1 Kings 16 (BOLCB)

1 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Baasa nti, 2 “Nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula mukulembeze w’abantu bange Isirayiri, naye watambulira mu ngeri za Yerobowaamu era n’oyonoonyesa abantu bange Isirayiri, ne bansunguwaza n’ebibi byabwe. 3 Laba, ndisaanyizaawo ddala Baasa n’ennyumba ye, era ndifuula ennyumba ye okuba ng’eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati. 4 Omuntu yenna owa Baasa bw’alifiira mu kibuga, omulambo gwe guliriibwa embwa, n’abo abalifiira ku ttale, ennyonyi ez’omu bbanga zirirya emirambo gyabwe.” 5 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Baasa, bye yakola, awamu n’ebintu ebirungi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 6 Awo Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa e Tiruza, mutabani we Era n’amusikira, n’alya obwakabaka. 7 Ekigambo kya MUKAMA ne kituukirira, ekyajjira Yeeku mutabani wa Kanani ekikwata ku Baasa n’ennyumba ye olw’ebibi bye yakola mu maaso ga MUKAMA, ng’amusunguwaza olw’ebyo bye yakola, n’olw’okwonoona ng’afaanana ennyumba ya Yerobowaamu, ate era n’olw’okuba nga yagisaanyaawo. 8 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n’afuuka kabaka wa Isirayiri; n’afugira mu Tiruza emyaka ebiri. 9 Awo Zimuli, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekitundu ky’amagaali ge, n’amukolera olukwe. Mu kiseera ekyo Era yali Tiruza, ng’atamiirira mu maka ga Aluza, omusajja eyavunaanyizibwanga olubiri lw’e Tiruza. 10 Mu kiseera ekyo, Zimuli n’ayingira n’amukuba n’amutta, n’oluvannyuma n’alya obwakabaka. Gwali mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. 11 Awo olwatuuka nga kyajje atuule ku ntebe ey’obwakabaka n’atta abantu b’ennyumba ya Baasa bonna, obutalekaawo musajja n’omu wa luganda lwa Baasa wadde mikwano gye. 12 Bw’atyo Zimuli n’asaanyaawo ennyumba ya Baasa yonna, ng’ekigambo kya MUKAMA bwe kyali kye yayogera ku Baasa ng’ayita mu nnabbi Yeeku, 13 olw’ebibi bya Baasa ne mutabani we Era bye baakola n’okwonoonyesa Isirayiri, nga basunguwaza MUKAMA Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 14 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Era, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 15 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n’afugira e Tiruza ennaku musanvu. Eggye lyali lisiisidde okumpi ne Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti. 16 Ku lunaku olwo Abayisirayiri abaali mu nkambi bwe baawulira nti Zimuli yasala olukwe, n’atta kabaka, Isirayiri yonna ne balangirira Omuli omuduumizi w’eggye okuba kabaka wa Isirayiri. 17 Omuli n’Abayisirayiri bonna abaali awamu naye ne bava e Gibbesoni ne bambuka okuzingiza Tiruza. 18 Zimuli bwe yalaba ng’ekibuga kiwambiddwa, n’addukira mu lubiri olw’omunda, olubiri lwonna n’alukumako omuliro. N’afiira omwo. 19 Ekyo kyamutuukako olw’ebibi bye yakola mu maaso ga MUKAMA, n’okutambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye yakola, ne bye yayonoonyesa Isirayiri. 20 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Zimuli, n’obujeemu bwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 21 Abantu ba Isirayiri ne baawukanamu ebibiina bibiri, ekitundu ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okuba kabaka, nga n’ekitundu ekirala kiwagira Omuli. 22 Naye abagoberezi ba Omuli ne basinza aba Tibuni mutabani wa Ginasi amaanyi; Tibuni n’afa, Omuli n’afuuka kabaka. 23 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ogumu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Omuli n’alya obwakabaka obwa Isirayiri era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri, mukaaga ku gyo ng’ali mu Tiruza. 24 Yagula olusozi lw’e Samaliya ku Semeri, ekilo nsanvu eza ffeeza, n’aluzimbako ekibuga, n’akituuma Samaliya, okukibbulamu Semeri eyali nannyini lusozi. 25 Naye Omuli n’akola ebyali ebibi mu maaso ga MUKAMA, era n’ayonoona nnyo okusinga n’abo abaamusooka. 26 N’atambulira mu ngeri zonna eza Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri era n’asunguwaza MUKAMA Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 27 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Omuli, ne bye yakola, n’ebyobuzira bye, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 28 Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu Samaliya; Akabu n’amusikira, n’alya obwakabaka. 29 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Asa Kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuli n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, n’afugira Isirayiri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri. 30 Akabu mutabani wa Omuli n’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA okusinga bonna abaamusooka. 31 Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era n’awasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w’Abasidoni, era n’atandika okuweereza n’okusinza Baali. 32 Yazimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya. 33 Akabu n’akola n’empagi ya Baaseri, ne yeeyongera nnyo okusunguwaza MUKAMA Katonda wa Isirayiri, okusinga bakabaka abalala bonna aba Isirayiri abaamusooka. 34 Ku mirembe gya Akabu, Kyeri Omubeseri n’addaabiriza era n’azimba Yeriko. Era olw’ekigambo kya MUKAMA kye yayogerera mu Yoswa mutabani wa Nuuni, Kyeri bwe yassaawo emisingi gyakyo, n’afiirwa Abiraamu mutabani we omukulu; bwe yazimba wankaaki waakyo, Segubi mutabani we asembayo obuto naye n’afa.

