Daniel 6 (BOLCB)

1 Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna, 2 era mu abo n’alonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga y’omu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ng’obwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo. 3 Mu biro ebyo Danyeri n’ayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna n’abaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka n’ateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna z’obwakabaka bwonna. 4 Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri n’abaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye ey’ebyemirimu egy’obwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okw’engeri yonna newaakubadde obulagajjavu. 5 Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ng’ekwata ku tteeka lya Katonda we.” 6 Abakungu abo n’abaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale! 7 Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abaamasaza, n’abawi b’amagezi ab’oku ntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma. 8 Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.” 9 Awo kabaka Daliyo n’akola etteeka n’alissaako n’omukono gwe. 10 Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo. 11 Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ng’ekibiina ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we. 12 Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?”Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.” 13 Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.” 14 Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo n’anakuwala nnyo, n’agezaako okuwonya Danyeri, era n’amala olunaku lwonna ng’afuba nnyo okumuwonya. 15 Naye abasajja ne bagenda bonna ng’ekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ng’etteeka ery’Abameedi n’Abaperusi kabaka ly’ataddeko omukono, terikyusibwa.” 16 Awo kabaka n’alagira, Danyeri n’aleetebwa, n’asuulibwa mu mpuku y’empologoma. Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akulokole!” 17 Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gw’empuku, kabaka n’alissaako akabonero ke ye, n’abakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri. 18 Awo kabaka n’addayo mu lubiri lwe, naye n’atalya kintu na kimu ekiro ekyo, era n’atakkiriza kusanyusibwa, n’otulo ne tumubula. 19 Ku makya ennyo emambya ng’esaze, kabaka n’agolokoka n’ayanguwa okugenda ku mpuku ey’empologoma. 20 Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, n’amukoowoola mu ddoboozi ery’ennaku ng’agamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?” 21 Danyeri n’addamu nti, “Wangaala, ayi kabaka. 22 Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.” 23 Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we. 24 Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna. 25 Awo kabaka Daliyo n’awandiikira abantu bonna, n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna mu nsi yonna nti,“Emirembe gibeere gye muli! 26 “Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.“Kubanga ye Katonda omulamu,abeerera emirembe gyonna;n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo,n’okufuga kwe tekulikoma. 27 Alokola era awonya:akola obubonero n’ebyamageromu ggulu ne ku nsi.Yalokodde Danyerimu mannyo g’empologoma.” 28 Awo Danyeri n’aba n’omukisa mu mirembe gya Daliyo era n’awangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.

