Numbers 16 (BOLCB)

1 Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula 2 ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu. 3 Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne MUKAMA Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba MUKAMA?” 4 Musa bwe yakiwulira n’avuunama wansi. 5 N’alyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya MUKAMA Katonda anaalondamu ababe, n’oyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gy’ali. Oyo gw’anaalonda gw’anaasembeza gy’ali. 6 Gwe Koola n’abagoberezi bo bonna mukole bwe muti: Muddire ebyoterezo, 7 enkya mubiteekemu omuliro n’obubaane awali MUKAMA, oyo MUKAMA Katonda gw’anaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!” 8 Musa n’agamba Koola nti, “Muwulirize, mmwe batabani ba Leevi! 9 Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa MUKAMA mu Weema ya MUKAMA, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza? 10 Mmwe ne Baleevi bannammwe MUKAMA Katonda yabasembeza gy’ali, kaakano mwagala n’obwakabona nabwo mubulye? 11 Noolwekyo mmwe n’abagoberezi bammwe, mwesimbye ku MUKAMA Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?” 12 Awo Musa n’atumya Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu bayitibwe bajje. Naye ne bagamba nti, “Tetujja kujja! 13 Eky’okutuggya mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki okututtira mu ddungu, kyali kitono nga tekimala? Ne kaakano oyagala okutwefuulirako omulangira otufuge? 14 Ng’ebyo bikyali awo, totuleese mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, wadde okutusikiza amasamba n’ennimiro z’emizabbibu. Abasajja bano oyagala obasibe kantuntunu ku maaso obalimberimbe? Nedda, tetujja kujja.” 15 Awo Musa n’asunguwala nnyo n’agamba MUKAMA Katonda nti, “Ekiweebwayo kyabwe tokikkiriza. Tewaliiwo gwe nnali ntutteko wadde akalogoyi akamu, so tewali n’omu ku bo gwe nnali mpisizza obubi.” 16 Musa n’agamba Koola nti, “Ggwe n’abo bonna abakugoberera, enkya mujje awali MUKAMA Katonda, ggwe nabo ne Alooni. 17 Buli musajja ajje n’ekyoterezo kye akiteekemu obubaane, ebyoterezo bijja kuwera ebikumi bibiri mu ataano, mubireete awali MUKAMA. Ggwe ne Alooni nammwe mujja kuleeta ebyoterezo byammwe.” 18 Awo buli musajja n’addira ekyoterezo kye n’akissaamu obubaane n’omuliro, bonna ne bayimirira ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 19 Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya MUKAMA Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye. 20 MUKAMA Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 21 “Mweyawuleko muve mu kibiina kino ndyoke nkizikirize embagirawo.” 22 Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?” 23 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 24 “Muve okumpi n’eweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.” 25 Awo Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu, n’abakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera. 26 N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.” 27 Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto. 28 Awo Musa n’agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga MUKAMA Katonda y’antumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange. 29 Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti MUKAMA si y’antumye. 30 Naye singa MUKAMA Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde MUKAMA Katonda.” 31 Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri, 32 ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna. 33 Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. 34 Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!” 35 Olwo omuliro ne gujja nga guva eri MUKAMA ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane. 36 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 37 “Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye ebyoterezo mu muliro, kubanga bitukuvu, amanda ag’omuliro agasaasaanyize wala. 38 Ebyoterezo ebyo bya basajja abaayonoona era n’okufa ne bafa; noolwekyo biweesebwemu amasowaane gakozesebwenga ng’ebibikka ku kyoto kubanga baabiwaayo eri MUKAMA Katonda; noolwekyo bitukuvu. Kale binaabanga kabonero ka kijjukizo eri abaana ba Isirayiri.” 39 Bw’atyo Eriyazaali kabona n’addira ebyoterezo eby’ekikomo, ebyali biweereddwayo bali abaayokebwa, ne biweesebwamu ebibikka ku kyoto, 40 kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri MUKAMA, si kulwa ng’afuuka nga Koola n’ekibiina kye. Eriyazaali bw’atyo bwe yabikola byonna ng’ekiragiro kya MUKAMA Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa. 41 Naye enkeera ekibiina kyonna eby’abaana ba Isirayiri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, nga bagamba nti, “Musse abantu ba MUKAMA Katonda.” 42 Kyokka ekibiina ky’abantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka n’ekitiibwa kya MUKAMA Katonda ne kyeyoleka. 43 Musa ne Alooni ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, 44 MUKAMA n’agamba Musa nti, 45 “Muve mu bantu bano ndyoke mbazikirize embagirawo.” Ne bavuunama wansi. 46 Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, n’omuliro ng’oguggya mu kyoto kya MUKAMA, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri MUKAMA Katonda era kawumpuli atandise.” 47 Alooni n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’adduka n’agenda wakati mu kibiina. Yasanga kawumpuli yatandise dda mu bantu, naye Alooni n’awaayo eri MUKAMA Katonda obubaane okubatangiririra; 48 n’ayimirira wakati w’abafu n’abalamu, kawumpuli n’aziyizibwa. 49 Bwe kityo abantu abaafa kawumpuli baawera omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, nga bali abaafa olw’emitawaana gya Koola tobataddeeko. 50 Alooni n’akomawo eri Musa mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga kawumpuli amaze okuziyizibwa.

