Numbers 11 (BOLCB)

1 Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne MUKAMA awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri MUKAMA ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe. 2 Abantu ne bakaabirira Musa; Musa n’asaba MUKAMA, omuliro ne guzikira. 3 Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri MUKAMA gwabaakiramu. 4 Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako! 5 Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju n’ensujju, n’enderema n’obutungulu ne katungulukyumu n’ebyokuliira. 6 Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!” 7 Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu. 8 Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa n’amafuta ga zeyituuni. 9 Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro n’emmaanu nayo n’egwa nagwo. 10 Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa MUKAMA Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala. 11 Musa n’agamba MUKAMA Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gw’abantu bano bonna? 12 Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe? 13 Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’ 14 Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka. 15 Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.” 16 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe. 17 Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka. 18 “Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga MUKAMA Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo MUKAMA ajja kubawa ennyama mugirye. 19 Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri; 20 naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde MUKAMA Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ” 21 Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’ 22 Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?” 23 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Omukono gwa MUKAMA Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.” 24 Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya MUKAMA Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya MUKAMA. 25 Awo MUKAMA Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola. 26 Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya MUKAMA; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira. 27 Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.” 28 Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.” 29 Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba MUKAMA bonna bannabbi, ne MUKAMA Katonda n’abawa omwoyo gwe!” 30 Musa n’abakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira. 31 Awo empewo n’eva eri MUKAMA Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala. 32 Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira. 33 Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa MUKAMA Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo. 34 Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube. 35 Abantu bwe baava e Kiberosu Katava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo.

In Other Versions

Numbers 11 in the ANGEFD

Numbers 11 in the ANTPNG2D

Numbers 11 in the AS21

Numbers 11 in the BAGH

Numbers 11 in the BBPNG

Numbers 11 in the BBT1E

Numbers 11 in the BDS

Numbers 11 in the BEV

Numbers 11 in the BHAD

Numbers 11 in the BIB

Numbers 11 in the BLPT

Numbers 11 in the BNT

Numbers 11 in the BNTABOOT

Numbers 11 in the BNTLV

Numbers 11 in the BOATCB

Numbers 11 in the BOATCB2

Numbers 11 in the BOBCV

Numbers 11 in the BOCNT

Numbers 11 in the BOECS

Numbers 11 in the BOGWICC

Numbers 11 in the BOHCB

Numbers 11 in the BOHCV

Numbers 11 in the BOHLNT

Numbers 11 in the BOHNTLTAL

Numbers 11 in the BOICB

Numbers 11 in the BOILNTAP

Numbers 11 in the BOITCV

Numbers 11 in the BOKCV

Numbers 11 in the BOKCV2

Numbers 11 in the BOKHWOG

Numbers 11 in the BOKSSV

Numbers 11 in the BOLCB2

Numbers 11 in the BOMCV

Numbers 11 in the BONAV

Numbers 11 in the BONCB

Numbers 11 in the BONLT

Numbers 11 in the BONUT2

Numbers 11 in the BOPLNT

Numbers 11 in the BOSCB

Numbers 11 in the BOSNC

Numbers 11 in the BOTLNT

Numbers 11 in the BOVCB

Numbers 11 in the BOYCB

Numbers 11 in the BPBB

Numbers 11 in the BPH

Numbers 11 in the BSB

Numbers 11 in the CCB

Numbers 11 in the CUV

Numbers 11 in the CUVS

Numbers 11 in the DBT

Numbers 11 in the DGDNT

Numbers 11 in the DHNT

Numbers 11 in the DNT

Numbers 11 in the ELBE

Numbers 11 in the EMTV

Numbers 11 in the ESV

Numbers 11 in the FBV

Numbers 11 in the FEB

Numbers 11 in the GGMNT

Numbers 11 in the GNT

Numbers 11 in the HARY

Numbers 11 in the HNT

Numbers 11 in the IRVA

Numbers 11 in the IRVB

Numbers 11 in the IRVG

Numbers 11 in the IRVH

Numbers 11 in the IRVK

Numbers 11 in the IRVM

Numbers 11 in the IRVM2

Numbers 11 in the IRVO

Numbers 11 in the IRVP

Numbers 11 in the IRVT

Numbers 11 in the IRVT2

Numbers 11 in the IRVU

Numbers 11 in the ISVN

Numbers 11 in the JSNT

Numbers 11 in the KAPI

Numbers 11 in the KBT1ETNIK

Numbers 11 in the KBV

Numbers 11 in the KJV

Numbers 11 in the KNFD

Numbers 11 in the LBA

Numbers 11 in the LBLA

Numbers 11 in the LNT

Numbers 11 in the LSV

Numbers 11 in the MAAL

Numbers 11 in the MBV

Numbers 11 in the MBV2

Numbers 11 in the MHNT

Numbers 11 in the MKNFD

Numbers 11 in the MNG

Numbers 11 in the MNT

Numbers 11 in the MNT2

Numbers 11 in the MRS1T

Numbers 11 in the NAA

Numbers 11 in the NASB

Numbers 11 in the NBLA

Numbers 11 in the NBS

Numbers 11 in the NBVTP

Numbers 11 in the NET2

Numbers 11 in the NIV11

Numbers 11 in the NNT

Numbers 11 in the NNT2

Numbers 11 in the NNT3

Numbers 11 in the PDDPT

Numbers 11 in the PFNT

Numbers 11 in the RMNT

Numbers 11 in the SBIAS

Numbers 11 in the SBIBS

Numbers 11 in the SBIBS2

Numbers 11 in the SBICS

Numbers 11 in the SBIDS

Numbers 11 in the SBIGS

Numbers 11 in the SBIHS

Numbers 11 in the SBIIS

Numbers 11 in the SBIIS2

Numbers 11 in the SBIIS3

Numbers 11 in the SBIKS

Numbers 11 in the SBIKS2

Numbers 11 in the SBIMS

Numbers 11 in the SBIOS

Numbers 11 in the SBIPS

Numbers 11 in the SBISS

Numbers 11 in the SBITS

Numbers 11 in the SBITS2

Numbers 11 in the SBITS3

Numbers 11 in the SBITS4

Numbers 11 in the SBIUS

Numbers 11 in the SBIVS

Numbers 11 in the SBT

Numbers 11 in the SBT1E

Numbers 11 in the SCHL

Numbers 11 in the SNT

Numbers 11 in the SUSU

Numbers 11 in the SUSU2

Numbers 11 in the SYNO

Numbers 11 in the TBIAOTANT

Numbers 11 in the TBT1E

Numbers 11 in the TBT1E2

Numbers 11 in the TFTIP

Numbers 11 in the TFTU

Numbers 11 in the TGNTATF3T

Numbers 11 in the THAI

Numbers 11 in the TNFD

Numbers 11 in the TNT

Numbers 11 in the TNTIK

Numbers 11 in the TNTIL

Numbers 11 in the TNTIN

Numbers 11 in the TNTIP

Numbers 11 in the TNTIZ

Numbers 11 in the TOMA

Numbers 11 in the TTENT

Numbers 11 in the UBG

Numbers 11 in the UGV

Numbers 11 in the UGV2

Numbers 11 in the UGV3

Numbers 11 in the VBL

Numbers 11 in the VDCC

Numbers 11 in the YALU

Numbers 11 in the YAPE

Numbers 11 in the YBVTP

Numbers 11 in the ZBP