Jeremiah 47 (BOLCB)
1 Kino kye kigambo kya MUKAMA Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti: 2 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,galifuuka omugga ogwanjaala.Galyanjaala ku nsine mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.Abantu balikaaba;bonna abali mu nsi baliwowoggana. 3 Olw’emisinde gy’embalaasi eziddukan’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabeera n’okuwuuma kwa nnamuziga,bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,emikono gyabwe gya kulebera. 4 Kubanga olunaku lutuuseokuzikiriza Abafirisuuti bonna,n’okusalako bonna abandisigaddewoabandiyambye Ttuulo ne Sidoni. MUKAMA wa kuzikiriza Abafirisuutiabaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli. 5 Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.Asukulooni alisirisibwa.Ggwe eyasigala mu kiwonvu,olituusa ddi okwesalaasala? 6 “ ‘Ayi ggwe ekitala kya MUKAMA Katonda, okaaba,obudde bunaatuuka ddi owummule?Ddayo mu kiraato kyosirika teweenyeenya.’ 7 Naye kiyinza kitya okuwummulanga MUKAMA y’akiragidde,ng’akiragiddeokulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”