1 Chronicles 26 (BOLCB)

1 Ebibinja by’Abaggazi byali: Mu Bakola,waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu. 2 Meseremiya yalina abaana aboobulenzi ngaZekkaliya ye w’olubereberye,ne Yediyayeri nga wakubiri,ne Zebadiya nga wakusatu,ne Yasuniyeri nga wakuna, 3 ne Eramu nga wakutaano,ne Yekokanani nga wamukaaga,ne Eriwenayi nga wa musanvu. 4 Obededomu naye yalina abaana aboobulenzi ngaSemaaya ye w’olubereberye,ne Yekozabadi nga wakubiri,ne Yowa nga wakusatu,ne Sakali nga wakuna,ne Nesaneeri nga wakutaano, 5 ne Ammiyeri nga wamukaaga,ne Isakaali nga wa musanvu,Pewulesayi nga wa munaana,Katonda gwe yawa omukisa. 6 Mutabani we Semaaya naye yalina abaana aboobulenzi, abaali abakulembeze mu nnyumba ya kitaabwe kubanga baali basajja bazira. 7 Batabani ba Semaaya baali Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi ne Eruzabadi, ne baganda baabwe abaayitibwanga Eriku ne Semakiya nabo baali basajja bakozi. 8 Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi ab’amaanyi olw’omulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri. 9 Meseremiya naye yalina abaana aboobulenzi, n’ab’eŋŋanda ze bonna awamu abasajja abakozi, kkumi na munaana. 10 Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu; 11 Kirukiya nga wakubiri, ne Tebaliya nga wakusatu,ne Zekkaliya nga wakuna.Batabani ba Kosa n’ab’eŋŋanda be bonna awamu baali kkumi na basatu. 12 Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya MUKAMA, ng’Abaleevi abalala bonna. 13 Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali. 14 Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya.Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi. 15 Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be. 16 Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa. Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe. 17 Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku,ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunakune ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku,ne ku ggwanika babiri babiri. 18 Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri. 19 Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali. 20 Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w’amawanika g’ennyumba ya Katonda, era n’amawanika g’ebintu ebyawongebwa. 21 Bazzukulu ba Ladani, abaali bazzukulu b’Abagerusoni mu Ladani, abaali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe nga be ba Yekyeri, 22 batabani ba Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baavunaanyizibwanga amawanika ga yeekaalu ya MUKAMA. 23 Ku Bamulaamu, ne ku Bayizukaali, ne ku Bakebbulooni, ne ku Bawuziyeeri: 24 Sebweri muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omuwanika omukulu. 25 Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be. 26 Seromosi ne baganda be, be baali abawanika b’ebintu byonna ebyawongebwa Dawudi kabaka, n’abakulu b’ennyumba, n’abaali abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi, n’abaduumizi abalala. 27 Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya MUKAMA. 28 Ne byonna ebyawongebwa Samwiri nnabbi, ne Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya byavunaanyizibwanga Seromisi n’ab’eŋŋanda ze. 29 Ku Bayizukaali,Kenaniya ne batabani be baaweebwa obuvunaanyizibwa ebweru wa yeekaalu, okuba abakungu era abalamuzi okufuganga Isirayiri. 30 Ku Bakebbulooni,Kasabiya n’ab’eŋŋanda ze abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, baavunaanyizibwanga omulimu gwonna gwa MUKAMA, n’okuweereza kabaka, ku luuyi olw’ebugwanjuba emitala wa Yoludaani mu Isirayiri. 31 Mu Bakebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, okusinziira ku byafaayo eby’okuzaalibwa okw’ennyumba zaabwe.Mu mwaka ogw’amakumi ana Dawudi nga ye kabaka, ne waba okunoonyereza mu byafaayo, era ne mulabika mu Yazeri eky’e Gireyaadi abasajja abazira ng’Abakebbulooni. 32 Yeriya yalina abasajja abazira era nga mitwe gy’ennyumba zaabwe, enkumi bbiri mu lusanvu, era kabaka Dawudi n’amufuula mulabirizi wa Balewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n’olw’ebigambo bya kabaka.

