Judges 6 (BOLCB)

1 Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga MUKAMA Katonda. N’abawaayo mu mikono gy’Abamidiyaani okumala emyaka musanvu. 2 Abayisirayiri ne batulugunyizibwa nnyo Abamidiyaani. Kyebaava beesimira empuku ne beetoolooza ebibuga byabwe agasenge. 3 Buli Abayisirayiri lwe baasiganga ensigo, Abamidiyaani, Abamaleki n’abantu ab’ebuvanjuba ne babalumbanga. 4 Ne basiisira mu nsi eyo, ne bazikiriza ebirime byonna okutuusiza ddala e Gaaza. Ne bawemmenta endiga, ente, endogoyi era tebaalekera Bayisirayiri kantu konna. 5 Kubanga baayiikanga ng’enzige mu bungi nga tebabalika. Nga bajja n’eweema, ente, n’eŋŋamira zaabwe. Bwe batyo ne bazikiriza ensi. 6 Abayisirayiri baajeezebwa nnyo Abamidiyaani, Abayisirayiri kyebaava balaajaanira MUKAMA Katonda. 7 Awo Abayisirayiri bwe baalaajanira MUKAMA olw’Abamidiyaani, 8 MUKAMA, n’atumira Abayisirayiri Nnabbi, n’abagamba nti, “MUKAMA Katonda w’Abayisirayiri agamba bw’ati: nabakulembera okuva mu Misiri, ne mbaggya mu nnyumba ey’obuddu, 9 ne mbanunula okuva mu mikono gy’Abamisiri, ne mu mikono gy’abo bonna abababonnyabonnyanga ne mbafuumuula ku lwammwe era ne mbawa mmwe ensi yaabwe; 10 ne mbagamba nti, ‘Nze MUKAMA Katonda wammwe, temussanga kitiibwa mu bakatonda b’Abamoli, bannannyini nsi gye mubeeramu.’ Naye mmwe temugondedde ddoboozi lyange.” 11 Malayika wa MUKAMA Katonda n’ajja mu Ofula, n’atuula wansi w’omuti omwera ogwali ogwa Yowaasi ow’omu ssiga lya Abiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali akubira eŋŋaano mu ssogolero alyoke agikweke Abamidiyaani. 12 Malayika wa MUKAMA Katonda n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ggwe omusajja omulwanyi namige. MUKAMA ali wamu naawe.” 13 Gidyoni n’abuuza nti, “Ayi Mukama wange, obanga MUKAMA ali wamu naffe, kale lwaki bino byonna bitutuuseeko? Eby’amagero eby’ekitalo bajjajjaffe bye baatubuulirako nti, ‘MUKAMA yatuggya mu Misiri, byo biruwa?’ Naye Kaakano MUKAMA Katonda atwabulidde era atuwaddeyo mu mikono gy’Abamidiyaani.” 14 MUKAMA Katonda n’amukyukira n’agamba nti, “Ggenda n’amaanyigo g’olina, onunule Abayisirayiri mu mikono gy’Abamidiyaani: si nze nkutumye?” 15 N’amuddamu nti, “Ayi Mukama wange, nnyinza ntya okununula Abayisirayiri? Kubanga essiga mwe nva lye lisinga okunyoomebwa mu kika kya Manase ate nze nsembayo obuto mu maka ga kitaffe.” 16 MUKAMA n’amugamba nti, “Ndibeera wamu naawe, era olifufuggaza Abamidiyaani ng’olinga akuba omuntu omu.” 17 Gidyoni n’amuddamu nti, “Obanga nsiimiddwa mu maaso go mpa obukakafu nga ddala ggwe wuuyo ayogera nange. 18 Nkwegayiridde, tova wano, ka ŋŋende nkuleetere ekirabo kyange nkiteeke mu maaso go.” MUKAMA n’agamba nti, “Kale kambeere wano okutuusa lw’onookomawo.” 19 Gidyoni n’ayingira mu nju ye, n’atta omwana gw’embuzi n’ateekateeka n’emigaati egitazimbulukuswa ng’akozesa kilo abiri ez’obuwunga bw’eŋŋaano. Ennyama n’agiteeka mu kibbo; ne guleevi waayo ne bamussa mu kibya, n’abimuleetera wansi w’omwera n’abimuwa. 20 Naye malayika wa Katonda n’amulagira nti, “Ddira ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino obifukeko guleevi.” Gidyoni n’akola bw’atyo. 21 Awo malayika wa MUKAMA Katonda n’akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa nga yeeyambisa omuggo gwe yalina. Omuliro ne guva mu jjinja ne gububuuka ne gwokya ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa byonna ne bisaanawo. Amangwago malayika wa MUKAMA n’abulawo. 