Jeremiah 29 (BOLCB)

1 Bino bye byali mu bbaluwa nnabbi Yeremiya gye yaweereza okuva mu Yerusaalemi eri abakadde abaali bakyasigaddewo mu bawaŋŋanguse n’eri bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi. 2 Kino kyaliwo nga kabaka Yekoyakini n’abakungu be ne Namasole we n’abakulembeze ba Yuda ne Yerusaalemi, n’abafundi n’abaweesi bonna baggyiddwa mu Yerusaalemi. 3 Ebbaluwa yagiwa Erasa mutabani wa Safani ne Bemaliya mutabani wa Kirukiya, ne Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma eri kabaka Nebukadduneeza mu Babulooni. Yali egamba bw’eti nti, 4 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ng’agamba abo bonna be natwala mu buwaŋŋanguse okuva mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni nti, 5 “Mwezimbire amayumba mutuule omwo; mulime ennimiro mulye ebibala byamu. 6 Muwase muzaale abaana aboobulenzi n’aboobuwala; muwasize batabani bammwe abakazi, ne bawala bammwe mubafumbize, nabo bazaale abaana abalenzi n’abawala. Mweyongere obungi eyo, temukendeera. 7 Era munoonye emirembe n’okukulaakulana kw’ekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga MUKAMA, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana.” 8 Ddala kino MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, “Temukkiriza bannabbi n’abalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola. 9 Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bw’ayogera MUKAMA. 10 Ddala ddala bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, “Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange eky’ekisa mbakomyewo mu kifo kino. 11 Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera MUKAMA. 12 “Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bw’ayogera MUKAMA. 13 “Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna. 14 Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna n’ebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse,” bw’ayogera MUKAMA. 15 Muyinza okugamba nti, “MUKAMA atuyimusirizza bannabbi mu Babulooni.” 16 Naye kino MUKAMA ky’agamba ku kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi n’abantu bonna abaasigala mu kibuga kino, n’abantu ab’ensi yammwe abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse. 17 Bw’ati bwayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti, “Ndisindika ekitala, n’enjala ne kawumpuli okubalumba era mbafuule ng’emitiini emibi ennyo egitayinza kuliika olw’obubi bwagyo. 18 Ndibagoberera n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli ne mbafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’ensi era ekikolimo n’ekikangabwa, n’eky’okusekererwa n’okuvumwa eri amawanga gonna gye ndibagobera. 19 Kubanga tebaawuliriza bigambo byange,” bwayogera MUKAMA, “ebigambo bye nabatumira emirundi emingi mu baweereza bange bannabbi. Era nammwe abawaŋŋanguse temuwulirizza,” bw’ayogera MUKAMA. 20 Noolwekyo, muwulirize ekigambo kya MUKAMA, mmwe mwenna abali mu buwaŋŋanguse be nagoba mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni. 21 Kino MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’ayogera ku Akabu mutabani wa Kolaya ne Zeddekiya mutabani wa Maaseya, abaawa obunnabbi mu linnya lyange nti, “Ndibawaayo eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abatte nga mulaba. 22 Olw’abasajja abo, abali mu buwaŋŋanguse bonna abaava mu Yuda abali mu Babulooni balikozesa ekikolimo kino nti, ‘MUKAMA akukole nga bwe yakola Zeddekiya ne Akabu, kabaka w’e Babulooni be yayokya mu muliro.’ 23 Kubanga bakoze eby’ekivve mu Isirayiri; bakoze obwenzi ne baka baliraanwa baabwe era ne boogera eby’obulimba mu linnya lyange, bye sibagambanga kwogera. Nkimanyi era ndi mujulirwa ku ekyo,” bw’ayogera MUKAMA. 24 Semaaya Omunekeramu mugambe nti, 25 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Waweereza ebbaluwa mu mannya go eri abantu bonna mu Yerusaalemi, eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ne bakabona bonna. Wagamba Zeffaniya nti, 26 ‘MUKAMA yakuteekawo okuba kabona mu kifo kya Yekoyaada okutwala obuvunaanyizibwa ku nnyumba ya MUKAMA; oteekwa okuteeka omulalu yenna eyefuula nga nnabbi mu nvuba ne mu masamba. 27 Noolwekyo lwaki tokangavudde Yeremiya ow’e Yanasosi, eyefuula nnabbi wakati mu mmwe? 28 Atuweerezza obubaka buno mu Babulooni ng’agamba nti, Obuwaŋŋanguse bwammwe bujja kubeera bwa bbanga ddene. Noolwekyo mwezimbire amayumba mutereere mu nsi, mulime ennimiro mulye ebibala byamu.’ ” 29 Wabula Zeffaniya kabona nasomera nnabbi Yeremiya ebbaluwa eno. 30 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Yeremiya nti, 31 “Muweereze obubaka buno eri abawaŋŋanguse nti, ‘Kino MUKAMA ky’agamba ku Semaaya Omunekeramu. Kubanga Semaaya yakuwa obunnabbi, wadde nga ssamutuma, era akutuusizza ku kwesiga eby’obulimba, 32 kino MUKAMA ky’agamba nti, Ddala ddala ndibonereza Semaaya Omunekeramu n’abantu b’omu nju ye. Tewaliba n’omu alisigalawo ku bantu be, wadde aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, kubanga ayigirizza abantu okunjeemera, bw’ayogera MUKAMA.’ ”

