1 Kings 14 (BOLCB)

1 Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n’alwala, 2 Yerobowaamu n’agamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bw’oli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka w’abantu bano ali eyo. 3 Twala emigaati kkumi, ne bukeeke, n’ensumbi ey’omubisi gw’enjuki, ogende gy’ali era ye alikubuulira omwana bw’aliba.” 4 Awo muka Yerobowaamu n’akola bw’atyo, n’agenda ewa Akiya e Siiro.Akiya yali muzibe, kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw’obukadde. 5 Naye MUKAMA yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bw’anajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bw’ajja okumuddamu, nga bw’anaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala. 6 Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, n’amugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gy’oli n’amawulire amabi. 7 Genda ogambe Yerobowaamu nti kino MUKAMA, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri. 8 Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange. 9 Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo. 10 “ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala. 11 Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga MUKAMA y’akyogedde!’ 12 “Wabula ggwe, ddayo eka. Bw’onooba wakalinnya ekigere mu kibuga kyo, omulenzi anaafa. 13 Isirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka ow’ennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu MUKAMA Katonda wa Isirayiri, gw’alabyemu akalungi. 14 “MUKAMA alyeyimusiza kabaka wa Isirayiri alisaanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu mu kiseera ekitali ky’ewala nnyo. 15 MUKAMA aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga, kubanga baasunguwaza MUKAMA bwe baakola bakatonda Baaseri. 16 Era aliva ku Isirayiri olw’ebibi bya Yerobowaamu n’ebyo by’ayonoonesezza Isirayiri.” 17 Awo muka Yerobowaamu n’agolokoka okugenda e Tiruza. Olwayingira mu nnyumba yaabwe, omulenzi n’afa. 18 Ne bamuziika, era Isirayiri yonna ne bamukungubagira ng’ekigambo kya MUKAMA kye yayogerera mu nnabbi Akiya bwe kyali. 19 N’ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, n’okufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 20 Yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri, oluvannyuma ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Nadabu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka. 21 Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n’alya obwakabaka bwa Yuda, ng’alina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga MUKAMA kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olw’erinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni. 22 Yuda ne bakola ebibi mu maaso ga MUKAMA, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa MUKAMA obuggya. 23 Beezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi. 24 Era waaliwo n’abaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga eby’emizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri bye baakolanga. 25 Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi. 26 N’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya MUKAMA, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 27 Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka. 28 Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya MUKAMA, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga. 29 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omulembe gwa Lekobowaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 30 Waabangawo entalo ez’olubeerera wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 31 Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

