2 Chronicles 11 (BOLCB)

1 Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi, n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda n’eya Benyamini, bonna nga bawera abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, bagende balwanyise Isirayiri, obwakabaka babuddize Lekobowaamu. 2 Naye ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti, 3 “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’Abayisirayiri bonna abali mu Yuda ne Benyamini nti, 4 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, ‘Temulumba baganda bammwe. Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe, kubanga kino kivudde gye ndi.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya MUKAMA, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu. 5 Lekobowaamu n’abeera mu Yerusaalemi, n’azimba ebibuga eby’okwerinda mu Yuda: 6 n’azimba Besirekemu, ne Etamu, ne Tekowa, 7 ne Besuzuli, ne Soko, ne Adulamu, 8 ne Gaasi, ne Malesa, ne Zifu, 9 ne Adorayimu, ne Lakisi, ne Azeka, 10 ne Zola, ne Ayalooni, ne Kebbulooni nga bye bibuga ebiriko bbugwe ebyali mu Yuda ne Benyamini. 11 N’anyweza bbugwe waabyo, n’ateekayo abaduumizi, n’emmere ey’okwerinzisa n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini. 12 N’ateekayo engabo n’amafumu mu bibuga byonna, n’abinywereza ddala, Yuda ne Benyamini ne biba bibye. 13 Bakabona n’Abaleevi okuva mu Isirayiri yonna ne bakkiriziganya naye. 14 Abaleevi ne bava mu butaka bwabwe ne baleka n’eby’obugagga bwabwe ne bajja mu Yuda ne Yerusaalemi, kubanga Yerobowaamu ne batabani be babagobaganya era ne babagaana okuweereza MUKAMA mu bwakabaka bwabwe, 15 nga balonda bakabona abaabwe okuweerezanga ku bifo ebigulumivu, ne bakatonda baabwe ab’ebifaananyi eby’embuzi n’ente, bye yali abumbye. 16 N’abo bonna abaali beewaddeyo mu mitima gyabwe okunoonya MUKAMA Katonda wa Isirayiri ne bagenda n’Abaleevi e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri MUKAMA Katonda wa bajjajjaabwe. 17 Ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, era ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, nga batambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani. 18 Lekobowaamu n’awasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, ne Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese, 19 Makalasi n’azaalira Lekobowaamu abaana aboobulenzi: Yewusi, ne Semaliya ne Zakamu. 20 Oluvannyuma Lekobowaamu n’awasa Maaka muwala wa Abusaalomu, n’amuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza ne Seromisi. 21 Lekobowaamu n’ayagala nnyo Maaka muwala wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala. Bonna awamu n’awasa abakazi kkumi na munaana n’afunayo n’abalala nkaaga, abaamuzaalira abaana aboobulenzi amakumi abiri mu munaana n’abaana aboobuwala nkaaga. 22 Lekobowaamu n’alonda Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu wa baganda be, ng’agenderera okumufuula kabaka. 23 N’akola eky’amagezi, n’asaasaanya batabani be abamu mu masaza ag’enjawulo aga Yuda ne Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe, n’abawa eby’obugagga bingi, n’abafunira n’abakazi bangi.

