Genesis 37 (BOLCB)

1 Yakobo yabeeranga mu Kanani, ensi bajjajjaabe mwe baatambuliratambuliranga. 2 Era bino bye bifa ku lulyo lwa Yakobo: Yusufu bwe yali nga wa myaka kkumi na musanvu ng’ali ne baganda be batabani ba Biira ne Zirifa, nga balunda ekisibo ky’endiga, Yusufu n’ategeezanga Yakobo kitaabwe ebintu ebibi bye baakolanga. 3 Bw’atyo Isirayiri n’ayagala nnyo Yusufu okusinga abaana be abalala, kubanga nga ye mwana ow’omu bukadde bwe; n’amutungira ekyambalo eky’amabala amangi. 4 Naye baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bo ne bakyawa Yusufu, ne batayinza na kwogera naye na kisa. 5 Lumu Yusufu n’aloota ekirooto, n’agenda n’akitegeeza baganda be, ne beeyongera nnyo okumukyawa. 6 Yabagamba nti, “Muwulire ekirooto kino kye naloose. 7 Twali tusiba ebinywa by’eŋŋaano nga tuli mu nnimiro, ekinywa kyange ne kiyimuka ne kiyimirira; laba ebinywa byammwe ne bikyebungulula ne bikivuunamira.” 8 Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga? Olowooleza ddala nti tulibeera baddu bo?” Olwo ne beeyongera nnyo okumukyayira ddala olw’ekirooto kye n’ebigambo bye. 9 Ate n’aloota ekirooto ekirala n’akitegeeza baganda be, n’agamba nti, “Ndoose ekirooto ekirala: ne ndaba enjuba n’omwezi n’emmunyeenye ekkumi n’emu nga binvuunamira.” 10 Naye bwe yakitegeeza kitaawe ng’ali wamu ne baganda be, kitaawe n’amunenya ng’agamba nti, “Kirooto ki kino ky’oloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?” 11 Baganda be ne bamukwatirwa obuggya, kyokka ye kitaabwe n’akuuma ekigambo ekyo mu mutima gwe. 12 Awo baganda ba Yusufu ne bagenda okumpi ne Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe. 13 Isirayiri n’alyoka agamba Yusufu nti, “Nga baganda bo bwe balundira e Sekemu, jjangu nkutume gye bali.” Yusufu n’amuddamu nti, “Nzuuno ntuma.” 14 N’alyoka amugamba nti, “Genda kaakano olabe obanga baganda bo n’ekisibo bali bulungi, okomewo ontegeeze.” Awo n’amutuma okuva mu kiwonvu kya Kebbulooni, n’atuuka e Sekemu. 15 Awo omusajja n’amulaba ng’atangatangira ku ttale, n’amubuuza nti, “Onoonya ki?” 16 N’amuddamu nti, “Noonya baganda bange, nkwegayiridde mbuulira gye balundira ekisibo.” 17 Omusajja n’amuddamu nti, “Beeyongerayo, kubanga nabawulira nga bagamba nti, ‘Ka tugende e Dosani.’ ” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani. 18 Baganda be ne bamulengera ng’akyali wala, era bwe yali nga tannabasemberera ne bateesa bamutte. 