In Other Versions

1 Chronicles 26 in the ANGEFD

1 Chronicles 26 in the ANTPNG2D

1 Chronicles 26 in the AS21

1 Chronicles 26 in the BAGH

1 Chronicles 26 in the BBPNG

1 Chronicles 26 in the BBT1E

1 Chronicles 26 in the BDS

1 Chronicles 26 in the BEV

1 Chronicles 26 in the BHAD

1 Chronicles 26 in the BIB

1 Chronicles 26 in the BLPT

1 Chronicles 26 in the BNT

1 Chronicles 26 in the BNTABOOT

1 Chronicles 26 in the BNTLV

1 Chronicles 26 in the BOATCB

1 Chronicles 26 in the BOATCB2

1 Chronicles 26 in the BOBCV

1 Chronicles 26 in the BOCNT

1 Chronicles 26 in the BOECS

1 Chronicles 26 in the BOGWICC

1 Chronicles 26 in the BOHCB

1 Chronicles 26 in the BOHCV

1 Chronicles 26 in the BOHLNT

1 Chronicles 26 in the BOHNTLTAL

1 Chronicles 26 in the BOICB

1 Chronicles 26 in the BOILNTAP

1 Chronicles 26 in the BOITCV

1 Chronicles 26 in the BOKCV

1 Chronicles 26 in the BOKCV2

1 Chronicles 26 in the BOKHWOG

1 Chronicles 26 in the BOKSSV

1 Chronicles 26 in the BOLCB2

1 Chronicles 26 in the BOMCV

1 Chronicles 26 in the BONAV

1 Chronicles 26 in the BONCB

1 Chronicles 26 in the BONLT

1 Chronicles 26 in the BONUT2

1 Chronicles 26 in the BOPLNT

1 Chronicles 26 in the BOSCB

1 Chronicles 26 in the BOSNC

1 Chronicles 26 in the BOTLNT

1 Chronicles 26 in the BOVCB

1 Chronicles 26 in the BOYCB

1 Chronicles 26 in the BPBB

1 Chronicles 26 in the BPH

1 Chronicles 26 in the BSB

1 Chronicles 26 in the CCB

1 Chronicles 26 in the CUV

1 Chronicles 26 in the CUVS

1 Chronicles 26 in the DBT

1 Chronicles 26 in the DGDNT

1 Chronicles 26 in the DHNT

1 Chronicles 26 in the DNT

1 Chronicles 26 in the ELBE

1 Chronicles 26 in the EMTV

1 Chronicles 26 in the ESV

1 Chronicles 26 in the FBV

1 Chronicles 26 in the FEB

1 Chronicles 26 in the GGMNT

1 Chronicles 26 in the GNT

1 Chronicles 26 in the HARY

1 Chronicles 26 in the HNT

1 Chronicles 26 in the IRVA

1 Chronicles 26 in the IRVB

1 Chronicles 26 in the IRVG

1 Chronicles 26 in the IRVH

1 Chronicles 26 in the IRVK

1 Chronicles 26 in the IRVM

1 Chronicles 26 in the IRVM2

1 Chronicles 26 in the IRVO

1 Chronicles 26 in the IRVP

1 Chronicles 26 in the IRVT

1 Chronicles 26 in the IRVT2

1 Chronicles 26 in the IRVU

1 Chronicles 26 in the ISVN

1 Chronicles 26 in the JSNT

1 Chronicles 26 in the KAPI

1 Chronicles 26 in the KBT1ETNIK

1 Chronicles 26 in the KBV

1 Chronicles 26 in the KJV

1 Chronicles 26 in the KNFD

1 Chronicles 26 in the LBA

1 Chronicles 26 in the LBLA

1 Chronicles 26 in the LNT

1 Chronicles 26 in the LSV

1 Chronicles 26 in the MAAL

1 Chronicles 26 in the MBV

1 Chronicles 26 in the MBV2

1 Chronicles 26 in the MHNT

1 Chronicles 26 in the MKNFD

1 Chronicles 26 in the MNG

1 Chronicles 26 in the MNT

1 Chronicles 26 in the MNT2

1 Chronicles 26 in the MRS1T

1 Chronicles 26 in the NAA

1 Chronicles 26 in the NASB

1 Chronicles 26 in the NBLA

1 Chronicles 26 in the NBS

1 Chronicles 26 in the NBVTP

1 Chronicles 26 in the NET2

1 Chronicles 26 in the NIV11

1 Chronicles 26 in the NNT

1 Chronicles 26 in the NNT2

1 Chronicles 26 in the NNT3

1 Chronicles 26 in the PDDPT

1 Chronicles 26 in the PFNT

1 Chronicles 26 in the RMNT

1 Chronicles 26 in the SBIAS

1 Chronicles 26 in the SBIBS

1 Chronicles 26 in the SBIBS2

1 Chronicles 26 in the SBICS

1 Chronicles 26 in the SBIDS

1 Chronicles 26 in the SBIGS

1 Chronicles 26 in the SBIHS

1 Chronicles 26 in the SBIIS

1 Chronicles 26 in the SBIIS2

1 Chronicles 26 in the SBIIS3

1 Chronicles 26 in the SBIKS

1 Chronicles 26 in the SBIKS2

1 Chronicles 26 in the SBIMS

1 Chronicles 26 in the SBIOS

1 Chronicles 26 in the SBIPS

1 Chronicles 26 in the SBISS

1 Chronicles 26 in the SBITS

1 Chronicles 26 in the SBITS2

1 Chronicles 26 in the SBITS3

1 Chronicles 26 in the SBITS4

1 Chronicles 26 in the SBIUS

1 Chronicles 26 in the SBIVS

1 Chronicles 26 in the SBT

1 Chronicles 26 in the SBT1E

1 Chronicles 26 in the SCHL

1 Chronicles 26 in the SNT

1 Chronicles 26 in the SUSU

1 Chronicles 26 in the SUSU2

1 Chronicles 26 in the SYNO

1 Chronicles 26 in the TBIAOTANT

1 Chronicles 26 in the TBT1E

1 Chronicles 26 in the TBT1E2

1 Chronicles 26 in the TFTIP

1 Chronicles 26 in the TFTU

1 Chronicles 26 in the TGNTATF3T

1 Chronicles 26 in the THAI

1 Chronicles 26 in the TNFD

1 Chronicles 26 in the TNT

1 Chronicles 26 in the TNTIK

1 Chronicles 26 in the TNTIL

1 Chronicles 26 in the TNTIN

1 Chronicles 26 in the TNTIP

1 Chronicles 26 in the TNTIZ

1 Chronicles 26 in the TOMA

1 Chronicles 26 in the TTENT

1 Chronicles 26 in the UBG

1 Chronicles 26 in the UGV

1 Chronicles 26 in the UGV2

1 Chronicles 26 in the UGV3

1 Chronicles 26 in the VBL

1 Chronicles 26 in the VDCC

1 Chronicles 26 in the YALU

1 Chronicles 26 in the YAPE

1 Chronicles 26 in the YBVTP

1 Chronicles 26 in the ZBP