2 Kings 13 (BOLCB)

1 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda, Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya era n’afugira emyaka kkumi na musanvu. 2 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA ng’akola ebibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri, ate n’atabirekaayo. 3 Obusungu bwa MUKAMA ne bubuubuukira ku Isirayiri, n’abawaayo okubeera wansi ow’omukono gwa Kazayeeri kabaka w’e Busuuli ne Benikadadi mutabani we. 4 Awo Yekoyakaazi ne yegayirira MUKAMA, MUKAMA n’amuwulira, era n’alaba okucocca, kabaka w’e Busuuli kwe yacoccanga Isirayiri. 5 MUKAMA n’abaddiramu n’abawa omulokozi, ne bawona obufuzi bw’Abasuuli, n’oluvannyuma Abayisirayiri ne babeeranga mirembe mu nnyumba zaabwe nga bwe baali olubereberye. 6 Naye ne batalekaayo kukola ebibi eby’ennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula beeyongeranga bweyongezi okubikola. N’empagi ey’Asera n’esigalayo mu Samaliya. 7 MUKAMA teyalekerawo ggye lya Yekoyakaazi kintu okuggyako abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano, n’amagaali kkumi, n’abaserikale ab’ebigere omutwalo gumu, kubanga kabaka w’e Busuuli yabizikiriza, n’abifuula ng’enfuufu ey’omu gguuliro. 8 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyakaazi, ne bye yakola byonna, n’ebyobuzira bwe byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 9 Yekoyakaazi n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yowaasi mutabani we n’amusikira. 10 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu. 11 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA, n’atalekaayo ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula ne yeeyongera bweyongezi okubikola. 12 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, bye yakola byonna, n’amaanyi ge, nga kwe kuli n’olutalo lwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 13 Yekoyaasi n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka. 14 Awo mu biro ebyo Erisa n’alwala nnyo, endwadde eyamutta, Yowaasi n’aserengeta gy’ali okumulaba, n’akaabira amaziga, mu maaso ge ng’agamba nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” 15 Erisa n’amuddamu nti, “Ffuna omutego n’obusaale,” era n’akola bw’atyo. 16 N’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bikwate mu ngalo.” Bwe yamala okukola ekyo, Erisa n’ateeka emikono gye ku gya kabaka. 17 Erisa n’amugamba nti, “Ggulawo eddirisa ery’ebuvanjuba,” n’aliggulawo. N’amulagira okulasa. Erisa n’ayogera nti, “Akasaale ka MUKAMA ak’obuwanguzi, akasaale ak’obuwanguzi eri Obusuuli, era ojja kusaanyizaawo ddala Abasuuli mu Afeki.” 18 N’amugamba nti, “Kwata obusaale,” n’abukwata. N’agamba kabaka wa Isirayiri okulasa ettaka. N’alirasa emirundi esatu, n’akoma awo. 19 Omusajja wa Katonda n’amunyiigira, n’amugamba nti, “Wandirasizza emirundi etaano oba mukaaga, olwo n’olyoka owangulira ddala Abasuuli era n’obasaanyaawo. Naye kaakano olibawangula emirundi esatu gyokka.” 20 Erisa n’afa, n’aziikibwa.Ebibinja by’Abamowaabu byateranga okulumba ensi ku ntandikwa ya buli mwaka. 21 Awo olwatuuka, Abayisirayiri abamu baali baziika omusajja, ne balengera ekibinja eky’abasajja nga kijja, ne basuula omulambo gwe mu ntaana ya Erisa ne badduka. Omulambo gwe bwe gw’akoma ku magumba ga Erisa omusajja n’alamuka, era n’ayimirira. 22 Mu kiseera kye kimu Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’ajooga Isirayiri ebbanga lyonna Yekoyakaazi we yabeerera kabaka. 23 Naye MUKAMA n’abakwatirwa ekisa n’abasaasira, era n’assaayo omwoyo gye bali olw’endagaano gye yakola ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nti talibazikiririza ddala. N’okutuusa ku lunaku olwa leero tayagalanga kubazikiriza okuva mu maaso ge. 24 Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’afa, Benikadadi mutabani we n’amusikira. 25 Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’awamba nate ebibuga Benikadadi mutabani wa Kazayeeri bye yali awambye ku kitaawe Yekoyakaazi mu ntalo. Yowaasi ye n’amuwangula emirundi esatu, era n’akomyawo ebibuga bya Isirayiri ebyali biwambiddwa.

