Joshua 7 (BOLCB)

1 Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo MUKAMA n’asunguwalira nnyo eggwanga lya Isirayiri. 2 Yoswa n’asindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, n’abakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi. 3 Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga ab’omu Ayi si bangi.” 4 Abayisirayiri ng’enkumi ssatu ne boolekera Ayi, kyokka abasajja be Ayi ne babafubutula emisinde 5 okubaggya ku wankaaki w’ekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ng’amakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka. 6 Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya MUKAMA okuzibya obudde. 7 Yoswa n’agamba nti, “MUKAMA Katonda nga kitalo kino! Wasomosezaaki Abayisirayiri omugga Yoludaani ate n’obaleka bazikirizibwe Abamoli? Bwe twali tukyali emitala wa Yoludaani tetwaliko kabi n’akatono! 8 Ayi Mukama, sonyiwa omuddu wo. Isirayiri alumbiddwa abalabe baabwe, nze nnaayogera ki kaakano! 9 Abakanani n’abali mu kitundu ekyo kyonna bwe banaakiwulira bajja kutwebungulula batusaanyeewo. Olwo erinnya lyo ekkulu bwe lityo liriba terikyavuga.” 10 MUKAMA n’agamba Yoswa nti, “Golokoka. Kiki ekikuvuunamizza ku ttaka? 11 Isirayiri eyonoonye kubanga bavudde ku ndagaano gye nabakuutira, ne batwala ku bintu ebiwonge, ne babitabika mu byabwe ate ne balimba. 12 Ka mbabuulire, okuggyako nga muzikiriza omubi ali mu mmwe, Abayisirayiri tebayinza kwolekera balabe baabwe, babadduka buddusi, kubanga nsazeewo bazikirizibwe. 13 “Golokoka otukuze abantu era obategeeze beetukuze nga beetegekera olw’enkya bw’atyo bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa Isirayiri. Waliwo ebikwekeddwa mu mmwe; okuggyako nga mubikwekula temuyinza kuwangula balabe bammwe. 14 “ ‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika MUKAMA ky’anaalondamu kinaasembera luggya ku luggya, n’oluggya MUKAMA lw’anaalondamu lunajja nju ku nju, era enju MUKAMA gy’anaalondamu enejja muntu ku muntu. 15 Naye oyo anaasangibwa n’ebintu ebiwonge anaayokebwa mu muliro ye n’ebyo byonna by’alina, kubanga amenye endagaano ya MUKAMA n’avumaganya Isirayiri.’ ” 16 Yoswa yakeera nnyo n’akuŋŋaanya ebika byonna, yasookera ku kika kya Yuda era n’asembeza enju ya Yuda: 17 n’alondamu abo abazaalibwa Zeera, ate mu nju ya Zeera n’alondamu Zabudi n’ennyumba ye: 18 ate mu bo n’alondamu Akani omwana wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda. 19 Yoswa n’agamba Akani nti, “Mwana wange njagala oweese MUKAMA Katonda wa Isirayiri ekitiibwa era omugulumizise, ombuulire ky’okoze, tonkisa.” 20 Akani n’addamu nti, “Mazima nayonoona eri MUKAMA Katonda wa Isirayiri era kino kye nakola. 21 Bwe nalaba nga mu munyago mulimu ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaali n’ensimbi, n’effeeza ne zaabu ne mbyegomba, bwe ntyo ne mbitwala ne mbisimira mu ttaka mu weema yange.” 22 Yoswa n’atuma ababaka mu weema ya Akani era ne babisangayo ng’abisimidde mu ttaka. 23 Ne babifulumya ne babireeta eri Yoswa n’Abayisirayiri bonna, ne babissa mu maaso ga MUKAMA. 24 Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli. 25 Yoswa n’abuuza Akani nti, “Lwaki watuleetera ensasagge eno? Nga bwe wakola bw’otyo olwa leero naawe onookiraba MUKAMA ky’anaakukola.”Abayisirayiri bonna ne bayiikira Akani, n’abaana be n’ebintu bye ne babakuba amayinja ne babatta era ne babakumako omuliro. 26 Ne balyoka babatuumako amayinja, n’okutuusa kaakano entuumu y’amayinja eyo gagadde ekyaliwo. MUKAMA n’alekera awo okukambuwalira Abayisirayiri, ekiwonvu mwe babattira kyekyava kiyitibwa Akoli n’okutuusa kaakano.

