2 Kings 3 (BOLCB)

1 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obwakabaka bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, Yekolaamu mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri e Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri. 2 Yakola ebibi mu maaso ga MUKAMA, newaakubadde nga teyatuuka ku bibi bya kitaawe ne nnyina. Yazikiriza n’empagi eya Baali kitaawe gye yali asimbye. 3 Newaakubadde ng’ekyo yakikola, teyalekayo kukola ebibi ng’ebyo Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola, n’ayonoonyesa Isirayiri. 4 Mesa Kabaka wa Mowaabu yalundanga endiga, era yalina omutemwa ogw’okuwangayo abaana b’endiga emitwalo kkumi, n’ebyoya by’endiga ennume emitwalo kkumi eri Akabu. 5 Naye Akabu olwafa, kabaka wa Mowaabu n’atandika okujeemera kabaka wa Isirayiri. 6 Awo mu biro ebyo kabaka Yekolaamu n’asitula okuva e Samaliya, n’akunga Isirayiri yenna okugenda naye. 7 N’atumira ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde, onooyinza okumbeera tumulwanyise?”Yekosafaati n’amuddamu nti, “Nnaagenda naawe, kubanga nze ndi nga bw’oli, era abantu bange be bantu bo, n’embalaasi zange ze zizo.” 8 Yekosafaati n’amubuuza nti, “Ye, tunaalumba kuva ku luuyi ki?” Yekolaamu n’amuddamu nti, “Tunaayita mu ddungu erya Edomu.” 9 Awo kabaka wa Isirayiri, n’asitukira wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu ne bagenda mu lutalo. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu, n’oluvannyuma ne beesanga ng’eggye amazzi galiweddeko, nga n’ebisolo byabwe tebirina wadde ettondo. 10 Kabaka wa Isirayiri ne yeekanga nnyo. N’ayogera nti, “Zitusanze! Ffenna abasatu, MUKAMA atuwaddeyo mu mukono gwa Mowaabu?” 11 Kyokka Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa MUKAMA tumwebuuzeeko?” Awo omu ku bakungu ba kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Wano waliwo Erisa mutabani wa Safati. Ye yali omuweereza wa Eriya ow’oku mwanjo.” 12 Yekosafaati n’ayogera nti, “Alina ekigambo okuva eri MUKAMA.” Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda, awamu ne kabaka wa Isirayiri, ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy’ali. 13 Awo Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Onnanga ki? Genda eri bannabbi ba kitaawo n’aba maama wo.” Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Nedda sijja kugendayo; kubanga kirabika nga MUKAMA atukuŋŋaanyiza ffensatule, okutuwaayo mu mukono gwa Mowaabu.” 14 Erisa n’ayogera nti, “Nga MUKAMA Katonda Ayinzabyonna gwe mpeereza bw’ali omulamu, singa nnali siwa Yekosafaati kabaka wa Yuda kitiibwa, sandikukubyeko munye ya liiso wadde okukusaako omwoyo. 15 Naye kaakano, mundeetere omukubi w’ennanga.” Omukubi w’ennanga bwe yali ng’akyakuba ennanga, amaanyi ga MUKAMA ne gakka ku Erisa, 16 n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Musime ensalosalo mu kiwonvu kino.’ 17 MUKAMA agamba nti, ‘Temuulabe mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi, era mmwe munaanywa, n’ente zammwe zinaanywa, n’ebisolo byammwe ebirala nabyo binywe. 18 Eyo nsonga nnyangu mu maaso ga MUKAMA, era n’Abamowaabu mujja kubawangula. 19 Mulizikiriza buli kibuga ekyetooloddwa bbugwe na buli kibuga ekikulu, era mulitema buli muti omulungi, ne muziyiza n’enzizi okuleeta amazzi, era ne mwonoona buli nnimiro nga mugijjuza amayinja.’ ” 20 Awo obudde bwe bwakya, mu kiseera eky’okuweerayo ssaddaaka, amazzi ne gakulukuta nga gava ku luuyi olwa Edomu, ensi n’ejjula amazzi. 21 Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka babalumbye okulwana nabo, buli musajja, omuto n’omukulu abaali basobola okwambala ebyokulwanyisa, ne bayitibwa okugenda okutabaala. 22 Enkeera enjuba bwe yayaka ku mazzi, Abamowaabu ne balowooza nti amazzi mamyufu kubanga gaabalabikira ng’omusaayi. 23 Ne bagamba nti, “Guno musaayi! Kirabika nga bakabaka baalwanye bokka ne bokka, ne battiŋŋana, kale Mowaabu mugwe ku munyago.” 24 Naye Abamowaabu bwe baali nga baakayingira mu nkambi y’Abayisirayiri, amangwago Abayisirayiri ne batandika okulwana nabo, okutuusa Abamowaabu lwe badduka. 25 Ne bamenyaamenya ebibuga by’Abamowaabu, ne bakanyuga amayinja ku buli kibanja ekirungi okutuusa lwe gaakolangako entuumo; ne baziba enzizi zonna ez’amazzi, ne batema na buli muti omulungi. Kirukalesesi kye kifo kyokka ekyali kitalumbiddwa, naye oluvannyuma abasajja ab’envuumuulo ne bakirumba. 26 Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumugendedde bubi, n’atwala abasajja ab’ebitala lusanvu, ne bagenda naye okulumba kabaka wa Edomu, kyokka ne balemelerwa. 27 N’addira mutabani we omuggulanda, eyali ateekwa okumusikira, n’amuweerayo ku bbugwe w’ekibuga ng’ekiweebwayo ekyokebwa. Abayisirayiri ne beesisiwala nnyo ne beetamwa, era ne baddayo mu nsi yaabwe.

