2 Chronicles 10 (BOLCB)

1 Lekobowaamu n’agenda e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bagenze okumufuula kabaka. 2 Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde mu buwaŋŋanguse, nga yeewala kabaka Sulemaani, n’akomawo. 3 Awo ne bamutumira, Yerobowaamu ne Isirayiri yenna ne bagenda eri Lekobowaamu ne bamugamba nti, 4 “Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekinene, naye kaakano tukendeereze ku lyanyi n’ekikoligo kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.” 5 N’abaddamu nti, “Mulikomawo gye ndi mu nnaku ssatu.” Abantu ne bagenda. 6 Awo kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa kya kuddamu ki eri abantu bano?” 7 Ne bamugamba nti, “Bw’onooba ow’ekisa eri abantu bano, n’obasanyusa, n’obaddamu bulungi, banaabeeranga baddu bo ennaku zonna.” 8 Naye Lekobowaamu n’aggaya amagezi abakadde ge baali bamuwadde, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, ate nga be bamuweereza mu kiseera ekyo. 9 N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu bano abaŋŋambye nti, ‘Tukendeereze ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ” 10 Abavubuka be yali akuze nabo ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abakugambye nti, ‘Ekikoligo kitaawo kye yatuteekako kyali kizito, naye kaakano kitukendeerezeko,’ nti, ‘Nasswi wange asinga ekiwato kya kitange obunene. Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kwongera ku kikoligo kyammwe obuzito. 11 Kitange yabakangavvulanga na nkoba naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.’ ” 12 Bwe waayitawo ennaku essatu Yerobowaamu n’abantu bonna ne bagenda eri Lekobowaamu, nga kabaka bwe yali ayogedde nti, “Mukomeewo oluvannyuma lw’ennaku ssatu.” 13 Kabaka n’addamu n’ebboggo. N’agaana okuwuliriza amagezi g’abakadde, 14 n’agoberera amagezi ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.” 15 Kabaka n’atawuliriza bantu kubanga bw’atyo Katonda bwe yasiima, okutuukiriza ekigambo MUKAMA kye yayogera ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro. 16 Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,era busika ki bwe tulina mu mutabani wa Yese?Buli omu ku mmwe, addeyo mu weema ye, ayi Isirayiri!Mmwe ennyumba ye Dawudi mwerabirire.”Awo Abayisirayiri bonna ne baddayo ewaabwe. 17 Naye abo abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, Lekobowaamu n’asigala ng’abafuga. 18 Kabaka Lekobowaamu n’atuma Kadolaamu eyavunaanyizibwanga emirimu egy’ekipakasi, naye Abayisirayiri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu ye n’ayanguwa okulinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi. 19 Awo Isirayiri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.

