2 Chronicles 25 (BOLCB)

1 Amaziya yalina emyaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekoyadaani ow’e Yerusaalemi. 2 N’akola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, naye si na mutima ogutuukiridde. 3 Obwakabaka bwe bwanywezebwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abatta kabaka kitaawe. 4 Naye n’atatta baana baabwe, wabula n’akola ng’etteeka mu kitabo kya Musa, MUKAMA we yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw’ekibi ky’abaana baabwe, so n’abaana tebattibwenga olw’ekibi ky’abazadde baabwe, naye buli muntu anaafanga olw’ekibi kye ye.” 5 Amaziya n’akuŋŋaanya abasajja ba Yuda, n’abategeka mu nnyiriri z’ennyumba zaabwe, nga baduumirwa ab’enkumi n’ab’ebikumi mu Yuda yonna ne mu Benyamini. N’oluvannyuma n’abala abo abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo, ne baba abasajja emitwalo amakumi asatu, abaali basobola okugenda mu lutalo, era nga bayinza n’okukwata effumu n’ekitala. 6 Ate era n’agulayo n’abasajja abalala ab’amaanyi nga bazira emitwalo kkumi okuva mu Isirayiri, olwa ttani ssatu ne bisatu byakuna ebya ffeeza. 7 Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gy’ali n’amugamba nti, “Ayi kabaka, tokkiriza eggye lya Isirayiri okugenda naawe, kubanga MUKAMA tali wamu ne Isirayiri, talina n’omu gwali naye ku bantu ba Efulayimu. 8 Ate ne bw’onoogenda ng’olowooza nti oli muzira nnyo mu ntalo, Katonda alikuwaayo mu maaso g’omulabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba, n’okulekerera.” 9 Awo Amaziya n’abuuza omusajja wa Katonda nti, “Naye tunaakola tutya ku bya ttani esatu n’ebisatu byakuna ebya ffeeza ze nasasula eggye lya Isirayiri?” Omusajja wa Katonda n’addamu nti, “MUKAMA ayinziza ddala okukuwa n’ebisinga ku ebyo.” 10 Awo Amaziya n’alagira eggye eryali lizze gy’ali okuva mu Efulayimu okuddayo ewaabwe waalyo. Ne banyiigira nnyo Yuda, era ne baddayo ewaabwe nga banyiize nnyo. 11 Amaziya ne yeefungiza, n’akulembera abantu be, n’agenda mu kiwonvu eky’omunnyo n’atta abasajja omutwalo gumu ab’e Seyiri. 12 Eggye lya Yuda ne liwamba n’abasajja abalala omutwalo gumu nga balamu, ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbangabanga, ne basesebbuka ebifiififi. 13 Naye eggye liri Amaziya lye yasindika okuddayo, n’ataliganya kugenda naye mu lutalo; lyalumba ebibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne litta abantu enkumi ssatu ku bo, era ne litwala n’omunyago mungi. 14 Awo Amaziya bwe yakomawo ng’amaze okutta Abayedomu, n’aleeta bakatonda b’abantu ab’e Seyiri, n’abassaawo nga bakatonda be, n’abasinzanga, era n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa. 15 Obusungu bwa MUKAMA kyebwava bubuubuukira ku Amaziya, n’amuweereza nnabbi, eyamutegeeza nti, “Lwaki ogoberera bakatonda b’abantu, abataayinza kulokola bantu baabwe mu mukono gwo?” 16 Naye bwe yali ng’akyayogera, kabaka n’amubuuza nti, “Twali tukulonze okuba omuwi wa magezi owa kabaka? Sirika! Lwaki onoonya okuttibwa?” Awo nnabbi nga tannasirika, n’ayogera kino nti, “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga tossizaayo mwoyo ku kubuulirira kwange.” 17 Awo Amaziya kabaka wa Yuda ne yeebuuza ku bawi b’amagezi be, n’aweereza obubaka eri Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Jjangu tusisinkane amaaso n’amaaso.” 18 Naye Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda bw’ati nti, “Omwennyango ogwali mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule ogwali mu Lebanooni, nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo eri mutabani wange, amufumbirwe,’ naye ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni, ng’eyitawo, n’erinnyirira omwennyango. 19 Weewaana nga bw’owangudde Edomu, era omutima gwo gujjudde okwegulumiza n’okwenyumiriza. Naye sigala ewuwo. Lwaki onoonya emitawaana, ne weeretera okugwa, ggwe ne Yuda?” 20 Naye Amaziya n’atawuliriza, kubanga okuwangulwa abalabe baabwe kwava eri Katonda, kubanga bava ku Katonda waabwe ne banoonya bakatonda ba Edomu. 21 Awo Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’alumba, ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne basisinkana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. 22 Isirayiri n’awangula Yuda, buli muntu n’addukira ewuwe. 23 Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi n’amenyaamenya n’ekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogw’oku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu. 24 N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebintu ebirala byonna ebyali mu yeekaalu ya Katonda ebyali bikuumibwa Obededomu, wamu n’eby’obugagga eby’omu lubiri, n’abawambe, n’addayo e Samaliya. 25 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n’awangaala emyaka emirala kkumi n’ettaano, oluvannyuma olw’okufa kwa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, kabaka wa Isirayiri. 26 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri? 27 Okuva mu kiseera, Amaziya lwe yakyuka okuva ku MUKAMA, baamusalira olukwe mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi. Kyokka ne bamusindikira abasajja abaamugoberera okutuuka e Lakisi, era ne bamuttira eyo. 28 Omulambo gwe ne baguleetera ku mbalaasi, n’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.

