Numbers 35 (BOLCB)

1 Awo abaana ba Isirayiri bwe baali nga basiisidde mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani, okwolekera Yeriko, MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Lagira abaana ba Isirayiri nti bawanga Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu, nga babiggya mu butaka bwabwe bwe baligabana obw’enkalakkalira. Era babaweerangako n’amalundiro okwetooloola ebibuga ebyo. 3 Kale, olwo balibeera n’ebibuga ebyokusulangamu, n’amalundiro ag’ente zaabwe n’endiga zaabwe, awamu n’ensolo zaabwe endala ezirundibwa. 4 “Amalundiro aganaaweebwanga Abaleevi ab’omu bibuga ebyo ganaapimwanga obugazi okuva ku bbugwe w’ekibuga mita ebikumi bina mu ataano. 5 Amalundiro ago ganaapimanga obuwanvu bwa mita lwenda ku ludda olw’ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw’ebugwanjuba, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikakkono, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikaddyo, ng’ekibuga kiri wakati. Ago ge ganaabanga amalundiro gaabo ab’omu kibuga. 6 “Ku bibuga bye muligabira Abaleevi kugenda kubeerako ebibuga mukaaga eby’okuddukirangamu, omuntu asse omuntu nga tagenderedde. Okwo mulyoke mwongereko ebibuga amakumi ana mu bibiri. 7 Okutwalira awamu muliteekwa okugabira Abaleevi ebibuga amakumi ana mu munaana, mubagattireko n’amalundiro. 8 Omuwendo gw’ebibuga bye muligabira Abaleevi gulyesigamizibwa ku bunene n’obutono obwa buli busika obw’abaana ba Isirayiri. Ab’obusika obunene muliwaayo ebibuga bingi, n’ab’obusika obutono muliwaayo ebibuga bitono.” 9 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 10 “Yogera eri abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi y’e Kanani, 11 mweronderangamu ebibuga ebinaabanga ebibuga byammwe eby’okuddukirangamu; ng’omwo omuntu asse omuntu nga tagenderedde mw’anaddukiranga. 12 Bye binaabanga ebifo eby’obuddukiro okwewala omuwoolezi w’eggwanga, omuntu ateeberezebwa okuba omutemu alemenga okuttibwa nga tasoose kuwozesebwa mu maaso g’ekibiina. 13 Ebibuga ebyo omukaaga bye mugenda okuwaayo bye binaabanga ebibuga byammwe eby’obuddukiro. 14 Mugenda kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, n’ebibuga bisatu mu Kanani, okubeeranga ebibuga eby’obuddukiro. 15 Abaana ba Isirayiri n’abagenyi bammwe, n’abagwira abanaabeeranga mu mmwe, mwenna munaddukiranga mu bibuga ebyo omukaaga. Kwe kugamba nti omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde anaddukiranga omwo.’ 16 “ ‘Omuntu bw’anaakubanga omuntu n’ekyuma n’amutta, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. 