Deuteronomy 28 (BOLCB)

1 Bw’onoogonderanga MUKAMA Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, MUKAMA Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi. 2 Emikisa gino gyonna onoogifunanga n’obeeranga nagyo, bw’onoowuliranga eddoboozi lya MUKAMA Katonda wo n’omugonderanga: 3 Onooweebwanga omukisa bw’onoobeeranga mu kibuga ne bw’onoobeeranga mu kyalo. 4 Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo. 5 Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyizanga, n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga nabyo binaabanga n’omukisa. 6 Onoobanga n’omukisa ng’oyingira era onoobanga n’omukisa ng’ofuluma. 7 MUKAMA anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa. 8 MUKAMA anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. MUKAMA Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa. 9 MUKAMA agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza n’ekirayiro, bw’onookwatanga amateeka ga MUKAMA Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge. 10 Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya MUKAMA era banaakutyanga. 11 MUKAMA anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi MUKAMA gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa. 12 MUKAMA alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono. 13 MUKAMA anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bw’onoogonderanga ebiragiro bya MUKAMA Katonda wo bye nkutegeeza leero, n’obigobereranga n’obwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga. 14 Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga. 15 Awo olunaatuukanga bw’otoogonderenga ddoboozi lya MUKAMA Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe: 16 Onookolimirwanga mu kibuga n’okolimirwanga ne mu kyalo. 17 Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyirizanga n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga binaakolimirwanga. 18 Abaana b’enda yo banaakolimirwanga, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ennyana z’amagana go, n’obwana bw’ebisibo byo byonna binaakolimirwanga. 19 Onookolimirwanga ng’oyingira era onookolimirwanga ng’ofuluma. 20 MUKAMA anaakusindikiranga ebikolimo, n’okutabukatabuka, n’okunenyezebwa mu buli kintu kyonna ky’onoogezangako okukola, okutuusa lw’olizikirizibwa n’osaanawo mangu nnyo olw’ebikolwa byo ebibi, olwokubanga onoobanga omusenguse. 21 MUKAMA alikulwaza olumbe olutawona olw’olukonvuba, okutuusa lwe lulikumalawo mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogirye. 22 MUKAMA alikulwaza akafuba, n’omusujja n’okubugujja. Era alikusindikira ebbugumu eryokya ennyo, n’ekyeya, n’ekitala, n’okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw’olizikirira. 23 Eggulu waggulu w’omutwe gwo liribeera ng’ekikomo, n’ettaka wansi wo liriba ng’ekyuma. 24 MUKAMA alifuula enkuba y’omu nsi yo olufufugge, n’enfuufu yokka y’eneekuyiikiranga okuva waggulu mu bire, okutuusa lw’olizikirizibwa. 25 MUKAMA anaakulekeranga abalabe bo ne bakuwangulanga. Onoobalumbiranga mu kkubo limu, kyokka n’obadduka ng’obunye emiwabo mu makubo musanvu. Olifuuka kyakikangabwa mu maaso g’amawanga gonna ag’oku nsi. 26 Omulambo gwo gulifuuka mmere ya nnyonyi zonna ez’omu bbanga, n’eri ensolo ez’oku nsi, era tewaabeerengawo n’omu anaazigugobangako. 27 MUKAMA anaakulwazanga amayute g’e Misiri, n’ebizimba, n’amabwa, n’obuwere, by’otoowonyezebwenga. 28 MUKAMA anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso, n’okukutabulatabulanga mu ndowooza yo. 29 Mu ttuntu onoowammantanga ng’omuzibe w’amaaso abeera mu kizikiza obudde bwe bwonna. Buli ky’onookolanga onoolemwanga okukituukiriza; onoovumibwanga era onoobbibwanga buli kakedde, naye nga tewaabengawo akudduukirira. 