In Other Versions

2 Kings 3 in the ANGEFD

2 Kings 3 in the ANTPNG2D

2 Kings 3 in the AS21

2 Kings 3 in the BAGH

2 Kings 3 in the BBPNG

2 Kings 3 in the BBT1E

2 Kings 3 in the BDS

2 Kings 3 in the BEV

2 Kings 3 in the BHAD

2 Kings 3 in the BIB

2 Kings 3 in the BLPT

2 Kings 3 in the BNT

2 Kings 3 in the BNTABOOT

2 Kings 3 in the BNTLV

2 Kings 3 in the BOATCB

2 Kings 3 in the BOATCB2

2 Kings 3 in the BOBCV

2 Kings 3 in the BOCNT

2 Kings 3 in the BOECS

2 Kings 3 in the BOGWICC

2 Kings 3 in the BOHCB

2 Kings 3 in the BOHCV

2 Kings 3 in the BOHLNT

2 Kings 3 in the BOHNTLTAL

2 Kings 3 in the BOICB

2 Kings 3 in the BOILNTAP

2 Kings 3 in the BOITCV

2 Kings 3 in the BOKCV

2 Kings 3 in the BOKCV2

2 Kings 3 in the BOKHWOG

2 Kings 3 in the BOKSSV

2 Kings 3 in the BOLCB2

2 Kings 3 in the BOMCV

2 Kings 3 in the BONAV

2 Kings 3 in the BONCB

2 Kings 3 in the BONLT

2 Kings 3 in the BONUT2

2 Kings 3 in the BOPLNT

2 Kings 3 in the BOSCB

2 Kings 3 in the BOSNC

2 Kings 3 in the BOTLNT

2 Kings 3 in the BOVCB

2 Kings 3 in the BOYCB

2 Kings 3 in the BPBB

2 Kings 3 in the BPH

2 Kings 3 in the BSB

2 Kings 3 in the CCB

2 Kings 3 in the CUV

2 Kings 3 in the CUVS

2 Kings 3 in the DBT

2 Kings 3 in the DGDNT

2 Kings 3 in the DHNT

2 Kings 3 in the DNT

2 Kings 3 in the ELBE

2 Kings 3 in the EMTV

2 Kings 3 in the ESV

2 Kings 3 in the FBV

2 Kings 3 in the FEB

2 Kings 3 in the GGMNT

2 Kings 3 in the GNT

2 Kings 3 in the HARY

2 Kings 3 in the HNT

2 Kings 3 in the IRVA

2 Kings 3 in the IRVB

2 Kings 3 in the IRVG

2 Kings 3 in the IRVH

2 Kings 3 in the IRVK

2 Kings 3 in the IRVM

2 Kings 3 in the IRVM2

2 Kings 3 in the IRVO

2 Kings 3 in the IRVP

2 Kings 3 in the IRVT

2 Kings 3 in the IRVT2

2 Kings 3 in the IRVU

2 Kings 3 in the ISVN

2 Kings 3 in the JSNT

2 Kings 3 in the KAPI

2 Kings 3 in the KBT1ETNIK

2 Kings 3 in the KBV

2 Kings 3 in the KJV

