Numbers 22 (BOLCB)

1 Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. 2 Balaki mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli. 3 Mowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira. 4 Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo, 5 n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana. 6 Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.” 7 Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma. 8 Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo MUKAMA ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu. 9 Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10 Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, 11 ‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ” 12 Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.” 13 Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga MUKAMA Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.” 14 Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.” 15 Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka. 16 Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti,“Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi; 17 kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ” 18 Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya MUKAMA Katonda wange. 19 Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire MUKAMA Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.” 20 Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.” 21 Balamu n’agolokoka mu makya, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda n’abakungu ba Mowaabu. 22 Naye Katonda n’asunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa MUKAMA Katonda n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye. 23 Endogoyi n’eraba malayika wa MUKAMA Katonda ng’ayimiridde mu kkubo, n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi n’ekyama n’eva mu kkubo n’eraga mu nnimiro. Balamu n’agikuba agizze mu kkubo. 24 Malayika wa MUKAMA Katonda n’ayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati w’ennimiro z’emizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi. 25 Endogoyi bwe yalaba malayika wa MUKAMA Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, n’ebetenterako ekigere kya Balamu. N’ayongera okugikuba. 26 Malayika wa MUKAMA Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, n’ayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. 27 Endogoyi bwe yalaba malayika wa MUKAMA Katonda n’egalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n’akuba endogoyi n’omuggo gwe. 28 Awo MUKAMA Katonda n’ayasamya akamwa k’endogoyi, n’egamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?” 29 Balamu n’agamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde n’ekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.” 30 Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.” 31 Awo MUKAMA Katonda n’alyoka azibula amaaso ga Balamu, n’alaba malayika wa MUKAMA ng’ayimiridde wakati mu kkubo n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. N’awunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi n’avuunama. 32 Malayika wa MUKAMA Katonda n’amugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte terinsanyusa. 33 Endogoyi yandabye n’enneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.” 34 Balamu n’agamba malayika wa MUKAMA Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.” 35 Malayika wa MUKAMA Katonda n’agamba Balamu nti, “Genda n’abasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka by’oba oyogera.” Bw’atyo Balamu n’agenda n’abakungu ba Balaki. 36 Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, n’afuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero y’amatwale ge. 37 Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?” 38 Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.” 39 Bw’atyo Balamu n’agenda ne Balaki ne bajja e Kiriasikuzosi. 40 Balaki n’awaayo ekiweebwayo eky’ente n’endiga, n’aweerezaako ne ku Balamu n’abakungu abaali naye. 41 Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali, n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi.