In Other Versions

1 Kings 16 in the ANGEFD

1 Kings 16 in the ANTPNG2D

1 Kings 16 in the AS21

1 Kings 16 in the BAGH

1 Kings 16 in the BBPNG

1 Kings 16 in the BBT1E

1 Kings 16 in the BDS

1 Kings 16 in the BEV

1 Kings 16 in the BHAD

1 Kings 16 in the BIB

1 Kings 16 in the BLPT

1 Kings 16 in the BNT

1 Kings 16 in the BNTABOOT

1 Kings 16 in the BNTLV

1 Kings 16 in the BOATCB

1 Kings 16 in the BOATCB2

1 Kings 16 in the BOBCV

1 Kings 16 in the BOCNT

1 Kings 16 in the BOECS

1 Kings 16 in the BOGWICC

1 Kings 16 in the BOHCB

1 Kings 16 in the BOHCV

1 Kings 16 in the BOHLNT

1 Kings 16 in the BOHNTLTAL

1 Kings 16 in the BOICB

1 Kings 16 in the BOILNTAP

1 Kings 16 in the BOITCV

1 Kings 16 in the BOKCV

1 Kings 16 in the BOKCV2

1 Kings 16 in the BOKHWOG

1 Kings 16 in the BOKSSV

1 Kings 16 in the BOLCB2

1 Kings 16 in the BOMCV

1 Kings 16 in the BONAV

1 Kings 16 in the BONCB

1 Kings 16 in the BONLT

1 Kings 16 in the BONUT2

1 Kings 16 in the BOPLNT

1 Kings 16 in the BOSCB

1 Kings 16 in the BOSNC

1 Kings 16 in the BOTLNT

1 Kings 16 in the BOVCB

1 Kings 16 in the BOYCB

1 Kings 16 in the BPBB

1 Kings 16 in the BPH

1 Kings 16 in the BSB

1 Kings 16 in the CCB

1 Kings 16 in the CUV

1 Kings 16 in the CUVS

1 Kings 16 in the DBT

1 Kings 16 in the DGDNT

1 Kings 16 in the DHNT

1 Kings 16 in the DNT

1 Kings 16 in the ELBE

1 Kings 16 in the EMTV

1 Kings 16 in the ESV

1 Kings 16 in the FBV

1 Kings 16 in the FEB

1 Kings 16 in the GGMNT

1 Kings 16 in the GNT

1 Kings 16 in the HARY

1 Kings 16 in the HNT

1 Kings 16 in the IRVA

1 Kings 16 in the IRVB

1 Kings 16 in the IRVG

1 Kings 16 in the IRVH

1 Kings 16 in the IRVK

1 Kings 16 in the IRVM

1 Kings 16 in the IRVM2

1 Kings 16 in the IRVO

1 Kings 16 in the IRVP

1 Kings 16 in the IRVT

1 Kings 16 in the IRVT2

1 Kings 16 in the IRVU

1 Kings 16 in the ISVN

1 Kings 16 in the JSNT

1 Kings 16 in the KAPI

1 Kings 16 in the KBT1ETNIK

1 Kings 16 in the KBV

1 Kings 16 in the KJV

