Psalms 113 (BOLCB)
1 Mutendereze MUKAMA! Mumutendereze, mmwe abaweereza be,mutendereze erinnya lya MUKAMA. 2 Erinnya lya MUKAMA litenderezebweokuva leero n’okutuusa emirembe gyonna. 3 Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,erinnya lya MUKAMA litenderezebwenga. 4 MUKAMA agulumizibwa okusinga amawanga gonna,era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu. 5 Ani afaanana nga MUKAMA Katonda waffe,atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo, 6 ne yeetoowazaokutunuulira eggulu n’ensi? 7 Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu, 8 n’abatuuza wamu n’abalangira,awamu n’abalangira abo abafuga abantu be. 9 Omukazi omugumba amuwa abaana,n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu. Mutendereze MUKAMA!