Psalms 43 (BOLCB)
1 Ayi Katonda, onnejjeerezeomponye eggwanga eritatya Katondaondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi. 2 Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.Lwaki ondese?Lwaki ŋŋenda nkaabanga nnyigirizibwa omulabe? 3 Kale tuma omusana gwo n’amazimabinnuŋŋamye;bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,mu kifo mw’obeera. 4 Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,Ayi Katonda, Katonda wange. 5 Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?Lwaki otabusetabuse munda yange?Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,Omulokozi wange era Katonda wange.