1 Kings 16 in the KNFD

1 Kings 16 in the LBA

1 Kings 16 in the LBLA

1 Kings 16 in the LNT

1 Kings 16 in the LSV

1 Kings 16 in the MAAL

1 Kings 16 in the MBV

1 Kings 16 in the MBV2

1 Kings 16 in the MHNT

1 Kings 16 in the MKNFD

1 Kings 16 in the MNG

1 Kings 16 in the MNT

1 Kings 16 in the MNT2

1 Kings 16 in the MRS1T

1 Kings 16 in the NAA

1 Kings 16 in the NASB

1 Kings 16 in the NBLA

1 Kings 16 in the NBS

1 Kings 16 in the NBVTP

1 Kings 16 in the NET2

1 Kings 16 in the NIV11

1 Kings 16 in the NNT

1 Kings 16 in the NNT2

1 Kings 16 in the NNT3

1 Kings 16 in the PDDPT

1 Kings 16 in the PFNT

1 Kings 16 in the RMNT

1 Kings 16 in the SBIAS

1 Kings 16 in the SBIBS

1 Kings 16 in the SBIBS2

1 Kings 16 in the SBICS

1 Kings 16 in the SBIDS

1 Kings 16 in the SBIGS

1 Kings 16 in the SBIHS

1 Kings 16 in the SBIIS

1 Kings 16 in the SBIIS2

1 Kings 16 in the SBIIS3

1 Kings 16 in the SBIKS

1 Kings 16 in the SBIKS2

1 Kings 16 in the SBIMS

1 Kings 16 in the SBIOS

1 Kings 16 in the SBIPS

1 Kings 16 in the SBISS

1 Kings 16 in the SBITS

1 Kings 16 in the SBITS2

1 Kings 16 in the SBITS3

1 Kings 16 in the SBITS4

1 Kings 16 in the SBIUS

1 Kings 16 in the SBIVS

1 Kings 16 in the SBT

1 Kings 16 in the SBT1E

1 Kings 16 in the SCHL

1 Kings 16 in the SNT

1 Kings 16 in the SUSU

1 Kings 16 in the SUSU2

1 Kings 16 in the SYNO

1 Kings 16 in the TBIAOTANT

1 Kings 16 in the TBT1E

1 Kings 16 in the TBT1E2

1 Kings 16 in the TFTIP

1 Kings 16 in the TFTU

1 Kings 16 in the TGNTATF3T

1 Kings 16 in the THAI

1 Kings 16 in the TNFD

1 Kings 16 in the TNT

1 Kings 16 in the TNTIK

1 Kings 16 in the TNTIL

1 Kings 16 in the TNTIN

1 Kings 16 in the TNTIP

1 Kings 16 in the TNTIZ

1 Kings 16 in the TOMA

1 Kings 16 in the TTENT

1 Kings 16 in the UBG

1 Kings 16 in the UGV

1 Kings 16 in the UGV2

1 Kings 16 in the UGV3

1 Kings 16 in the VBL

1 Kings 16 in the VDCC

1 Kings 16 in the YALU

1 Kings 16 in the YAPE

1 Kings 16 in the YBVTP

1 Kings 16 in the ZBP