1 Samuel 15 (BOLCB)

1 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “MUKAMA nze gwe yatuma okukufukako amafuta okuba kabaka w’abantu be Isirayiri, noolwekyo wuliriza obubaka obuva eri MUKAMA Katonda. 2 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Ayinzabyonna nti, ‘Ndibonereza Abamaleki olw’ekyo kye baakola Isirayiri bwe baabateega nga bayambuka okuva mu Misiri. 3 Kaakano genda olumbe Abamaleki obazikiririze ddala, n’ebintu byabwe byonna. Tobasaasira, otta abasajja n’abakazi, abaana n’abato ddala, ente, n’endiga, n’eŋŋamira n’endogoyi.’ ” 4 Awo Sawulo n’akuŋŋaanya abasajja, n’ababalira e Terayimu, nga bawera abaserikale ab’ebigere emitwalo amakumi abiri, n’abalala omutwalo gumu okuva mu Yuda. 5 Sawulo n’asemberera ekibuga kya Amaleki n’abateegera mu kiwonvu. 6 N’agamba Abakeeni nti, “Muve mu Bamaleki mugende nneme okubazikiririza awamu nabo, kubanga mwakolera Abayisirayiri bonna ebyekisa bwe bayambuka okuva mu Misiri.” Abakeeni ne basenguka okuva mu Bamaleki. 7 Awo Sawulo n’alumba Abamaleki okuviira ddala e Kavira okutuuka e Ssuuli, ekiri ebuvanjuba w’e Misiri. 8 N’awamba Agagi kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiririza ddala n’ekitala. 9 Era Sawulo n’eggye ne baleka Agagi nga mulamu, era endiga n’ente, n’ennyana n’abaana b’endiga n’ebyassava, n’ebyo byonna bye baalaba nga bya muwendo, ne batabizikiririza ddala. Naye ebirala byonna ebitaali bya muwendo nga binyoomebwa oba nga binafu, ne babizikiririza ddala. 10 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Samwiri nti, 11 “Nejjusizza okufuula Sawulo kabaka, kubanga avudde kukungoberera, n’atakolera ku biragiro byange.” Samwiri n’anyolwa nnyo, n’akabira MUKAMA ekiro kyonna. 12 Enkeera ku makya Samwiri n’agolokoka n’agenda okusisinkana Sawulo, naye ne bamutegeeza nti, “Sawulo yazze e Kalumeeri gye yeezimbidde ekijjukizo, kyokka kaakano avuddeyo n’aserengeta e Girugaali.” 13 Awo Samwiri bwe yamutuukako, Sawulo n’ayogera nti, “MUKAMA akuwe omukisa. Ngoberedde ebiragiro bya MUKAMA.” 14 Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Ate okubejjagala okw’endiga n’okuŋooŋa kw’ente bye mpulira biva wa?” 15 Sawulo n’amuddamu nti, “Abaserikale baaziggye ku Bamaleki. Baaleseewo ente n’endiga ezisinga obulungi okuba ebiweebwayo eri MUKAMA Katonda wo, naye ebirala byonna twabizikiririzza ddala.” 16 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Sirika! Ka nkutegeeze MUKAMA kye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n’amuddamu nti, “Ntegeeza.” 17 Samwiri n’amugamba nti, “Newaakubadde nga wali weeraba ng’oli mutono, tewafuuka mukulu wa bika bya Isirayiri? MUKAMA yakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. 18 Naakutuma omulimu, ng’agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lw’olibamalirawo ddala.’ 19 Lwaki tewagondedde ddoboozi lya MUKAMA? Lwaki mwalulunkanidde omunyago ne mukola ekibi mu maaso ga MUKAMA?” 20 Sawulo n’addamu Samwiri nti, “Nagondedde eddoboozi lya MUKAMA, era nagenze ku mulimu MUKAMA gwe yantumye. Nazikiririzza ddala Abamaleki era ne ndeeta Agagi kabaka waabwe. 21 Abaserikale baatute endiga n’ente, ebisinga obulungi ku ebyo ebyali biteekeddwa okuzikirizibwa, babiweeyo eri MUKAMA Katonda wo e Girugaali.” 22 Naye Samwiri n’amugamba nti,“MUKAMA asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka,okusinga okugondera eddoboozi lya MUKAMA?Okugonda kusinga ssaddaaka,era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume. 23 Kubanga obujeemu buli ng’ekibi eky’okusamira,era n’obukakanyavu buli ng’ekibi eky’okusinza bakatonda abalala.Kubanga ojeemedde ekigambo kya MUKAMA,naye akugaanye okuba kabaka.” 24 Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya MUKAMA era n’ebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe. 25 Kaakano nkusaba, osonyiwe ekibi kyange, okomewo nange nsobole okusinza MUKAMA.” 26 Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Sijja kuddayo naawe kubanga ovudde ku kigambo kya MUKAMA, ne MUKAMA akugaanye okuba kabaka wa Isirayiri.” 27 Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, Sawulo n’akwata ekirenge ky’ekyambalo kye, ne kiyulika. 28 Samwiri n’amugamba nti, “MUKAMA akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isirayiri leero, n’abuwa omu ku baliraanwa bo akusinga. 29 Oyo ayitibwa Ekitiibwa kya Isirayiri talimba ate takyusakyusa kirowoozo kye, kubanga si muntu nti anaakyusa ekirowoozo kye.” 30 Sawulo n’addamu nti, “Nyonoonye, naye nzisaamu ekitiibwa mu maaso g’abakadde b’abantu bange, ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange, nsinze MUKAMA Katonda wo.” 31 Awo Samwiri n’addayo ne Sawulo, Sawulo n’asinza MUKAMA. 32 Samwiri n’alagira nti, “Mundeetere Agagi kabaka w’Abamaleki.”Agagi n’ajja gy’ali ng’akankana naye ng’agamba mu mutima gwe nti, “Mazima ddala obubalagaze bw’okufa buyise.” 33 Naye Samwiri n’ayogera nti,“Ng’ekitala kyo bwe kyaleetera abakazi abangi obutaba na baana,ne nnyoko talibeera na mwana.”Awo Samwiri n’atemaatema Agagi n’amuttira mu maaso ga MUKAMA e Girugaali. 34 Samwiri n’alyoka agenda e Laama, naye Sawulo ye n’agenda ewuwe mu Gibea ekya Sawulo. 35 Samwiri yanakuwala nnyo olwa Sawulo, era teyaddayo kulabagana ne Sawulo okutuusa Samwiri lwe yafa. MUKAMA n’anyolwa olw’okufuula Sawulo kabaka wa Isirayiri.

