2 Chronicles 30 (BOLCB)

1 Awo Keezeekiya n’aweereza obubaka eri Isirayiri yonna ne Yuda, n’awandiikira ne Efulayimu ne Manase amabaluwa, ng’abayita okujja e Yerusaalemi mu yeekaalu ya MUKAMA, okukwata Embaga ey’Okuyitako eya MUKAMA Katonda wa Isirayiri. 2 Kabaka n’abakungu be, n’ekibiina kyonna mu Yerusaalemi baasalawo okukwata Embaga ey’Okuyitako mu mwezi ogwokubiri; 3 baali tebasobola kukwata mbaga eyo mu kiseera kyayo kubanga bakabona abaali beetukuzizza, baali batono ate nga n’abantu tebanakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. 4 Enteekateeka eyo n’erabika nga nnungi eri kabaka n’ekibiina kyonna. 5 Ne basalawo okulangirira mu Isirayiri yenna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Okuyitako eya MUKAMA Katonda wa Isirayiri; baali batutte ebbanga nga tebagikwata ng’ekibiina ekinene eky’awamu, nga bwe kyawandiikibwa. 6 Awo ababaka ne batwala amabaluwa mu Isirayiri yonna ne mu Yuda okuva ewa kabaka n’abakungu be, ng’ekiragiro kya kabaka bwe kyali nti,“Abantu ba Isirayiri, mudde eri MUKAMA Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, Katonda alyoke adde gye muli, mmwe ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye omukono gwa bakabaka b’e Bwasuli. 7 Temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abataali beesigwa eri MUKAMA Katonda wa bajjajjaabwe n’abafuula ekyelolerwa, nga bwe mulaba. 8 So temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali, naye mukkakkane eri MUKAMA, mujje mu watukuvu we, we yatukuza emirembe gyonna, muweereze MUKAMA Katonda wammwe, obusungu bwe bubaveeko. 9 Bwe munadda eri MUKAMA, olwo ne baganda bammwe n’abaana bammwe banaalaba ekisa mu maaso g’abo abaabawamba, ne bakomawo mu nsi eno. MUKAMA Katonda wammwe wa kisa era ajjudde okusaasira, so taakyuse maaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.” 10 Ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu ne Manase, ne batuuka ne mu Zebbulooni, naye abasinga obungi ne babasekerera, ne babaduulira. 11 Kyokka abamu ku bantu ab’e Aseri, ne Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bagenda e Yerusaalemi. 12 Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu ne bakkiriziganya ku ekyo kabaka n’abakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya MUKAMA. 13 Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokubiri okukwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. 14 Ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi, n’ebyoto byonna eby’okwoterezaako obubaane, ne babisuula mu Kiwonvu Kidulooni. 15 Ne batta Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogwokubiri. Bakabona n’Abaleevi ne baswala, ne beetukuza, ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya MUKAMA. 16 Ne bayimirira mu bifo byabwe ng’etteeka lya Musa omusajja wa Katonda bwe lyali libalagira. Bakabona ne bamansira omusaayi ogwabaweerezebwa Abaleevi. 17 Bangi ku bo, baali tebeetukuzizza nga tebasobola kuwaayo ndiga zaabwe; Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako, okubatukuza eri MUKAMA. 18 Newaakubadde ng’abantu abasinga abaava mu Efulayimu, ne Manase, ne Isakaali, ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, baalya Embaga ey’Okuyitako, ekyali tekikkiriziganya na biwandiike. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti, “MUKAMA omulungi asonyiwe buli muntu 19 amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, MUKAMA Katonda wa bajjajjaabe, newaakubadde nga tabadde mulongoofu okusinziira ku mateeka g’awatukuvu.” 20 MUKAMA n’awulira okusaba kwa Keezeekiya, n’atabazikiriza. 21 Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi ne bakwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu nga bajjudde essanyu lingi; Abaleevi ne bakabona ne batenderezanga MUKAMA buli lunaku, nga bakuba n’ebivuga eby’okumutendereza. 22 Keezeekiya n’ayogera ebigambo eby’okugumya Abaleevi bonna abaalaga nga bategeera obuweereza bwa MUKAMA. Abantu ne balya emmere ey’embaga okumala ennaku musanvu, ne bawaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, ne batendereza MUKAMA Katonda wa bajjajjaabwe. 23 Ekibiina kyonna ne bakkiriziganya okweyongerayo ennaku endala musanvu nga bali ku mbaga; bwe batyo ne bamala ennaku endala musanvu nga bajaguza. 24 Keezeekiya kabaka wa Yuda n’awa ekibiina ente ennume nga nto lukumi n’endiga kasanvu okuba ebiweebwayo, ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza. 25 Ekibiina kyonna ekya Yuda, ne bakabona, n’Abaleevi, n’ekibiina kyonna ekyava mu Isirayiri, n’abagenyi abaali bavudde mu nsi ya Isirayiri, n’abagenyi abaabeeranga mu Yuda ne bajaguliza wamu. 26 Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, waali tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi. 27 Awo bakabona n’Abaleevi ne bayimirira ne basabira abantu omukisa, Katonda n’abawulira; kubanga okusaba kwabwe kwatuuka mu kifo kye ekitukuvu gy’abeera, mu ggulu.

