2 Samuel 12 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA n’atuma Nasani eri Dawudi amugambe nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga, omulala nga mwavu. 2 Omugagga yalina ebisibo by’endiga bingi n’ente nnyingi; 3 naye omwavu nga taliiko bw’ali wabula yalina omwana gw’endiga gumu nga muluusi gwe yagula. N’alabirira omwana gw’endiga ogwo, ne gukula n’abaana be, ne gugabananga ku mmere ye, ne gunyweranga wamu naye, era n’aguleranga. Gwali ng’omwana we owoobuwala gy’ali. 4 “Lwali lumu ne wajja omutambuze eri nnaggagga, naye nnaggagga oyo n’atayagala kuddira emu ku ndiga ze oba nte ze okuteekerateekera omutambuze oyo ekyokulya. Kyeyava addira omwana gw’endiga guli ogw’omwavu n’aguteekerateekera omugenyi we.” 5 Awo Dawudi n’asunguwalira nnyo omusajja nnaggagga, n’ayogera nti, “MUKAMA nga bw’ali omulamu, omusajja akoze ekintu bwe kityo ateekwa 6 okusasula emirundi ena olw’ekikolwa ekyo, kubanga talina kusaasira, era asaanira attibwe.” 7 Nasani n’agamba Dawudi nti, “Omusajja oyo ye ggwe. Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, ne nkulokola mu mukono gwa Sawulo, 8 ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne nkukwasa ne bakyala ba mukama wo, ne nkuwa ennyumba ya Isirayiri ne Yuda; ebyo singa byali tebimala nandikwongedde bingi n’okusingawo. 9 Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya MUKAMA, n’okukola n’okola ekibi bwe kityo mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala, n’otwala mukyala we n’omufuula owuwo.’ 10 Wamutta n’ekitala eky’Abaana ba Amoni. Noolwekyo ekitala tekiriva mu nnyumba yo, kubanga onnyoomye n’otwala mukyala wa Uliya Omukiiti n’omufuula owuwo. 11 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Laba, ndireeta ekikolimo mu nnyumba yo, ne nzirira bakyala bo ng’olaba ne mbawa muliraanwa wo, ne yeebaka nabo emisana. 12 Wakikola mu kyama, naye nze ndikikola mu maaso ga Isirayiri yenna, emisana.’ ” 13 Awo Dawudi n’agamba Nasani nti, “Nnyonoonye MUKAMA.” Nasani n’addamu nti, “Kale, MUKAMA aggyeewo ekyonoono kyo era toofe. 14 Naye olw’ekikolwa ekyo, oleetedde abalabe ba MUKAMA okumunyooma, omwana anaakuzaalirwa kyanaava afa.” 15 Nasani bwe yaddayo eka, MUKAMA n’alwaza nnyo omwana muka wa Uliya gwe yazaala. 16 Dawudi ne yeegayirira Katonda ku lw’omwana, n’asiiba, n’agenda mu nnyumba ye n’amala ekiro kyonna nga yeebase wansi. 17 Abakadde ab’ennyumba ye ne bagendanga gy’ali, okumuwaliriza asituke, alye ne ku mmere, naye n’agaana. 18 Ku lunaku olw’omusanvu omwana n’afa. Naye abaddu ba Dawudi ne batya okumutegeeza nti omwana afudde, nga bagamba, nti, “Omwana bwe yali omulamu twagezaako okwogera naye, n’atatuwuliriza, olwo binaabeera bitya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde? Ayinza okutabukira ddala.” 19 Naye Dawudi n’alaba abaddu be nga boogera obwama, n’ategeera nti omwana afudde. N’ababuuza nti, “Omwana afudde?” Ne baddamu nti, “Afudde.” 20 Awo Dawudi n’ava wansi, n’anaabako, ne yeerongoosa, n’akyusa ebyambalo bye, n’alaga mu nnyumba ya MUKAMA n’asinza. Oluvannyuma n’addayo mu nnyumba ye, n’asaba emmere, n’alya. 21 Abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki ekyo ky’okola? Omwana bwe yali omulamu, wasiiba n’okaaba, naye kati afudde, ogolokose, olya!” 22 N’addamu nti, “Omwana we yabeerera omulamu, n’asiiba ne nkaaba, nga ndowooza nti, ‘Ani amanyi, MUKAMA ayinza okunsaasira, omwana n’aba mulamu?’ 23 Naye kaakano afudde, kiki ekinsiibya? Nkyayinza okumukomyawo? Nze ndigenda gy’ali, naye ye talikomawo gye ndi.” 24 Awo Dawudi n’akubagiza mukyala we Basuseba, ne yeetaba naye, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi, ne bamutuuma Sulemaani, MUKAMA n’amwagala, 25 era olw’okwagala okwo, MUKAMA kyeyava atuma Nasani nnabbi n’amutuuma Yedidiya, amakulu nti ayagalibwa MUKAMA. 26 Mu biro ebyo Yowaabu n’alwana n’abaana ba Amoni, n’awamba Labba ekibuga kyabwe ekikulu. 27 Yowaabu n’atumira Dawudi nti, “Nnumbye Labba, era n’amazzi gaabwe ngasazeeko. 28 Kaakano kuŋŋaanya eggye lyonna, otabaale ekibuga ekikulu, okiwambe, nga sinnaba kukitwala, ne kituumibwa erinnya lyange.” 29 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya eggye lyonna n’ayolekera Labba, n’akirumba era n’akiwamba. 30 N’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agyetikkira ku mutwe gwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga. 31 N’aggya abantu abaali mu kibuga, n’abatwala okuba abapakasi; ne bakozesanga emisomeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi, n’abalala ne babumbanga amatoffaali. Mu ngeri y’emu n’akozesanga abantu ab’ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni. Oluvannyuma Dawudi n’eggye lye lyonna, ne baddayo e Yerusaalemi.

