2 Chronicles 2 (BOLCB)
1 Sulemaani n’awa ebiragiro okuzimbira erinnya lya MUKAMA eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka. 2 N’alonda abasajja emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutema amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okubakuliranga. 3 Awo Sulemaani n’aweereza Kulamu kabaka w’e Ttuulo obubaka nti,“Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange, n’omuweereza emivule egy’okwezimbira olubiri lwe okubeeramu, nange kolagana nange mu ngeri y’emu. 4 Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya MUKAMA Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olw’okwoterezaayo obubaane obw’ebyakaloosa obulungi mu maaso ge, n’okuweerayo emigaati egya buli lunaku, n’olw’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya n’akawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza MUKAMA Katonda waffe, ng’ekiragiro eky’enkalakkalira eri Isirayiri. 5 “Eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba yaakitiibwa, kubanga Katonda waffe waakitiibwa okusinga bakatonda abalala bonna. 6 Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge? 7 “Noolwekyo mpeereza omusajja omumanyirivu nga mugezi asobola okuweesa zaabu, ne ffeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, ate era asobola okuluka engoye eza kakobe, n’entwakaavu, n’eza bbululu, ate era nga mumanyirivu mu kukola enjola ez’engeri zonna, ngakolaganira wamu n’abasajja bange abamanyirivu mu by’omu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka. 8 “Era mpeereza n’emivule, n’emiberosi, n’emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga n’ababo 9 okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa. 10 Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ez’eŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, n’ebita eby’omwenge emitwalo ebiri, n’ebita eby’amafuta ag’omuzeeyituuni emitwalo ebiri.” 11 Awo Kulamu n’addamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ng’agamba nti,“Kubanga MUKAMA ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.” 12 N’ayongerako na kino nti,“MUKAMA Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira MUKAMA eyeekaalu, n’okwezimbira olubiri. 13 “Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera n’obumanyirivu bungi, 14 ne nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi. 15 “Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza, 16 tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.” 17 Awo Sulemaani n’abala bannaggwanga bonna abaali mu nsi eya Isirayiri, ng’okubala Dawudi kitaawe kwe yakola bwe kwali; baali abasajja emitwalo kkumi n’ettaano mu enkumi ssatu mu lukaaga. 18 N’alonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga.
In Other Versions
2 Chronicles 2 in the ANGEFD
2 Chronicles 2 in the ANTPNG2D
2 Chronicles 2 in the AS21
2 Chronicles 2 in the BAGH
2 Chronicles 2 in the BBPNG
2 Chronicles 2 in the BBT1E
2 Chronicles 2 in the BDS
2 Chronicles 2 in the BEV
2 Chronicles 2 in the BHAD
2 Chronicles 2 in the BIB
2 Chronicles 2 in the BLPT
2 Chronicles 2 in the BNT
2 Chronicles 2 in the BNTABOOT
2 Chronicles 2 in the BNTLV
2 Chronicles 2 in the BOATCB
2 Chronicles 2 in the BOATCB2
2 Chronicles 2 in the BOBCV
2 Chronicles 2 in the BOCNT
2 Chronicles 2 in the BOECS
2 Chronicles 2 in the BOGWICC
2 Chronicles 2 in the BOHCB
2 Chronicles 2 in the BOHCV
2 Chronicles 2 in the BOHLNT
2 Chronicles 2 in the BOHNTLTAL
2 Chronicles 2 in the BOICB
2 Chronicles 2 in the BOILNTAP
2 Chronicles 2 in the BOITCV
2 Chronicles 2 in the BOKCV
2 Chronicles 2 in the BOKCV2
2 Chronicles 2 in the BOKHWOG
2 Chronicles 2 in the BOKSSV