2 Kings 3 in the KNFD

2 Kings 3 in the LBA

2 Kings 3 in the LBLA

2 Kings 3 in the LNT

2 Kings 3 in the LSV

2 Kings 3 in the MAAL

2 Kings 3 in the MBV

2 Kings 3 in the MBV2

2 Kings 3 in the MHNT

2 Kings 3 in the MKNFD

2 Kings 3 in the MNG

2 Kings 3 in the MNT

2 Kings 3 in the MNT2

2 Kings 3 in the MRS1T

2 Kings 3 in the NAA

2 Kings 3 in the NASB

2 Kings 3 in the NBLA

2 Kings 3 in the NBS

2 Kings 3 in the NBVTP

2 Kings 3 in the NET2

2 Kings 3 in the NIV11

2 Kings 3 in the NNT

2 Kings 3 in the NNT2

2 Kings 3 in the NNT3

2 Kings 3 in the PDDPT

2 Kings 3 in the PFNT

2 Kings 3 in the RMNT

2 Kings 3 in the SBIAS

2 Kings 3 in the SBIBS

2 Kings 3 in the SBIBS2

2 Kings 3 in the SBICS

2 Kings 3 in the SBIDS

2 Kings 3 in the SBIGS

2 Kings 3 in the SBIHS

2 Kings 3 in the SBIIS

2 Kings 3 in the SBIIS2

2 Kings 3 in the SBIIS3

2 Kings 3 in the SBIKS

2 Kings 3 in the SBIKS2

2 Kings 3 in the SBIMS

2 Kings 3 in the SBIOS

2 Kings 3 in the SBIPS

2 Kings 3 in the SBISS

2 Kings 3 in the SBITS

2 Kings 3 in the SBITS2

2 Kings 3 in the SBITS3

2 Kings 3 in the SBITS4

2 Kings 3 in the SBIUS

2 Kings 3 in the SBIVS

2 Kings 3 in the SBT

2 Kings 3 in the SBT1E

2 Kings 3 in the SCHL

2 Kings 3 in the SNT

2 Kings 3 in the SUSU

2 Kings 3 in the SUSU2

2 Kings 3 in the SYNO

2 Kings 3 in the TBIAOTANT

2 Kings 3 in the TBT1E

2 Kings 3 in the TBT1E2

2 Kings 3 in the TFTIP

2 Kings 3 in the TFTU

2 Kings 3 in the TGNTATF3T

2 Kings 3 in the THAI

2 Kings 3 in the TNFD

2 Kings 3 in the TNT

2 Kings 3 in the TNTIK

2 Kings 3 in the TNTIL

2 Kings 3 in the TNTIN

2 Kings 3 in the TNTIP

2 Kings 3 in the TNTIZ

2 Kings 3 in the TOMA

2 Kings 3 in the TTENT

2 Kings 3 in the UBG

2 Kings 3 in the UGV

2 Kings 3 in the UGV2

2 Kings 3 in the UGV3

2 Kings 3 in the VBL

2 Kings 3 in the VDCC

2 Kings 3 in the YALU

2 Kings 3 in the YAPE

2 Kings 3 in the YBVTP

2 Kings 3 in the ZBP