Genesis 38 (BOLCB)
1 Awo olwatuuka Yuda n’ava ku baganda be n’aserengeta, n’ayingira ew’Omudulamu, erinnya lye, Kira. 2 Yuda n’alabayo muwala wa Suwa, Omukanani, n’amuwasa, ne yeetaba naye, 3 n’aba olubuto n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma erinnya Eri. 4 Mukyala wa Yuda n’aba olubuto olulala n’azaala omwana omulenzi n’amutuuma Onani. 5 Ate n’azaala omwana omulala n’amutuuma Seera. Yamuzaalira mu Kezibu. 6 Era Yuda n’awasiza mutabani we omukulu, Eri, omukazi erinnya lye Tamali. 7 Naye Eri mutabani wa Yuda omukulu n’aba mwonoonyi mu maaso ga MUKAMA; MUKAMA n’amutta. 8 Awo Yuda n’agamba Onani nti, “Genda eri muka muganda wo, ofunire muganda wo ezzadde.” 9 Naye Onani n’amanya nti ezzadde teririba lirye; bw’atyo bwe yeetaba naye, amannyi n’agafuka wansi aleme okufunira muganda we ezzadde. 10 Ekyo kye yakola kyali kibi mu maaso ga MUKAMA. N’ono MUKAMA kyeyava amutta. 11 Awo Yuda olw’okutya nti Seera ayinza okufa nga baganda be, n’agamba Tamali nti, “Ogira obeera nnamwandu, ng’oli mu nnyumba ya kitaawo okutuusa Seera lw’alikula.” Tamali kwe kugenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe. 12 Bwe waayitawo ebbanga mukazi wa Yuda, muwala wa Suwa n’afa. Yuda bwe yayita mu kukungubaga, n’agenda ne Kira Omudulamu e Timuna eri basajja be abasazi b’ebyoya by’endiga ze. 13 Tamali bwe kyamubuulirwa nti, “Sezaala wo agenda e Timuna okusala ebyoya by’endiga ze,” 14 n’asuula eri ebyambalo by’obwannamwandu ne yeeteekako ekiremba ne yeebikkirira, n’atuula ku mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo ng’ogenda e Timuna. Kubanga yamanya nti, Seera akuze, kyokka nga tamuweereddwa ku muwasa. 15 Yuda bwe yamulaba, n’amulowooza okuba omu ku bamalaaya, kubanga yali abisse amaaso ge. 16 N’agenda gy’ali ku mabbali g’ekkubo, n’amugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti ye yali muka mutabani we. Tamali kwe ku mubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?” 17 Yuda n’amuddamu nti, “Nnaakuweereza embuzi ento.” N’amubuuza nti, “Onompa omusingo nga tonnagimpeereza?” 18 Yuda n’amuddamu nti, “Nkuwe musingo ki?” N’amugamba nti, “Akabonero ko, akajegere ko awamu n’omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” Awo n’abimuwa, ne yeetaba naye, n’amufunyisa olubuto. 19 Tamali n’agolokoka n’agenda, n’aggyako ekiremba n’ayambala ebyambalo by’obwannamwandu bwe. 20 Yuda bwe yatuma mukwano gwe Omudulamu, okutwala omwana gw’embuzi, addizibwe omusingo teyalaba ku mukazi. 21 Bwe yabuuliriza ab’omu kifo omwo, omukazi malaaya eyali Enayimu ku mabbali g’ekkubo, ne bamuddamu nti, “Wano tewabeeranga mukazi malaaya.” 22 N’alyoka addayo eri Yuda n’amugamba nti takubikako kimunye; era n’abantu ab’ekitundu ekyo bamutegeezeza nti, “Awo tewabangawo mukazi malaaya.” 23 Yuda kwe kumugamba nti, “Omukazi oli, ebintu k’abisigaze tuleme okusekererwa, naweereza embuzi eno, naye n’atalabikako.” 24 Emyezi ng’esatu bwe gyayitawo ne bagamba Yuda nti, “Muka mwana wo Tamali yafuuka mwenzi. Ate ebyo nga biri awo obwenzi obwo yabufunamu n’olubuto.” Yuda kwe kwejuumuula nga bw’agamba nti, “Mumuleete ayokebwe.” 25 Tamali bwe yali atwalibwa n’atumira sezaala we Yuda n’amugamba nti, “Omusajja nannyini bintu bino ye kazaalabulwa. Nkusaba weetegereze ebintu bino: akabonero, akajegere n’omuggo, by’ani?” 26 Awo Yuda n’abitegeera n’agamba nti, “Omuwala mutuukirivu okunsinga, kubanga saamuwa mutabani wange Seera.” Yuda n’atamuddira. 27 Ekiseera eky’okuwona bwe kyatuuka n’alabika nga wakuzaala balongo. 28 Era bwe yali mu ssanya omulongo omu n’afulumya omukono gwe, omuzaalisa n’agukwata n’agusibako akawuzi akaakakobe nga bw’agamba nti, “Ono y’asoose okujja.” 29 Naye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti, “Lwaki owaguzza?” Erinnya ly’omwana kyeryava liba Pereezi. 30 Oluvannyuma muganda we n’afuluma n’akawuzi akaakakobe nga kali ku mukono gwe, n’ayitibwa Zeera.
