2 Samuel 18 (BOLCB)

1 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya abasajja be yalina, n’abalondamu abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi. 2 Dawudi n’abalagira bagende, ekimu kya kusatu nga kiduumirwa Yowaabu, ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa muganda wa Yowaabu, Abisaayi batabani wa Zeruyiya, n’ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n’agamba abasajja nti, “Nange n’agenda nammwe.” 3 Naye abasajja ne boogera nti, “Toteekwa kugenda naffe, kubanga ffe bwe tunadduka tebaatufeeko. Ekitundu ku ffe ne bwe tunaafa tebaafeeyo. Ggwe olimu abantu omutwalo gumu ku ffe ffenna. Ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng’osinziira mu kibuga.” 4 Kabaka n’addamu nti, “Kye musiimye kye nnaakola.” Awo kabaka n’ayimirira ku mabbali ga wankaaki, ng’eggye lyonna likumba okufuluma mu bibinja eby’ekikumi n’eby’olukumi. 5 Kabaka n’alagira Yowaabu, ne Abisaayi ne Ittayi ng’ayogera nti, “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate n’ekisa ku lwange.”Abantu bonna ne bawulira kabaka ng’awa abaduumizi bonna ebiragiro ebikwata ku Abusaalomu. 6 Awo eggye ne lifuluma ku ttale okulwana ne Isirayiri, olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu. 7 Abasajja ba Isirayiri ne bakubibwa abasajja ba Dawudi, era bangi ne battibwa ku lunaku olwo. Baawera ng’emitwalo ebiri. 8 Olutalo ne lubuna ensi yonna, abantu bangi ne bafiira mu kibira okusinga n’abattibwa n’ekitala. 9 Awo Abusaalomu n’asisinkana n’abasajja ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu ye. Ennyumbu n’eyita wansi w’amatabi amangi ag’omwera omunene, omutwe gwa Abusaalomu ne gulaaliramu, n’asigala ng’alengejja mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n’egenda mu maaso. 10 Omu ku basajja bwe yakiraba n’ategeeza Yowaabu nti, “Laba nnalengedde Abusaalomu ng’awanikiddwa ku mwera.” 11 Yowaabu n’agamba omusajja eyajja okumubuulira nti, “Kiki, wamulabye? Kiki ekyakulobedde okumuttirawo? N’andikusasudde gulaamu kikumi mu kkumi na ttaano eza ffeeza ne nkuwa n’olukoba olw’obuzira.” 12 Naye omusajja n’amuddamu nti, “Ne bwe wandinsasudde kilo kkumi n’emu eza ffeeza, sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffenna twawulidde kabaka ng’abalagira ggwe, Abisaayi ne Ittayi nti, ‘Waleme okubaawo omuntu yenna anaakola Abusaalomu akabi ku lwange.’ 13 Kale singa mmusse ne ngwa mu mitawaana, tewandimpolerezza, kubanga omanyi nga tewali kigambo ekikwekebwa kabaka.” 14 Yowaabu n’ayogera nti, “Sirina bbanga lya kukwonoonerako.” N’addira obusaale busatu n’abulasa mu kifuba kya Abusaalomu ng’akyali mulamu mu mwera. 15 N’abavubuka kkumi abaasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu ne beetooloola Abusaalomu ne bamukuba ne bamutta. 16 Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, eggye ne lireka okugoberera Isirayiri kubanga Yowaabu yabayimiriza. 17 Ne batwala Abusaalomu, ne bamusuula mu lunnya oluwanvu mu kibira, ne bamutuumako amayinja. Isirayiri yenna ne badduka nga buli muntu adda ewuwe. 18 Mu bulamu bwe, Abusaalomu yaddira empagi n’agiteeka mu kiwonvu kya kabaka ng’ekijjukizo kye; n’ayogera nti, “Sirina mwana wabulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.” Empagi n’agituuma erinnya lye, era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero. 19 Akimaazi mutabani wa Zadooki n’ayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga MUKAMA bw’amulokodde mu mukono gw’omulabe we.” 20 Naye Yowaabu n’amugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.” 21 Awo Yowaabu n’agamba omusajja Omukusi nti, “Genda otegeeze kabaka by’olabye.” Omukusi n’avuunama mu maaso ga Yowaabu n’adduka. 22 Akimaazi mutabani wa Zadooki n’agamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire g’onootwala aganakuweesa ekirabo?” 23 N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.”Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi. 24 Awo Dawudi yali atudde wakati w’emiryango ebiri ogw’omunda n’ogw’ebweru, omukuumi n’alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe. Bwe yayimusa amaaso ge n’alengera omusajja ng’ajja adduka yekka. 25 Omukuumi n’ayogerera waggulu n’ategeeza kabaka. Awo kabaka n’amugamba nti, “Bw’aba ng’ali yekka ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.” Omusajja n’asembera. 26 Omukuumi n’alengera omusajja omulala ng’ajja adduka, n’akoowoola omuggazi nti, “Laba omusajja omulala ajja adduka yekka.” Kabaka n’ayogera nti, “Naye ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.” 27 Awo omukuumi n’ayogera nti, “Kindabikira nga enziruka ey’oli akulembedde eri ng’eya Akimaazi mutabani wa Zadooki.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo musajja mulungi era ajja n’amawulire malungi.” 28 Awo Akimaazi n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba kabaka nti, “Byonna birungi.” N’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi n’ayogera nti, “Yeebazibwe MUKAMA Katonda wo, azikirizza abasajja abayimusizza omukono ku mukama wange kabaka.” 29 Awo kabaka n’abuuza nti, “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi n’addamu nti, “Yowaabu bwe yabadde ng’anaatera okutuma omuddu wa kabaka, nange omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye saategedde kyabadde wo.” 30 Kabaka n’amugamba nti, “Ggwe dda wabbali.” N’adda wabbali n’ayimirira awo. 31 Awo Omukusi n’atuuka, n’ayogera nti, “Wulira amawulire amalungi mukama wange kabaka. MUKAMA akulokodde leero mu mukono gw’abo bonna abakuyimukiramu.” 32 Kabaka n’abuuza Omukusi nti, “Omuvubuka Abusaalomu mulamu?” Omukusi n’addamu nti, “Ekituuse ku muvubuka oyo, kituuke ku balabe ba mukama wange kabaka, n’abo bonna abamuyimukiramu okumukola akabi.” 33 Kabaka n’afuna ensisi, n’ayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, n’akaaba. N’agenda nga bw’ayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”