In Other Versions

2 Kings 13 in the ANGEFD

2 Kings 13 in the ANTPNG2D

2 Kings 13 in the AS21

2 Kings 13 in the BAGH

2 Kings 13 in the BBPNG

2 Kings 13 in the BBT1E

2 Kings 13 in the BDS

2 Kings 13 in the BEV

2 Kings 13 in the BHAD

2 Kings 13 in the BIB

2 Kings 13 in the BLPT

2 Kings 13 in the BNT

2 Kings 13 in the BNTABOOT

2 Kings 13 in the BNTLV

2 Kings 13 in the BOATCB

2 Kings 13 in the BOATCB2

2 Kings 13 in the BOBCV

2 Kings 13 in the BOCNT

2 Kings 13 in the BOECS

2 Kings 13 in the BOGWICC

2 Kings 13 in the BOHCB

2 Kings 13 in the BOHCV

2 Kings 13 in the BOHLNT

2 Kings 13 in the BOHNTLTAL

2 Kings 13 in the BOICB

2 Kings 13 in the BOILNTAP

2 Kings 13 in the BOITCV

2 Kings 13 in the BOKCV

2 Kings 13 in the BOKCV2

2 Kings 13 in the BOKHWOG

2 Kings 13 in the BOKSSV

2 Kings 13 in the BOLCB2

2 Kings 13 in the BOMCV

2 Kings 13 in the BONAV

2 Kings 13 in the BONCB

2 Kings 13 in the BONLT

2 Kings 13 in the BONUT2

2 Kings 13 in the BOPLNT

2 Kings 13 in the BOSCB

2 Kings 13 in the BOSNC

2 Kings 13 in the BOTLNT

2 Kings 13 in the BOVCB

2 Kings 13 in the BOYCB

2 Kings 13 in the BPBB

2 Kings 13 in the BPH

2 Kings 13 in the BSB

2 Kings 13 in the CCB

2 Kings 13 in the CUV

2 Kings 13 in the CUVS

2 Kings 13 in the DBT

2 Kings 13 in the DGDNT

2 Kings 13 in the DHNT

2 Kings 13 in the DNT

2 Kings 13 in the ELBE

2 Kings 13 in the EMTV

2 Kings 13 in the ESV

2 Kings 13 in the FBV

2 Kings 13 in the FEB

2 Kings 13 in the GGMNT

2 Kings 13 in the GNT

2 Kings 13 in the HARY

2 Kings 13 in the HNT

2 Kings 13 in the IRVA

2 Kings 13 in the IRVB

2 Kings 13 in the IRVG

2 Kings 13 in the IRVH

2 Kings 13 in the IRVK

2 Kings 13 in the IRVM

2 Kings 13 in the IRVM2

2 Kings 13 in the IRVO

2 Kings 13 in the IRVP

2 Kings 13 in the IRVT

2 Kings 13 in the IRVT2

2 Kings 13 in the IRVU

2 Kings 13 in the ISVN

2 Kings 13 in the JSNT

2 Kings 13 in the KAPI

2 Kings 13 in the KBT1ETNIK

2 Kings 13 in the KBV

2 Kings 13 in the KJV

2 Kings 13 in the KNFD

2 Kings 13 in the LBA

2 Kings 13 in the LBLA

2 Kings 13 in the LNT

2 Kings 13 in the LSV

2 Kings 13 in the MAAL

2 Kings 13 in the MBV

2 Kings 13 in the MBV2

2 Kings 13 in the MHNT

2 Kings 13 in the MKNFD

2 Kings 13 in the MNG

2 Kings 13 in the MNT

2 Kings 13 in the MNT2

2 Kings 13 in the MRS1T

2 Kings 13 in the NAA

2 Kings 13 in the NASB

2 Kings 13 in the NBLA

2 Kings 13 in the NBS

2 Kings 13 in the NBVTP

2 Kings 13 in the NET2

2 Kings 13 in the NIV11

2 Kings 13 in the NNT

2 Kings 13 in the NNT2

2 Kings 13 in the NNT3

2 Kings 13 in the PDDPT

2 Kings 13 in the PFNT

2 Kings 13 in the RMNT

2 Kings 13 in the SBIAS

2 Kings 13 in the SBIBS

2 Kings 13 in the SBIBS2

2 Kings 13 in the SBICS

2 Kings 13 in the SBIDS

2 Kings 13 in the SBIGS

2 Kings 13 in the SBIHS

2 Kings 13 in the SBIIS

2 Kings 13 in the SBIIS2

2 Kings 13 in the SBIIS3

2 Kings 13 in the SBIKS

2 Kings 13 in the SBIKS2

2 Kings 13 in the SBIMS

2 Kings 13 in the SBIOS

2 Kings 13 in the SBIPS

2 Kings 13 in the SBISS

2 Kings 13 in the SBITS

2 Kings 13 in the SBITS2

2 Kings 13 in the SBITS3

2 Kings 13 in the SBITS4

2 Kings 13 in the SBIUS

2 Kings 13 in the SBIVS

2 Kings 13 in the SBT

2 Kings 13 in the SBT1E

2 Kings 13 in the SCHL

2 Kings 13 in the SNT

2 Kings 13 in the SUSU

2 Kings 13 in the SUSU2

2 Kings 13 in the SYNO

2 Kings 13 in the TBIAOTANT

2 Kings 13 in the TBT1E

2 Kings 13 in the TBT1E2

2 Kings 13 in the TFTIP

2 Kings 13 in the TFTU

2 Kings 13 in the TGNTATF3T

2 Kings 13 in the THAI

2 Kings 13 in the TNFD

2 Kings 13 in the TNT

2 Kings 13 in the TNTIK

2 Kings 13 in the TNTIL

2 Kings 13 in the TNTIN

2 Kings 13 in the TNTIP

2 Kings 13 in the TNTIZ

2 Kings 13 in the TOMA

2 Kings 13 in the TTENT

2 Kings 13 in the UBG

2 Kings 13 in the UGV

2 Kings 13 in the UGV2

2 Kings 13 in the UGV3

2 Kings 13 in the VBL

2 Kings 13 in the VDCC

2 Kings 13 in the YALU

2 Kings 13 in the YAPE

2 Kings 13 in the YBVTP

2 Kings 13 in the ZBP