1 Kings 13 (BOLCB)

1 Omusajja wa Katonda n’ajja e Beseri okuva mu Yuda olw’ekigambo kya MUKAMA, n’asanga Yerobowaamu ng’ayimiridde mu maaso g’ekyoto ng’ateekateeka okwotereza obubaane. 2 N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri ekyoto olw’ekigambo kya MUKAMA ng’agamba nti, “Ayi ekyoto, ekyoto! Kino MUKAMA ky’agamba nti, ‘Omwana erinnya lye Yosiya alizaalibwa mu nnyumba ya Dawudi, ku ggwe kw’aliweerayo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’ebiweebwayo era n’amagumba g’abantu galyokerwa ku ggwe.’ ” 3 Ku lunaku olwo omusajja wa Katonda n’awa akabonero: “Kano ke kabonero MUKAMA kalangirira. Ekyoto kiryatika n’evvu lyakyo liriyiyibwa ebweru.” 4 Awo kabaka Yerobowaamu bwe yawulira omusajja wa Katonda bye yayogera, n’ayogera n’eddoboozi eddene ku kyoto e Beseri ng’awanise omukono gwe mu maaso g’ekyoto nti, “Mumukwate!” Omukono gwe yawanika eri omusajja wa Katonda ne gukala ne gukalambalirayo n’okuyinza n’atayinza kuguzza. 5 N’ekyoto ne kyatikamu, n’evvu ne liyiika ng’akabonero omusajja wa Katonda ke yawa olw’ekigambo kya MUKAMA. 6 Awo Kabaka n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Negayiririra MUKAMA Katonda wo, onsabire omukono gwange guwonyezebwe.” Omusajja wa Katonda n’amwegayiririra eri MUKAMA, omukono gwe ne guddawo nga bwe gwali olubereberye. 7 Kabaka n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Jjangu eka ewange obeeko ky’olya, n’okukuwa nkuweeyo ekirabo.” 8 Naye omusajja wa Katonda n’agamba kabaka nti, “Ne bw’onompa ekitundu ky’obugagga bwo, sijja kugenda naawe, wadde okulya omugaati oba okunywa amazzi wano. 9 Kubanga nkuutiddwa ekigambo kya MUKAMA nti, ‘Tolya mugaati newaakubadde okunywa amazzi wadde okuddira mu kkubo ly’ojjiddemu.’ ” 10 Awo n’addirayo mu kkubo eddala, so si mu eryo lye yajjiramu e Beseri. 11 Awo mu biro ebyo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri, eyategeezebwa batabani be ebyo byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze ku lunaku olwo, ne bye yali agambye kabaka. 12 Kitaabwe n’ababuuza nti, “Akutte kkubo ki?” Awo batabani be ne bamulaga ekkubo omusajja wa Katonda ow’e Yuda ly’akutte. 13 Awo n’agamba batabani be nti, “Munteekereteekere endogoyi.” Bwe baamala okumutegekera endogoyi, n’agyebagala, 14 n’akwata ekkubo omusajja wa Katonda lye yali akutte. Yamusanga atudde wansi w’omwera, n’amubuuza nti, “Gwe musajja wa Katonda eyavudde e Yuda?” N’addamu nti, “Nze nzuuno.” 15 Awo nnabbi n’amugamba nti, “Tuddeyo eka olye ku mmere.” 16 Omusajja wa Katonda n’amuddamu nti, “Siyinza kuddayo newaakubadde okugenda naawe, wadde okulya omugaati oba okunywa amazzi naawe mu kifo kino. 17 Ndagiddwa ekigambo kya MUKAMA nti, ‘Toteekwa kulyayo ku mmere newaakubadde okunywayo amazzi, wadde okuddirayo mu kkubo lye wajjiddemu.’ ” 18 Awo nnabbi omukadde n’amuddamu nti, “Nze nange ndi nnabbi nga ggwe. Era malayika yaŋŋambye ekigambo kya Katonda nti, ‘Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe ne ku mazzi.’ ” Naye yali amulimba. 19 Awo omusajja wa Katonda n’addayo naye mu nnyumba ye n’alya era n’anywa. 20 Bwe baali batudde nga balya, ekigambo kya MUKAMA ne kijjira nnabbi omukadde eyali amukomezzaawo. 21 N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Ojeemedde ekigambo kya MUKAMA era tokuumye kiragiro MUKAMA Katonda kye yakulagidde. 22 Wakomyewo n’olya emmere era n’onywa amazzi mu kifo kye yakugaanye okulyamu wadde okunywamu amazzi. Noolwekyo omulambo gwo teguliziikibwa mu ntaana ya bajjajjaabo.’ ” 23 Omusajja wa Katonda bwe yamala okulya n’okunywa, nnabbi oli eyali amukomezzaawo, n’ategeka endogoyi y’omusajja wa Katonda. 24 Awo bwe yali ng’ali ku lugendo lwe, empologoma n’emusangiriza n’emutta, era n’esuula omulambo gwe ku kkubo, empologoma n’endogoyi ne biyimirira okumpi nagwo. 25 Laba, abantu abamu abaalaba omulambo nga gusuuliddwa wansi, nga n’empologoma eyimiridde kumpi nagwo, ne bagenda mu kibuga nnabbi mwe yabeeranga ne bategeeza abaayo. 26 Nnabbi eyali amukomezzaawo bwe yakiwulira n’ayogera nti, “Ye musajja wa Katonda ataagondedde kigambo kya MUKAMA. MUKAMA amuwaddeyo eri empologoma emutaagudde n’emutta, ng’ekigambo kya MUKAMA bwe ky’amulabudde.” 27 Awo nnabbi n’agamba batabani be nti, “Muntegekere endogoyi.” Ne bagimutegekera. 28 Nagenda n’asanga omulambo gw’omusajja wa Katonda nga gusuuliddwa mu kkubo n’endogoyi n’empologoma nga ziyimiridde kumpi nagwo; empologoma nga teridde mulambo so nga tetaaguddetaagudde ndogoyi. 29 Nnabbi n’asitula omulambo gw’omusajja wa Katonda n’aguteeka ku ndogoyi, era n’aguzzaayo mu kibuga kye n’amukungubagira, omulambo n’aguziika. 30 N’ateeka omulambo gwe mu ntaana ye ye, ne bamukungubagira nga bakaaba nti, “Woowe, muganda wange!” 31 Awo bwe baamala okumuziika, n’agamba batabani be nti, “Bwe nfanga, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda mw’aziikiddwa; muteekanga amagumba gange kumpi n’amagumba ge. 32 Ekigambo kya MUKAMA, omusajja wa Katonda kye yayogera n’eddoboozi ery’omwanguka ku kyoto ekiri mu Beseri ne ku masabo ag’ebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga eby’e Samaliya, tekirirema kutuukirira.” 33 Oluvannyuma lw’ekigambo ekyo Yerobowaamu n’atakyuka kuleka amakubo ge amabi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’abaggya mu bantu abaabulijjo. Buli eyayagalanga okubeera kabona, n’amwawulanga okubeera mu bifo ebigulumivu. 34 Kino kye kyali ekibi ky’ennyumba ya Yerobowaamu ekyagireetera okugwa, okugimalawo n’okugizikiriza okuva ku nsi.

