Psalms 99 (BOLCB)
1 MUKAMA afuga,amawanga gakankane;atuula wakati wa bakerubi,ensi ekankane. 2 MUKAMA mukulu mu Sayuuni;agulumizibwa mu mawanga gonna. 3 Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa. MUKAMA mutukuvu. 4 Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.Onywezezza obwenkanya;era by’okoledde Yakobo bya bwenkanyaera bituufu. 5 Mumugulumize MUKAMA Katonda waffe;mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye. MUKAMA mutukuvu. 6 Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;baasabanga MUKAMAn’abaanukula. 7 Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa. 8 Ayi MUKAMA Katonda waffe,wabaanukulanga;n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi. 9 Mugulumizenga MUKAMA Katonda waffe,mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,kubanga MUKAMA Katonda waffe mutukuvu.