In Other Versions

Jeremiah 29 in the ANGEFD

Jeremiah 29 in the ANTPNG2D

Jeremiah 29 in the AS21

Jeremiah 29 in the BAGH

Jeremiah 29 in the BBPNG

Jeremiah 29 in the BBT1E

Jeremiah 29 in the BDS

Jeremiah 29 in the BEV

Jeremiah 29 in the BHAD

Jeremiah 29 in the BIB

Jeremiah 29 in the BLPT

Jeremiah 29 in the BNT

Jeremiah 29 in the BNTABOOT

Jeremiah 29 in the BNTLV

Jeremiah 29 in the BOATCB

Jeremiah 29 in the BOATCB2

Jeremiah 29 in the BOBCV

Jeremiah 29 in the BOCNT

Jeremiah 29 in the BOECS

Jeremiah 29 in the BOGWICC

Jeremiah 29 in the BOHCB

Jeremiah 29 in the BOHCV

Jeremiah 29 in the BOHLNT

Jeremiah 29 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 29 in the BOICB

Jeremiah 29 in the BOILNTAP

Jeremiah 29 in the BOITCV

Jeremiah 29 in the BOKCV

Jeremiah 29 in the BOKCV2

Jeremiah 29 in the BOKHWOG

Jeremiah 29 in the BOKSSV

Jeremiah 29 in the BOLCB2

Jeremiah 29 in the BOMCV

Jeremiah 29 in the BONAV

Jeremiah 29 in the BONCB

Jeremiah 29 in the BONLT

Jeremiah 29 in the BONUT2

Jeremiah 29 in the BOPLNT

Jeremiah 29 in the BOSCB

Jeremiah 29 in the BOSNC

Jeremiah 29 in the BOTLNT

Jeremiah 29 in the BOVCB

Jeremiah 29 in the BOYCB

Jeremiah 29 in the BPBB

Jeremiah 29 in the BPH

Jeremiah 29 in the BSB

Jeremiah 29 in the CCB

Jeremiah 29 in the CUV

Jeremiah 29 in the CUVS

Jeremiah 29 in the DBT

Jeremiah 29 in the DGDNT

Jeremiah 29 in the DHNT

Jeremiah 29 in the DNT

Jeremiah 29 in the ELBE

Jeremiah 29 in the EMTV

Jeremiah 29 in the ESV

Jeremiah 29 in the FBV

Jeremiah 29 in the FEB

Jeremiah 29 in the GGMNT

Jeremiah 29 in the GNT

Jeremiah 29 in the HARY

Jeremiah 29 in the HNT

Jeremiah 29 in the IRVA

Jeremiah 29 in the IRVB

Jeremiah 29 in the IRVG

Jeremiah 29 in the IRVH

Jeremiah 29 in the IRVK

Jeremiah 29 in the IRVM

Jeremiah 29 in the IRVM2

Jeremiah 29 in the IRVO

Jeremiah 29 in the IRVP

Jeremiah 29 in the IRVT

Jeremiah 29 in the IRVT2

Jeremiah 29 in the IRVU

Jeremiah 29 in the ISVN

Jeremiah 29 in the JSNT

Jeremiah 29 in the KAPI

Jeremiah 29 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 29 in the KBV

