Judges 8 (BOLCB)

1 Awo abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watuyisa bw’otyo, n’ototuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bamunenya nnyo. 2 Naye n’abaddamu nti, “Kiki kye nkoze okugeraageranya nammwe kye mukoze? Amakungula ga Efulayimu tegasinga ezabbibu Abiyezeeri z’akungudde? 3 Katonda yagabula Olebu ne Zeebu abakulembeze ba Midiyaani mu mukono gwammwe. Kiki kye nandiyinzizza okukola okugeraageranya nammwe?” Awo bwe yabagamba ebigambo ebyo ne bakkakkana. 4 Awo Gidyoni n’abasajja be ebikumi bisatu, nga bakooye, naye nga bakyabawondera, ne batuuka ku Yoludaani ne basomoka. 5 N’agamba abasajja ab’omu Sukkosi nti, “Muwe ku basajja bange, ekyokulya, bakooye. Mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.” 6 Naye abakungu ab’omu Sukkosi ne bamuddamu nti, “Eggye lyo limaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tubawe emmere?” 7 Awo Gidyoni n’abaddamu nti, “Kale olw’ekyo kye muŋŋambye, MUKAMA Katonda bw’aligabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ndiyuza emibiri gyammwe n’amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo.” 8 Bwe yava eyo, n’ayambuka n’alaga e Penieri, n’abasaba ekintu kye kimu. Naye abantu b’e Penieri ne bamuddamu ng’abasajja ab’omu Sukkosi bwe bamuddamu. 9 Kyeyava agamba abantu b’e Penieri nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala guno.” 10 Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli n’eggye lyabwe ery’abasajja ng’omutwalo gumu n’ekitundu, nga be bantu abaasigalawo ku ggye lyonna ery’abantu ab’obuvanjuba. Abasajja ng’emitwalo kkumi n’ebiri abaasowolanga ebitala be baali bafudde. 11 Awo Gidyoni n’ayambukira mu kkubo ly’abo ababeera mu weema ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Noba n’e Yogubeka n’alumba eggye nga teritegedde. 12 Zeba ne Zalumunna ne badduka, naye n’abawondera, era n’awamba bakabaka bombi aba Midiyaani, n’awangulira ddala eggye lyabwe lyonna. 13 Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’akomawo okuva mu lutalo ng’ayitira mu Lukuubo lwa Keresi. 14 N’asangiriza omuvubuka ow’oku bantu ab’omu Sukkosi, n’abaako by’amubuuza. Omuvubuka n’amuwandiikira amannya g’abakungu ab’omu Sukkosi, abakadde nsanvu mu musanvu. 15 Gidyoni n’alyoka ajja eri abasajja ab’omu Sukkosi n’abagamba nti, “Zeba ne Zalumunna baabo be mwasinzirako okundulira nga muŋŋamba nti, temuyinza kuwa basajja bange abaali bakooye mmere, nga sirina Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange.” 16 N’akwata abakadde b’ekibuga n’addira amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo n’abonereza abasajja ab’omu Sukkosi. 17 N’agenda n’e Penieri n’amenyaamenya omunaala gwa Penieri, n’atta n’abasajja b’omu kibuga. 18 N’alyoka abuuza Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne bamuddamu nti, “ggwe nga bw’oli nabo bwe baali. Buli omu yali afaanana abalangira.” 19 N’abaddamu nti, “Abo baali baganda bange, abaana ba mmange. MUKAMA Katonda nga bw’ali omulamu, singa mwabalekawo, sandi basse mmwe.” 20 Awo n’agamba Yeseri mutabani we omubereberye nti, “Golokoka obatte.” Naye omuvubuka oyo n’atasowolayo kitala kye okubatta. Yatya kubanga yali akyali mulenzi bulenzi. 21 Zeba ne Zalumunna ne boogera nti, “Ggwe jjangu otutte, kubanga ng’omusajja bw’ali, n’amaanyi ge bwe genkana. Gidyoni n’agolokoka n’atta Zeba ne Zalumunna, n’atwala n’ebyali bitimbiddwa mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe.” 22 Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.” 23 Naye Gidyoni n’abaddamu nti, “Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula MUKAMA y’anaabafuganga.” 24 Gidyoni n’abagamba nti, “Mbasaba ekintu kimu; buli omu ku mmwe ampe empeta ze yanyaga ku Bayisimayiri.” 25 Ne bamuddamu nti, “Okuzikuwa tujja kuzikuwa.” Ne bayalirira olugoye wansi, buli omu n’ateekako empeta ze yanyaga. 26 Obuzito bw’empeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda n’ekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, n’ebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, n’emikuufu egyateekebwanga mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe. 27 Awo Gidyoni n’addira zaabu n’amusaanuusa n’amukolamu ekifaananyi eky’ekkanzu (efodi), n’akiteeka mu kibuga kye Ofula. Abayisirayiri bonna ne bakivuunamiranga ne bakisinzanga, era ne kifuukira Gidyoni n’enju ye yonna omutego. 28 Awo Midiyaani n’ewangulwa abaana ba Isirayiri, era n’etaddayo kubalumba. Ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula. 29 Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi, n’addayo ewaabwe. 30 Gidyoni yazaala abaana aboobulenzi nsanvu mu bakazi abangi be yalina. 31 N’omuzaana we ow’omu Sekemu yamuzaalira omwana wabulenzi, era n’amutuuma Abimereki. 32 Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’afa, ng’akaddiye bulungi, n’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe Yowaasi mu Ofula eky’Ababiezeri. 33 Gidyoni nga y’akafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe. 34 Abaana ba Isirayiri ne batajjukira MUKAMA Katonda waabwe eyabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna. 35 Ne batalaga kusiima eri ab’enju ya Yerubbaali, ye Gidyoni, olw’ebirungi byonna bye yakolera Isirayiri.

