Numbers 31 (BOLCB)
1 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Woolera eggwanga ly’abaana ba Isirayiri ku Bamidiyaani, oluvannyuma olyoke ogende abantu bo bonna gye balaga.” 3 Awo Musa n’agamba abantu nti, “Muyungule okuva mu mmwe abasajja abalwanyi mubawe ebyokulwanyisa, beetegekere olutalo, batabaale Midiyaani bawoolere eggwanga lya MUKAMA Katonda ku Midiyaani. 4 Mu buli kika kya Isirayiri mujja kuggyamu abasajja lukumi abanaagenda okutabaala.” 5 Awo ne baleeta okuva ku nkumi za Isirayiri abasajja lukumi okuva mu buli kika be balwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri abeetegekera olutabaalo. 6 Musa n’abasindika mu lutalo, abalwanyi lukumi nga bava mu buli kika; ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’ebintu by’omu watukuvu n’amakondeere ag’okulwana ng’ali nago. 7 Ne batabaala Midiyaani nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa, ne batta buli musajja. 8 Mu battibwa mwe mwagendera ne bakabaka ba Midiyaani bano abataano: Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba. Balamu mutabani wa Byoli naye baamuttiramu n’ekitala. 9 Abaana ba Isirayiri ne bawamba abakazi ba Midiyaani n’abaana baabwe, ne banyaga ente n’ebisibo byabwe n’ebintu ebirala bingi. 10 Baayokya ebibuga by’Abamidiyaani mwe baabeeranga, awamu n’ensiisira zaabwe zonna. 11 Baatwala omunyago gwonna, nga mulimu n’abantu n’ensolo; 12 ne babireeta awali Musa ne Eriyazaali kabona n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri mu lusiisira lwabwe olwali mu nsenyi za Mowaabu eziri ku mugga Yoludaani okutunuulira emitala wa Yeriko. 13 Musa ne Eriyazaali kabona n’abakulembeze mu kibiina bonna ne bagenda okusisinkana abatabaazi ebweru w’olusiisira. 14 Musa n’anyiigira abakulembeze b’eggye, abaduumizi b’ebikumi n’abaduumizi b’enkumi abaakomawo nga bava mu lutabaalo. 15 Musa n’ababuuza nti, “Abakazi bonna temubasse? 16 Mumanyi nga be baaleetera abaana ba Isirayiri okujeemera MUKAMA Katonda e Peoli bwe baakolera ku magezi Balamu ge yabawanga, kawumpuli amale alumbe ekibiina kya MUKAMA. 17 Kale nno mutte buli mulenzi mu baana abato, era mutte na buli mukazi eyali yeegasseeko n’omusajja. 18 Naye abawala abato abatamanyanga musajja, mubeeterekere. 19 “Musiisire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli omu mu mmwe eyatta omuntu yenna, n’oyo eyakwatako ku gwe basse, mwetukuze awamu n’abanyage bammwe ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu. 20 Mutukuze buli kyambalo ne buli kintu ekyakolebwa mu maliba, oba mu bwoya bw’embuzi oba mu muti.” 21 Awo Eriyazaali kabona n’agamba abasajja abaatabaala nti, “Lino lye tteeka MUKAMA Katonda ly’alagidde Musa: 22 Zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo, n’ekyuma, n’ebbaati, n’essasi 23 n’ekirala kyonna ekigumira omuliro mukiyise mu muliro kiryoke kibeere ekirongoofu. Naye era kisaana okulongoosebwa n’amazzi agalongoosa. Ebyo byonna ebitaasobole kuyita mu muliro biyisibwe mu mazzi ago. 24 Ku lunaku olw’omusanvu mwozanga engoye zammwe, mulyoke mubeere abalongoofu. Ebyo nga biwedde mulyoke muyingire mu lusiisira.” 25 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 26 “Ggwe ne Eriyazaali kabona, n’abakulembeze b’empya ez’omu kibiina mubale obungi bw’omunyago ogwaleetebwa omuli abantu n’ebisolo. 27 Omunyago gugabanyeemu mu bitundu bibiri: eky’abatabaazi abaalwana olutalo n’ekyabaasigala mu kibiina. 28 Munaggya ku basajja abaatabaala ekitundu kimu ku buli bikumi bitaano, nga gwe musolo gwa MUKAMA Katonda, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi. 29 Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu ekya wakati ekinaagabanibwa abatabaazi mukiwe Eriyazaali kabona nga kye kitundu kya MUKAMA Katonda. 30 Ku munyago gw’abaana ba Isirayiri abasigaddewo munaggyako ekitundu kimu ku bitundu ataano, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi oba ensolo endala zonna. Ebyo mujja kubiwa Abaleevi, abalabirira Weema ya MUKAMA.” 31 Bwe batyo Musa ne Eriyazaali bwe baakola, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 32 Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano (675,000). 33 Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000). 34 Endogoyi, emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000), 35 n’abakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000). 36 Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago eky’abo abaatabaala kyali bwe kiti: Endiga, obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500); 37 ku ezo kwaliko ez’omusolo gwa MUKAMA Katonda lukaaga mu nsavu mu ttaano (675). 38 Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ng’ez’omusolo gwa MUKAMA Katonda nsanvu mu bbiri (72). 39 Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500), ng’ez’omusolo gwa MUKAMA Katonda zaali nkaaga mu emu (61). 40 Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ng’ab’omusolo gwa MUKAMA Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32). 41 Omusolo gwa MUKAMA, Musa n’aguwa Eriyazaali kabona, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 42 Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago ogwaweebwa abaana ba Isirayiri nga Musa amaze okuggyako ogw’abatabaazi abaalwana mu lutalo, 43 ekitundu ekyo kyali bwe kiti: Endiga, emitwalo asatu mu esatu mu bitaano (337,500); 44 Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000); 45 Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500); 46 n’abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000). 47 Ekitundu eky’omugabo eky’abaana ba Isirayiri, Musa n’aggyako ekitundu kimu ku buli bitundu ataano byombi eby’abantu n’eby’ebisolo, n’abiwa Abaleevi abaalabiriranga Weema ya MUKAMA, nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 48 Awo abakulembeze b’ebibinja mu ggye abaaduumiranga ebikumi n’abaaduumiranga enkumi, ne bajja eri Musa, 49 ne bamugamba nti, “Abaweereza bo tubaze abatabaazi bonna be tutwala, nga tewaliiwo n’omu abulawo. 50 Noolwekyo tuleetedde MUKAMA Katonda ekiweebwayo nga kya bintu ebya zaabu buli omu ku ffe bye yanyaga; mwe muli ebikomo eby’oku mikono, emikuufu egy’oku magulu, empeta z’oku ngalo n’empeta ez’omu matu n’obutiiti obw’omu bulago, twetangiririre mu maaso ga MUKAMA Katonda.” 51 Musa ne Eriyazaali kabona, ne bakkiriza ebyaleetebwa omwali zaabu n’ebyomuwendo ebirala byonna. 52 Zaabu yenna abaduumizi b’enkumi, n’abaduumizi b’ebikumi gwe baleeta eri Musa ne Eriyazaali kabona, okuwaayo eri MUKAMA Katonda, yali apima obuzito bwa kilo kikumi mu kyenda. 53 Buli mutabaazi yali yeenyagiddeyo ebintu ebibye ku bubwe. 54 Awo Musa ne Eriyazaali kabona ne baddira zaabu eyaleetebwa abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi, ne bamuleeta mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okubeeranga ekijjukizo eri abaana ba Isirayiri mu maaso ga MUKAMA Katonda.