2 Kings 6 (BOLCB)

1 Awo ekibiina kya bannabbi ne bagamba Erisa nti, “Laba, ekifo we tukuŋŋaanira wafunda nnyo. 2 Leka tulage ku lubalama lwa Yoludaani, buli omu ku ffe atemeyo omuti gumu, twezimbire ekifo ekigazi mwe tuyinza okubeera.” N’abagamba nti, “Mugende.” 3 Awo omu ku bo n’amubuuza nti, “Toogende n’abaddu bo?”N’addamu nti, “Nzija kugenda nammwe.” 4 N’agenda nabo.Ne baserengeta ne balaga ku Yoludaani, ne batandika okutema emiti. 5 Naye omu ku bo bwe yali ng’atema omuti, omutwe gw’embazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!” 6 Awo omusajja wa Katonda n’amubuuza nti, “Yagudde wa?” Bwe yamulaga ekifo, Erisa n’atema akati, n’akakanyuga mu kifo ekyo, ekyuma ne kiva wansi ne kiseeyeeya kungulu ku mazzi. 7 Erisa n’amugamba nti, “Giggyeemu.” Omusajja n’agiggyamu. 8 Awo olwatuuka kabaka wa Busuuli yali atabadde Isirayiri, ne yeebuza ku baserikale be ng’agamba nti, “Kifo ki mwe ndikuba olusiisira lwange?” 9 Naye mu kiseera kye kimu omusajja wa Katonda n’aweereza kabaka wa Isirayiri obubaka nti, “Weegendereze obutayita mu kifo gundi, kubanga Abasuuli bajja kubeerayo.” 10 Awo kabaka wa Isirayiri n’atuma bakebere mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yayogerako. Era bulijjo Erisa yamulabulanga, kabaka n’awona si mulundi gumu so si ebiri. 11 Ekyo kyanyiiza nnyo kabaka wa Busuuli, era n’ayita abaserikale be, n’ababuuza nti, “Muntegeeze, ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Isirayiri?” 12 Omu ku bo n’amuddamu nti, “Tewali n’omu ku ffe mukama wange kabaka, naye Erisa nnabbi ali mu Isirayiri, y’ategeeza kabaka wa Isirayiri, ebigambo by’oyogerera mu kisenge kyo.” 13 Kabaka n’alagira nti, “Mugende mulabe w’ali, ndyoke ntume abasajja bamukwate.” Ne bakomyawo obubaka nti, “Ali mu Dosani.” 14 Amangwago n’asindika embalaasi, n’amagaali, n’eggye ery’amaanyi, ne bajja mu kiro ne bazingiza ekibuga. 15 Omuweereza ow’omusajja wa Katonda bwe yazuukuka ku makya n’afuluma ebweru, laba, eggye eririna embalaasi, n’amagaali nga lyetoolodde ekibuga. Omuweereza n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange tunaakola tutya?” 16 Nnabbi n’addamu nti, “Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.” 17 Awo Erisa n’asaba ng’agamba nti, “Ayi MUKAMA, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago MUKAMA n’azibula amaaso ag’omuweereza, laba ng’ensozi zijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro nga geetoolodde Erisa. 18 Abalabe bwe baaserengeta okulumba Erisa, n’asaba MUKAMA, n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, ozibe amaaso g’abantu bano.” N’aziba amaaso gaabwe nga Erisa bwe yamusaba. 