In Other Versions

Judges 8 in the ANGEFD

Judges 8 in the ANTPNG2D

Judges 8 in the AS21

Judges 8 in the BAGH

Judges 8 in the BBPNG

Judges 8 in the BBT1E

Judges 8 in the BDS

Judges 8 in the BEV

Judges 8 in the BHAD

Judges 8 in the BIB

Judges 8 in the BLPT

Judges 8 in the BNT

Judges 8 in the BNTABOOT

Judges 8 in the BNTLV

Judges 8 in the BOATCB

Judges 8 in the BOATCB2

Judges 8 in the BOBCV

Judges 8 in the BOCNT

Judges 8 in the BOECS

Judges 8 in the BOGWICC

Judges 8 in the BOHCB

Judges 8 in the BOHCV

Judges 8 in the BOHLNT

Judges 8 in the BOHNTLTAL

Judges 8 in the BOICB

Judges 8 in the BOILNTAP

Judges 8 in the BOITCV

Judges 8 in the BOKCV

Judges 8 in the BOKCV2

Judges 8 in the BOKHWOG

Judges 8 in the BOKSSV

Judges 8 in the BOLCB2

Judges 8 in the BOMCV

Judges 8 in the BONAV

Judges 8 in the BONCB

Judges 8 in the BONLT

Judges 8 in the BONUT2

Judges 8 in the BOPLNT

Judges 8 in the BOSCB

Judges 8 in the BOSNC

Judges 8 in the BOTLNT

Judges 8 in the BOVCB

Judges 8 in the BOYCB

Judges 8 in the BPBB

Judges 8 in the BPH

Judges 8 in the BSB

Judges 8 in the CCB

Judges 8 in the CUV

Judges 8 in the CUVS

Judges 8 in the DBT

Judges 8 in the DGDNT

Judges 8 in the DHNT

Judges 8 in the DNT

Judges 8 in the ELBE

Judges 8 in the EMTV

Judges 8 in the ESV

Judges 8 in the FBV

Judges 8 in the FEB

Judges 8 in the GGMNT

Judges 8 in the GNT

Judges 8 in the HARY

Judges 8 in the HNT

Judges 8 in the IRVA

Judges 8 in the IRVB

Judges 8 in the IRVG

Judges 8 in the IRVH

Judges 8 in the IRVK

Judges 8 in the IRVM

Judges 8 in the IRVM2

Judges 8 in the IRVO

Judges 8 in the IRVP

Judges 8 in the IRVT

Judges 8 in the IRVT2

Judges 8 in the IRVU

Judges 8 in the ISVN

Judges 8 in the JSNT

Judges 8 in the KAPI

Judges 8 in the KBT1ETNIK

Judges 8 in the KBV

Judges 8 in the KJV

Judges 8 in the KNFD

Judges 8 in the LBA

Judges 8 in the LBLA

Judges 8 in the LNT

Judges 8 in the LSV

Judges 8 in the MAAL

Judges 8 in the MBV

Judges 8 in the MBV2

Judges 8 in the MHNT

Judges 8 in the MKNFD

Judges 8 in the MNG

Judges 8 in the MNT

Judges 8 in the MNT2

Judges 8 in the MRS1T

Judges 8 in the NAA

Judges 8 in the NASB

Judges 8 in the NBLA

Judges 8 in the NBS

Judges 8 in the NBVTP

Judges 8 in the NET2

Judges 8 in the NIV11

Judges 8 in the NNT

Judges 8 in the NNT2

Judges 8 in the NNT3

Judges 8 in the PDDPT

Judges 8 in the PFNT

Judges 8 in the RMNT

Judges 8 in the SBIAS

Judges 8 in the SBIBS

Judges 8 in the SBIBS2

Judges 8 in the SBICS

Judges 8 in the SBIDS

Judges 8 in the SBIGS

Judges 8 in the SBIHS

Judges 8 in the SBIIS

Judges 8 in the SBIIS2

Judges 8 in the SBIIS3

Judges 8 in the SBIKS

Judges 8 in the SBIKS2

Judges 8 in the SBIMS

Judges 8 in the SBIOS

Judges 8 in the SBIPS

Judges 8 in the SBISS

Judges 8 in the SBITS

Judges 8 in the SBITS2

Judges 8 in the SBITS3

Judges 8 in the SBITS4

Judges 8 in the SBIUS

Judges 8 in the SBIVS

Judges 8 in the SBT

Judges 8 in the SBT1E

Judges 8 in the SCHL

Judges 8 in the SNT

Judges 8 in the SUSU

Judges 8 in the SUSU2

Judges 8 in the SYNO

Judges 8 in the TBIAOTANT

Judges 8 in the TBT1E

Judges 8 in the TBT1E2

Judges 8 in the TFTIP

Judges 8 in the TFTU

Judges 8 in the TGNTATF3T

Judges 8 in the THAI

Judges 8 in the TNFD

Judges 8 in the TNT

Judges 8 in the TNTIK

Judges 8 in the TNTIL

Judges 8 in the TNTIN

Judges 8 in the TNTIP

Judges 8 in the TNTIZ

Judges 8 in the TOMA

Judges 8 in the TTENT

Judges 8 in the UBG

Judges 8 in the UGV

Judges 8 in the UGV2

Judges 8 in the UGV3

Judges 8 in the VBL

Judges 8 in the VDCC

Judges 8 in the YALU

Judges 8 in the YAPE

Judges 8 in the YBVTP

Judges 8 in the ZBP