1 Samuel 16 (BOLCB)
1 Awo MUKAMA n’agamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.” 2 Naye Samwiri n’ayogera nti, “Nnaagenda ntya? Sawulo bw’anakiwulira ajja kunzita.” MUKAMA n’amugamba nti, “Weetwalire ennyana oyogere nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri MUKAMA.’ 3 Yita Yese ajje okuwaayo ssaddaaka, nzija kukulaga eky’okukola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaaba nnonze.” 4 Samwiri n’akola ekyo MUKAMA kye yamulagira. Bwe yatuuka e Besirekemu abakulu b’ekibuga ne bakankana olw’okutya bwe baamusisinkana era ne bamubuuza nti, “Ojja mirembe?” 5 N’abaddamu nti, “Weewaawo, mirembe. Nzize okuwaayo ssaddaaka eri MUKAMA. Mwetukuze tugende ffenna tuweeyo ssaddaaka.” N’atukuza Yese ne batabani be, n’abayita okujja okuwaayo ssaddaaka. 6 Bwe baatuuka n’atunuulira Eriyaabu, n’alowooza nti, “Mazima MUKAMA ono gw’afuseeko amafuta, era y’ayimiridde kaakano mu maaso ga MUKAMA.” 7 Naye MUKAMA n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. MUKAMA tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye MUKAMA atunuulira bya mu mutima.” 8 Awo Yese n’ayita Abinadaabu, n’amuyisa mu maaso ga Samwiri. Naye Samwiri n’ayogera nti, “Oyo naye MUKAMA si gw’alonze.” 9 Yese n’ayita Samma n’amusimbawo, naye Samwiri n’ayogera nti, “Era n’oyo MUKAMA si gw’alonze.” 10 Yese n’ayisa batabani be omusanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’amugamba nti, “Ku bo tekuli n’omu MUKAMA gw’alonze.” 11 N’abuuza Yese nti, “Bano be batabani bo bokka?” Yese n’addamu nti, “Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga.” Samwiri n’agamba Yese nti, “Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja.” 12 N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo MUKAMA n’ayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.” 13 Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa MUKAMA n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama. 14 Awo Omwoyo wa MUKAMA Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri MUKAMA ne gumucoccanga. 15 Awo abaweereza ba Sawulo ne bamuleetera ekiteeso nti, “Laba, omwoyo omubi okuva eri Katonda gukucocca. 16 Mukama waffe alagire abaweereza be kaakano okumunoonyeza omuntu asobola okukuba entongooli. Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gunaabanga gukusseeko, bw’anagikubanga n’oddamu endasi, onoowuliranga bulungi n’okkakkana.” 17 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Munfunireyo omuntu asobola okukuba entongooli obulungi, mumundeetere.” 18 Omu ku baweereza n’addamu nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu gwe nalaba asobola okukuba entongooli obulungi. Musajja muzira era mulwanyi, ate nga mwogezi mulungi, era alabika bulungi. Ate MUKAMA Katonda ali wamu naye.” 19 Awo Sawulo n’atuma ababaka eri Yese, ng’agamba nti, “Mpeereza mutabani wo Dawudi, alabirira endiga.” 20 Yese n’addira endogoyi n’agitikka emigaati, n’eccupa y’envinnyo n’omwana gw’embuzi, n’abiweereza wamu ne mutabani we Dawudi eri Sawulo. 21 Dawudi n’atuuka eri Sawulo, n’afuuka omu ku baweereza be. Sawulo n’amwagala nnyo, era n’amufuula omu ku abo abaasitulanga ebyokulwanyisa bye. 22 Awo Sawulo n’atumira Yese ng’agamba nti, “Kkiriza Dawudi asigale ng’omu ku baweereza bange, kubanga nsiimye by’ankolera.” 23 Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gw’ajjanga ku Sawulo, Dawudi n’amukubiranga entongooli, Sawulo n’akkakkana, era n’awulira bulungiko, n’omwoyo omubi ne gumuvaako.