19 Ne bagambagana nti, “Sekalootera wuuyo ajja. 20 Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya; tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye yamulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ” 21 Naye Lewubeeni bwe yakiwulira n’agezaako okumuwonya mu mikono gyabwe n’agamba nti, “Tetumutta. 22 Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bw’atyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe. 23 Awo Yusufu bwe yatuuka ku baganda be ne bamwambulamu ekyambalo kye eky’amabala amangi kye yali ayambadde: 24 ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga tebuliimu mazzi. 25 Awo bwe baatuula okulya, ne bayimusa amaaso ne balengera ekibiina ky’Abayisimayiri nga bava e Gireyaadi, ng’eŋŋamira zaabwe zeettise ebyakaloosa, n’envumbo ne mooli nga bali mu lugendo babitwala e Misiri. 26 Yuda kwe kugamba baganda be nti, “Kitugasa ki okutta muganda waffe n’okuyiwa omusaayi gwe? 27 Tumuguze Abayisimayiri. Omukono gwaffe guleme okumubaako, kubanga muganda waffe, omubiri gwaffe gwennyini.” Baganda be ne bakkiriziganya naye. 28 Abasuubuzi, Abayisimayiri bwe baabatuukako ne baggya Yusufu mu bunnya, ne bamuguza Abayisimayiri. Baamubaguza ebitundu bya ffeeza amakumi abiri; ne bamutwala e Misiri. 29 Lewubeeni bwe yadda n’alaga ku bunnya n’alaba nga Yusufu taliimu, n’ayuza engoye ze, 30 n’addayo eri baganda be n’abagamba nti, “Omwana taliiyo. Kale naamunoonyeza wa?” 31 Awo ne baddira ekyambalo kya Yusufu, ne batta embuzi, ne bakinnyika mu musaayi. 32 Ne baddira ekyambalo ekyo eky’amabala amangi ne bakitwalira kitaabwe ne bamugamba nti, “Twalaba ekyambalo kino, kikebere olabe obanga kye kya mutabani wo.” 33 N’akyetegereza n’agamba nti, “Kye kyambalo kya mutabani wange! Ensolo enkambwe yamulya. Ddala Yusufu yataagulwataagulwa.” 34 Awo Yakobo n’ayuza ebyambalo bye, n’akungubagira Yusufu okumala ebbanga ddene. 35 Batabani be bonna ne bawala be ne bagenda gy’ali okumusanyusa, kyokka ye n’atakkiriza kusanyusibwa. N’agamba nti, “Nedda, ndikka emagombe nga nkyakungubagira omwana wange Yusufu.” Bw’atyo Yakobo n’akungubagira nnyo Yusufu. 36 Mu kiseera kyekimu Abamidiyaani bwe baatuuka e Misiri, Yusufu ne bamuguza Potifali, omu ku bakungu ba Falaawo; omukungu oyo ye yali omukulu wa bambowa.

