2 Samuel 20 (BOLCB)

1 Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti,“Tetulina mugabo mu Dawudi,so tetulina busika mu mutabani wa Yese!Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!” 2 Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi. 3 Dawudi bwe yadda mu lubiri lwe e Yerusaalemi, n’addira abakyala be ekkumi be yali alese okulabirira olubiri n’abasibira mu kkomera. N’abagabirira mu byokulya kwabwe, naye n’atebaka nabo. Ne baggalirwa eyo okutuusa lwe baafa, nga bali nga bannamwandu. 4 Awo kabaka n’agamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.” 5 Naye Amasa bwe yagenda okukola ky’alagiddwa, n’atwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde. 6 Dawudi n’agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, n’atusimatuka.” 7 Awo abasajja ba Yowaabu, n’Abakeresi, n’Abaperesi, n’abaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi. 8 Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby’olutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi. 9 Yowaabu n’alamusa Amasa ng’ayogera nti, “Mirembe, muganda wange?” Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’aba nga agenda okumunywegera. 10 Naye Amasa n’atassaayo mwoyo okwekuuma ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; Yowaabu n’akimufumita mu lubuto, n’ayiwa ebyenda bye wansi. N’atamufumita lwakubiri, Amasa bw’atyo n’afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne beeyongera okugoberera Seba mutabani wa Bikuli. 11 Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi n’omulambo gwa Amasa n’ayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.” 12 Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ng’ayimirira; omusajja oyo n’agusitula n’aguggya mu luguudo n’agutwala ebbali mu nsiko, n’agusuulako olugoye. 13 Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli. 14 Seba n’ayita mu bika byonna ebya Isirayiri ng’abakunga okutuuka mu Aberi eky’e Besumaaka, n’ayita ne mu kitundu kyonna eky’Ababeri ne bakuŋŋaanira gy’ali ne bamugoberera. 15 Eggye lyonna eryali ne Yowaabu, ne bazingiza Seba mu Aberi eky’e Besumaaka. Ne bakola ebifunvu okutuuka ku kibuga n’okwolekera ekigo. Bwe baali nga bakyamenya bbugwe, 16 ne wavaayo omukazi ow’amagezi mu kibuga, n’akoowoola ng’ayogera nti, “Muwulirize. Muwulirize! Mugambe Yowaabu ajje wano, mbeeko kye mmugamba.” 17 Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?”N’addamu nti, “Nze nzuuyo.”N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.”N’addamu nti, “Mpuliriza.” 18 N’ayongera n’ayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bw’oba ng’olina ky’obuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye ky’amalanga ensonga. 19 Ffe bantu abaagazi b’emirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Mwagala okuzikiriza ekibuga, nnyina w’abaana mu Isirayiri. Lwaki oyagala okumira obusika bwa MUKAMA?” 20 Yowaabu n’addamu nti, “Kikafuuwe, nze okumira ekibuga kino newaakubadde okukizikiriza. 21 Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, ow’omu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.” 22 Omukazi n’agamba Yowaabu nti, “Omutwe gwe gunaakasukibwa gy’oli ku bbugwe.” Awo omukazi n’agenda n’ekiteeso kye eri abantu bonna, ne basalako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuli, ne bagusuulira Yowaabu. Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja be ne bava ku kibuga ne basaasaana, bonna ne baddayo ewaabwe. Yowaabu ye n’addayo eri kabaka mu Yerusaalemi. 23 Yowaabu yali muduumizi wa ggye lya Isirayiri,ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nga y’akulira Abakeresi, n’Abaperesi. 24 Adolaamu ye yakuliranga abapakasi,Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza. 25 Seva ye yali omuwandiisi,Zadooki ne Abiyasaali nga be bakabona, 26 ne Ira Omuyayiri nga ye kabona wa Dawudi.