In Other Versions
Genesis 38 in the ANGEFD
Genesis 38 in the ANTPNG2D
Genesis 38 in the AS21
Genesis 38 in the BAGH
Genesis 38 in the BBPNG
Genesis 38 in the BBT1E
Genesis 38 in the BDS
Genesis 38 in the BEV
Genesis 38 in the BHAD
Genesis 38 in the BIB
Genesis 38 in the BLPT
Genesis 38 in the BNT
Genesis 38 in the BNTABOOT
Genesis 38 in the BNTLV
Genesis 38 in the BOATCB
Genesis 38 in the BOATCB2
Genesis 38 in the BOBCV
Genesis 38 in the BOCNT
Genesis 38 in the BOECS
Genesis 38 in the BOGWICC
Genesis 38 in the BOHCB
Genesis 38 in the BOHCV
Genesis 38 in the BOHLNT
Genesis 38 in the BOHNTLTAL
Genesis 38 in the BOICB
Genesis 38 in the BOILNTAP
Genesis 38 in the BOITCV
Genesis 38 in the BOKCV
Genesis 38 in the BOKCV2
Genesis 38 in the BOKHWOG
Genesis 38 in the BOKSSV
Genesis 38 in the BOLCB2
Genesis 38 in the BOMCV
Genesis 38 in the BONAV
Genesis 38 in the BONCB
Genesis 38 in the BONLT
Genesis 38 in the BONUT2
Genesis 38 in the BOPLNT
Genesis 38 in the BOSCB
Genesis 38 in the BOSNC
Genesis 38 in the BOTLNT
Genesis 38 in the BOVCB
Genesis 38 in the BOYCB
Genesis 38 in the BPBB
Genesis 38 in the BPH
Genesis 38 in the BSB
Genesis 38 in the CCB
Genesis 38 in the CUV
Genesis 38 in the CUVS
Genesis 38 in the DBT
Genesis 38 in the DGDNT
Genesis 38 in the DHNT
Genesis 38 in the DNT
Genesis 38 in the ELBE
Genesis 38 in the EMTV
Genesis 38 in the ESV
Genesis 38 in the FBV
Genesis 38 in the FEB
Genesis 38 in the GGMNT
Genesis 38 in the GNT
Genesis 38 in the HARY
Genesis 38 in the HNT
Genesis 38 in the IRVA
Genesis 38 in the IRVB
Genesis 38 in the IRVG
Genesis 38 in the IRVH
Genesis 38 in the IRVK
Genesis 38 in the IRVM
Genesis 38 in the IRVM2
Genesis 38 in the IRVO
Genesis 38 in the IRVP
Genesis 38 in the IRVT
Genesis 38 in the IRVT2
Genesis 38 in the IRVU
Genesis 38 in the ISVN
Genesis 38 in the JSNT
Genesis 38 in the KAPI
Genesis 38 in the KBT1ETNIK
Genesis 38 in the KBV
Genesis 38 in the KJV
Genesis 38 in the KNFD
Genesis 38 in the LBA
Genesis 38 in the LBLA
Genesis 38 in the LNT
Genesis 38 in the LSV
Genesis 38 in the MAAL
Genesis 38 in the MBV
Genesis 38 in the MBV2
Genesis 38 in the MHNT
Genesis 38 in the MKNFD
Genesis 38 in the MNG
Genesis 38 in the MNT
Genesis 38 in the MNT2
Genesis 38 in the MRS1T
Genesis 38 in the NAA
Genesis 38 in the NASB
Genesis 38 in the NBLA
Genesis 38 in the NBS
Genesis 38 in the NBVTP
Genesis 38 in the NET2
Genesis 38 in the NIV11
Genesis 38 in the NNT
Genesis 38 in the NNT2
Genesis 38 in the NNT3
Genesis 38 in the PDDPT
Genesis 38 in the PFNT
Genesis 38 in the RMNT
Genesis 38 in the SBIAS
Genesis 38 in the SBIBS
Genesis 38 in the SBIBS2
Genesis 38 in the SBICS
Genesis 38 in the SBIDS
Genesis 38 in the SBIGS
Genesis 38 in the SBIHS
Genesis 38 in the SBIIS
Genesis 38 in the SBIIS2
Genesis 38 in the SBIIS3
Genesis 38 in the SBIKS
Genesis 38 in the SBIKS2
Genesis 38 in the SBIMS
Genesis 38 in the SBIOS
Genesis 38 in the SBIPS
Genesis 38 in the SBISS
Genesis 38 in the SBITS
Genesis 38 in the SBITS2
Genesis 38 in the SBITS3
Genesis 38 in the SBITS4
Genesis 38 in the SBIUS
Genesis 38 in the SBIVS
Genesis 38 in the SBT
Genesis 38 in the SBT1E
Genesis 38 in the SCHL
Genesis 38 in the SNT
Genesis 38 in the SUSU
Genesis 38 in the SUSU2
Genesis 38 in the SYNO
Genesis 38 in the TBIAOTANT
Genesis 38 in the TBT1E
Genesis 38 in the TBT1E2
Genesis 38 in the TFTIP
Genesis 38 in the TFTU
Genesis 38 in the TGNTATF3T
Genesis 38 in the THAI
Genesis 38 in the TNFD
Genesis 38 in the TNT
Genesis 38 in the TNTIK
Genesis 38 in the TNTIL
Genesis 38 in the TNTIN
Genesis 38 in the TNTIP
Genesis 38 in the TNTIZ
Genesis 38 in the TOMA
Genesis 38 in the TTENT
Genesis 38 in the UBG
Genesis 38 in the UGV
Genesis 38 in the UGV2
Genesis 38 in the UGV3
Genesis 38 in the VBL
Genesis 38 in the VDCC
Genesis 38 in the YALU
Genesis 38 in the YAPE
Genesis 38 in the YBVTP
Genesis 38 in the ZBP