In Other Versions

1 Samuel 15 in the ANGEFD

1 Samuel 15 in the ANTPNG2D

1 Samuel 15 in the AS21

1 Samuel 15 in the BAGH

1 Samuel 15 in the BBPNG

1 Samuel 15 in the BBT1E

1 Samuel 15 in the BDS

1 Samuel 15 in the BEV

1 Samuel 15 in the BHAD

1 Samuel 15 in the BIB

1 Samuel 15 in the BLPT

1 Samuel 15 in the BNT

1 Samuel 15 in the BNTABOOT

1 Samuel 15 in the BNTLV

1 Samuel 15 in the BOATCB

1 Samuel 15 in the BOATCB2

1 Samuel 15 in the BOBCV

1 Samuel 15 in the BOCNT

1 Samuel 15 in the BOECS

1 Samuel 15 in the BOGWICC

1 Samuel 15 in the BOHCB

1 Samuel 15 in the BOHCV

1 Samuel 15 in the BOHLNT

1 Samuel 15 in the BOHNTLTAL

1 Samuel 15 in the BOICB

1 Samuel 15 in the BOILNTAP

1 Samuel 15 in the BOITCV

1 Samuel 15 in the BOKCV

1 Samuel 15 in the BOKCV2

1 Samuel 15 in the BOKHWOG

1 Samuel 15 in the BOKSSV

1 Samuel 15 in the BOLCB2

1 Samuel 15 in the BOMCV

1 Samuel 15 in the BONAV

1 Samuel 15 in the BONCB

1 Samuel 15 in the BONLT

1 Samuel 15 in the BONUT2

1 Samuel 15 in the BOPLNT

1 Samuel 15 in the BOSCB

1 Samuel 15 in the BOSNC

1 Samuel 15 in the BOTLNT

1 Samuel 15 in the BOVCB

1 Samuel 15 in the BOYCB

1 Samuel 15 in the BPBB

1 Samuel 15 in the BPH

1 Samuel 15 in the BSB

1 Samuel 15 in the CCB

1 Samuel 15 in the CUV

1 Samuel 15 in the CUVS

1 Samuel 15 in the DBT

1 Samuel 15 in the DGDNT

1 Samuel 15 in the DHNT

1 Samuel 15 in the DNT

1 Samuel 15 in the ELBE

1 Samuel 15 in the EMTV

1 Samuel 15 in the ESV

1 Samuel 15 in the FBV

1 Samuel 15 in the FEB

1 Samuel 15 in the GGMNT

1 Samuel 15 in the GNT

1 Samuel 15 in the HARY

1 Samuel 15 in the HNT

1 Samuel 15 in the IRVA

1 Samuel 15 in the IRVB

1 Samuel 15 in the IRVG

1 Samuel 15 in the IRVH

1 Samuel 15 in the IRVK

1 Samuel 15 in the IRVM

1 Samuel 15 in the IRVM2

1 Samuel 15 in the IRVO

1 Samuel 15 in the IRVP

1 Samuel 15 in the IRVT

1 Samuel 15 in the IRVT2

1 Samuel 15 in the IRVU

1 Samuel 15 in the ISVN

1 Samuel 15 in the JSNT

1 Samuel 15 in the KAPI

1 Samuel 15 in the KBT1ETNIK

1 Samuel 15 in the KBV

1 Samuel 15 in the KJV