In Other Versions

2 Chronicles 30 in the ANGEFD

2 Chronicles 30 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 30 in the AS21

2 Chronicles 30 in the BAGH

2 Chronicles 30 in the BBPNG

2 Chronicles 30 in the BBT1E

2 Chronicles 30 in the BDS

2 Chronicles 30 in the BEV

2 Chronicles 30 in the BHAD

2 Chronicles 30 in the BIB

2 Chronicles 30 in the BLPT

2 Chronicles 30 in the BNT

2 Chronicles 30 in the BNTABOOT

2 Chronicles 30 in the BNTLV

2 Chronicles 30 in the BOATCB

2 Chronicles 30 in the BOATCB2

2 Chronicles 30 in the BOBCV

2 Chronicles 30 in the BOCNT

2 Chronicles 30 in the BOECS

2 Chronicles 30 in the BOGWICC

2 Chronicles 30 in the BOHCB

2 Chronicles 30 in the BOHCV

2 Chronicles 30 in the BOHLNT

2 Chronicles 30 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 30 in the BOICB

2 Chronicles 30 in the BOILNTAP

2 Chronicles 30 in the BOITCV

2 Chronicles 30 in the BOKCV

2 Chronicles 30 in the BOKCV2

2 Chronicles 30 in the BOKHWOG

2 Chronicles 30 in the BOKSSV

2 Chronicles 30 in the BOLCB2

2 Chronicles 30 in the BOMCV

2 Chronicles 30 in the BONAV

2 Chronicles 30 in the BONCB

2 Chronicles 30 in the BONLT

2 Chronicles 30 in the BONUT2

2 Chronicles 30 in the BOPLNT

2 Chronicles 30 in the BOSCB

2 Chronicles 30 in the BOSNC

2 Chronicles 30 in the BOTLNT

2 Chronicles 30 in the BOVCB

2 Chronicles 30 in the BOYCB

2 Chronicles 30 in the BPBB

2 Chronicles 30 in the BPH

2 Chronicles 30 in the BSB

2 Chronicles 30 in the CCB

2 Chronicles 30 in the CUV

2 Chronicles 30 in the CUVS

2 Chronicles 30 in the DBT

2 Chronicles 30 in the DGDNT

2 Chronicles 30 in the DHNT

2 Chronicles 30 in the DNT

2 Chronicles 30 in the ELBE

2 Chronicles 30 in the EMTV

2 Chronicles 30 in the ESV

2 Chronicles 30 in the FBV

2 Chronicles 30 in the FEB

2 Chronicles 30 in the GGMNT

2 Chronicles 30 in the GNT

2 Chronicles 30 in the HARY

2 Chronicles 30 in the HNT

2 Chronicles 30 in the IRVA

2 Chronicles 30 in the IRVB

2 Chronicles 30 in the IRVG

2 Chronicles 30 in the IRVH

2 Chronicles 30 in the IRVK

2 Chronicles 30 in the IRVM

2 Chronicles 30 in the IRVM2

2 Chronicles 30 in the IRVO

2 Chronicles 30 in the IRVP

2 Chronicles 30 in the IRVT

2 Chronicles 30 in the IRVT2

2 Chronicles 30 in the IRVU

2 Chronicles 30 in the ISVN

2 Chronicles 30 in the JSNT

2 Chronicles 30 in the KAPI

2 Chronicles 30 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 30 in the KBV

2 Chronicles 30 in the KJV