In Other Versions

Numbers 16 in the ANGEFD

Numbers 16 in the ANTPNG2D

Numbers 16 in the AS21

Numbers 16 in the BAGH

Numbers 16 in the BBPNG

Numbers 16 in the BBT1E

Numbers 16 in the BDS

Numbers 16 in the BEV

Numbers 16 in the BHAD

Numbers 16 in the BIB

Numbers 16 in the BLPT

Numbers 16 in the BNT

Numbers 16 in the BNTABOOT

Numbers 16 in the BNTLV

Numbers 16 in the BOATCB

Numbers 16 in the BOATCB2

Numbers 16 in the BOBCV

Numbers 16 in the BOCNT

Numbers 16 in the BOECS

Numbers 16 in the BOGWICC

Numbers 16 in the BOHCB

Numbers 16 in the BOHCV

Numbers 16 in the BOHLNT

Numbers 16 in the BOHNTLTAL

Numbers 16 in the BOICB

Numbers 16 in the BOILNTAP

Numbers 16 in the BOITCV

Numbers 16 in the BOKCV

Numbers 16 in the BOKCV2

Numbers 16 in the BOKHWOG

Numbers 16 in the BOKSSV

Numbers 16 in the BOLCB2

Numbers 16 in the BOMCV

Numbers 16 in the BONAV

Numbers 16 in the BONCB

Numbers 16 in the BONLT

Numbers 16 in the BONUT2

Numbers 16 in the BOPLNT

Numbers 16 in the BOSCB

Numbers 16 in the BOSNC

Numbers 16 in the BOTLNT

Numbers 16 in the BOVCB

Numbers 16 in the BOYCB

Numbers 16 in the BPBB

Numbers 16 in the BPH

Numbers 16 in the BSB

Numbers 16 in the CCB

Numbers 16 in the CUV

Numbers 16 in the CUVS

Numbers 16 in the DBT

Numbers 16 in the DGDNT

Numbers 16 in the DHNT

Numbers 16 in the DNT

Numbers 16 in the ELBE

Numbers 16 in the EMTV

Numbers 16 in the ESV

Numbers 16 in the FBV

Numbers 16 in the FEB

Numbers 16 in the GGMNT

Numbers 16 in the GNT

Numbers 16 in the HARY

Numbers 16 in the HNT

Numbers 16 in the IRVA

Numbers 16 in the IRVB

Numbers 16 in the IRVG

Numbers 16 in the IRVH

Numbers 16 in the IRVK

Numbers 16 in the IRVM

Numbers 16 in the IRVM2

Numbers 16 in the IRVO

Numbers 16 in the IRVP

Numbers 16 in the IRVT

Numbers 16 in the IRVT2

Numbers 16 in the IRVU

Numbers 16 in the ISVN

Numbers 16 in the JSNT

Numbers 16 in the KAPI

Numbers 16 in the KBT1ETNIK

Numbers 16 in the KBV

Numbers 16 in the KJV

Numbers 16 in the KNFD

Numbers 16 in the LBA

Numbers 16 in the LBLA

Numbers 16 in the LNT

Numbers 16 in the LSV

Numbers 16 in the MAAL

Numbers 16 in the MBV

Numbers 16 in the MBV2

Numbers 16 in the MHNT

Numbers 16 in the MKNFD

Numbers 16 in the MNG

Numbers 16 in the MNT

Numbers 16 in the MNT2

Numbers 16 in the MRS1T

Numbers 16 in the NAA

Numbers 16 in the NASB

Numbers 16 in the NBLA

Numbers 16 in the NBS

Numbers 16 in the NBVTP

Numbers 16 in the NET2

Numbers 16 in the NIV11

Numbers 16 in the NNT

Numbers 16 in the NNT2

Numbers 16 in the NNT3

Numbers 16 in the PDDPT

Numbers 16 in the PFNT

Numbers 16 in the RMNT

Numbers 16 in the SBIAS

Numbers 16 in the SBIBS

Numbers 16 in the SBIBS2

Numbers 16 in the SBICS

Numbers 16 in the SBIDS

Numbers 16 in the SBIGS

Numbers 16 in the SBIHS

Numbers 16 in the SBIIS

Numbers 16 in the SBIIS2

Numbers 16 in the SBIIS3

Numbers 16 in the SBIKS

Numbers 16 in the SBIKS2

Numbers 16 in the SBIMS

Numbers 16 in the SBIOS

Numbers 16 in the SBIPS

Numbers 16 in the SBISS

Numbers 16 in the SBITS

Numbers 16 in the SBITS2

Numbers 16 in the SBITS3

Numbers 16 in the SBITS4

Numbers 16 in the SBIUS

Numbers 16 in the SBIVS

Numbers 16 in the SBT

Numbers 16 in the SBT1E

Numbers 16 in the SCHL

Numbers 16 in the SNT

Numbers 16 in the SUSU

Numbers 16 in the SUSU2

Numbers 16 in the SYNO

Numbers 16 in the TBIAOTANT

Numbers 16 in the TBT1E

Numbers 16 in the TBT1E2

Numbers 16 in the TFTIP

Numbers 16 in the TFTU

Numbers 16 in the TGNTATF3T

Numbers 16 in the THAI

Numbers 16 in the TNFD

Numbers 16 in the TNT

Numbers 16 in the TNTIK

Numbers 16 in the TNTIL

Numbers 16 in the TNTIN

Numbers 16 in the TNTIP

Numbers 16 in the TNTIZ

Numbers 16 in the TOMA

Numbers 16 in the TTENT

Numbers 16 in the UBG

Numbers 16 in the UGV

Numbers 16 in the UGV2

Numbers 16 in the UGV3

Numbers 16 in the VBL

Numbers 16 in the VDCC

Numbers 16 in the YALU

Numbers 16 in the YAPE

Numbers 16 in the YBVTP

Numbers 16 in the ZBP