22 Gidyoni n’ategeera ng’oyo abadde malayika wa MUKAMA; Gidyoni n’agamba nti, “Zinsanze, Ayi MUKAMA Katonda, kubanga tulabaganye ne malayika wa MUKAMA maaso ku maaso.” 23 Naye MUKAMA Katonda n’amugamba nti, “Emirembe gibe ku ggwe tootya tojja kufa.” 24 Gidyoni n’azimbira MUKAMA Katonda ekyoto mu kifo ekyo; n’akituuma erinnya Yakuwasalumu (MUKAMA gy’emirembe); n’okutuusa kaakano kikyaliyo mu Ofula eky’ab’omu ssiga lya Abiezeri. 25 Ekiro ekyo MUKAMA Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Mmennya ekyoto kwe basinziza Baali, ofuneyo ente eya sseddume ensava eddirira esinga obulungi okuva mu kiraalo kya kitaawo; otemeeteme ekifaananyi ekibajje ekya Asera ekiriraanye ekyoto kya Baali: 26 mu kifo ekyo kungulu ozimbireko MUKAMA Katonda wo ekyoto mu nzimba entuufu eyalagirwa, oddire ente eyo eya sseddume gy’oggye mu kiraalo kya kitaawo ogiweeyo ng’ekiweebwayo ekyokebwa ng’ogyokya n’ebibajjo by’ekifaanannyi kya Asera.” 27 Awo Gidyoni n’atwala kkumi ku baddu be, n’akola nga MUKAMA bwe yamulagira, naye kino yakikola kiro olw’okutya ab’omu nju ya kitaawe n’abantu abalala ab’omu kibuga. 28 Abantu b’omu kibuga baagenda okugolokoka ku nkya mu makya, nga ekyoto kwe baasinzizanga Baali kimenyeddwamenyeddwa, n’ekifaananyi kya Asera ekyakiri okumpi nga nakyo kitemeddwatemeddwa, n’ente eya ssava ng’eweereddwayo ku kyoto ekiggya. 29 Ne beebuuza nti, “Ani akoze kino?”Awo bwe babuuliriza, ne bategeezebwa nti, “Gidyoni mutabani wa Yowaasi y’akikoze”. 30 Abantu b’omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Ffulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyeemenye ekyoto kwetusinziza Baali; ate era n’atemaatema n’ekifaananyi kya Asera ekibadde kikiriraanye.” 31 Yowaasi n’addamu ekibinja ky’abantu abaali bamulumbye nti, “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kuwagira bigendererwa bye? Omuntu yenna ayagala okumulwanirira wa kuttibwa nga obudde tebunakya; obanga ddala Baali ye Katonda, yerwanirire yekka, kubanga ekyoto kye kyamenyeddwamenyeddwa.” 32 Okuva ku olwo Gidyoni ne bamukazaako erya Yerubbaali ekitegeeza nti, “Baali amulwanyise.” Kubanga yamenyaamenya ekyoto kya Baali. 33 Awo Abamidiyaani, Abamaleki n’abantu b’ebuvanjuba ne beegatta bonna ne basomoka omugga Yoludaani ne basiisira mu kiwonvu ky’e Yezuleeri. 34 Omwoyo wa MUKAMA Katonda n’akka ku Gidyoni; n’afuuwa ekkondeere ng’ayita ab’essiga lya Abiyezeeri bamugoberere. 35 N’atuma ababaka eri ab’ekika kya Manase nabo bamugoberere. N’atuma n’ababaka abalala eri ab’ekika kya Aseri, n’ekya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bamusisinkane. 36 Awo Gidyoni n’agamba Katonda nti, “Obanga olinunula Abayisirayiri ng’oyita mu nze nga bwe wasuubiza, 37 ka nteeke ebyoya by’endiga mu kifo awakubirwa eŋŋaano; bwe binaatoba omusulo naye ng’ettaka eribyetoolodde lyo kkalu, ne ndyoka nkakasa ddala ng’olinunula Abayisirayiri ng’oyita mu nze nga bwe wasuubiza.” 38 Ddala bwe kityo bwe kyali; kubanga Gidyoni bwe yagolokoka enkeera mu makya ebyoya by’endiga n’abikamulamu omusulo ne muvaamu ekibya kiramba eky’amazzi. 39 Gidyoni n’agamba Katonda nti, “Nkwegayiridde tonsunguwalira, kankusabe obukakafu omulundi omulala gumu gwokka. Ku luno njagala ebyoya by’endiga bye biba bibeera ebikalu, ettaka eribyetoolodde litobe omusulo.” 40 Ekiro ekyo Katonda n’akola nga Gidyoni bwe yamusaba, ebyoya by’endiga ne biba bikalu, lyo ettaka eribyetoolodde ne litoba omusulo.