In Other Versions

Genesis 37 in the ANGEFD

Genesis 37 in the ANTPNG2D

Genesis 37 in the AS21

Genesis 37 in the BAGH

Genesis 37 in the BBPNG

Genesis 37 in the BBT1E

Genesis 37 in the BDS

Genesis 37 in the BEV

Genesis 37 in the BHAD

Genesis 37 in the BIB

Genesis 37 in the BLPT

Genesis 37 in the BNT

Genesis 37 in the BNTABOOT

Genesis 37 in the BNTLV

Genesis 37 in the BOATCB

Genesis 37 in the BOATCB2

Genesis 37 in the BOBCV

Genesis 37 in the BOCNT

Genesis 37 in the BOECS

Genesis 37 in the BOGWICC

Genesis 37 in the BOHCB

Genesis 37 in the BOHCV

Genesis 37 in the BOHLNT

Genesis 37 in the BOHNTLTAL

Genesis 37 in the BOICB

Genesis 37 in the BOILNTAP

Genesis 37 in the BOITCV

Genesis 37 in the BOKCV

Genesis 37 in the BOKCV2

Genesis 37 in the BOKHWOG

Genesis 37 in the BOKSSV

Genesis 37 in the BOLCB2

Genesis 37 in the BOMCV

Genesis 37 in the BONAV

Genesis 37 in the BONCB

Genesis 37 in the BONLT

Genesis 37 in the BONUT2

Genesis 37 in the BOPLNT

Genesis 37 in the BOSCB

Genesis 37 in the BOSNC

Genesis 37 in the BOTLNT

Genesis 37 in the BOVCB

Genesis 37 in the BOYCB

Genesis 37 in the BPBB

Genesis 37 in the BPH

Genesis 37 in the BSB

Genesis 37 in the CCB

Genesis 37 in the CUV

Genesis 37 in the CUVS

Genesis 37 in the DBT

Genesis 37 in the DGDNT

Genesis 37 in the DHNT

Genesis 37 in the DNT

Genesis 37 in the ELBE

Genesis 37 in the EMTV

Genesis 37 in the ESV

Genesis 37 in the FBV

Genesis 37 in the FEB

Genesis 37 in the GGMNT

Genesis 37 in the GNT

Genesis 37 in the HARY

Genesis 37 in the HNT

Genesis 37 in the IRVA

Genesis 37 in the IRVB

Genesis 37 in the IRVG

Genesis 37 in the IRVH

Genesis 37 in the IRVK

Genesis 37 in the IRVM

Genesis 37 in the IRVM2

Genesis 37 in the IRVO

Genesis 37 in the IRVP

Genesis 37 in the IRVT

Genesis 37 in the IRVT2

Genesis 37 in the IRVU

Genesis 37 in the ISVN

Genesis 37 in the JSNT

Genesis 37 in the KAPI

Genesis 37 in the KBT1ETNIK

Genesis 37 in the KBV

Genesis 37 in the KJV

Genesis 37 in the KNFD

Genesis 37 in the LBA

Genesis 37 in the LBLA

Genesis 37 in the LNT

Genesis 37 in the LSV

Genesis 37 in the MAAL

Genesis 37 in the MBV

Genesis 37 in the MBV2

Genesis 37 in the MHNT

Genesis 37 in the MKNFD

Genesis 37 in the MNG

Genesis 37 in the MNT

Genesis 37 in the MNT2

Genesis 37 in the MRS1T

Genesis 37 in the NAA

Genesis 37 in the NASB

Genesis 37 in the NBLA

Genesis 37 in the NBS

Genesis 37 in the NBVTP

Genesis 37 in the NET2

Genesis 37 in the NIV11

Genesis 37 in the NNT

Genesis 37 in the NNT2

Genesis 37 in the NNT3

Genesis 37 in the PDDPT

Genesis 37 in the PFNT

Genesis 37 in the RMNT

Genesis 37 in the SBIAS

Genesis 37 in the SBIBS

Genesis 37 in the SBIBS2

Genesis 37 in the SBICS

Genesis 37 in the SBIDS

Genesis 37 in the SBIGS

Genesis 37 in the SBIHS

Genesis 37 in the SBIIS

Genesis 37 in the SBIIS2

Genesis 37 in the SBIIS3

Genesis 37 in the SBIKS

Genesis 37 in the SBIKS2

Genesis 37 in the SBIMS

Genesis 37 in the SBIOS

Genesis 37 in the SBIPS

Genesis 37 in the SBISS

Genesis 37 in the SBITS

Genesis 37 in the SBITS2

Genesis 37 in the SBITS3

Genesis 37 in the SBITS4

Genesis 37 in the SBIUS

Genesis 37 in the SBIVS

Genesis 37 in the SBT

Genesis 37 in the SBT1E

Genesis 37 in the SCHL

Genesis 37 in the SNT

Genesis 37 in the SUSU

Genesis 37 in the SUSU2

Genesis 37 in the SYNO

Genesis 37 in the TBIAOTANT

Genesis 37 in the TBT1E

Genesis 37 in the TBT1E2

Genesis 37 in the TFTIP

Genesis 37 in the TFTU

Genesis 37 in the TGNTATF3T

Genesis 37 in the THAI

Genesis 37 in the TNFD

Genesis 37 in the TNT

Genesis 37 in the TNTIK

Genesis 37 in the TNTIL

Genesis 37 in the TNTIN

Genesis 37 in the TNTIP

Genesis 37 in the TNTIZ

Genesis 37 in the TOMA

Genesis 37 in the TTENT

Genesis 37 in the UBG

Genesis 37 in the UGV

Genesis 37 in the UGV2

Genesis 37 in the UGV3

Genesis 37 in the VBL

Genesis 37 in the VDCC

Genesis 37 in the YALU

Genesis 37 in the YAPE

Genesis 37 in the YBVTP

Genesis 37 in the ZBP