1 Kings 15 (BOLCB)
1 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n’atandika okufuga Yuda. 2 Yafugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Nnyina ye yali Maaka muwala wa Abusaalomu. 3 N’akola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga MUKAMA Katonda we ng’omutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali. 4 Naye ku lwa Dawudi, MUKAMA Katonda we n’amuteerawo ettabaaza mu Yerusaalemi era n’ayimusa ne mutabani we okumusikira, era n’okunyweza Yerusaalemi. 5 Dawudi yakola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, n’agondera ebiragiro bya MUKAMA ennaku zonna ez’obulamu bwe, okuggyako ensonga ya Uliya Omukiiti. 6 Ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Lekobowaamu n’ennyumba ya Yerobowaamu ennaku zonna ez’obulamu bwa Abiyaamu. 7 N’ebyafaayo ebirala byonna eby’okufuga kwa Abiyaamu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu. 8 Awo Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka. 9 Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Asa n’alya obwakabaka bwa Yuda. 10 Yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana mu gumu. Jjajjaawe omukazi nga ye Maaka muwala wa Abusaalomu. 11 Asa n’akola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. 12 N’agoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga, era n’aggyawo n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono byonna bajjajjaabe bye baakola. 13 Era n’agoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa n’agitema era n’agyokera ku kagga Kidulooni. 14 Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku MUKAMA ennaku ze zonna. 15 N’ayingiza mu yeekaalu ya MUKAMA effeeza, ne zaabu n’ebintu ebirala kitaawe bye yawaayo ne Asa yennyini bye yawaayo. 16 Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri ennaku zonna ez’okufuga kwabwe. 17 Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda n’azingiza Laama obutaganya muntu n’omu okufuluma wadde okuyingira mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda. 18 Awo Asa n’addira effeeza ne zaabu yonna eyali esigadde mu ggwanika lya yeekaalu ya MUKAMA n’ey’olubiri lwe, n’abikwasa abakungu be, n’abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni, muzzukulu wa Keziyoni, eyali kabaka wa Busuuli ng’afugira e Ddamasiko. 19 N’ayogera nti, “Wabeewo endagaano wakati wo nange, ng’eyaliwo wakati wa kitaawo ne kitange. Laba nkuweereza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu, omenyewo kaakano endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.” 20 Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri. N’akuba Iyoni, ne Ddaani, ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna ng’okwo kw’otadde Nafutaali. 21 Awo Baasa bwe yakiwulira n’alekeraawo okuzimba Laama, n’addukira e Tiruza. 22 Kabaka Asa n’awa ekiragiro mu Yuda yonna nga kikwata ku buli muntu. Ne batwala amayinja ag’e Laama n’embaawo Baasa bye yazimbisanga, kabaka Asa n’abizimbisa Geba ekya Benyamini, ne Mizupa. 23 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Asa, n’obuwanguzi bwe era n’ebibuga bye yazimba, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Kyokka mu bukadde bwe, n’alwala ebigere. 24 Awo Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya jjajjaawe Dawudi. Yekosafaati, mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka. 25 Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 26 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA, ng’atambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona. 27 Awo Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali n’amukolera olukwe, n’amuttira e Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti, Nadabu ne Isirayiri yenna bwe baali bakitaayizza. 28 Baasa n’atta Nadabu mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, ye n’alya obwakabaka bwa Isirayiri. 29 Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, n’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu omulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya MUKAMA kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro, 30 olw’ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonyesa Isirayiri, n’okusunguwaza ne bisunguwaza MUKAMA Katonda wa Isirayiri. 31 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Nadabu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 32 Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri, ennaku zonna ez’okufuga kwabwe. 33 Awo mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n’afuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu ena. 34 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA, ng’atambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.