In Other Versions

2 Samuel 12 in the ANGEFD

2 Samuel 12 in the ANTPNG2D

2 Samuel 12 in the AS21

2 Samuel 12 in the BAGH

2 Samuel 12 in the BBPNG

2 Samuel 12 in the BBT1E

2 Samuel 12 in the BDS

2 Samuel 12 in the BEV

2 Samuel 12 in the BHAD

2 Samuel 12 in the BIB

2 Samuel 12 in the BLPT

2 Samuel 12 in the BNT

2 Samuel 12 in the BNTABOOT

2 Samuel 12 in the BNTLV

2 Samuel 12 in the BOATCB

2 Samuel 12 in the BOATCB2

2 Samuel 12 in the BOBCV

2 Samuel 12 in the BOCNT

2 Samuel 12 in the BOECS

2 Samuel 12 in the BOGWICC

2 Samuel 12 in the BOHCB

2 Samuel 12 in the BOHCV

2 Samuel 12 in the BOHLNT

2 Samuel 12 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 12 in the BOICB

2 Samuel 12 in the BOILNTAP

2 Samuel 12 in the BOITCV

2 Samuel 12 in the BOKCV

2 Samuel 12 in the BOKCV2

2 Samuel 12 in the BOKHWOG

2 Samuel 12 in the BOKSSV

2 Samuel 12 in the BOLCB2

2 Samuel 12 in the BOMCV

2 Samuel 12 in the BONAV

2 Samuel 12 in the BONCB

2 Samuel 12 in the BONLT

2 Samuel 12 in the BONUT2

2 Samuel 12 in the BOPLNT

2 Samuel 12 in the BOSCB

2 Samuel 12 in the BOSNC

2 Samuel 12 in the BOTLNT

2 Samuel 12 in the BOVCB

2 Samuel 12 in the BOYCB

2 Samuel 12 in the BPBB

2 Samuel 12 in the BPH

2 Samuel 12 in the BSB

2 Samuel 12 in the CCB

2 Samuel 12 in the CUV

2 Samuel 12 in the CUVS

2 Samuel 12 in the DBT

2 Samuel 12 in the DGDNT

2 Samuel 12 in the DHNT

2 Samuel 12 in the DNT

2 Samuel 12 in the ELBE

2 Samuel 12 in the EMTV

2 Samuel 12 in the ESV

2 Samuel 12 in the FBV

2 Samuel 12 in the FEB

2 Samuel 12 in the GGMNT

2 Samuel 12 in the GNT

2 Samuel 12 in the HARY

2 Samuel 12 in the HNT

2 Samuel 12 in the IRVA

2 Samuel 12 in the IRVB

2 Samuel 12 in the IRVG

2 Samuel 12 in the IRVH

2 Samuel 12 in the IRVK

2 Samuel 12 in the IRVM

2 Samuel 12 in the IRVM2

2 Samuel 12 in the IRVO

2 Samuel 12 in the IRVP

2 Samuel 12 in the IRVT

2 Samuel 12 in the IRVT2

2 Samuel 12 in the IRVU

2 Samuel 12 in the ISVN

2 Samuel 12 in the JSNT

2 Samuel 12 in the KAPI

2 Samuel 12 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 12 in the KBV