17 Era omuntu bw’anaabanga akutte ejjinja mu ngalo ze, n’akuba munne n’ejjinja eryo, omutemu anattirwanga ddala. 18 Oba omuntu bw’anaabanga akutte ekyokulwanyisa eky’omuti mu ngalo ze, ekiyinza okutta omuntu, n’akikubisa munne, munne n’afa, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. 19 Omuwoolezi w’eggwanga yennyini y’anattanga omutemu; bw’anaamusisinkananga anaamuttanga. 20 Omuntu bw’anaabangako ekiruyi ku munne n’amufumita ng’akigenderedde, olw’obukyayi, oba n’amwekwekerera n’amukasuukirira ekintu ne kimukuba ne kimutta, 21 oba olw’obulabe bw’amulinako n’amukuba ekikonde, munne n’afa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi w’eggwanga y’anattanga omutemu oyo ng’amusisinkanye. 22 “ ‘Singa omuntu afumita munne mangwago, gw’atalinaako bulabe, oba n’akasuka ekintu nga tagenderedde ne kimukuba, 23 oba n’ayiringisa ejjinja, eriyinza okutta omuntu, ne limugwako nga tamulabye, n’afa; olwokubanga teyali mulabe we, era nga yali tagenderedde kumulumya; 24 kale, olukiiko lw’ekibiina lunaasalangawo wakati we n’omuwoolezi w’eggwanga, nga lugoberera amateeka gano nga bwe gali. 25 Omussi oyo olukiiko lw’ekibiina lunaamuwonyanga omuwoolezi w’eggwanga, ne lumuleka n’abeeranga mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa Kabona Omukulu eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni amatukuvu ng’amaze okufa. 26 “ ‘Naye omussi oyo bwe kanaamutandanga n’afulumako mu kibuga kye eky’obuddukiro mwe yaddukira, 27 omuwoolezi w’eggwanga n’amala amusanga ebweru w’ekibuga ekyo, n’amutta, omuwoolezi w’eggwanga taabengako musango gwa butemu. 28 Kubanga omussi oyo kinaamusaaniranga okubeera mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa nga Kabona Omukulu amaze okufa. Kabona Omukulu anaamalanga kufa, omussi oyo n’addayo ewuwe mu bintu bye eby’obutaka. 29 “ ‘Gano ganaabeeranga mateeka gammwe ge munaakwatanga mu mirembe gyammwe gyonna ne buli we munaabeeranga. 30 Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka. 31 “ ‘Temukkirizanga mutango olw’okununula omussi asingiddwa omusango ogw’obutemu n’asalirwa okuttibwa; anaateekwanga okuttibwa. 32 “ ‘Temukkirizanga mutango ogw’okununula omussi abeera mu kibuga eky’obuddukiro, alyoke aveeyo addeyo ewuwe nga Kabona Omukulu tannaba kufa. 33 “ ‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ng’etangiririrwa n’omusaayi gw’oyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo. 34 Temwonoonanga nsi mwe mubeera nange mwe mbeera, kubanga Nze, MUKAMA Katonda, mbeera wakati mu baana ba Isirayiri.’ ”