In Other Versions

2 Chronicles 25 in the ANGEFD

2 Chronicles 25 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 25 in the AS21

2 Chronicles 25 in the BAGH

2 Chronicles 25 in the BBPNG

2 Chronicles 25 in the BBT1E

2 Chronicles 25 in the BDS

2 Chronicles 25 in the BEV

2 Chronicles 25 in the BHAD

2 Chronicles 25 in the BIB

2 Chronicles 25 in the BLPT

2 Chronicles 25 in the BNT

2 Chronicles 25 in the BNTABOOT

2 Chronicles 25 in the BNTLV

2 Chronicles 25 in the BOATCB

2 Chronicles 25 in the BOATCB2

2 Chronicles 25 in the BOBCV

2 Chronicles 25 in the BOCNT

2 Chronicles 25 in the BOECS

2 Chronicles 25 in the BOGWICC

2 Chronicles 25 in the BOHCB

2 Chronicles 25 in the BOHCV

2 Chronicles 25 in the BOHLNT

2 Chronicles 25 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 25 in the BOICB

2 Chronicles 25 in the BOILNTAP

2 Chronicles 25 in the BOITCV

2 Chronicles 25 in the BOKCV

2 Chronicles 25 in the BOKCV2

2 Chronicles 25 in the BOKHWOG

2 Chronicles 25 in the BOKSSV

2 Chronicles 25 in the BOLCB2

2 Chronicles 25 in the BOMCV

2 Chronicles 25 in the BONAV

2 Chronicles 25 in the BONCB

2 Chronicles 25 in the BONLT

2 Chronicles 25 in the BONUT2

2 Chronicles 25 in the BOPLNT

2 Chronicles 25 in the BOSCB

2 Chronicles 25 in the BOSNC

2 Chronicles 25 in the BOTLNT

2 Chronicles 25 in the BOVCB

2 Chronicles 25 in the BOYCB

2 Chronicles 25 in the BPBB

2 Chronicles 25 in the BPH

2 Chronicles 25 in the BSB

2 Chronicles 25 in the CCB

2 Chronicles 25 in the CUV

2 Chronicles 25 in the CUVS

2 Chronicles 25 in the DBT

2 Chronicles 25 in the DGDNT

2 Chronicles 25 in the DHNT

2 Chronicles 25 in the DNT

2 Chronicles 25 in the ELBE

2 Chronicles 25 in the EMTV

2 Chronicles 25 in the ESV

2 Chronicles 25 in the FBV

2 Chronicles 25 in the FEB

2 Chronicles 25 in the GGMNT

2 Chronicles 25 in the GNT

2 Chronicles 25 in the HARY

2 Chronicles 25 in the HNT

2 Chronicles 25 in the IRVA

2 Chronicles 25 in the IRVB

2 Chronicles 25 in the IRVG

2 Chronicles 25 in the IRVH

2 Chronicles 25 in the IRVK

2 Chronicles 25 in the IRVM

2 Chronicles 25 in the IRVM2

2 Chronicles 25 in the IRVO

2 Chronicles 25 in the IRVP

2 Chronicles 25 in the IRVT

2 Chronicles 25 in the IRVT2

2 Chronicles 25 in the IRVU

2 Chronicles 25 in the ISVN

2 Chronicles 25 in the JSNT

2 Chronicles 25 in the KAPI

2 Chronicles 25 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 25 in the KBV

2 Chronicles 25 in the KJV

