Leviticus 18 (BOLCB)
1 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze MUKAMA Katonda wammwe. 3 Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ng’ab’omu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ng’ab’omu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe. 4 Munaagonderanga ebiragiro byange, munaakwatanga amateeka gange, era mwe munaatambuliranga. Nze MUKAMA Katonda wammwe. 5 Mugonderenga ebiragiro byange awamu n’amateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze MUKAMA Katonda wammwe. 6 “ ‘Tewabanga omuntu yenna mu mmwe ajja eri munne gw’alinako oluganda ne yeebaka naye. Nze MUKAMA. 7 “ ‘Toleeteranga kitaawo buswavu ng’okola ebyensonyi ne nnyoko. Oyo ye maama wo eyakuzaala, teweebakanga naye ne mukola ebyensonyi, n’omuleetako obuswavu. 8 “ ‘Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa. 9 “ ‘Teweebakanga na mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, ne bwe muba nga mwakulira mu maka gamu oba nga temwakulira wamu, tomukolangako bya nsonyi okumuleetera obuswavu. 10 “ ‘Teweebakanga na muwala azaalibwa mutabani wo, oba muwala w’omwana wo omuwala, n’okola naye ebyensonyi; ekyo ne kikuleetako obuswavu. 11 “ ‘Teweebakanga na mwana wa muka kitaawo ow’obuwala eyazaalibwa kitaawo n’omukolako ebyensonyi; oyo mwannyoko. Tomuleeteranga bya buswavu. 12 “ ‘Teweebakanga na mwannyina wa kitaawo n’okola naye ebyensonyi; oyo ne kitaawo ba musaayi gwe gumu. 13 “ ‘Teweebakanga na muwala bwe bazaalibwa ne nnyoko n’okola naye ebyensonyi; kubanga oyo ne nnyoko ba musaayi gwe gumu. 14 “ ‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo, ng’olaga eri mukazi we weebake naye mukole ebyensonyi; oyo maama wo omuto. 15 “ ‘Teweebakanga na muka mutabani wo ne mukola ebyensonyi; kubanga oyo ye mukyala wa mutabani wo; tomuleeteranga bya buswavu. 16 “ ‘Teweebakanga na muka muganda wo ne mukola ebyensonyi, kubanga ekyo kinaaleeteranga muganda wo obuswavu. 17 “ ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we n’okola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu n’ogw’omukazi oyo. Ekyo kibi kinene. 18 “ ‘Toleetanga mukazi nga muganda wa mukyala wo ne badda mu kuvuganya, era ne weebaka naye ne mukola ebyensonyi nga mukyala wo akyali mulamu. 19 “ ‘Tosembereranga mukazi ng’oyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ng’ali mu kiseera kye ekya buli mwezi eky’okuvaamu omusaayi mw’abeerera atali mulongoofu. 20 “ ‘Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, n’akuleetera obutali bulongoofu. 21 “ ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze MUKAMA. 22 “ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase n’omukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo. 23 “ ‘Tokolanga bya nsonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala. 24 “ ‘Temwereetangako obutali bulongoofu nga mugoberera amayisa ago amabi; kubanga n’amawanga ge ŋŋenda okugoba mu nsi mwe mujja okuyingira bwe geefuula bwe gatyo agatali malongoofu; 25 n’ensi n’efuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olw’ebyonoono byayo, n’abantu baamu abagibeeramu n’ebasesema. 26 Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange n’amateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga n’omu anaakolanga ku bintu ebyo n’akatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo. 27 Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi n’efuuka etali nnongoofu. 28 Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu. 29 “ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ng’abo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe. 30 Mukwatenga amateeka gange, nga mwewalanga okukola ebyonoono ebyo ebikyayibwa eby’amayisa amabi, abo abaabasooka ge beeyisanga si kulwa nga gabafuula abatali balongoofu. Nze MUKAMA Katonda wammwe.’ ”
In Other Versions
Leviticus 18 in the ANGEFD
Leviticus 18 in the ANTPNG2D
Leviticus 18 in the AS21
Leviticus 18 in the BAGH
Leviticus 18 in the BBPNG
Leviticus 18 in the BBT1E
Leviticus 18 in the BDS