In Other Versions

Daniel 6 in the ANGEFD

Daniel 6 in the ANTPNG2D

Daniel 6 in the AS21

Daniel 6 in the BAGH

Daniel 6 in the BBPNG

Daniel 6 in the BBT1E

Daniel 6 in the BDS

Daniel 6 in the BEV

Daniel 6 in the BHAD

Daniel 6 in the BIB

Daniel 6 in the BLPT

Daniel 6 in the BNT

Daniel 6 in the BNTABOOT

Daniel 6 in the BNTLV

Daniel 6 in the BOATCB

Daniel 6 in the BOATCB2

Daniel 6 in the BOBCV

Daniel 6 in the BOCNT

Daniel 6 in the BOECS

Daniel 6 in the BOGWICC

Daniel 6 in the BOHCB

Daniel 6 in the BOHCV

Daniel 6 in the BOHLNT

Daniel 6 in the BOHNTLTAL

Daniel 6 in the BOICB

Daniel 6 in the BOILNTAP

Daniel 6 in the BOITCV

Daniel 6 in the BOKCV

Daniel 6 in the BOKCV2

Daniel 6 in the BOKHWOG

Daniel 6 in the BOKSSV

Daniel 6 in the BOLCB2

Daniel 6 in the BOMCV

Daniel 6 in the BONAV

Daniel 6 in the BONCB

Daniel 6 in the BONLT

Daniel 6 in the BONUT2

Daniel 6 in the BOPLNT

Daniel 6 in the BOSCB

Daniel 6 in the BOSNC

Daniel 6 in the BOTLNT

Daniel 6 in the BOVCB

Daniel 6 in the BOYCB

Daniel 6 in the BPBB

Daniel 6 in the BPH

Daniel 6 in the BSB

Daniel 6 in the CCB

Daniel 6 in the CUV

Daniel 6 in the CUVS

Daniel 6 in the DBT

Daniel 6 in the DGDNT

Daniel 6 in the DHNT

Daniel 6 in the DNT

Daniel 6 in the ELBE

Daniel 6 in the EMTV

Daniel 6 in the ESV

Daniel 6 in the FBV

Daniel 6 in the FEB

Daniel 6 in the GGMNT

Daniel 6 in the GNT

Daniel 6 in the HARY

Daniel 6 in the HNT

Daniel 6 in the IRVA

Daniel 6 in the IRVB

Daniel 6 in the IRVG

Daniel 6 in the IRVH

Daniel 6 in the IRVK

Daniel 6 in the IRVM

Daniel 6 in the IRVM2

Daniel 6 in the IRVO

Daniel 6 in the IRVP

Daniel 6 in the IRVT

Daniel 6 in the IRVT2

Daniel 6 in the IRVU

Daniel 6 in the ISVN

Daniel 6 in the JSNT

Daniel 6 in the KAPI

Daniel 6 in the KBT1ETNIK

Daniel 6 in the KBV

Daniel 6 in the KJV

Daniel 6 in the KNFD

Daniel 6 in the LBA

Daniel 6 in the LBLA

Daniel 6 in the LNT

Daniel 6 in the LSV

Daniel 6 in the MAAL

Daniel 6 in the MBV

Daniel 6 in the MBV2

Daniel 6 in the MHNT

Daniel 6 in the MKNFD

Daniel 6 in the MNG

Daniel 6 in the MNT

Daniel 6 in the MNT2

Daniel 6 in the MRS1T

Daniel 6 in the NAA

Daniel 6 in the NASB

Daniel 6 in the NBLA

Daniel 6 in the NBS

Daniel 6 in the NBVTP

Daniel 6 in the NET2

Daniel 6 in the NIV11

Daniel 6 in the NNT

Daniel 6 in the NNT2

Daniel 6 in the NNT3

Daniel 6 in the PDDPT

Daniel 6 in the PFNT

Daniel 6 in the RMNT

Daniel 6 in the SBIAS

Daniel 6 in the SBIBS

Daniel 6 in the SBIBS2

Daniel 6 in the SBICS

Daniel 6 in the SBIDS

Daniel 6 in the SBIGS

Daniel 6 in the SBIHS

Daniel 6 in the SBIIS

Daniel 6 in the SBIIS2

Daniel 6 in the SBIIS3

Daniel 6 in the SBIKS

Daniel 6 in the SBIKS2

Daniel 6 in the SBIMS

Daniel 6 in the SBIOS

Daniel 6 in the SBIPS

Daniel 6 in the SBISS

Daniel 6 in the SBITS

Daniel 6 in the SBITS2

Daniel 6 in the SBITS3

Daniel 6 in the SBITS4

Daniel 6 in the SBIUS

Daniel 6 in the SBIVS

Daniel 6 in the SBT

Daniel 6 in the SBT1E

Daniel 6 in the SCHL

Daniel 6 in the SNT

Daniel 6 in the SUSU

Daniel 6 in the SUSU2

Daniel 6 in the SYNO

Daniel 6 in the TBIAOTANT

Daniel 6 in the TBT1E

Daniel 6 in the TBT1E2

Daniel 6 in the TFTIP

Daniel 6 in the TFTU

Daniel 6 in the TGNTATF3T

Daniel 6 in the THAI

Daniel 6 in the TNFD

Daniel 6 in the TNT

Daniel 6 in the TNTIK

Daniel 6 in the TNTIL

Daniel 6 in the TNTIN

Daniel 6 in the TNTIP

Daniel 6 in the TNTIZ

Daniel 6 in the TOMA

Daniel 6 in the TTENT

Daniel 6 in the UBG

Daniel 6 in the UGV

Daniel 6 in the UGV2

Daniel 6 in the UGV3

Daniel 6 in the VBL

Daniel 6 in the VDCC

Daniel 6 in the YALU

Daniel 6 in the YAPE

Daniel 6 in the YBVTP

Daniel 6 in the ZBP