2 Chronicles 25 in the KNFD

2 Chronicles 25 in the LBA

2 Chronicles 25 in the LBLA

2 Chronicles 25 in the LNT

2 Chronicles 25 in the LSV

2 Chronicles 25 in the MAAL

2 Chronicles 25 in the MBV

2 Chronicles 25 in the MBV2

2 Chronicles 25 in the MHNT

2 Chronicles 25 in the MKNFD

2 Chronicles 25 in the MNG

2 Chronicles 25 in the MNT

2 Chronicles 25 in the MNT2

2 Chronicles 25 in the MRS1T

2 Chronicles 25 in the NAA

2 Chronicles 25 in the NASB

2 Chronicles 25 in the NBLA

2 Chronicles 25 in the NBS

2 Chronicles 25 in the NBVTP

2 Chronicles 25 in the NET2

2 Chronicles 25 in the NIV11

2 Chronicles 25 in the NNT

2 Chronicles 25 in the NNT2

2 Chronicles 25 in the NNT3

2 Chronicles 25 in the PDDPT

2 Chronicles 25 in the PFNT

2 Chronicles 25 in the RMNT

2 Chronicles 25 in the SBIAS

2 Chronicles 25 in the SBIBS

2 Chronicles 25 in the SBIBS2

2 Chronicles 25 in the SBICS

2 Chronicles 25 in the SBIDS

2 Chronicles 25 in the SBIGS

2 Chronicles 25 in the SBIHS

2 Chronicles 25 in the SBIIS

2 Chronicles 25 in the SBIIS2

2 Chronicles 25 in the SBIIS3

2 Chronicles 25 in the SBIKS

2 Chronicles 25 in the SBIKS2

2 Chronicles 25 in the SBIMS

2 Chronicles 25 in the SBIOS

2 Chronicles 25 in the SBIPS

2 Chronicles 25 in the SBISS

2 Chronicles 25 in the SBITS

2 Chronicles 25 in the SBITS2

2 Chronicles 25 in the SBITS3

2 Chronicles 25 in the SBITS4

2 Chronicles 25 in the SBIUS

2 Chronicles 25 in the SBIVS

2 Chronicles 25 in the SBT

2 Chronicles 25 in the SBT1E

2 Chronicles 25 in the SCHL

2 Chronicles 25 in the SNT

2 Chronicles 25 in the SUSU

2 Chronicles 25 in the SUSU2

2 Chronicles 25 in the SYNO

2 Chronicles 25 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 25 in the TBT1E

2 Chronicles 25 in the TBT1E2

2 Chronicles 25 in the TFTIP

2 Chronicles 25 in the TFTU

2 Chronicles 25 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 25 in the THAI

2 Chronicles 25 in the TNFD

2 Chronicles 25 in the TNT

2 Chronicles 25 in the TNTIK

2 Chronicles 25 in the TNTIL

2 Chronicles 25 in the TNTIN

2 Chronicles 25 in the TNTIP

2 Chronicles 25 in the TNTIZ

2 Chronicles 25 in the TOMA

2 Chronicles 25 in the TTENT

2 Chronicles 25 in the UBG

2 Chronicles 25 in the UGV

2 Chronicles 25 in the UGV2

2 Chronicles 25 in the UGV3

2 Chronicles 25 in the VBL

2 Chronicles 25 in the VDCC

2 Chronicles 25 in the YALU

2 Chronicles 25 in the YAPE

2 Chronicles 25 in the YBVTP

2 Chronicles 25 in the ZBP