In Other Versions

Numbers 22 in the ANGEFD

Numbers 22 in the ANTPNG2D

Numbers 22 in the AS21

Numbers 22 in the BAGH

Numbers 22 in the BBPNG

Numbers 22 in the BBT1E

Numbers 22 in the BDS

Numbers 22 in the BEV

Numbers 22 in the BHAD

Numbers 22 in the BIB

Numbers 22 in the BLPT

Numbers 22 in the BNT

Numbers 22 in the BNTABOOT

Numbers 22 in the BNTLV

Numbers 22 in the BOATCB

Numbers 22 in the BOATCB2

Numbers 22 in the BOBCV

Numbers 22 in the BOCNT

Numbers 22 in the BOECS

Numbers 22 in the BOGWICC

Numbers 22 in the BOHCB

Numbers 22 in the BOHCV

Numbers 22 in the BOHLNT

Numbers 22 in the BOHNTLTAL

Numbers 22 in the BOICB

Numbers 22 in the BOILNTAP

Numbers 22 in the BOITCV

Numbers 22 in the BOKCV

Numbers 22 in the BOKCV2

Numbers 22 in the BOKHWOG

Numbers 22 in the BOKSSV

Numbers 22 in the BOLCB2

Numbers 22 in the BOMCV

Numbers 22 in the BONAV

Numbers 22 in the BONCB

Numbers 22 in the BONLT

Numbers 22 in the BONUT2

Numbers 22 in the BOPLNT

Numbers 22 in the BOSCB

Numbers 22 in the BOSNC

Numbers 22 in the BOTLNT

Numbers 22 in the BOVCB

Numbers 22 in the BOYCB

Numbers 22 in the BPBB

Numbers 22 in the BPH

Numbers 22 in the BSB

Numbers 22 in the CCB

Numbers 22 in the CUV

Numbers 22 in the CUVS

Numbers 22 in the DBT

Numbers 22 in the DGDNT

Numbers 22 in the DHNT

Numbers 22 in the DNT

Numbers 22 in the ELBE

Numbers 22 in the EMTV

Numbers 22 in the ESV

Numbers 22 in the FBV

Numbers 22 in the FEB

Numbers 22 in the GGMNT

Numbers 22 in the GNT

Numbers 22 in the HARY

Numbers 22 in the HNT

Numbers 22 in the IRVA

Numbers 22 in the IRVB

Numbers 22 in the IRVG

Numbers 22 in the IRVH

Numbers 22 in the IRVK

Numbers 22 in the IRVM

Numbers 22 in the IRVM2

Numbers 22 in the IRVO

Numbers 22 in the IRVP

Numbers 22 in the IRVT

Numbers 22 in the IRVT2

Numbers 22 in the IRVU

Numbers 22 in the ISVN

Numbers 22 in the JSNT

Numbers 22 in the KAPI

Numbers 22 in the KBT1ETNIK

Numbers 22 in the KBV

Numbers 22 in the KJV

Numbers 22 in the KNFD

Numbers 22 in the LBA

Numbers 22 in the LBLA

Numbers 22 in the LNT

Numbers 22 in the LSV

Numbers 22 in the MAAL

Numbers 22 in the MBV

Numbers 22 in the MBV2

Numbers 22 in the MHNT

Numbers 22 in the MKNFD

Numbers 22 in the MNG

Numbers 22 in the MNT

Numbers 22 in the MNT2

Numbers 22 in the MRS1T

Numbers 22 in the NAA

Numbers 22 in the NASB

Numbers 22 in the NBLA

Numbers 22 in the NBS

Numbers 22 in the NBVTP

Numbers 22 in the NET2

Numbers 22 in the NIV11

Numbers 22 in the NNT

Numbers 22 in the NNT2

Numbers 22 in the NNT3

Numbers 22 in the PDDPT

Numbers 22 in the PFNT

Numbers 22 in the RMNT

Numbers 22 in the SBIAS

Numbers 22 in the SBIBS

Numbers 22 in the SBIBS2

Numbers 22 in the SBICS

Numbers 22 in the SBIDS

Numbers 22 in the SBIGS

Numbers 22 in the SBIHS

Numbers 22 in the SBIIS

Numbers 22 in the SBIIS2

Numbers 22 in the SBIIS3

Numbers 22 in the SBIKS

Numbers 22 in the SBIKS2

Numbers 22 in the SBIMS

Numbers 22 in the SBIOS

Numbers 22 in the SBIPS

Numbers 22 in the SBISS

Numbers 22 in the SBITS

Numbers 22 in the SBITS2

Numbers 22 in the SBITS3

Numbers 22 in the SBITS4

Numbers 22 in the SBIUS

Numbers 22 in the SBIVS

Numbers 22 in the SBT

Numbers 22 in the SBT1E

Numbers 22 in the SCHL

Numbers 22 in the SNT

Numbers 22 in the SUSU

Numbers 22 in the SUSU2

Numbers 22 in the SYNO

Numbers 22 in the TBIAOTANT

Numbers 22 in the TBT1E

Numbers 22 in the TBT1E2

Numbers 22 in the TFTIP

Numbers 22 in the TFTU

Numbers 22 in the TGNTATF3T

Numbers 22 in the THAI

Numbers 22 in the TNFD

Numbers 22 in the TNT

Numbers 22 in the TNTIK

Numbers 22 in the TNTIL

Numbers 22 in the TNTIN

Numbers 22 in the TNTIP

Numbers 22 in the TNTIZ

Numbers 22 in the TOMA

Numbers 22 in the TTENT

Numbers 22 in the UBG

Numbers 22 in the UGV

Numbers 22 in the UGV2

Numbers 22 in the UGV3

Numbers 22 in the VBL

Numbers 22 in the VDCC

Numbers 22 in the YALU

Numbers 22 in the YAPE

Numbers 22 in the YBVTP

Numbers 22 in the ZBP