In Other Versions

Numbers 35 in the ANGEFD

Numbers 35 in the ANTPNG2D

Numbers 35 in the AS21

Numbers 35 in the BAGH

Numbers 35 in the BBPNG

Numbers 35 in the BBT1E

Numbers 35 in the BDS

Numbers 35 in the BEV

Numbers 35 in the BHAD

Numbers 35 in the BIB

Numbers 35 in the BLPT

Numbers 35 in the BNT

Numbers 35 in the BNTABOOT

Numbers 35 in the BNTLV

Numbers 35 in the BOATCB

Numbers 35 in the BOATCB2

Numbers 35 in the BOBCV

Numbers 35 in the BOCNT

Numbers 35 in the BOECS

Numbers 35 in the BOGWICC

Numbers 35 in the BOHCB

Numbers 35 in the BOHCV

Numbers 35 in the BOHLNT

Numbers 35 in the BOHNTLTAL

Numbers 35 in the BOICB

Numbers 35 in the BOILNTAP

Numbers 35 in the BOITCV

Numbers 35 in the BOKCV

Numbers 35 in the BOKCV2

Numbers 35 in the BOKHWOG

Numbers 35 in the BOKSSV

Numbers 35 in the BOLCB2

Numbers 35 in the BOMCV

Numbers 35 in the BONAV

Numbers 35 in the BONCB

Numbers 35 in the BONLT

Numbers 35 in the BONUT2

Numbers 35 in the BOPLNT

Numbers 35 in the BOSCB

Numbers 35 in the BOSNC

Numbers 35 in the BOTLNT

Numbers 35 in the BOVCB

Numbers 35 in the BOYCB

Numbers 35 in the BPBB

Numbers 35 in the BPH

Numbers 35 in the BSB

Numbers 35 in the CCB

Numbers 35 in the CUV

Numbers 35 in the CUVS

Numbers 35 in the DBT

Numbers 35 in the DGDNT

Numbers 35 in the DHNT

Numbers 35 in the DNT

Numbers 35 in the ELBE

Numbers 35 in the EMTV

Numbers 35 in the ESV

Numbers 35 in the FBV

Numbers 35 in the FEB

Numbers 35 in the GGMNT

Numbers 35 in the GNT

Numbers 35 in the HARY

Numbers 35 in the HNT

Numbers 35 in the IRVA

Numbers 35 in the IRVB

Numbers 35 in the IRVG

Numbers 35 in the IRVH

Numbers 35 in the IRVK

Numbers 35 in the IRVM

Numbers 35 in the IRVM2

Numbers 35 in the IRVO

Numbers 35 in the IRVP

Numbers 35 in the IRVT

Numbers 35 in the IRVT2

Numbers 35 in the IRVU

Numbers 35 in the ISVN

Numbers 35 in the JSNT

Numbers 35 in the KAPI

Numbers 35 in the KBT1ETNIK

Numbers 35 in the KBV

Numbers 35 in the KJV

Numbers 35 in the KNFD

Numbers 35 in the LBA

Numbers 35 in the LBLA

Numbers 35 in the LNT

Numbers 35 in the LSV

Numbers 35 in the MAAL

Numbers 35 in the MBV

Numbers 35 in the MBV2

Numbers 35 in the MHNT

Numbers 35 in the MKNFD

Numbers 35 in the MNG

Numbers 35 in the MNT

Numbers 35 in the MNT2

Numbers 35 in the MRS1T

Numbers 35 in the NAA

Numbers 35 in the NASB

Numbers 35 in the NBLA

Numbers 35 in the NBS

Numbers 35 in the NBVTP

Numbers 35 in the NET2

Numbers 35 in the NIV11

Numbers 35 in the NNT

Numbers 35 in the NNT2

Numbers 35 in the NNT3

Numbers 35 in the PDDPT

Numbers 35 in the PFNT

Numbers 35 in the RMNT

Numbers 35 in the SBIAS

Numbers 35 in the SBIBS

Numbers 35 in the SBIBS2

Numbers 35 in the SBICS

Numbers 35 in the SBIDS

Numbers 35 in the SBIGS

Numbers 35 in the SBIHS

Numbers 35 in the SBIIS

Numbers 35 in the SBIIS2

Numbers 35 in the SBIIS3

Numbers 35 in the SBIKS

Numbers 35 in the SBIKS2

Numbers 35 in the SBIMS

Numbers 35 in the SBIOS

Numbers 35 in the SBIPS

Numbers 35 in the SBISS

Numbers 35 in the SBITS

Numbers 35 in the SBITS2

Numbers 35 in the SBITS3

Numbers 35 in the SBITS4

Numbers 35 in the SBIUS

Numbers 35 in the SBIVS

Numbers 35 in the SBT

Numbers 35 in the SBT1E

Numbers 35 in the SCHL

Numbers 35 in the SNT

Numbers 35 in the SUSU

Numbers 35 in the SUSU2

Numbers 35 in the SYNO

Numbers 35 in the TBIAOTANT

Numbers 35 in the TBT1E

Numbers 35 in the TBT1E2

Numbers 35 in the TFTIP

Numbers 35 in the TFTU

Numbers 35 in the TGNTATF3T

Numbers 35 in the THAI

Numbers 35 in the TNFD

Numbers 35 in the TNT

Numbers 35 in the TNTIK

Numbers 35 in the TNTIL

Numbers 35 in the TNTIN

Numbers 35 in the TNTIP

Numbers 35 in the TNTIZ

Numbers 35 in the TOMA

Numbers 35 in the TTENT

Numbers 35 in the UBG

Numbers 35 in the UGV

Numbers 35 in the UGV2

Numbers 35 in the UGV3

Numbers 35 in the VBL

Numbers 35 in the VDCC

Numbers 35 in the YALU

Numbers 35 in the YAPE

Numbers 35 in the YBVTP

Numbers 35 in the ZBP