2 Samuel 24 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.” 2 Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.” 3 Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “MUKAMA Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?” 4 Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri. 5 Oluvannyuma olw’okusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olw’obukiikaddyo olw’ekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri. 6 Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-Yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni. 7 Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda. 8 Awo oluvannyuma olw’okuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda n’ennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi. 9 Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano. 10 Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba MUKAMA nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi MUKAMA Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.” 11 Awo mu kiro ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti, 12 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera MUKAMA Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’ ” 13 Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.” 14 Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa MUKAMA Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.” 15 Awo MUKAMA Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera MUKAMA kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba. 16 Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, MUKAMA ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa MUKAMA Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi. 17 Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa MUKAMA Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.” 18 Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire MUKAMA Katonda ekyoto ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.” 19 Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya MUKAMA Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro. 20 Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi. 21 Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire MUKAMA ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.” 22 Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku. 23 Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga MUKAMA Katonda wo.” 24 Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.”Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga. 25 Dawudi n’azimbira MUKAMA ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo MUKAMA Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.

In Other Versions

2 Samuel 24 in the ANGEFD

2 Samuel 24 in the ANTPNG2D

2 Samuel 24 in the AS21

2 Samuel 24 in the BAGH

2 Samuel 24 in the BBPNG

2 Samuel 24 in the BBT1E

2 Samuel 24 in the BDS

2 Samuel 24 in the BEV

2 Samuel 24 in the BHAD

2 Samuel 24 in the BIB

2 Samuel 24 in the BLPT

2 Samuel 24 in the BNT

2 Samuel 24 in the BNTABOOT

2 Samuel 24 in the BNTLV

2 Samuel 24 in the BOATCB

2 Samuel 24 in the BOATCB2

2 Samuel 24 in the BOBCV

2 Samuel 24 in the BOCNT

2 Samuel 24 in the BOECS

2 Samuel 24 in the BOGWICC

2 Samuel 24 in the BOHCB

2 Samuel 24 in the BOHCV

2 Samuel 24 in the BOHLNT

2 Samuel 24 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 24 in the BOICB

2 Samuel 24 in the BOILNTAP

2 Samuel 24 in the BOITCV

2 Samuel 24 in the BOKCV

2 Samuel 24 in the BOKCV2

2 Samuel 24 in the BOKHWOG

2 Samuel 24 in the BOKSSV

2 Samuel 24 in the BOLCB2

2 Samuel 24 in the BOMCV

2 Samuel 24 in the BONAV

2 Samuel 24 in the BONCB

2 Samuel 24 in the BONLT

2 Samuel 24 in the BONUT2

2 Samuel 24 in the BOPLNT

2 Samuel 24 in the BOSCB

2 Samuel 24 in the BOSNC

2 Samuel 24 in the BOTLNT

2 Samuel 24 in the BOVCB

2 Samuel 24 in the BOYCB

2 Samuel 24 in the BPBB

2 Samuel 24 in the BPH

2 Samuel 24 in the BSB

2 Samuel 24 in the CCB

2 Samuel 24 in the CUV

2 Samuel 24 in the CUVS

2 Samuel 24 in the DBT

2 Samuel 24 in the DGDNT

2 Samuel 24 in the DHNT

2 Samuel 24 in the DNT

2 Samuel 24 in the ELBE

2 Samuel 24 in the EMTV

2 Samuel 24 in the ESV

2 Samuel 24 in the FBV

2 Samuel 24 in the FEB

2 Samuel 24 in the GGMNT

2 Samuel 24 in the GNT

2 Samuel 24 in the HARY

2 Samuel 24 in the HNT

2 Samuel 24 in the IRVA

2 Samuel 24 in the IRVB

2 Samuel 24 in the IRVG

2 Samuel 24 in the IRVH

2 Samuel 24 in the IRVK

2 Samuel 24 in the IRVM

2 Samuel 24 in the IRVM2

2 Samuel 24 in the IRVO

2 Samuel 24 in the IRVP

2 Samuel 24 in the IRVT

2 Samuel 24 in the IRVT2

2 Samuel 24 in the IRVU

2 Samuel 24 in the ISVN

2 Samuel 24 in the JSNT

2 Samuel 24 in the KAPI

2 Samuel 24 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 24 in the KBV

2 Samuel 24 in the KJV

2 Samuel 24 in the KNFD

2 Samuel 24 in the LBA

2 Samuel 24 in the LBLA

2 Samuel 24 in the LNT

2 Samuel 24 in the LSV

2 Samuel 24 in the MAAL

2 Samuel 24 in the MBV

2 Samuel 24 in the MBV2

2 Samuel 24 in the MHNT

2 Samuel 24 in the MKNFD

2 Samuel 24 in the MNG

2 Samuel 24 in the MNT

2 Samuel 24 in the MNT2

2 Samuel 24 in the MRS1T

2 Samuel 24 in the NAA

2 Samuel 24 in the NASB

2 Samuel 24 in the NBLA

2 Samuel 24 in the NBS

2 Samuel 24 in the NBVTP

2 Samuel 24 in the NET2

2 Samuel 24 in the NIV11

2 Samuel 24 in the NNT

2 Samuel 24 in the NNT2

2 Samuel 24 in the NNT3

2 Samuel 24 in the PDDPT

2 Samuel 24 in the PFNT

2 Samuel 24 in the RMNT

2 Samuel 24 in the SBIAS

2 Samuel 24 in the SBIBS

2 Samuel 24 in the SBIBS2

2 Samuel 24 in the SBICS

2 Samuel 24 in the SBIDS

2 Samuel 24 in the SBIGS

2 Samuel 24 in the SBIHS

2 Samuel 24 in the SBIIS

2 Samuel 24 in the SBIIS2

2 Samuel 24 in the SBIIS3

2 Samuel 24 in the SBIKS

2 Samuel 24 in the SBIKS2

2 Samuel 24 in the SBIMS

2 Samuel 24 in the SBIOS

2 Samuel 24 in the SBIPS

2 Samuel 24 in the SBISS

2 Samuel 24 in the SBITS

2 Samuel 24 in the SBITS2

2 Samuel 24 in the SBITS3

2 Samuel 24 in the SBITS4

2 Samuel 24 in the SBIUS

2 Samuel 24 in the SBIVS

2 Samuel 24 in the SBT

2 Samuel 24 in the SBT1E

2 Samuel 24 in the SCHL

2 Samuel 24 in the SNT

2 Samuel 24 in the SUSU

2 Samuel 24 in the SUSU2

2 Samuel 24 in the SYNO

2 Samuel 24 in the TBIAOTANT

2 Samuel 24 in the TBT1E

2 Samuel 24 in the TBT1E2

2 Samuel 24 in the TFTIP

2 Samuel 24 in the TFTU

2 Samuel 24 in the TGNTATF3T

2 Samuel 24 in the THAI

2 Samuel 24 in the TNFD

2 Samuel 24 in the TNT

2 Samuel 24 in the TNTIK

2 Samuel 24 in the TNTIL

2 Samuel 24 in the TNTIN

2 Samuel 24 in the TNTIP

2 Samuel 24 in the TNTIZ

2 Samuel 24 in the TOMA

2 Samuel 24 in the TTENT

2 Samuel 24 in the UBG

2 Samuel 24 in the UGV

2 Samuel 24 in the UGV2

2 Samuel 24 in the UGV3

2 Samuel 24 in the VBL

2 Samuel 24 in the VDCC

2 Samuel 24 in the YALU

2 Samuel 24 in the YAPE

2 Samuel 24 in the YBVTP

2 Samuel 24 in the ZBP