In Other Versions

2 Chronicles 10 in the ANGEFD

2 Chronicles 10 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 10 in the AS21

2 Chronicles 10 in the BAGH

2 Chronicles 10 in the BBPNG

2 Chronicles 10 in the BBT1E

2 Chronicles 10 in the BDS

2 Chronicles 10 in the BEV

2 Chronicles 10 in the BHAD

2 Chronicles 10 in the BIB

2 Chronicles 10 in the BLPT

2 Chronicles 10 in the BNT

2 Chronicles 10 in the BNTABOOT

2 Chronicles 10 in the BNTLV

2 Chronicles 10 in the BOATCB

2 Chronicles 10 in the BOATCB2

2 Chronicles 10 in the BOBCV

2 Chronicles 10 in the BOCNT

2 Chronicles 10 in the BOECS

2 Chronicles 10 in the BOGWICC

2 Chronicles 10 in the BOHCB

2 Chronicles 10 in the BOHCV

2 Chronicles 10 in the BOHLNT

2 Chronicles 10 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 10 in the BOICB

2 Chronicles 10 in the BOILNTAP

2 Chronicles 10 in the BOITCV

2 Chronicles 10 in the BOKCV

2 Chronicles 10 in the BOKCV2

2 Chronicles 10 in the BOKHWOG

2 Chronicles 10 in the BOKSSV

2 Chronicles 10 in the BOLCB2

2 Chronicles 10 in the BOMCV

2 Chronicles 10 in the BONAV

2 Chronicles 10 in the BONCB

2 Chronicles 10 in the BONLT

2 Chronicles 10 in the BONUT2

2 Chronicles 10 in the BOPLNT

2 Chronicles 10 in the BOSCB

2 Chronicles 10 in the BOSNC

2 Chronicles 10 in the BOTLNT

2 Chronicles 10 in the BOVCB

2 Chronicles 10 in the BOYCB

2 Chronicles 10 in the BPBB

2 Chronicles 10 in the BPH

2 Chronicles 10 in the BSB

2 Chronicles 10 in the CCB

2 Chronicles 10 in the CUV

2 Chronicles 10 in the CUVS

2 Chronicles 10 in the DBT

2 Chronicles 10 in the DGDNT

2 Chronicles 10 in the DHNT

2 Chronicles 10 in the DNT

2 Chronicles 10 in the ELBE

2 Chronicles 10 in the EMTV

2 Chronicles 10 in the ESV

2 Chronicles 10 in the FBV

2 Chronicles 10 in the FEB

2 Chronicles 10 in the GGMNT

2 Chronicles 10 in the GNT

2 Chronicles 10 in the HARY

2 Chronicles 10 in the HNT

2 Chronicles 10 in the IRVA

2 Chronicles 10 in the IRVB

2 Chronicles 10 in the IRVG

2 Chronicles 10 in the IRVH

2 Chronicles 10 in the IRVK

2 Chronicles 10 in the IRVM

2 Chronicles 10 in the IRVM2

2 Chronicles 10 in the IRVO

2 Chronicles 10 in the IRVP

2 Chronicles 10 in the IRVT

2 Chronicles 10 in the IRVT2

2 Chronicles 10 in the IRVU

2 Chronicles 10 in the ISVN

2 Chronicles 10 in the JSNT

2 Chronicles 10 in the KAPI

2 Chronicles 10 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 10 in the KBV

2 Chronicles 10 in the KJV

2 Chronicles 10 in the KNFD

2 Chronicles 10 in the LBA

2 Chronicles 10 in the LBLA

2 Chronicles 10 in the LNT

2 Chronicles 10 in the LSV

2 Chronicles 10 in the MAAL

2 Chronicles 10 in the MBV

2 Chronicles 10 in the MBV2

2 Chronicles 10 in the MHNT

2 Chronicles 10 in the MKNFD

2 Chronicles 10 in the MNG

2 Chronicles 10 in the MNT

2 Chronicles 10 in the MNT2

2 Chronicles 10 in the MRS1T

2 Chronicles 10 in the NAA

2 Chronicles 10 in the NASB

2 Chronicles 10 in the NBLA

2 Chronicles 10 in the NBS

2 Chronicles 10 in the NBVTP

2 Chronicles 10 in the NET2

2 Chronicles 10 in the NIV11

2 Chronicles 10 in the NNT

2 Chronicles 10 in the NNT2

2 Chronicles 10 in the NNT3

2 Chronicles 10 in the PDDPT

2 Chronicles 10 in the PFNT

2 Chronicles 10 in the RMNT

2 Chronicles 10 in the SBIAS

2 Chronicles 10 in the SBIBS

2 Chronicles 10 in the SBIBS2

2 Chronicles 10 in the SBICS

2 Chronicles 10 in the SBIDS

2 Chronicles 10 in the SBIGS

2 Chronicles 10 in the SBIHS

2 Chronicles 10 in the SBIIS

2 Chronicles 10 in the SBIIS2

2 Chronicles 10 in the SBIIS3

2 Chronicles 10 in the SBIKS

2 Chronicles 10 in the SBIKS2

2 Chronicles 10 in the SBIMS

2 Chronicles 10 in the SBIOS

2 Chronicles 10 in the SBIPS

2 Chronicles 10 in the SBISS

2 Chronicles 10 in the SBITS

2 Chronicles 10 in the SBITS2

2 Chronicles 10 in the SBITS3

2 Chronicles 10 in the SBITS4

2 Chronicles 10 in the SBIUS

2 Chronicles 10 in the SBIVS

2 Chronicles 10 in the SBT

2 Chronicles 10 in the SBT1E

2 Chronicles 10 in the SCHL

2 Chronicles 10 in the SNT

2 Chronicles 10 in the SUSU

2 Chronicles 10 in the SUSU2

2 Chronicles 10 in the SYNO

2 Chronicles 10 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 10 in the TBT1E

2 Chronicles 10 in the TBT1E2

2 Chronicles 10 in the TFTIP

2 Chronicles 10 in the TFTU

2 Chronicles 10 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 10 in the THAI

2 Chronicles 10 in the TNFD

2 Chronicles 10 in the TNT

2 Chronicles 10 in the TNTIK

2 Chronicles 10 in the TNTIL

2 Chronicles 10 in the TNTIN

2 Chronicles 10 in the TNTIP

2 Chronicles 10 in the TNTIZ

2 Chronicles 10 in the TOMA

2 Chronicles 10 in the TTENT

2 Chronicles 10 in the UBG

2 Chronicles 10 in the UGV

2 Chronicles 10 in the UGV2

2 Chronicles 10 in the UGV3

2 Chronicles 10 in the VBL

2 Chronicles 10 in the VDCC

2 Chronicles 10 in the YALU

2 Chronicles 10 in the YAPE

2 Chronicles 10 in the YBVTP

2 Chronicles 10 in the ZBP