Jeremiah 11 (BOLCB)

1 Kino kye kigambo kya MUKAMA ekyajjira Yeremiya. 2 Wuliriza ebigambo by’endagaano eno era yogera n’abantu ba Yuda era n’abo ababeera mu Yerusaalemi. 3 Bagambe nti, “Bw’ati MUKAMA Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Akolimiddwa omuntu atagondera bigambo by’endagaano eno 4 bye nalagira bakitammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, okuva mu kikoomi ky’omuliro.’ Nabagamba nti, ‘Muŋŋondere era mukole ebintu byonna nga bwe mbalagira, munaabeeranga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda wammwe, 5 ndyoke ntuukirize ekirayiro kye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi gye mulimu leero.’ ” Awo ne nziramu nti, “Kibeere bwe kityo MUKAMA.” 6 MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi. ‘Muwulire ebigambo by’endagaano era mubikole. 7 Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.” 8 Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ” 9 Ate MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Waliwo olukwe mu basajja ba Yuda ne mu batuuze b’omu Yerusaalemi. 10 Bazzeeyo mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okugoberera ebigambo byange. Bagoberedde bakatonda abalala ne babaweereza. Ennyumba zombi eya Isirayiri n’eya Yuda zimenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe. 11 Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza. 12 Ebibuga bya Yuda n’abantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe n’akamu nga bali mu nnaku. 13 Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; n’ebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’  14 “Noolwekyo tosabira bantu bano, tobakaabiririra wadde okubegayiririra kubanga siribawulira mu biro lwe baligwako akabi. 15 “Omwagalwa akola ki mu yeekaalu yange ng’ate akoze eby’ekivve?Okuwaayo ssaddaaka kuyinza okukuggyako ekibonerezo ekijja?Okola ebibi n’olyoka ojaguza!” 16 MUKAMA yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo,oguliko ebibala ebirungi.Naye ajja kugukumako omuliron’okuwuuma okw’omuyaga ogw’amaanyi,amatabi gaagwo gakutuke. 17 MUKAMA Katonda ow’Eggye, eyakusimba akulangiriddeko akabi kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zikoze eby’ekivve ne zinkwasa obusungu bwe zooterezza Baali obubaane. 18 MUKAMA yambikkulira nnamanyisa mu bbanga eryo olukwe lwe baali bansalira. 19 Nnali ng’omwana gw’endiga gwe batwala okuttibwa. Nnali simanyi nga nze gwe baali balyamu olukwe, nga bagamba nti,“Ka tuzikirize omuti n’ekibala kyagwo,ka tumutemere ddala ave ku nsi y’abalamu,erinnya lye lireme okuddayo okujjukirwa n’akatono.” 20 Naye ggwe MUKAMA Katonda ow’Eggye,alamula mu bwenkanya, agezesa omutima n’ebirowoozo,ka ndabe bw’obawoolera eggwanga,kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange. 21 Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera MUKAMA Katonda ku basajja b’e Anasosi abanoonya obulamu bwo nga bagamba nti, “Totubuulira bunnabbi mu linnya lya MUKAMA, tuleme okukutta.” 22 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti, “Laba, nzija kutta abavubuka n’ekitala; ne batabani baabwe n’abawala bafe enjala. 23 So tewaliba n’omu alisigalawo, kubanga ndireeta akabi ku basajja b’e Anasosi, mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.”

In Other Versions

Jeremiah 11 in the ANGEFD

Jeremiah 11 in the ANTPNG2D

Jeremiah 11 in the AS21

Jeremiah 11 in the BAGH

Jeremiah 11 in the BBPNG

Jeremiah 11 in the BBT1E

Jeremiah 11 in the BDS

Jeremiah 11 in the BEV

Jeremiah 11 in the BHAD

Jeremiah 11 in the BIB

Jeremiah 11 in the BLPT

Jeremiah 11 in the BNT

Jeremiah 11 in the BNTABOOT

Jeremiah 11 in the BNTLV

Jeremiah 11 in the BOATCB

Jeremiah 11 in the BOATCB2

Jeremiah 11 in the BOBCV

Jeremiah 11 in the BOCNT

Jeremiah 11 in the BOECS

Jeremiah 11 in the BOGWICC

Jeremiah 11 in the BOHCB

Jeremiah 11 in the BOHCV

Jeremiah 11 in the BOHLNT

Jeremiah 11 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 11 in the BOICB

