Psalms 6 (BOLCB)
undefined Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. 1 Ayi MUKAMA, tonnenya ng’ojjudde obusungu;so tombonereza mu kiruyi kyo. 2 Onsaasire, Ayi MUKAMA, kubanga ndi munafu.Omponye, Ayi MUKAMA, kubanga amagumba gange gali mu bulumi. 3 Emmeeme yange ejjudde ennaku.Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe? 4 Onkyukire, Ayi MUKAMA, olokole omwoyo gwange;omponye okufa olw’okwagala kwo okungi. 5 Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe? 6 Mpweddemu amaanyi olw’okusinda. Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gangen’omutto ne gutoba. 7 Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange. 8 Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;kubanga MUKAMA awulidde okukaaba kwange. 9 MUKAMA awulidde okwegayirira kwange,n’okusaba kwange akukkirizza. 10 Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.