In Other Versions

2 Samuel 20 in the ANGEFD

2 Samuel 20 in the ANTPNG2D

2 Samuel 20 in the AS21

2 Samuel 20 in the BAGH

2 Samuel 20 in the BBPNG

2 Samuel 20 in the BBT1E

2 Samuel 20 in the BDS

2 Samuel 20 in the BEV

2 Samuel 20 in the BHAD

2 Samuel 20 in the BIB

2 Samuel 20 in the BLPT

2 Samuel 20 in the BNT

2 Samuel 20 in the BNTABOOT

2 Samuel 20 in the BNTLV

2 Samuel 20 in the BOATCB

2 Samuel 20 in the BOATCB2

2 Samuel 20 in the BOBCV

2 Samuel 20 in the BOCNT

2 Samuel 20 in the BOECS

2 Samuel 20 in the BOGWICC

2 Samuel 20 in the BOHCB

2 Samuel 20 in the BOHCV

2 Samuel 20 in the BOHLNT

2 Samuel 20 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 20 in the BOICB

2 Samuel 20 in the BOILNTAP

2 Samuel 20 in the BOITCV

2 Samuel 20 in the BOKCV

2 Samuel 20 in the BOKCV2

2 Samuel 20 in the BOKHWOG

2 Samuel 20 in the BOKSSV

2 Samuel 20 in the BOLCB2

2 Samuel 20 in the BOMCV

2 Samuel 20 in the BONAV

2 Samuel 20 in the BONCB

2 Samuel 20 in the BONLT

2 Samuel 20 in the BONUT2

2 Samuel 20 in the BOPLNT

2 Samuel 20 in the BOSCB

2 Samuel 20 in the BOSNC

2 Samuel 20 in the BOTLNT

2 Samuel 20 in the BOVCB

2 Samuel 20 in the BOYCB

2 Samuel 20 in the BPBB

2 Samuel 20 in the BPH

2 Samuel 20 in the BSB

2 Samuel 20 in the CCB

2 Samuel 20 in the CUV

2 Samuel 20 in the CUVS

2 Samuel 20 in the DBT

2 Samuel 20 in the DGDNT

2 Samuel 20 in the DHNT

2 Samuel 20 in the DNT

2 Samuel 20 in the ELBE

2 Samuel 20 in the EMTV

2 Samuel 20 in the ESV

2 Samuel 20 in the FBV

2 Samuel 20 in the FEB

2 Samuel 20 in the GGMNT

2 Samuel 20 in the GNT

2 Samuel 20 in the HARY

2 Samuel 20 in the HNT

2 Samuel 20 in the IRVA

2 Samuel 20 in the IRVB

2 Samuel 20 in the IRVG

2 Samuel 20 in the IRVH

2 Samuel 20 in the IRVK

2 Samuel 20 in the IRVM

2 Samuel 20 in the IRVM2

2 Samuel 20 in the IRVO

2 Samuel 20 in the IRVP

2 Samuel 20 in the IRVT

2 Samuel 20 in the IRVT2

2 Samuel 20 in the IRVU

2 Samuel 20 in the ISVN

2 Samuel 20 in the JSNT

2 Samuel 20 in the KAPI

2 Samuel 20 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 20 in the KBV

2 Samuel 20 in the KJV

2 Samuel 20 in the KNFD

2 Samuel 20 in the LBA

2 Samuel 20 in the LBLA

2 Samuel 20 in the LNT

2 Samuel 20 in the LSV

2 Samuel 20 in the MAAL

2 Samuel 20 in the MBV

2 Samuel 20 in the MBV2

2 Samuel 20 in the MHNT

2 Samuel 20 in the MKNFD

2 Samuel 20 in the MNG

2 Samuel 20 in the MNT

2 Samuel 20 in the MNT2

2 Samuel 20 in the MRS1T

2 Samuel 20 in the NAA

2 Samuel 20 in the NASB

2 Samuel 20 in the NBLA

2 Samuel 20 in the NBS

2 Samuel 20 in the NBVTP

2 Samuel 20 in the NET2

2 Samuel 20 in the NIV11

2 Samuel 20 in the NNT

2 Samuel 20 in the NNT2

2 Samuel 20 in the NNT3

2 Samuel 20 in the PDDPT

2 Samuel 20 in the PFNT

2 Samuel 20 in the RMNT

2 Samuel 20 in the SBIAS

2 Samuel 20 in the SBIBS

2 Samuel 20 in the SBIBS2

2 Samuel 20 in the SBICS

2 Samuel 20 in the SBIDS

2 Samuel 20 in the SBIGS

2 Samuel 20 in the SBIHS

2 Samuel 20 in the SBIIS

2 Samuel 20 in the SBIIS2

2 Samuel 20 in the SBIIS3

2 Samuel 20 in the SBIKS

2 Samuel 20 in the SBIKS2

2 Samuel 20 in the SBIMS

2 Samuel 20 in the SBIOS

2 Samuel 20 in the SBIPS

2 Samuel 20 in the SBISS

2 Samuel 20 in the SBITS

2 Samuel 20 in the SBITS2

2 Samuel 20 in the SBITS3

2 Samuel 20 in the SBITS4

2 Samuel 20 in the SBIUS

2 Samuel 20 in the SBIVS

2 Samuel 20 in the SBT

2 Samuel 20 in the SBT1E

2 Samuel 20 in the SCHL

2 Samuel 20 in the SNT

2 Samuel 20 in the SUSU

2 Samuel 20 in the SUSU2

2 Samuel 20 in the SYNO

2 Samuel 20 in the TBIAOTANT

2 Samuel 20 in the TBT1E

2 Samuel 20 in the TBT1E2

2 Samuel 20 in the TFTIP

2 Samuel 20 in the TFTU

2 Samuel 20 in the TGNTATF3T

2 Samuel 20 in the THAI

2 Samuel 20 in the TNFD

2 Samuel 20 in the TNT

2 Samuel 20 in the TNTIK

2 Samuel 20 in the TNTIL

2 Samuel 20 in the TNTIN

2 Samuel 20 in the TNTIP

2 Samuel 20 in the TNTIZ

2 Samuel 20 in the TOMA

2 Samuel 20 in the TTENT

2 Samuel 20 in the UBG

2 Samuel 20 in the UGV

2 Samuel 20 in the UGV2

2 Samuel 20 in the UGV3

2 Samuel 20 in the VBL

2 Samuel 20 in the VDCC

2 Samuel 20 in the YALU

2 Samuel 20 in the YAPE

2 Samuel 20 in the YBVTP

2 Samuel 20 in the ZBP