2 Chronicles 30 in the KNFD

2 Chronicles 30 in the LBA

2 Chronicles 30 in the LBLA

2 Chronicles 30 in the LNT

2 Chronicles 30 in the LSV

2 Chronicles 30 in the MAAL

2 Chronicles 30 in the MBV

2 Chronicles 30 in the MBV2

2 Chronicles 30 in the MHNT

2 Chronicles 30 in the MKNFD

2 Chronicles 30 in the MNG

2 Chronicles 30 in the MNT

2 Chronicles 30 in the MNT2

2 Chronicles 30 in the MRS1T

2 Chronicles 30 in the NAA

2 Chronicles 30 in the NASB

2 Chronicles 30 in the NBLA

2 Chronicles 30 in the NBS

2 Chronicles 30 in the NBVTP

2 Chronicles 30 in the NET2

2 Chronicles 30 in the NIV11

2 Chronicles 30 in the NNT

2 Chronicles 30 in the NNT2

2 Chronicles 30 in the NNT3

2 Chronicles 30 in the PDDPT

2 Chronicles 30 in the PFNT

2 Chronicles 30 in the RMNT

2 Chronicles 30 in the SBIAS

2 Chronicles 30 in the SBIBS

2 Chronicles 30 in the SBIBS2

2 Chronicles 30 in the SBICS

2 Chronicles 30 in the SBIDS

2 Chronicles 30 in the SBIGS

2 Chronicles 30 in the SBIHS

2 Chronicles 30 in the SBIIS

2 Chronicles 30 in the SBIIS2

2 Chronicles 30 in the SBIIS3

2 Chronicles 30 in the SBIKS

2 Chronicles 30 in the SBIKS2

2 Chronicles 30 in the SBIMS

2 Chronicles 30 in the SBIOS

2 Chronicles 30 in the SBIPS

2 Chronicles 30 in the SBISS

2 Chronicles 30 in the SBITS

2 Chronicles 30 in the SBITS2

2 Chronicles 30 in the SBITS3

2 Chronicles 30 in the SBITS4

2 Chronicles 30 in the SBIUS

2 Chronicles 30 in the SBIVS

2 Chronicles 30 in the SBT

2 Chronicles 30 in the SBT1E

2 Chronicles 30 in the SCHL

2 Chronicles 30 in the SNT

2 Chronicles 30 in the SUSU

2 Chronicles 30 in the SUSU2

2 Chronicles 30 in the SYNO

2 Chronicles 30 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 30 in the TBT1E

2 Chronicles 30 in the TBT1E2

2 Chronicles 30 in the TFTIP

2 Chronicles 30 in the TFTU

2 Chronicles 30 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 30 in the THAI

2 Chronicles 30 in the TNFD

2 Chronicles 30 in the TNT

2 Chronicles 30 in the TNTIK

2 Chronicles 30 in the TNTIL

2 Chronicles 30 in the TNTIN

2 Chronicles 30 in the TNTIP

2 Chronicles 30 in the TNTIZ

2 Chronicles 30 in the TOMA

2 Chronicles 30 in the TTENT

2 Chronicles 30 in the UBG

2 Chronicles 30 in the UGV

2 Chronicles 30 in the UGV2

2 Chronicles 30 in the UGV3

2 Chronicles 30 in the VBL

2 Chronicles 30 in the VDCC

2 Chronicles 30 in the YALU

2 Chronicles 30 in the YAPE

2 Chronicles 30 in the YBVTP

2 Chronicles 30 in the ZBP