In Other Versions

2 Samuel 18 in the ANGEFD

2 Samuel 18 in the ANTPNG2D

2 Samuel 18 in the AS21

2 Samuel 18 in the BAGH

2 Samuel 18 in the BBPNG

2 Samuel 18 in the BBT1E

2 Samuel 18 in the BDS

2 Samuel 18 in the BEV

2 Samuel 18 in the BHAD

2 Samuel 18 in the BIB

2 Samuel 18 in the BLPT

2 Samuel 18 in the BNT

2 Samuel 18 in the BNTABOOT

2 Samuel 18 in the BNTLV

2 Samuel 18 in the BOATCB

2 Samuel 18 in the BOATCB2

2 Samuel 18 in the BOBCV

2 Samuel 18 in the BOCNT

2 Samuel 18 in the BOECS

2 Samuel 18 in the BOGWICC

2 Samuel 18 in the BOHCB

2 Samuel 18 in the BOHCV

2 Samuel 18 in the BOHLNT

2 Samuel 18 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 18 in the BOICB

2 Samuel 18 in the BOILNTAP

2 Samuel 18 in the BOITCV

2 Samuel 18 in the BOKCV

2 Samuel 18 in the BOKCV2

2 Samuel 18 in the BOKHWOG

2 Samuel 18 in the BOKSSV

2 Samuel 18 in the BOLCB2

2 Samuel 18 in the BOMCV

2 Samuel 18 in the BONAV

2 Samuel 18 in the BONCB

2 Samuel 18 in the BONLT

2 Samuel 18 in the BONUT2

2 Samuel 18 in the BOPLNT

2 Samuel 18 in the BOSCB

2 Samuel 18 in the BOSNC

2 Samuel 18 in the BOTLNT

2 Samuel 18 in the BOVCB

2 Samuel 18 in the BOYCB

2 Samuel 18 in the BPBB

2 Samuel 18 in the BPH

2 Samuel 18 in the BSB

2 Samuel 18 in the CCB

2 Samuel 18 in the CUV

2 Samuel 18 in the CUVS

2 Samuel 18 in the DBT

2 Samuel 18 in the DGDNT

2 Samuel 18 in the DHNT

2 Samuel 18 in the DNT

2 Samuel 18 in the ELBE

2 Samuel 18 in the EMTV

2 Samuel 18 in the ESV

2 Samuel 18 in the FBV

2 Samuel 18 in the FEB

2 Samuel 18 in the GGMNT

2 Samuel 18 in the GNT

2 Samuel 18 in the HARY

2 Samuel 18 in the HNT

2 Samuel 18 in the IRVA

2 Samuel 18 in the IRVB

2 Samuel 18 in the IRVG

2 Samuel 18 in the IRVH

2 Samuel 18 in the IRVK

2 Samuel 18 in the IRVM

2 Samuel 18 in the IRVM2

2 Samuel 18 in the IRVO

2 Samuel 18 in the IRVP

2 Samuel 18 in the IRVT

2 Samuel 18 in the IRVT2

2 Samuel 18 in the IRVU

2 Samuel 18 in the ISVN

2 Samuel 18 in the JSNT

2 Samuel 18 in the KAPI

2 Samuel 18 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 18 in the KBV

