Genesis 16 in the TNTIK

Genesis 16 in the TNTIL

Genesis 16 in the TNTIN

Genesis 16 in the TNTIP

Genesis 16 in the TNTIZ

Genesis 16 in the TOMA

Genesis 16 in the TTENT

Genesis 16 in the UBG

Genesis 16 in the UGV

Genesis 16 in the UGV2

Genesis 16 in the UGV3

Genesis 16 in the VBL

Genesis 16 in the VDCC

Genesis 16 in the YALU

Genesis 16 in the YAPE

Genesis 16 in the YBVTP

Genesis 16 in the ZBP