In Other Versions

Joshua 7 in the ANGEFD

Joshua 7 in the ANTPNG2D

Joshua 7 in the AS21

Joshua 7 in the BAGH

Joshua 7 in the BBPNG

Joshua 7 in the BBT1E

Joshua 7 in the BDS

Joshua 7 in the BEV

Joshua 7 in the BHAD

Joshua 7 in the BIB

Joshua 7 in the BLPT

Joshua 7 in the BNT

Joshua 7 in the BNTABOOT

Joshua 7 in the BNTLV

Joshua 7 in the BOATCB

Joshua 7 in the BOATCB2

Joshua 7 in the BOBCV

Joshua 7 in the BOCNT

Joshua 7 in the BOECS

Joshua 7 in the BOGWICC

Joshua 7 in the BOHCB

Joshua 7 in the BOHCV

Joshua 7 in the BOHLNT

Joshua 7 in the BOHNTLTAL

Joshua 7 in the BOICB

Joshua 7 in the BOILNTAP

Joshua 7 in the BOITCV

Joshua 7 in the BOKCV

Joshua 7 in the BOKCV2

Joshua 7 in the BOKHWOG

Joshua 7 in the BOKSSV

Joshua 7 in the BOLCB2

Joshua 7 in the BOMCV

Joshua 7 in the BONAV

Joshua 7 in the BONCB

Joshua 7 in the BONLT

Joshua 7 in the BONUT2

Joshua 7 in the BOPLNT

Joshua 7 in the BOSCB

Joshua 7 in the BOSNC

Joshua 7 in the BOTLNT

Joshua 7 in the BOVCB

Joshua 7 in the BOYCB

Joshua 7 in the BPBB

Joshua 7 in the BPH

Joshua 7 in the BSB

Joshua 7 in the CCB

Joshua 7 in the CUV

Joshua 7 in the CUVS

Joshua 7 in the DBT

Joshua 7 in the DGDNT

Joshua 7 in the DHNT

Joshua 7 in the DNT

Joshua 7 in the ELBE

Joshua 7 in the EMTV

Joshua 7 in the ESV

Joshua 7 in the FBV

Joshua 7 in the FEB

Joshua 7 in the GGMNT

Joshua 7 in the GNT

Joshua 7 in the HARY

Joshua 7 in the HNT

Joshua 7 in the IRVA

Joshua 7 in the IRVB

Joshua 7 in the IRVG

Joshua 7 in the IRVH

Joshua 7 in the IRVK

Joshua 7 in the IRVM

Joshua 7 in the IRVM2

Joshua 7 in the IRVO

Joshua 7 in the IRVP

Joshua 7 in the IRVT

Joshua 7 in the IRVT2

Joshua 7 in the IRVU

Joshua 7 in the ISVN

Joshua 7 in the JSNT

Joshua 7 in the KAPI

Joshua 7 in the KBT1ETNIK

Joshua 7 in the KBV

Joshua 7 in the KJV

Joshua 7 in the KNFD

Joshua 7 in the LBA

Joshua 7 in the LBLA

Joshua 7 in the LNT

Joshua 7 in the LSV

Joshua 7 in the MAAL

Joshua 7 in the MBV

Joshua 7 in the MBV2

Joshua 7 in the MHNT

Joshua 7 in the MKNFD

Joshua 7 in the MNG

Joshua 7 in the MNT

Joshua 7 in the MNT2

Joshua 7 in the MRS1T

Joshua 7 in the NAA

Joshua 7 in the NASB

Joshua 7 in the NBLA

Joshua 7 in the NBS

Joshua 7 in the NBVTP

Joshua 7 in the NET2

Joshua 7 in the NIV11

Joshua 7 in the NNT

Joshua 7 in the NNT2

Joshua 7 in the NNT3

Joshua 7 in the PDDPT

Joshua 7 in the PFNT

Joshua 7 in the RMNT

Joshua 7 in the SBIAS

Joshua 7 in the SBIBS

Joshua 7 in the SBIBS2

Joshua 7 in the SBICS

Joshua 7 in the SBIDS

Joshua 7 in the SBIGS

Joshua 7 in the SBIHS

Joshua 7 in the SBIIS

Joshua 7 in the SBIIS2

Joshua 7 in the SBIIS3

Joshua 7 in the SBIKS

Joshua 7 in the SBIKS2

Joshua 7 in the SBIMS

Joshua 7 in the SBIOS

Joshua 7 in the SBIPS

Joshua 7 in the SBISS

Joshua 7 in the SBITS

Joshua 7 in the SBITS2

Joshua 7 in the SBITS3

Joshua 7 in the SBITS4

Joshua 7 in the SBIUS

Joshua 7 in the SBIVS

Joshua 7 in the SBT

Joshua 7 in the SBT1E

Joshua 7 in the SCHL

Joshua 7 in the SNT

Joshua 7 in the SUSU

Joshua 7 in the SUSU2

Joshua 7 in the SYNO

Joshua 7 in the TBIAOTANT

Joshua 7 in the TBT1E

Joshua 7 in the TBT1E2

Joshua 7 in the TFTIP

Joshua 7 in the TFTU

Joshua 7 in the TGNTATF3T

Joshua 7 in the THAI

Joshua 7 in the TNFD

Joshua 7 in the TNT

Joshua 7 in the TNTIK

Joshua 7 in the TNTIL

Joshua 7 in the TNTIN

Joshua 7 in the TNTIP

Joshua 7 in the TNTIZ

Joshua 7 in the TOMA

Joshua 7 in the TTENT

Joshua 7 in the UBG

Joshua 7 in the UGV

Joshua 7 in the UGV2

Joshua 7 in the UGV3

Joshua 7 in the VBL

Joshua 7 in the VDCC

Joshua 7 in the YALU

Joshua 7 in the YAPE

Joshua 7 in the YBVTP

Joshua 7 in the ZBP