In Other Versions

1 Kings 13 in the ANGEFD

1 Kings 13 in the ANTPNG2D

1 Kings 13 in the AS21

1 Kings 13 in the BAGH

1 Kings 13 in the BBPNG

1 Kings 13 in the BBT1E

1 Kings 13 in the BDS

1 Kings 13 in the BEV

1 Kings 13 in the BHAD

1 Kings 13 in the BIB

1 Kings 13 in the BLPT

1 Kings 13 in the BNT

1 Kings 13 in the BNTABOOT

1 Kings 13 in the BNTLV

1 Kings 13 in the BOATCB

1 Kings 13 in the BOATCB2

1 Kings 13 in the BOBCV

1 Kings 13 in the BOCNT

1 Kings 13 in the BOECS

1 Kings 13 in the BOGWICC

1 Kings 13 in the BOHCB

1 Kings 13 in the BOHCV

1 Kings 13 in the BOHLNT

1 Kings 13 in the BOHNTLTAL

1 Kings 13 in the BOICB

1 Kings 13 in the BOILNTAP

1 Kings 13 in the BOITCV

1 Kings 13 in the BOKCV

1 Kings 13 in the BOKCV2

1 Kings 13 in the BOKHWOG

1 Kings 13 in the BOKSSV

1 Kings 13 in the BOLCB2

1 Kings 13 in the BOMCV

1 Kings 13 in the BONAV

1 Kings 13 in the BONCB

1 Kings 13 in the BONLT

1 Kings 13 in the BONUT2

1 Kings 13 in the BOPLNT

1 Kings 13 in the BOSCB

1 Kings 13 in the BOSNC

1 Kings 13 in the BOTLNT

1 Kings 13 in the BOVCB

1 Kings 13 in the BOYCB

1 Kings 13 in the BPBB

1 Kings 13 in the BPH

1 Kings 13 in the BSB

1 Kings 13 in the CCB

1 Kings 13 in the CUV

1 Kings 13 in the CUVS

1 Kings 13 in the DBT

1 Kings 13 in the DGDNT

1 Kings 13 in the DHNT

1 Kings 13 in the DNT

1 Kings 13 in the ELBE

1 Kings 13 in the EMTV

1 Kings 13 in the ESV

1 Kings 13 in the FBV

1 Kings 13 in the FEB

1 Kings 13 in the GGMNT

1 Kings 13 in the GNT

1 Kings 13 in the HARY

1 Kings 13 in the HNT

1 Kings 13 in the IRVA

1 Kings 13 in the IRVB

1 Kings 13 in the IRVG

1 Kings 13 in the IRVH

1 Kings 13 in the IRVK

1 Kings 13 in the IRVM

1 Kings 13 in the IRVM2

1 Kings 13 in the IRVO

1 Kings 13 in the IRVP

1 Kings 13 in the IRVT

1 Kings 13 in the IRVT2

1 Kings 13 in the IRVU

1 Kings 13 in the ISVN

1 Kings 13 in the JSNT

1 Kings 13 in the KAPI

1 Kings 13 in the KBT1ETNIK

1 Kings 13 in the KBV

1 Kings 13 in the KJV

1 Kings 13 in the KNFD

1 Kings 13 in the LBA

1 Kings 13 in the LBLA

1 Kings 13 in the LNT

1 Kings 13 in the LSV

1 Kings 13 in the MAAL

1 Kings 13 in the MBV

1 Kings 13 in the MBV2

1 Kings 13 in the MHNT

1 Kings 13 in the MKNFD

1 Kings 13 in the MNG

1 Kings 13 in the MNT

1 Kings 13 in the MNT2

1 Kings 13 in the MRS1T

1 Kings 13 in the NAA

1 Kings 13 in the NASB

1 Kings 13 in the NBLA

1 Kings 13 in the NBS

1 Kings 13 in the NBVTP

1 Kings 13 in the NET2

1 Kings 13 in the NIV11

1 Kings 13 in the NNT

1 Kings 13 in the NNT2

1 Kings 13 in the NNT3

1 Kings 13 in the PDDPT

1 Kings 13 in the PFNT

1 Kings 13 in the RMNT

1 Kings 13 in the SBIAS

1 Kings 13 in the SBIBS

1 Kings 13 in the SBIBS2

1 Kings 13 in the SBICS

1 Kings 13 in the SBIDS

1 Kings 13 in the SBIGS

1 Kings 13 in the SBIHS

1 Kings 13 in the SBIIS

1 Kings 13 in the SBIIS2

1 Kings 13 in the SBIIS3

1 Kings 13 in the SBIKS

1 Kings 13 in the SBIKS2

1 Kings 13 in the SBIMS

1 Kings 13 in the SBIOS

1 Kings 13 in the SBIPS

1 Kings 13 in the SBISS

1 Kings 13 in the SBITS

1 Kings 13 in the SBITS2

1 Kings 13 in the SBITS3

1 Kings 13 in the SBITS4

1 Kings 13 in the SBIUS

1 Kings 13 in the SBIVS

1 Kings 13 in the SBT

1 Kings 13 in the SBT1E

1 Kings 13 in the SCHL

1 Kings 13 in the SNT

1 Kings 13 in the SUSU

1 Kings 13 in the SUSU2

1 Kings 13 in the SYNO

1 Kings 13 in the TBIAOTANT

1 Kings 13 in the TBT1E

1 Kings 13 in the TBT1E2

1 Kings 13 in the TFTIP

1 Kings 13 in the TFTU

1 Kings 13 in the TGNTATF3T

1 Kings 13 in the THAI

1 Kings 13 in the TNFD

1 Kings 13 in the TNT

1 Kings 13 in the TNTIK

1 Kings 13 in the TNTIL

1 Kings 13 in the TNTIN

1 Kings 13 in the TNTIP

1 Kings 13 in the TNTIZ

1 Kings 13 in the TOMA

1 Kings 13 in the TTENT

1 Kings 13 in the UBG

1 Kings 13 in the UGV

1 Kings 13 in the UGV2

1 Kings 13 in the UGV3

1 Kings 13 in the VBL

1 Kings 13 in the VDCC

1 Kings 13 in the YALU

1 Kings 13 in the YAPE

1 Kings 13 in the YBVTP

1 Kings 13 in the ZBP