2 Chronicles 33 (BOLCB)
1 Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi n’ebiri, n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. 2 N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga MUKAMA, ng’agoberera ebikolwa eby’ekivve eby’amawanga MUKAMA ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. 3 N’addaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, n’azimbira ne Baali ebyoto, n’akola ne Baasera, n’asinza era n’aweereza n’eggye lyonna ery’oku ggulu. 4 N’azimba ebyoto mu yeekaalu ya MUKAMA, MUKAMA gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.” 5 N’azimba ebyoto eby’okusinzizangako eggye lyonna ery’oku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya MUKAMA. 6 N’awaayo abaana be ng’ekiweebwayo, n’abookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’akola eby’obufumu, n’alagulira mu bire, n’akola eby’obulogo, n’agendanga n’eri abaliko emizimu ne ddayimooni. N’akola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga MUKAMA, n’asunguwaza nnyo MUKAMA. 7 N’addira ekifaananyi ekyole kye yakola, n’akiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna. 8 Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, n’ebiragiro, n’obulombolombo bye nnawa Musa.” 9 Naye Manase n’asendasenda Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga MUKAMA ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri. 10 MUKAMA n’ayogera ne Manase n’abantu be, kyokka ne batassaayo mwoyo. 11 MUKAMA kyeyava abasindikira abaduumizi b’eggye lya kabaka w’e Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bateeka eddobo mu nnyindo ye, ne bamutwala e Babulooni nga musibe. 12 Ng’ali eyo mu nnaku ye, ne yeegayirira MUKAMA Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. 13 N’amusaba, MUKAMA n’awulira okwegayirira kwe, n’amukomyawo e Yerusaalemi n’eri obwakabaka bwe. Awo Manase n’ategeera nga MUKAMA ye Katonda. 14 Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda. 15 N’aggyamu bakatonda abamawanga n’ekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya MUKAMA, n’ebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga. 16 N’addaabiriza ekyoto kya MUKAMA, n’aweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga MUKAMA Katonda wa Isirayiri. 17 Wabula abantu bo, ne beeyongera okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, nga baziwaayo eri MUKAMA Katonda waabwe. 18 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ng’omwo mwe muli okusaba kwe eri MUKAMA n’ebigambo abalabi bye baamutegeezanga mu linnya lya MUKAMA Katonda wa Isirayiri, byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 19 Okusaba kwe, n’okusaasira kwa Katonda gy’ali, n’ebibi bye, n’obutali bwesigwa bwe, n’ebifo ebigulumivu bye yazimba, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole bye yassaawo nga taneetoowaza, byonna byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gy’abalabi. 20 Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu lubiri lwe, Amoni mutabani we n’amusikira. 21 Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka. 22 N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga MUKAMA, nga Manase kitaawe bwe yakola. 23 Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, Amoni n’ayongera ekibi ku kibi, n’ateetoowaza mu maaso ga MUKAMA. 24 Abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe ne bamuttira mu lubiri lwe. 25 Naye Abantu ab’omu nsi ne batta abo bonna abasala olukwe okutta kabaka Amoni; ne bafuula Yosiya mutabani we okuba kabaka mu kifo kye.
In Other Versions
2 Chronicles 33 in the ANGEFD
2 Chronicles 33 in the ANTPNG2D
2 Chronicles 33 in the AS21
2 Chronicles 33 in the BAGH
2 Chronicles 33 in the BBPNG
2 Chronicles 33 in the BBT1E
2 Chronicles 33 in the BDS
2 Chronicles 33 in the BEV
2 Chronicles 33 in the BHAD
2 Chronicles 33 in the BIB
2 Chronicles 33 in the BLPT
2 Chronicles 33 in the BNT
2 Chronicles 33 in the BNTABOOT
2 Chronicles 33 in the BNTLV
2 Chronicles 33 in the BOATCB
2 Chronicles 33 in the BOATCB2
2 Chronicles 33 in the BOBCV
2 Chronicles 33 in the BOCNT
2 Chronicles 33 in the BOECS
2 Chronicles 33 in the BOGWICC