1 Samuel 15 in the KNFD

1 Samuel 15 in the LBA

1 Samuel 15 in the LBLA

1 Samuel 15 in the LNT

1 Samuel 15 in the LSV

1 Samuel 15 in the MAAL

1 Samuel 15 in the MBV

1 Samuel 15 in the MBV2

1 Samuel 15 in the MHNT

1 Samuel 15 in the MKNFD

1 Samuel 15 in the MNG

1 Samuel 15 in the MNT

1 Samuel 15 in the MNT2

1 Samuel 15 in the MRS1T

1 Samuel 15 in the NAA

1 Samuel 15 in the NASB

1 Samuel 15 in the NBLA

1 Samuel 15 in the NBS

1 Samuel 15 in the NBVTP

1 Samuel 15 in the NET2

1 Samuel 15 in the NIV11

1 Samuel 15 in the NNT

1 Samuel 15 in the NNT2

1 Samuel 15 in the NNT3

1 Samuel 15 in the PDDPT

1 Samuel 15 in the PFNT

1 Samuel 15 in the RMNT

1 Samuel 15 in the SBIAS

1 Samuel 15 in the SBIBS

1 Samuel 15 in the SBIBS2

1 Samuel 15 in the SBICS

1 Samuel 15 in the SBIDS

1 Samuel 15 in the SBIGS

1 Samuel 15 in the SBIHS

1 Samuel 15 in the SBIIS

1 Samuel 15 in the SBIIS2

1 Samuel 15 in the SBIIS3

1 Samuel 15 in the SBIKS

1 Samuel 15 in the SBIKS2

1 Samuel 15 in the SBIMS

1 Samuel 15 in the SBIOS

1 Samuel 15 in the SBIPS

1 Samuel 15 in the SBISS

1 Samuel 15 in the SBITS

1 Samuel 15 in the SBITS2

1 Samuel 15 in the SBITS3

1 Samuel 15 in the SBITS4

1 Samuel 15 in the SBIUS

1 Samuel 15 in the SBIVS

1 Samuel 15 in the SBT

1 Samuel 15 in the SBT1E

1 Samuel 15 in the SCHL

1 Samuel 15 in the SNT

1 Samuel 15 in the SUSU

1 Samuel 15 in the SUSU2

1 Samuel 15 in the SYNO

1 Samuel 15 in the TBIAOTANT

1 Samuel 15 in the TBT1E

1 Samuel 15 in the TBT1E2

1 Samuel 15 in the TFTIP

1 Samuel 15 in the TFTU

1 Samuel 15 in the TGNTATF3T

1 Samuel 15 in the THAI

1 Samuel 15 in the TNFD

1 Samuel 15 in the TNT

1 Samuel 15 in the TNTIK

1 Samuel 15 in the TNTIL

1 Samuel 15 in the TNTIN

1 Samuel 15 in the TNTIP

1 Samuel 15 in the TNTIZ

1 Samuel 15 in the TOMA

1 Samuel 15 in the TTENT

1 Samuel 15 in the UBG

1 Samuel 15 in the UGV

1 Samuel 15 in the UGV2

1 Samuel 15 in the UGV3

1 Samuel 15 in the VBL

1 Samuel 15 in the VDCC

1 Samuel 15 in the YALU

1 Samuel 15 in the YAPE

1 Samuel 15 in the YBVTP

1 Samuel 15 in the ZBP