In Other Versions

1 Kings 14 in the ANGEFD

1 Kings 14 in the ANTPNG2D

1 Kings 14 in the AS21

1 Kings 14 in the BAGH

1 Kings 14 in the BBPNG

1 Kings 14 in the BBT1E

1 Kings 14 in the BDS

1 Kings 14 in the BEV

1 Kings 14 in the BHAD

1 Kings 14 in the BIB

1 Kings 14 in the BLPT

1 Kings 14 in the BNT

1 Kings 14 in the BNTABOOT

1 Kings 14 in the BNTLV

1 Kings 14 in the BOATCB

1 Kings 14 in the BOATCB2

1 Kings 14 in the BOBCV

1 Kings 14 in the BOCNT

1 Kings 14 in the BOECS

1 Kings 14 in the BOGWICC

1 Kings 14 in the BOHCB

1 Kings 14 in the BOHCV

1 Kings 14 in the BOHLNT

1 Kings 14 in the BOHNTLTAL

1 Kings 14 in the BOICB

1 Kings 14 in the BOILNTAP

1 Kings 14 in the BOITCV

1 Kings 14 in the BOKCV

1 Kings 14 in the BOKCV2

1 Kings 14 in the BOKHWOG

1 Kings 14 in the BOKSSV

1 Kings 14 in the BOLCB2

1 Kings 14 in the BOMCV

1 Kings 14 in the BONAV

1 Kings 14 in the BONCB

1 Kings 14 in the BONLT

1 Kings 14 in the BONUT2

1 Kings 14 in the BOPLNT

1 Kings 14 in the BOSCB

1 Kings 14 in the BOSNC

1 Kings 14 in the BOTLNT

1 Kings 14 in the BOVCB

1 Kings 14 in the BOYCB

1 Kings 14 in the BPBB

1 Kings 14 in the BPH

1 Kings 14 in the BSB

1 Kings 14 in the CCB

1 Kings 14 in the CUV

1 Kings 14 in the CUVS

1 Kings 14 in the DBT

1 Kings 14 in the DGDNT

1 Kings 14 in the DHNT

1 Kings 14 in the DNT

1 Kings 14 in the ELBE

1 Kings 14 in the EMTV

1 Kings 14 in the ESV

1 Kings 14 in the FBV

1 Kings 14 in the FEB

1 Kings 14 in the GGMNT

1 Kings 14 in the GNT

1 Kings 14 in the HARY

1 Kings 14 in the HNT

1 Kings 14 in the IRVA

1 Kings 14 in the IRVB

1 Kings 14 in the IRVG

1 Kings 14 in the IRVH

1 Kings 14 in the IRVK

1 Kings 14 in the IRVM

1 Kings 14 in the IRVM2

1 Kings 14 in the IRVO

1 Kings 14 in the IRVP

1 Kings 14 in the IRVT

1 Kings 14 in the IRVT2

1 Kings 14 in the IRVU

1 Kings 14 in the ISVN

1 Kings 14 in the JSNT

1 Kings 14 in the KAPI

1 Kings 14 in the KBT1ETNIK

1 Kings 14 in the KBV

1 Kings 14 in the KJV

1 Kings 14 in the KNFD

1 Kings 14 in the LBA

1 Kings 14 in the LBLA

1 Kings 14 in the LNT

1 Kings 14 in the LSV

1 Kings 14 in the MAAL

1 Kings 14 in the MBV

1 Kings 14 in the MBV2

1 Kings 14 in the MHNT

1 Kings 14 in the MKNFD

1 Kings 14 in the MNG

1 Kings 14 in the MNT

1 Kings 14 in the MNT2

1 Kings 14 in the MRS1T

1 Kings 14 in the NAA

1 Kings 14 in the NASB

1 Kings 14 in the NBLA

1 Kings 14 in the NBS

1 Kings 14 in the NBVTP

1 Kings 14 in the NET2

1 Kings 14 in the NIV11

1 Kings 14 in the NNT

1 Kings 14 in the NNT2

1 Kings 14 in the NNT3

1 Kings 14 in the PDDPT

1 Kings 14 in the PFNT

1 Kings 14 in the RMNT

1 Kings 14 in the SBIAS

1 Kings 14 in the SBIBS

1 Kings 14 in the SBIBS2

1 Kings 14 in the SBICS

1 Kings 14 in the SBIDS

1 Kings 14 in the SBIGS

1 Kings 14 in the SBIHS

1 Kings 14 in the SBIIS

1 Kings 14 in the SBIIS2

1 Kings 14 in the SBIIS3

1 Kings 14 in the SBIKS

1 Kings 14 in the SBIKS2

1 Kings 14 in the SBIMS

1 Kings 14 in the SBIOS

1 Kings 14 in the SBIPS

1 Kings 14 in the SBISS

1 Kings 14 in the SBITS

1 Kings 14 in the SBITS2

1 Kings 14 in the SBITS3

1 Kings 14 in the SBITS4

1 Kings 14 in the SBIUS

1 Kings 14 in the SBIVS

1 Kings 14 in the SBT

1 Kings 14 in the SBT1E

1 Kings 14 in the SCHL

1 Kings 14 in the SNT

1 Kings 14 in the SUSU

1 Kings 14 in the SUSU2

1 Kings 14 in the SYNO

1 Kings 14 in the TBIAOTANT

1 Kings 14 in the TBT1E

1 Kings 14 in the TBT1E2

1 Kings 14 in the TFTIP

1 Kings 14 in the TFTU

1 Kings 14 in the TGNTATF3T

1 Kings 14 in the THAI

1 Kings 14 in the TNFD

1 Kings 14 in the TNT

1 Kings 14 in the TNTIK

1 Kings 14 in the TNTIL

1 Kings 14 in the TNTIN

1 Kings 14 in the TNTIP

1 Kings 14 in the TNTIZ

1 Kings 14 in the TOMA

1 Kings 14 in the TTENT

1 Kings 14 in the UBG

1 Kings 14 in the UGV

1 Kings 14 in the UGV2

1 Kings 14 in the UGV3

1 Kings 14 in the VBL

1 Kings 14 in the VDCC

1 Kings 14 in the YALU

1 Kings 14 in the YAPE

1 Kings 14 in the YBVTP

1 Kings 14 in the ZBP