In Other Versions

Judges 6 in the ANGEFD

Judges 6 in the ANTPNG2D

Judges 6 in the AS21

Judges 6 in the BAGH

Judges 6 in the BBPNG

Judges 6 in the BBT1E

Judges 6 in the BDS

Judges 6 in the BEV

Judges 6 in the BHAD

Judges 6 in the BIB

Judges 6 in the BLPT

Judges 6 in the BNT

Judges 6 in the BNTABOOT

Judges 6 in the BNTLV

Judges 6 in the BOATCB

Judges 6 in the BOATCB2

Judges 6 in the BOBCV

Judges 6 in the BOCNT

Judges 6 in the BOECS

Judges 6 in the BOGWICC

Judges 6 in the BOHCB

Judges 6 in the BOHCV

Judges 6 in the BOHLNT

Judges 6 in the BOHNTLTAL

Judges 6 in the BOICB

Judges 6 in the BOILNTAP

Judges 6 in the BOITCV

Judges 6 in the BOKCV

Judges 6 in the BOKCV2

Judges 6 in the BOKHWOG

Judges 6 in the BOKSSV

Judges 6 in the BOLCB2

Judges 6 in the BOMCV

Judges 6 in the BONAV

Judges 6 in the BONCB

Judges 6 in the BONLT

Judges 6 in the BONUT2

Judges 6 in the BOPLNT

Judges 6 in the BOSCB

Judges 6 in the BOSNC

Judges 6 in the BOTLNT

Judges 6 in the BOVCB

Judges 6 in the BOYCB

Judges 6 in the BPBB

Judges 6 in the BPH

Judges 6 in the BSB

Judges 6 in the CCB

Judges 6 in the CUV

Judges 6 in the CUVS

Judges 6 in the DBT

Judges 6 in the DGDNT

Judges 6 in the DHNT

Judges 6 in the DNT

Judges 6 in the ELBE

Judges 6 in the EMTV

Judges 6 in the ESV

Judges 6 in the FBV

Judges 6 in the FEB

Judges 6 in the GGMNT

Judges 6 in the GNT

Judges 6 in the HARY

Judges 6 in the HNT

Judges 6 in the IRVA

Judges 6 in the IRVB

Judges 6 in the IRVG

Judges 6 in the IRVH

Judges 6 in the IRVK

Judges 6 in the IRVM

Judges 6 in the IRVM2

Judges 6 in the IRVO

Judges 6 in the IRVP

Judges 6 in the IRVT

Judges 6 in the IRVT2

Judges 6 in the IRVU

Judges 6 in the ISVN

Judges 6 in the JSNT

Judges 6 in the KAPI

Judges 6 in the KBT1ETNIK

Judges 6 in the KBV

Judges 6 in the KJV

Judges 6 in the KNFD

Judges 6 in the LBA

Judges 6 in the LBLA

Judges 6 in the LNT

Judges 6 in the LSV

Judges 6 in the MAAL

Judges 6 in the MBV

Judges 6 in the MBV2

Judges 6 in the MHNT

Judges 6 in the MKNFD

Judges 6 in the MNG

Judges 6 in the MNT

Judges 6 in the MNT2

Judges 6 in the MRS1T

Judges 6 in the NAA

Judges 6 in the NASB

Judges 6 in the NBLA

Judges 6 in the NBS

Judges 6 in the NBVTP

Judges 6 in the NET2

Judges 6 in the NIV11

Judges 6 in the NNT

Judges 6 in the NNT2

Judges 6 in the NNT3

Judges 6 in the PDDPT

Judges 6 in the PFNT

Judges 6 in the RMNT

Judges 6 in the SBIAS

Judges 6 in the SBIBS

Judges 6 in the SBIBS2

Judges 6 in the SBICS

Judges 6 in the SBIDS

Judges 6 in the SBIGS

Judges 6 in the SBIHS

Judges 6 in the SBIIS

Judges 6 in the SBIIS2

Judges 6 in the SBIIS3

Judges 6 in the SBIKS

Judges 6 in the SBIKS2

Judges 6 in the SBIMS

Judges 6 in the SBIOS

Judges 6 in the SBIPS

Judges 6 in the SBISS

Judges 6 in the SBITS

Judges 6 in the SBITS2

Judges 6 in the SBITS3

Judges 6 in the SBITS4

Judges 6 in the SBIUS

Judges 6 in the SBIVS

Judges 6 in the SBT

Judges 6 in the SBT1E

Judges 6 in the SCHL

Judges 6 in the SNT

Judges 6 in the SUSU

Judges 6 in the SUSU2

Judges 6 in the SYNO

Judges 6 in the TBIAOTANT

Judges 6 in the TBT1E

Judges 6 in the TBT1E2

Judges 6 in the TFTIP

Judges 6 in the TFTU

Judges 6 in the TGNTATF3T

Judges 6 in the THAI

Judges 6 in the TNFD

Judges 6 in the TNT

Judges 6 in the TNTIK

Judges 6 in the TNTIL

Judges 6 in the TNTIN

Judges 6 in the TNTIP

Judges 6 in the TNTIZ

Judges 6 in the TOMA

Judges 6 in the TTENT

Judges 6 in the UBG

Judges 6 in the UGV

Judges 6 in the UGV2

Judges 6 in the UGV3

Judges 6 in the VBL

Judges 6 in the VDCC

Judges 6 in the YALU

Judges 6 in the YAPE

Judges 6 in the YBVTP

Judges 6 in the ZBP