Jeremiah 11 in the BOILNTAP

Jeremiah 11 in the BOITCV

Jeremiah 11 in the BOKCV

Jeremiah 11 in the BOKCV2

Jeremiah 11 in the BOKHWOG

Jeremiah 11 in the BOKSSV

Jeremiah 11 in the BOLCB2

Jeremiah 11 in the BOMCV

Jeremiah 11 in the BONAV

Jeremiah 11 in the BONCB

Jeremiah 11 in the BONLT

Jeremiah 11 in the BONUT2

Jeremiah 11 in the BOPLNT

Jeremiah 11 in the BOSCB

Jeremiah 11 in the BOSNC

Jeremiah 11 in the BOTLNT

Jeremiah 11 in the BOVCB

Jeremiah 11 in the BOYCB

Jeremiah 11 in the BPBB

Jeremiah 11 in the BPH

Jeremiah 11 in the BSB

Jeremiah 11 in the CCB

Jeremiah 11 in the CUV

Jeremiah 11 in the CUVS

Jeremiah 11 in the DBT

Jeremiah 11 in the DGDNT

Jeremiah 11 in the DHNT

Jeremiah 11 in the DNT

Jeremiah 11 in the ELBE

Jeremiah 11 in the EMTV

Jeremiah 11 in the ESV

Jeremiah 11 in the FBV

Jeremiah 11 in the FEB

Jeremiah 11 in the GGMNT

Jeremiah 11 in the GNT

Jeremiah 11 in the HARY

Jeremiah 11 in the HNT

Jeremiah 11 in the IRVA

Jeremiah 11 in the IRVB

Jeremiah 11 in the IRVG

Jeremiah 11 in the IRVH

Jeremiah 11 in the IRVK

Jeremiah 11 in the IRVM

Jeremiah 11 in the IRVM2

Jeremiah 11 in the IRVO

Jeremiah 11 in the IRVP

Jeremiah 11 in the IRVT

Jeremiah 11 in the IRVT2

Jeremiah 11 in the IRVU

Jeremiah 11 in the ISVN

Jeremiah 11 in the JSNT

Jeremiah 11 in the KAPI

Jeremiah 11 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 11 in the KBV

Jeremiah 11 in the KJV

Jeremiah 11 in the KNFD

Jeremiah 11 in the LBA

Jeremiah 11 in the LBLA

Jeremiah 11 in the LNT

Jeremiah 11 in the LSV

Jeremiah 11 in the MAAL

Jeremiah 11 in the MBV

Jeremiah 11 in the MBV2

Jeremiah 11 in the MHNT

Jeremiah 11 in the MKNFD

Jeremiah 11 in the MNG

Jeremiah 11 in the MNT

Jeremiah 11 in the MNT2

Jeremiah 11 in the MRS1T

Jeremiah 11 in the NAA

Jeremiah 11 in the NASB

Jeremiah 11 in the NBLA

Jeremiah 11 in the NBS

Jeremiah 11 in the NBVTP

Jeremiah 11 in the NET2

Jeremiah 11 in the NIV11

Jeremiah 11 in the NNT

Jeremiah 11 in the NNT2

Jeremiah 11 in the NNT3

Jeremiah 11 in the PDDPT

Jeremiah 11 in the PFNT

Jeremiah 11 in the RMNT

Jeremiah 11 in the SBIAS

Jeremiah 11 in the SBIBS

Jeremiah 11 in the SBIBS2

Jeremiah 11 in the SBICS

Jeremiah 11 in the SBIDS

Jeremiah 11 in the SBIGS

Jeremiah 11 in the SBIHS

Jeremiah 11 in the SBIIS

Jeremiah 11 in the SBIIS2

Jeremiah 11 in the SBIIS3

Jeremiah 11 in the SBIKS

Jeremiah 11 in the SBIKS2

Jeremiah 11 in the SBIMS

Jeremiah 11 in the SBIOS

Jeremiah 11 in the SBIPS

Jeremiah 11 in the SBISS

Jeremiah 11 in the SBITS

Jeremiah 11 in the SBITS2

Jeremiah 11 in the SBITS3

Jeremiah 11 in the SBITS4

Jeremiah 11 in the SBIUS

Jeremiah 11 in the SBIVS

Jeremiah 11 in the SBT

Jeremiah 11 in the SBT1E

Jeremiah 11 in the SCHL

Jeremiah 11 in the SNT

Jeremiah 11 in the SUSU

Jeremiah 11 in the SUSU2

Jeremiah 11 in the SYNO

Jeremiah 11 in the TBIAOTANT

Jeremiah 11 in the TBT1E

Jeremiah 11 in the TBT1E2

Jeremiah 11 in the TFTIP

Jeremiah 11 in the TFTU

Jeremiah 11 in the TGNTATF3T

Jeremiah 11 in the THAI

Jeremiah 11 in the TNFD

Jeremiah 11 in the TNT

Jeremiah 11 in the TNTIK

Jeremiah 11 in the TNTIL

Jeremiah 11 in the TNTIN

Jeremiah 11 in the TNTIP

Jeremiah 11 in the TNTIZ

Jeremiah 11 in the TOMA

Jeremiah 11 in the TTENT

Jeremiah 11 in the UBG

Jeremiah 11 in the UGV

Jeremiah 11 in the UGV2

Jeremiah 11 in the UGV3

Jeremiah 11 in the VBL

Jeremiah 11 in the VDCC

Jeremiah 11 in the YALU

Jeremiah 11 in the YAPE

Jeremiah 11 in the YBVTP

Jeremiah 11 in the ZBP