Jeremiah 29 in the KJV

Jeremiah 29 in the KNFD

Jeremiah 29 in the LBA

Jeremiah 29 in the LBLA

Jeremiah 29 in the LNT

Jeremiah 29 in the LSV

Jeremiah 29 in the MAAL

Jeremiah 29 in the MBV

Jeremiah 29 in the MBV2

Jeremiah 29 in the MHNT

Jeremiah 29 in the MKNFD

Jeremiah 29 in the MNG

Jeremiah 29 in the MNT

Jeremiah 29 in the MNT2

Jeremiah 29 in the MRS1T

Jeremiah 29 in the NAA

Jeremiah 29 in the NASB

Jeremiah 29 in the NBLA

Jeremiah 29 in the NBS

Jeremiah 29 in the NBVTP

Jeremiah 29 in the NET2

Jeremiah 29 in the NIV11

Jeremiah 29 in the NNT

Jeremiah 29 in the NNT2

Jeremiah 29 in the NNT3

Jeremiah 29 in the PDDPT

Jeremiah 29 in the PFNT

Jeremiah 29 in the RMNT

Jeremiah 29 in the SBIAS

Jeremiah 29 in the SBIBS

Jeremiah 29 in the SBIBS2

Jeremiah 29 in the SBICS

Jeremiah 29 in the SBIDS

Jeremiah 29 in the SBIGS

Jeremiah 29 in the SBIHS

Jeremiah 29 in the SBIIS

Jeremiah 29 in the SBIIS2

Jeremiah 29 in the SBIIS3

Jeremiah 29 in the SBIKS

Jeremiah 29 in the SBIKS2

Jeremiah 29 in the SBIMS

Jeremiah 29 in the SBIOS

Jeremiah 29 in the SBIPS

Jeremiah 29 in the SBISS

Jeremiah 29 in the SBITS

Jeremiah 29 in the SBITS2

Jeremiah 29 in the SBITS3

Jeremiah 29 in the SBITS4

Jeremiah 29 in the SBIUS

Jeremiah 29 in the SBIVS

Jeremiah 29 in the SBT

Jeremiah 29 in the SBT1E

Jeremiah 29 in the SCHL

Jeremiah 29 in the SNT

Jeremiah 29 in the SUSU

Jeremiah 29 in the SUSU2

Jeremiah 29 in the SYNO

Jeremiah 29 in the TBIAOTANT

Jeremiah 29 in the TBT1E

Jeremiah 29 in the TBT1E2

Jeremiah 29 in the TFTIP

Jeremiah 29 in the TFTU

Jeremiah 29 in the TGNTATF3T

Jeremiah 29 in the THAI

Jeremiah 29 in the TNFD

Jeremiah 29 in the TNT

Jeremiah 29 in the TNTIK

Jeremiah 29 in the TNTIL

Jeremiah 29 in the TNTIN

Jeremiah 29 in the TNTIP

Jeremiah 29 in the TNTIZ

Jeremiah 29 in the TOMA

Jeremiah 29 in the TTENT

Jeremiah 29 in the UBG

Jeremiah 29 in the UGV

Jeremiah 29 in the UGV2

Jeremiah 29 in the UGV3

Jeremiah 29 in the VBL

Jeremiah 29 in the VDCC

Jeremiah 29 in the YALU

Jeremiah 29 in the YAPE

Jeremiah 29 in the YBVTP

Jeremiah 29 in the ZBP