2 Samuel 18 in the KJV

2 Samuel 18 in the KNFD

2 Samuel 18 in the LBA

2 Samuel 18 in the LBLA

2 Samuel 18 in the LNT

2 Samuel 18 in the LSV

2 Samuel 18 in the MAAL

2 Samuel 18 in the MBV

2 Samuel 18 in the MBV2

2 Samuel 18 in the MHNT

2 Samuel 18 in the MKNFD

2 Samuel 18 in the MNG

2 Samuel 18 in the MNT

2 Samuel 18 in the MNT2

2 Samuel 18 in the MRS1T

2 Samuel 18 in the NAA

2 Samuel 18 in the NASB

2 Samuel 18 in the NBLA

2 Samuel 18 in the NBS

2 Samuel 18 in the NBVTP

2 Samuel 18 in the NET2

2 Samuel 18 in the NIV11

2 Samuel 18 in the NNT

2 Samuel 18 in the NNT2

2 Samuel 18 in the NNT3

2 Samuel 18 in the PDDPT

2 Samuel 18 in the PFNT

2 Samuel 18 in the RMNT

2 Samuel 18 in the SBIAS

2 Samuel 18 in the SBIBS

2 Samuel 18 in the SBIBS2

2 Samuel 18 in the SBICS

2 Samuel 18 in the SBIDS

2 Samuel 18 in the SBIGS

2 Samuel 18 in the SBIHS

2 Samuel 18 in the SBIIS

2 Samuel 18 in the SBIIS2

2 Samuel 18 in the SBIIS3

2 Samuel 18 in the SBIKS

2 Samuel 18 in the SBIKS2

2 Samuel 18 in the SBIMS

2 Samuel 18 in the SBIOS

2 Samuel 18 in the SBIPS

2 Samuel 18 in the SBISS

2 Samuel 18 in the SBITS

2 Samuel 18 in the SBITS2

2 Samuel 18 in the SBITS3

2 Samuel 18 in the SBITS4

2 Samuel 18 in the SBIUS

2 Samuel 18 in the SBIVS

2 Samuel 18 in the SBT

2 Samuel 18 in the SBT1E

2 Samuel 18 in the SCHL

2 Samuel 18 in the SNT

2 Samuel 18 in the SUSU

2 Samuel 18 in the SUSU2

2 Samuel 18 in the SYNO

2 Samuel 18 in the TBIAOTANT

2 Samuel 18 in the TBT1E

2 Samuel 18 in the TBT1E2

2 Samuel 18 in the TFTIP

2 Samuel 18 in the TFTU

2 Samuel 18 in the TGNTATF3T

2 Samuel 18 in the THAI

2 Samuel 18 in the TNFD

2 Samuel 18 in the TNT

2 Samuel 18 in the TNTIK

2 Samuel 18 in the TNTIL

2 Samuel 18 in the TNTIN

2 Samuel 18 in the TNTIP

2 Samuel 18 in the TNTIZ

2 Samuel 18 in the TOMA

2 Samuel 18 in the TTENT

2 Samuel 18 in the UBG

2 Samuel 18 in the UGV

2 Samuel 18 in the UGV2

2 Samuel 18 in the UGV3

2 Samuel 18 in the VBL

2 Samuel 18 in the VDCC

2 Samuel 18 in the YALU

2 Samuel 18 in the YAPE

2 Samuel 18 in the YBVTP

2 Samuel 18 in the ZBP