19 Erisa n’abagamba nti, “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga. Mungoberere, mbatwale eri omusajja gwe munoonya.” N’abakulemberamu n’abatwala e Samaliya. 20 Olwayingira mu kibuga, n’asaba MUKAMA nti, “Zibula amaaso g’abasajja bano, balabe.” MUKAMA n’azibula amaaso gaabwe, ne batunula, laba nga bali mu Samaliya wakati. 21 Awo kabaka wa Isirayiri bwe yabalaba, n’abuuza Erisa nti, “Kitange, mbatte? Mbatte?” 22 N’amuddamu nti, “Tobatta. Oyinza okutta abo b’owambye n’ekitala kyo, n’omutego gw’akasaale? Bategekere emmere n’amazzi, balye n’okunywa banywe, n’oluvannyuma obasindike baddeyo eri mukama waabwe.” 23 N’abateekerateekera embaga nnene, era bwe baamala okulya n’okunywa, n’abasindika ne baddayo eri mukama waabwe. Abasuuli okwo kwe baakoma okulumba ensi ya Isirayiri. 24 Bwe waayitawoko ebbanga, Benikadadi kabaka w’e Busuuli, n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’alumba n’azingiza Samaliya. 25 Ne waba enjala nnyingi nnyo mu kibuga olw’okuzingiza okwo, omutwe gw’endogoyi ne gutundibwanga kilo emu eya ffeeza, n’ekimu ekyokuna eky’ekibya eky’obusa bw’enjiibwa ne kitundibwanga gulaamu ataano mu ttaano eza ffeeza. 26 Awo kabaka wa Isirayiri yali ayita okumpi ne bbugwe, omukazi omu n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Nnyamba mukama wange kabaka!” 27 Kabaka n’amuddamu nti, “MUKAMA bw’ataakuyambe, nze nnaakuyamba ntya? Obuyambi nnaabuggya mu gguuliro oba mu ssogolero?” 28 Era kwe ku mubuuza nti, “Mutawaana ki?”Omukazi n’amuddamu nti, “Omukazi ono gw’olaba yateesezza nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye leero, enkya tulye owange.’ 29 Ne nzikiriza, ne tufumba owange ne tumulya. Enkeera ne mugamba nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye,’ naye amukwese.” 30 Kabaka bwe yawulira ebigambo by’omukazi oyo, n’ayuza ebyambalo bye. Bwe yali ng’atambula ku bbugwe, abantu ne bamulengera, laba ng’ayambadde ebibukutu wansi w’ebyambalo bye. 31 N’ayogera nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabeera ku bibegabega bye leero!” 32 Mu kiseera kye kimu ekyo, Erisa yali atudde mu nnyumba ye nga n’abakadde batudde wamu naye, kabaka n’atuma omubaka okumukulemberamu, naye omubaka oyo bwe yali tannatuuka, Erisa n’agamba abakadde nti, “Mulaba omutemu oyo bw’atumye omuntu okuntemako omutwe? Laba, omubaka ajja, muggaleewo oluggi mulunyweze so temumukkiriza kuyingira. Ebigere bya mukama we tebiri mabega we, tamuvaako mabega?” 33 Awo Erisa bwe yali ng’akyayogera nabo, omubaka n’atuuka, n’ayogera nti, “Akabi kano kavudde eri MUKAMA. Lwaki nnindirira MUKAMA nate?”