In Other Versions

2 Chronicles 11 in the ANGEFD

2 Chronicles 11 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 11 in the AS21

2 Chronicles 11 in the BAGH

2 Chronicles 11 in the BBPNG

2 Chronicles 11 in the BBT1E

2 Chronicles 11 in the BDS

2 Chronicles 11 in the BEV

2 Chronicles 11 in the BHAD

2 Chronicles 11 in the BIB

2 Chronicles 11 in the BLPT

2 Chronicles 11 in the BNT

2 Chronicles 11 in the BNTABOOT

2 Chronicles 11 in the BNTLV

2 Chronicles 11 in the BOATCB

2 Chronicles 11 in the BOATCB2

2 Chronicles 11 in the BOBCV

2 Chronicles 11 in the BOCNT

2 Chronicles 11 in the BOECS

2 Chronicles 11 in the BOGWICC

2 Chronicles 11 in the BOHCB

2 Chronicles 11 in the BOHCV

2 Chronicles 11 in the BOHLNT

2 Chronicles 11 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 11 in the BOICB

2 Chronicles 11 in the BOILNTAP

2 Chronicles 11 in the BOITCV

2 Chronicles 11 in the BOKCV

2 Chronicles 11 in the BOKCV2

2 Chronicles 11 in the BOKHWOG

2 Chronicles 11 in the BOKSSV

2 Chronicles 11 in the BOLCB2

2 Chronicles 11 in the BOMCV

2 Chronicles 11 in the BONAV

2 Chronicles 11 in the BONCB

2 Chronicles 11 in the BONLT

2 Chronicles 11 in the BONUT2

2 Chronicles 11 in the BOPLNT

2 Chronicles 11 in the BOSCB

2 Chronicles 11 in the BOSNC

2 Chronicles 11 in the BOTLNT

2 Chronicles 11 in the BOVCB

2 Chronicles 11 in the BOYCB

2 Chronicles 11 in the BPBB

2 Chronicles 11 in the BPH

2 Chronicles 11 in the BSB

2 Chronicles 11 in the CCB

2 Chronicles 11 in the CUV

2 Chronicles 11 in the CUVS

2 Chronicles 11 in the DBT

2 Chronicles 11 in the DGDNT

2 Chronicles 11 in the DHNT

2 Chronicles 11 in the DNT

2 Chronicles 11 in the ELBE

2 Chronicles 11 in the EMTV

2 Chronicles 11 in the ESV

2 Chronicles 11 in the FBV

2 Chronicles 11 in the FEB

2 Chronicles 11 in the GGMNT

2 Chronicles 11 in the GNT

2 Chronicles 11 in the HARY

2 Chronicles 11 in the HNT

2 Chronicles 11 in the IRVA

2 Chronicles 11 in the IRVB

2 Chronicles 11 in the IRVG

2 Chronicles 11 in the IRVH

2 Chronicles 11 in the IRVK

2 Chronicles 11 in the IRVM

2 Chronicles 11 in the IRVM2

2 Chronicles 11 in the IRVO

2 Chronicles 11 in the IRVP

2 Chronicles 11 in the IRVT

2 Chronicles 11 in the IRVT2

2 Chronicles 11 in the IRVU

2 Chronicles 11 in the ISVN

2 Chronicles 11 in the JSNT

2 Chronicles 11 in the KAPI

2 Chronicles 11 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 11 in the KBV

2 Chronicles 11 in the KJV

2 Chronicles 11 in the KNFD

2 Chronicles 11 in the LBA

2 Chronicles 11 in the LBLA

2 Chronicles 11 in the LNT

2 Chronicles 11 in the LSV

2 Chronicles 11 in the MAAL

2 Chronicles 11 in the MBV

2 Chronicles 11 in the MBV2

2 Chronicles 11 in the MHNT

2 Chronicles 11 in the MKNFD

2 Chronicles 11 in the MNG

2 Chronicles 11 in the MNT

2 Chronicles 11 in the MNT2

2 Chronicles 11 in the MRS1T

2 Chronicles 11 in the NAA

2 Chronicles 11 in the NASB

2 Chronicles 11 in the NBLA

2 Chronicles 11 in the NBS

2 Chronicles 11 in the NBVTP

2 Chronicles 11 in the NET2

2 Chronicles 11 in the NIV11

2 Chronicles 11 in the NNT

2 Chronicles 11 in the NNT2

2 Chronicles 11 in the NNT3

2 Chronicles 11 in the PDDPT

2 Chronicles 11 in the PFNT

2 Chronicles 11 in the RMNT

2 Chronicles 11 in the SBIAS

2 Chronicles 11 in the SBIBS

2 Chronicles 11 in the SBIBS2

2 Chronicles 11 in the SBICS

2 Chronicles 11 in the SBIDS

2 Chronicles 11 in the SBIGS

2 Chronicles 11 in the SBIHS

2 Chronicles 11 in the SBIIS

2 Chronicles 11 in the SBIIS2

2 Chronicles 11 in the SBIIS3

2 Chronicles 11 in the SBIKS

2 Chronicles 11 in the SBIKS2

2 Chronicles 11 in the SBIMS

2 Chronicles 11 in the SBIOS

2 Chronicles 11 in the SBIPS

2 Chronicles 11 in the SBISS

2 Chronicles 11 in the SBITS

2 Chronicles 11 in the SBITS2

2 Chronicles 11 in the SBITS3

2 Chronicles 11 in the SBITS4

2 Chronicles 11 in the SBIUS

2 Chronicles 11 in the SBIVS

2 Chronicles 11 in the SBT

2 Chronicles 11 in the SBT1E

2 Chronicles 11 in the SCHL

2 Chronicles 11 in the SNT

2 Chronicles 11 in the SUSU

2 Chronicles 11 in the SUSU2

2 Chronicles 11 in the SYNO

2 Chronicles 11 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 11 in the TBT1E

2 Chronicles 11 in the TBT1E2

2 Chronicles 11 in the TFTIP

2 Chronicles 11 in the TFTU

2 Chronicles 11 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 11 in the THAI

2 Chronicles 11 in the TNFD

2 Chronicles 11 in the TNT

2 Chronicles 11 in the TNTIK

2 Chronicles 11 in the TNTIL

2 Chronicles 11 in the TNTIN

2 Chronicles 11 in the TNTIP

2 Chronicles 11 in the TNTIZ

2 Chronicles 11 in the TOMA

2 Chronicles 11 in the TTENT

2 Chronicles 11 in the UBG

2 Chronicles 11 in the UGV

2 Chronicles 11 in the UGV2

2 Chronicles 11 in the UGV3

2 Chronicles 11 in the VBL

2 Chronicles 11 in the VDCC

2 Chronicles 11 in the YALU

2 Chronicles 11 in the YAPE

2 Chronicles 11 in the YBVTP

2 Chronicles 11 in the ZBP