In Other Versions
1 Samuel 16 in the ANGEFD
1 Samuel 16 in the ANTPNG2D
1 Samuel 16 in the AS21
1 Samuel 16 in the BAGH
1 Samuel 16 in the BBPNG
1 Samuel 16 in the BBT1E
1 Samuel 16 in the BDS
1 Samuel 16 in the BEV
1 Samuel 16 in the BHAD
1 Samuel 16 in the BIB
1 Samuel 16 in the BLPT
1 Samuel 16 in the BNT
1 Samuel 16 in the BNTABOOT
1 Samuel 16 in the BNTLV
1 Samuel 16 in the BOATCB
1 Samuel 16 in the BOATCB2
1 Samuel 16 in the BOBCV
1 Samuel 16 in the BOCNT
1 Samuel 16 in the BOECS
1 Samuel 16 in the BOGWICC
1 Samuel 16 in the BOHCB
1 Samuel 16 in the BOHCV
1 Samuel 16 in the BOHLNT
1 Samuel 16 in the BOHNTLTAL
1 Samuel 16 in the BOICB
1 Samuel 16 in the BOILNTAP
1 Samuel 16 in the BOITCV
1 Samuel 16 in the BOKCV
1 Samuel 16 in the BOKCV2
1 Samuel 16 in the BOKHWOG
1 Samuel 16 in the BOKSSV
1 Samuel 16 in the BOLCB2
1 Samuel 16 in the BOMCV
1 Samuel 16 in the BONAV
1 Samuel 16 in the BONCB
1 Samuel 16 in the BONLT
1 Samuel 16 in the BONUT2
1 Samuel 16 in the BOPLNT
1 Samuel 16 in the BOSCB
1 Samuel 16 in the BOSNC
1 Samuel 16 in the BOTLNT
1 Samuel 16 in the BOVCB
1 Samuel 16 in the BOYCB
1 Samuel 16 in the BPBB
1 Samuel 16 in the BPH
1 Samuel 16 in the BSB
1 Samuel 16 in the CCB
1 Samuel 16 in the CUV
1 Samuel 16 in the CUVS
1 Samuel 16 in the DBT
1 Samuel 16 in the DGDNT
1 Samuel 16 in the DHNT
1 Samuel 16 in the DNT
1 Samuel 16 in the ELBE
1 Samuel 16 in the EMTV
1 Samuel 16 in the ESV
1 Samuel 16 in the FBV
1 Samuel 16 in the FEB
1 Samuel 16 in the GGMNT
1 Samuel 16 in the GNT
1 Samuel 16 in the HARY
1 Samuel 16 in the HNT
1 Samuel 16 in the IRVA
1 Samuel 16 in the IRVB
1 Samuel 16 in the IRVG
1 Samuel 16 in the IRVH
1 Samuel 16 in the IRVK
1 Samuel 16 in the IRVM
1 Samuel 16 in the IRVM2
1 Samuel 16 in the IRVO
1 Samuel 16 in the IRVP
1 Samuel 16 in the IRVT
1 Samuel 16 in the IRVT2
1 Samuel 16 in the IRVU
1 Samuel 16 in the ISVN
1 Samuel 16 in the JSNT
1 Samuel 16 in the KAPI
1 Samuel 16 in the KBT1ETNIK
1 Samuel 16 in the KBV
1 Samuel 16 in the KJV
1 Samuel 16 in the KNFD
1 Samuel 16 in the LBA
1 Samuel 16 in the LBLA
1 Samuel 16 in the LNT
1 Samuel 16 in the LSV
1 Samuel 16 in the MAAL
1 Samuel 16 in the MBV
1 Samuel 16 in the MBV2
1 Samuel 16 in the MHNT
1 Samuel 16 in the MKNFD
1 Samuel 16 in the MNG
1 Samuel 16 in the MNT
1 Samuel 16 in the MNT2
1 Samuel 16 in the MRS1T
1 Samuel 16 in the NAA
1 Samuel 16 in the NASB
1 Samuel 16 in the NBLA
1 Samuel 16 in the NBS
1 Samuel 16 in the NBVTP
1 Samuel 16 in the NET2
1 Samuel 16 in the NIV11
1 Samuel 16 in the NNT
1 Samuel 16 in the NNT2
1 Samuel 16 in the NNT3
1 Samuel 16 in the PDDPT
1 Samuel 16 in the PFNT
1 Samuel 16 in the RMNT
1 Samuel 16 in the SBIAS
1 Samuel 16 in the SBIBS
1 Samuel 16 in the SBIBS2
1 Samuel 16 in the SBICS
1 Samuel 16 in the SBIDS
1 Samuel 16 in the SBIGS
1 Samuel 16 in the SBIHS
1 Samuel 16 in the SBIIS
1 Samuel 16 in the SBIIS2
1 Samuel 16 in the SBIIS3
1 Samuel 16 in the SBIKS
1 Samuel 16 in the SBIKS2
1 Samuel 16 in the SBIMS
1 Samuel 16 in the SBIOS
1 Samuel 16 in the SBIPS
1 Samuel 16 in the SBISS
1 Samuel 16 in the SBITS
1 Samuel 16 in the SBITS2
1 Samuel 16 in the SBITS3
1 Samuel 16 in the SBITS4
1 Samuel 16 in the SBIUS
1 Samuel 16 in the SBIVS
1 Samuel 16 in the SBT
1 Samuel 16 in the SBT1E
1 Samuel 16 in the SCHL
1 Samuel 16 in the SNT
1 Samuel 16 in the SUSU
1 Samuel 16 in the SUSU2
1 Samuel 16 in the SYNO
1 Samuel 16 in the TBIAOTANT
1 Samuel 16 in the TBT1E
1 Samuel 16 in the TBT1E2
1 Samuel 16 in the TFTIP
1 Samuel 16 in the TFTU
1 Samuel 16 in the TGNTATF3T
1 Samuel 16 in the THAI
1 Samuel 16 in the TNFD
1 Samuel 16 in the TNT
1 Samuel 16 in the TNTIK
1 Samuel 16 in the TNTIL
1 Samuel 16 in the TNTIN
1 Samuel 16 in the TNTIP
1 Samuel 16 in the TNTIZ
1 Samuel 16 in the TOMA
1 Samuel 16 in the TTENT
1 Samuel 16 in the UBG
1 Samuel 16 in the UGV
1 Samuel 16 in the UGV2
1 Samuel 16 in the UGV3
1 Samuel 16 in the VBL
1 Samuel 16 in the VDCC
1 Samuel 16 in the YALU
1 Samuel 16 in the YAPE
1 Samuel 16 in the YBVTP
1 Samuel 16 in the ZBP