2 Samuel 12 in the KJV

2 Samuel 12 in the KNFD

2 Samuel 12 in the LBA

2 Samuel 12 in the LBLA

2 Samuel 12 in the LNT

2 Samuel 12 in the LSV

2 Samuel 12 in the MAAL

2 Samuel 12 in the MBV

2 Samuel 12 in the MBV2

2 Samuel 12 in the MHNT

2 Samuel 12 in the MKNFD

2 Samuel 12 in the MNG

2 Samuel 12 in the MNT

2 Samuel 12 in the MNT2

2 Samuel 12 in the MRS1T

2 Samuel 12 in the NAA

2 Samuel 12 in the NASB

2 Samuel 12 in the NBLA

2 Samuel 12 in the NBS

2 Samuel 12 in the NBVTP

2 Samuel 12 in the NET2

2 Samuel 12 in the NIV11

2 Samuel 12 in the NNT

2 Samuel 12 in the NNT2

2 Samuel 12 in the NNT3

2 Samuel 12 in the PDDPT

2 Samuel 12 in the PFNT

2 Samuel 12 in the RMNT

2 Samuel 12 in the SBIAS

2 Samuel 12 in the SBIBS

2 Samuel 12 in the SBIBS2

2 Samuel 12 in the SBICS

2 Samuel 12 in the SBIDS

2 Samuel 12 in the SBIGS

2 Samuel 12 in the SBIHS

2 Samuel 12 in the SBIIS

2 Samuel 12 in the SBIIS2

2 Samuel 12 in the SBIIS3

2 Samuel 12 in the SBIKS

2 Samuel 12 in the SBIKS2

2 Samuel 12 in the SBIMS

2 Samuel 12 in the SBIOS

2 Samuel 12 in the SBIPS

2 Samuel 12 in the SBISS

2 Samuel 12 in the SBITS

2 Samuel 12 in the SBITS2

2 Samuel 12 in the SBITS3

2 Samuel 12 in the SBITS4

2 Samuel 12 in the SBIUS

2 Samuel 12 in the SBIVS

2 Samuel 12 in the SBT

2 Samuel 12 in the SBT1E

2 Samuel 12 in the SCHL

2 Samuel 12 in the SNT

2 Samuel 12 in the SUSU

2 Samuel 12 in the SUSU2

2 Samuel 12 in the SYNO

2 Samuel 12 in the TBIAOTANT

2 Samuel 12 in the TBT1E

2 Samuel 12 in the TBT1E2

2 Samuel 12 in the TFTIP

2 Samuel 12 in the TFTU

2 Samuel 12 in the TGNTATF3T

2 Samuel 12 in the THAI

2 Samuel 12 in the TNFD

2 Samuel 12 in the TNT

2 Samuel 12 in the TNTIK

2 Samuel 12 in the TNTIL

2 Samuel 12 in the TNTIN

2 Samuel 12 in the TNTIP

2 Samuel 12 in the TNTIZ

2 Samuel 12 in the TOMA

2 Samuel 12 in the TTENT

2 Samuel 12 in the UBG

2 Samuel 12 in the UGV

2 Samuel 12 in the UGV2

2 Samuel 12 in the UGV3

2 Samuel 12 in the VBL

2 Samuel 12 in the VDCC

2 Samuel 12 in the YALU

2 Samuel 12 in the YAPE

2 Samuel 12 in the YBVTP

2 Samuel 12 in the ZBP