2 Chronicles 33 in the BOHCB
2 Chronicles 33 in the BOHCV
2 Chronicles 33 in the BOHLNT
2 Chronicles 33 in the BOHNTLTAL
2 Chronicles 33 in the BOICB
2 Chronicles 33 in the BOILNTAP
2 Chronicles 33 in the BOITCV
2 Chronicles 33 in the BOKCV
2 Chronicles 33 in the BOKCV2
2 Chronicles 33 in the BOKHWOG
2 Chronicles 33 in the BOKSSV
2 Chronicles 33 in the BOLCB2
2 Chronicles 33 in the BOMCV
2 Chronicles 33 in the BONAV
2 Chronicles 33 in the BONCB
2 Chronicles 33 in the BONLT
2 Chronicles 33 in the BONUT2
2 Chronicles 33 in the BOPLNT
2 Chronicles 33 in the BOSCB
2 Chronicles 33 in the BOSNC
2 Chronicles 33 in the BOTLNT
2 Chronicles 33 in the BOVCB
2 Chronicles 33 in the BOYCB
2 Chronicles 33 in the BPBB
2 Chronicles 33 in the BPH
2 Chronicles 33 in the BSB
2 Chronicles 33 in the CCB
2 Chronicles 33 in the CUV
2 Chronicles 33 in the CUVS
2 Chronicles 33 in the DBT
2 Chronicles 33 in the DGDNT
2 Chronicles 33 in the DHNT
2 Chronicles 33 in the DNT
2 Chronicles 33 in the ELBE
2 Chronicles 33 in the EMTV
2 Chronicles 33 in the ESV
2 Chronicles 33 in the FBV
2 Chronicles 33 in the FEB
2 Chronicles 33 in the GGMNT
2 Chronicles 33 in the GNT
2 Chronicles 33 in the HARY
2 Chronicles 33 in the HNT
2 Chronicles 33 in the IRVA
2 Chronicles 33 in the IRVB
2 Chronicles 33 in the IRVG
2 Chronicles 33 in the IRVH
2 Chronicles 33 in the IRVK
2 Chronicles 33 in the IRVM
2 Chronicles 33 in the IRVM2
2 Chronicles 33 in the IRVO
2 Chronicles 33 in the IRVP
2 Chronicles 33 in the IRVT
2 Chronicles 33 in the IRVT2
2 Chronicles 33 in the IRVU
2 Chronicles 33 in the ISVN
2 Chronicles 33 in the JSNT
2 Chronicles 33 in the KAPI
2 Chronicles 33 in the KBT1ETNIK
2 Chronicles 33 in the KBV
2 Chronicles 33 in the KJV
2 Chronicles 33 in the KNFD
2 Chronicles 33 in the LBA
2 Chronicles 33 in the LBLA
2 Chronicles 33 in the LNT
2 Chronicles 33 in the LSV
2 Chronicles 33 in the MAAL
2 Chronicles 33 in the MBV
2 Chronicles 33 in the MBV2
2 Chronicles 33 in the MHNT
2 Chronicles 33 in the MKNFD
2 Chronicles 33 in the MNG
2 Chronicles 33 in the MNT
2 Chronicles 33 in the MNT2
2 Chronicles 33 in the MRS1T
2 Chronicles 33 in the NAA
2 Chronicles 33 in the NASB
2 Chronicles 33 in the NBLA
2 Chronicles 33 in the NBS
2 Chronicles 33 in the NBVTP
2 Chronicles 33 in the NET2
2 Chronicles 33 in the NIV11
2 Chronicles 33 in the NNT
2 Chronicles 33 in the NNT2
2 Chronicles 33 in the NNT3
2 Chronicles 33 in the PDDPT
2 Chronicles 33 in the PFNT
2 Chronicles 33 in the RMNT
2 Chronicles 33 in the SBIAS
2 Chronicles 33 in the SBIBS
2 Chronicles 33 in the SBIBS2
2 Chronicles 33 in the SBICS
2 Chronicles 33 in the SBIDS
2 Chronicles 33 in the SBIGS
2 Chronicles 33 in the SBIHS
2 Chronicles 33 in the SBIIS
2 Chronicles 33 in the SBIIS2
2 Chronicles 33 in the SBIIS3
2 Chronicles 33 in the SBIKS
2 Chronicles 33 in the SBIKS2
2 Chronicles 33 in the SBIMS
2 Chronicles 33 in the SBIOS
2 Chronicles 33 in the SBIPS
2 Chronicles 33 in the SBISS
2 Chronicles 33 in the SBITS
2 Chronicles 33 in the SBITS2
2 Chronicles 33 in the SBITS3
2 Chronicles 33 in the SBITS4
2 Chronicles 33 in the SBIUS
2 Chronicles 33 in the SBIVS
2 Chronicles 33 in the SBT
2 Chronicles 33 in the SBT1E
2 Chronicles 33 in the SCHL
2 Chronicles 33 in the SNT
2 Chronicles 33 in the SUSU
2 Chronicles 33 in the SUSU2
2 Chronicles 33 in the SYNO
2 Chronicles 33 in the TBIAOTANT
2 Chronicles 33 in the TBT1E
2 Chronicles 33 in the TBT1E2
2 Chronicles 33 in the TFTIP
2 Chronicles 33 in the TFTU
2 Chronicles 33 in the TGNTATF3T
2 Chronicles 33 in the THAI
2 Chronicles 33 in the TNFD
2 Chronicles 33 in the TNT
2 Chronicles 33 in the TNTIK
2 Chronicles 33 in the TNTIL
2 Chronicles 33 in the TNTIN
2 Chronicles 33 in the TNTIP
2 Chronicles 33 in the TNTIZ
2 Chronicles 33 in the TOMA
2 Chronicles 33 in the TTENT
2 Chronicles 33 in the UBG
2 Chronicles 33 in the UGV
2 Chronicles 33 in the UGV2
2 Chronicles 33 in the UGV3
2 Chronicles 33 in the VBL
2 Chronicles 33 in the VDCC
2 Chronicles 33 in the YALU
2 Chronicles 33 in the YAPE
2 Chronicles 33 in the YBVTP
2 Chronicles 33 in the ZBP