In Other Versions

2 Kings 6 in the ANGEFD

2 Kings 6 in the ANTPNG2D

2 Kings 6 in the AS21

2 Kings 6 in the BAGH

2 Kings 6 in the BBPNG

2 Kings 6 in the BBT1E

2 Kings 6 in the BDS

2 Kings 6 in the BEV

2 Kings 6 in the BHAD

2 Kings 6 in the BIB

2 Kings 6 in the BLPT

2 Kings 6 in the BNT

2 Kings 6 in the BNTABOOT

2 Kings 6 in the BNTLV

2 Kings 6 in the BOATCB

2 Kings 6 in the BOATCB2

2 Kings 6 in the BOBCV

2 Kings 6 in the BOCNT

2 Kings 6 in the BOECS

2 Kings 6 in the BOGWICC

2 Kings 6 in the BOHCB

2 Kings 6 in the BOHCV

2 Kings 6 in the BOHLNT

2 Kings 6 in the BOHNTLTAL

2 Kings 6 in the BOICB

2 Kings 6 in the BOILNTAP

2 Kings 6 in the BOITCV

2 Kings 6 in the BOKCV

2 Kings 6 in the BOKCV2

2 Kings 6 in the BOKHWOG

2 Kings 6 in the BOKSSV

2 Kings 6 in the BOLCB2

2 Kings 6 in the BOMCV

2 Kings 6 in the BONAV

2 Kings 6 in the BONCB

2 Kings 6 in the BONLT

2 Kings 6 in the BONUT2

2 Kings 6 in the BOPLNT

2 Kings 6 in the BOSCB

2 Kings 6 in the BOSNC

2 Kings 6 in the BOTLNT

2 Kings 6 in the BOVCB

2 Kings 6 in the BOYCB

2 Kings 6 in the BPBB

2 Kings 6 in the BPH

2 Kings 6 in the BSB

2 Kings 6 in the CCB

2 Kings 6 in the CUV

2 Kings 6 in the CUVS

2 Kings 6 in the DBT

2 Kings 6 in the DGDNT

2 Kings 6 in the DHNT

2 Kings 6 in the DNT

2 Kings 6 in the ELBE

2 Kings 6 in the EMTV

2 Kings 6 in the ESV

2 Kings 6 in the FBV

2 Kings 6 in the FEB

2 Kings 6 in the GGMNT

2 Kings 6 in the GNT

2 Kings 6 in the HARY

2 Kings 6 in the HNT

2 Kings 6 in the IRVA

2 Kings 6 in the IRVB

2 Kings 6 in the IRVG

2 Kings 6 in the IRVH

2 Kings 6 in the IRVK

2 Kings 6 in the IRVM

2 Kings 6 in the IRVM2

2 Kings 6 in the IRVO

2 Kings 6 in the IRVP

2 Kings 6 in the IRVT

2 Kings 6 in the IRVT2

2 Kings 6 in the IRVU

2 Kings 6 in the ISVN

2 Kings 6 in the JSNT

2 Kings 6 in the KAPI

2 Kings 6 in the KBT1ETNIK

2 Kings 6 in the KBV

2 Kings 6 in the KJV

2 Kings 6 in the KNFD

2 Kings 6 in the LBA

2 Kings 6 in the LBLA

2 Kings 6 in the LNT

2 Kings 6 in the LSV

2 Kings 6 in the MAAL

2 Kings 6 in the MBV

2 Kings 6 in the MBV2

2 Kings 6 in the MHNT

2 Kings 6 in the MKNFD

2 Kings 6 in the MNG

2 Kings 6 in the MNT

2 Kings 6 in the MNT2

2 Kings 6 in the MRS1T

2 Kings 6 in the NAA

2 Kings 6 in the NASB

2 Kings 6 in the NBLA

2 Kings 6 in the NBS

2 Kings 6 in the NBVTP

2 Kings 6 in the NET2

2 Kings 6 in the NIV11

2 Kings 6 in the NNT

2 Kings 6 in the NNT2

2 Kings 6 in the NNT3

2 Kings 6 in the PDDPT

2 Kings 6 in the PFNT

2 Kings 6 in the RMNT

2 Kings 6 in the SBIAS

2 Kings 6 in the SBIBS

2 Kings 6 in the SBIBS2

2 Kings 6 in the SBICS

2 Kings 6 in the SBIDS

2 Kings 6 in the SBIGS

2 Kings 6 in the SBIHS

2 Kings 6 in the SBIIS

2 Kings 6 in the SBIIS2

2 Kings 6 in the SBIIS3

2 Kings 6 in the SBIKS

2 Kings 6 in the SBIKS2

2 Kings 6 in the SBIMS

2 Kings 6 in the SBIOS

2 Kings 6 in the SBIPS

2 Kings 6 in the SBISS

2 Kings 6 in the SBITS

2 Kings 6 in the SBITS2

2 Kings 6 in the SBITS3

2 Kings 6 in the SBITS4

2 Kings 6 in the SBIUS

2 Kings 6 in the SBIVS

2 Kings 6 in the SBT

2 Kings 6 in the SBT1E

2 Kings 6 in the SCHL

2 Kings 6 in the SNT

2 Kings 6 in the SUSU

2 Kings 6 in the SUSU2

2 Kings 6 in the SYNO

2 Kings 6 in the TBIAOTANT

2 Kings 6 in the TBT1E

2 Kings 6 in the TBT1E2

2 Kings 6 in the TFTIP

2 Kings 6 in the TFTU

2 Kings 6 in the TGNTATF3T

2 Kings 6 in the THAI

2 Kings 6 in the TNFD

2 Kings 6 in the TNT

2 Kings 6 in the TNTIK

2 Kings 6 in the TNTIL

2 Kings 6 in the TNTIN

2 Kings 6 in the TNTIP

2 Kings 6 in the TNTIZ

2 Kings 6 in the TOMA

2 Kings 6 in the TTENT

2 Kings 6 in the UBG

2 Kings 6 in the UGV

2 Kings 6 in the UGV2

2 Kings 6 in the UGV3

2 Kings 6 in the VBL

2 Kings 6 in the VDCC

2 Kings 6 in the YALU

2 Kings 6 in the YAPE

2 Kings 6 in the YBVTP

2 Kings 6 in the ZBP