Leviticus 18 in the BEV
Leviticus 18 in the BHAD
Leviticus 18 in the BIB
Leviticus 18 in the BLPT
Leviticus 18 in the BNT
Leviticus 18 in the BNTABOOT
Leviticus 18 in the BNTLV
Leviticus 18 in the BOATCB
Leviticus 18 in the BOATCB2
Leviticus 18 in the BOBCV
Leviticus 18 in the BOCNT
Leviticus 18 in the BOECS
Leviticus 18 in the BOGWICC
Leviticus 18 in the BOHCB
Leviticus 18 in the BOHCV
Leviticus 18 in the BOHLNT
Leviticus 18 in the BOHNTLTAL
Leviticus 18 in the BOICB
Leviticus 18 in the BOILNTAP
Leviticus 18 in the BOITCV
Leviticus 18 in the BOKCV
Leviticus 18 in the BOKCV2
Leviticus 18 in the BOKHWOG
Leviticus 18 in the BOKSSV
Leviticus 18 in the BOLCB2
Leviticus 18 in the BOMCV
Leviticus 18 in the BONAV
Leviticus 18 in the BONCB
Leviticus 18 in the BONLT
Leviticus 18 in the BONUT2
Leviticus 18 in the BOPLNT
Leviticus 18 in the BOSCB
Leviticus 18 in the BOSNC
Leviticus 18 in the BOTLNT
Leviticus 18 in the BOVCB
Leviticus 18 in the BOYCB
Leviticus 18 in the BPBB
Leviticus 18 in the BPH
Leviticus 18 in the BSB
Leviticus 18 in the CCB
Leviticus 18 in the CUV
Leviticus 18 in the CUVS
Leviticus 18 in the DBT
Leviticus 18 in the DGDNT
Leviticus 18 in the DHNT
Leviticus 18 in the DNT
Leviticus 18 in the ELBE
Leviticus 18 in the EMTV
Leviticus 18 in the ESV
Leviticus 18 in the FBV
Leviticus 18 in the FEB
Leviticus 18 in the GGMNT
Leviticus 18 in the GNT
Leviticus 18 in the HARY
Leviticus 18 in the HNT
Leviticus 18 in the IRVA
Leviticus 18 in the IRVB
Leviticus 18 in the IRVG
Leviticus 18 in the IRVH
Leviticus 18 in the IRVK
Leviticus 18 in the IRVM
Leviticus 18 in the IRVM2
Leviticus 18 in the IRVO
Leviticus 18 in the IRVP
Leviticus 18 in the IRVT
Leviticus 18 in the IRVT2
Leviticus 18 in the IRVU
Leviticus 18 in the ISVN
Leviticus 18 in the JSNT
Leviticus 18 in the KAPI
Leviticus 18 in the KBT1ETNIK
Leviticus 18 in the KBV
Leviticus 18 in the KJV
Leviticus 18 in the KNFD
Leviticus 18 in the LBA
Leviticus 18 in the LBLA
Leviticus 18 in the LNT
Leviticus 18 in the LSV
Leviticus 18 in the MAAL
Leviticus 18 in the MBV
Leviticus 18 in the MBV2
Leviticus 18 in the MHNT
Leviticus 18 in the MKNFD
Leviticus 18 in the MNG
Leviticus 18 in the MNT
Leviticus 18 in the MNT2
Leviticus 18 in the MRS1T
Leviticus 18 in the NAA
Leviticus 18 in the NASB
Leviticus 18 in the NBLA
Leviticus 18 in the NBS
Leviticus 18 in the NBVTP
Leviticus 18 in the NET2
Leviticus 18 in the NIV11
Leviticus 18 in the NNT
Leviticus 18 in the NNT2
Leviticus 18 in the NNT3
Leviticus 18 in the PDDPT
Leviticus 18 in the PFNT
Leviticus 18 in the RMNT
Leviticus 18 in the SBIAS
Leviticus 18 in the SBIBS
Leviticus 18 in the SBIBS2
Leviticus 18 in the SBICS
Leviticus 18 in the SBIDS
Leviticus 18 in the SBIGS
Leviticus 18 in the SBIHS
Leviticus 18 in the SBIIS
Leviticus 18 in the SBIIS2
Leviticus 18 in the SBIIS3
Leviticus 18 in the SBIKS
Leviticus 18 in the SBIKS2
Leviticus 18 in the SBIMS
Leviticus 18 in the SBIOS
Leviticus 18 in the SBIPS
Leviticus 18 in the SBISS
Leviticus 18 in the SBITS
Leviticus 18 in the SBITS2
Leviticus 18 in the SBITS3
Leviticus 18 in the SBITS4
Leviticus 18 in the SBIUS
Leviticus 18 in the SBIVS
Leviticus 18 in the SBT
Leviticus 18 in the SBT1E
Leviticus 18 in the SCHL
Leviticus 18 in the SNT
Leviticus 18 in the SUSU
Leviticus 18 in the SUSU2
Leviticus 18 in the SYNO
Leviticus 18 in the TBIAOTANT
Leviticus 18 in the TBT1E
Leviticus 18 in the TBT1E2
Leviticus 18 in the TFTIP
Leviticus 18 in the TFTU
Leviticus 18 in the TGNTATF3T
Leviticus 18 in the THAI
Leviticus 18 in the TNFD
Leviticus 18 in the TNT
Leviticus 18 in the TNTIK
Leviticus 18 in the TNTIL
Leviticus 18 in the TNTIN
Leviticus 18 in the TNTIP
Leviticus 18 in the TNTIZ
Leviticus 18 in the TOMA
Leviticus 18 in the TTENT
Leviticus 18 in the UBG
Leviticus 18 in the UGV
Leviticus 18 in the UGV2
Leviticus 18 in the UGV3
Leviticus 18 in the VBL
Leviticus 18 in the VDCC
Leviticus 18 in the YALU
Leviticus 18 in the YAPE
Leviticus 18 in the YBVTP
Leviticus 18 in the ZBP