2 Chronicles 2 in the BOLCB2
2 Chronicles 2 in the BOMCV
2 Chronicles 2 in the BONAV
2 Chronicles 2 in the BONCB
2 Chronicles 2 in the BONLT
2 Chronicles 2 in the BONUT2
2 Chronicles 2 in the BOPLNT
2 Chronicles 2 in the BOSCB
2 Chronicles 2 in the BOSNC
2 Chronicles 2 in the BOTLNT
2 Chronicles 2 in the BOVCB
2 Chronicles 2 in the BOYCB
2 Chronicles 2 in the BPBB
2 Chronicles 2 in the BPH
2 Chronicles 2 in the BSB
2 Chronicles 2 in the CCB
2 Chronicles 2 in the CUV
2 Chronicles 2 in the CUVS
2 Chronicles 2 in the DBT
2 Chronicles 2 in the DGDNT
2 Chronicles 2 in the DHNT
2 Chronicles 2 in the DNT
2 Chronicles 2 in the ELBE
2 Chronicles 2 in the EMTV
2 Chronicles 2 in the ESV
2 Chronicles 2 in the FBV
2 Chronicles 2 in the FEB
2 Chronicles 2 in the GGMNT
2 Chronicles 2 in the GNT
2 Chronicles 2 in the HARY
2 Chronicles 2 in the HNT
2 Chronicles 2 in the IRVA
2 Chronicles 2 in the IRVB
2 Chronicles 2 in the IRVG
2 Chronicles 2 in the IRVH
2 Chronicles 2 in the IRVK
2 Chronicles 2 in the IRVM
2 Chronicles 2 in the IRVM2
2 Chronicles 2 in the IRVO
2 Chronicles 2 in the IRVP
2 Chronicles 2 in the IRVT
2 Chronicles 2 in the IRVT2
2 Chronicles 2 in the IRVU
2 Chronicles 2 in the ISVN
2 Chronicles 2 in the JSNT
2 Chronicles 2 in the KAPI
2 Chronicles 2 in the KBT1ETNIK
2 Chronicles 2 in the KBV
2 Chronicles 2 in the KJV
2 Chronicles 2 in the KNFD
2 Chronicles 2 in the LBA
2 Chronicles 2 in the LBLA
2 Chronicles 2 in the LNT
2 Chronicles 2 in the LSV
2 Chronicles 2 in the MAAL
2 Chronicles 2 in the MBV
2 Chronicles 2 in the MBV2
2 Chronicles 2 in the MHNT
2 Chronicles 2 in the MKNFD
2 Chronicles 2 in the MNG
2 Chronicles 2 in the MNT
2 Chronicles 2 in the MNT2
2 Chronicles 2 in the MRS1T
2 Chronicles 2 in the NAA
2 Chronicles 2 in the NASB
2 Chronicles 2 in the NBLA
2 Chronicles 2 in the NBS
2 Chronicles 2 in the NBVTP
2 Chronicles 2 in the NET2
2 Chronicles 2 in the NIV11
2 Chronicles 2 in the NNT
2 Chronicles 2 in the NNT2
2 Chronicles 2 in the NNT3
2 Chronicles 2 in the PDDPT
2 Chronicles 2 in the PFNT
2 Chronicles 2 in the RMNT
2 Chronicles 2 in the SBIAS
2 Chronicles 2 in the SBIBS
2 Chronicles 2 in the SBIBS2
2 Chronicles 2 in the SBICS
2 Chronicles 2 in the SBIDS
2 Chronicles 2 in the SBIGS
2 Chronicles 2 in the SBIHS
2 Chronicles 2 in the SBIIS
2 Chronicles 2 in the SBIIS2
2 Chronicles 2 in the SBIIS3
2 Chronicles 2 in the SBIKS
2 Chronicles 2 in the SBIKS2
2 Chronicles 2 in the SBIMS
2 Chronicles 2 in the SBIOS
2 Chronicles 2 in the SBIPS
2 Chronicles 2 in the SBISS
2 Chronicles 2 in the SBITS
2 Chronicles 2 in the SBITS2
2 Chronicles 2 in the SBITS3
2 Chronicles 2 in the SBITS4
2 Chronicles 2 in the SBIUS
2 Chronicles 2 in the SBIVS
2 Chronicles 2 in the SBT
2 Chronicles 2 in the SBT1E
2 Chronicles 2 in the SCHL
2 Chronicles 2 in the SNT
2 Chronicles 2 in the SUSU
2 Chronicles 2 in the SUSU2
2 Chronicles 2 in the SYNO
2 Chronicles 2 in the TBIAOTANT
2 Chronicles 2 in the TBT1E
2 Chronicles 2 in the TBT1E2
2 Chronicles 2 in the TFTIP
2 Chronicles 2 in the TFTU
2 Chronicles 2 in the TGNTATF3T
2 Chronicles 2 in the THAI
2 Chronicles 2 in the TNFD
2 Chronicles 2 in the TNT
2 Chronicles 2 in the TNTIK
2 Chronicles 2 in the TNTIL
2 Chronicles 2 in the TNTIN
2 Chronicles 2 in the TNTIP
2 Chronicles 2 in the TNTIZ
2 Chronicles 2 in the TOMA
2 Chronicles 2 in the TTENT
2 Chronicles 2 in the UBG
2 Chronicles 2 in the UGV
2 Chronicles 2 in the UGV2
2 Chronicles 2 in the UGV3
2 Chronicles 2 in the VBL
2 Chronicles 2 in the VDCC
2 Chronicles 2 in the YALU
2 Chronicles 2 in the YAPE
2 Chronicles 2 in the YBVTP
2 Chronicles 2 in the ZBP