30 Onooyogerezanga omukazi, n’osembereranga n’okumuwasa, naye omusajja omulala anaakumutwalangako n’asulanga naye. Oneezimbiranga ennyumba naye toogisulengamu. Oneesimbiranga ennimiro z’emizabbibu, naye toolyenga ku bibala byamu. 31 Sseddume zo zinattirwanga mu maaso go, naye toolyenga ku nnyama zaazo. Endogoyi zo zinabbirwanga mu maaso go, so tebaazikuddizenga. Endiga zo zinaaweebwanga abalabe bo, ne watabaawo adduukirira okuzikuddiza. 32 Batabani bo ne bawala bo banaagabibwanga mu baamawanga amalala ng’olaba; onoobanoonyanga buli lunaku okutuusa n’amaaso lwe ganaakumyukanga, naye nga tolina maanyi kubaako na kya kukola. 33 Ab’eggwanga ly’otomanyi banaalyanga ebibala by’ettaka lyo by’onoobanga weerimidde, toobengako na kya kukola wabula okutulugunyizibwanga buli kiseera. 34 Amaaso go bye ganaalabanga binaakusuulanga eddalu. 35 MUKAMA anaakulwazanga amayute ku maviivi ne ku magulu, agataayinzenga kuwonyezebwa, era ne gasaasaananga okuva mu bigere okutuuka ku kawumpo k’omutwe. 36 MUKAMA alikuleka, ggwe ne kabaka wo gw’onoobanga weerondedde n’otwalibwa mu ggwanga eddala ly’otowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, n’oweererezanga eyo bakatonda abalala ab’emiti n’amayinja. 37 Olifuuka ekintu ekyesisiwaza, ekinaanyoomebwanga era ekinaasekererwanga mu mawanga gonna MUKAMA gy’anaabanga akulazizza. 38 Onoosiganga ensigo nnyingi mu nnimiro yo, kyokka onookungulangamu katono, kubanga enzige zinaalyanga ebibala byo byonna. 39 Onoosimbanga essamba z’emizabbibu n’ogisaliranga bulungi, naye toonywenga ku nvinnyo wadde okukuŋŋaanya ebibala bya zabbibu, kubanga ensiriŋŋanyi zinaabiryanga. 40 Onoobeeranga n’emiti egy’emizeeyituuni mu nsi yo yonna, naye togenda kukozesanga ku mafuta gaagyo, kubanga emizeeyituuni gyo ginaakunkumukanga ne gigwa wansi. 41 Olizaala abaana aboobulenzi n’aboobuwala, naye toosigalenga nabo, kubanga banaatwalibwanga mu busibe. 42 Enzige zineefuganga emiti gyo gyonna n’ebibala eby’omu ttaka lyo. 43 Bannamawanga b’onoobeeranga nabo bagenda kukulaakulananga balinnye waggulu okukusinganga, nga ggwe weeyongeranga kukka bussi wansi. 44 Banaakuwolanga, naye ggwe toobawolenga. Be banaabanga omutwe naye ggwe onoobanga mukira. 45 Ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga ne bikulondoolanga ne bikutuukako okutuusa lwe binaakuzikirizanga olw’obutagonderanga MUKAMA Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye yakulagiranga. 46 Binaabeeranga mu ggwe ng’akabonero era ekyewuunyisa gy’oli n’eri bazzukulu bo emirembe gyonna. 47 Kubanga bwe wabeeranga obulungi n’ebintu ebingi, tewaweerezanga MUKAMA Katonda wo n’omutima ogujjudde essanyu. 48 Noolwekyo ng’oli mu njala ne mu nnyonta, ng’oli bwereere, ng’oli mwavu lunkupe, ojjanga kuweerezanga balabe bo, MUKAMA b’anaakusindikiranga okulwana naawe! Anaakwambazanga mu bulago bwo ekikoligo eky’ekyuma okutuusa lw’alikuzikiririza ddala. 49 MUKAMA alikuleetera eggwanga eririva ewala ennyo, ku nkomerero y’ensi, ne likulumba, nga likukkako ng’empungu bw’eva waggulu n’ekka n’amaanyi ku nsi; liriba eggwanga ng’olulimi lwalyo tolutegeera. 50 Liribeera eggwanga erijjudde obukambwe mu maaso, eritassaamu kitiibwa bantu bakulu wadde okusaasira abato. 51 Balirya abaana b’ebisolo by’omu malundiro go, n’ebibala eby’omu ttaka lyo okutuusa lw’olizikirizibwa. Tebalikulekerawo ku mmere ya mpeke, wadde ku nvinnyo oba ku mafuta, wadde ku nnyana ez’ebiraalo byo, oba ku baana b’endiga ab’ebisibo byo, okutuusa lw’olizikirira. 52 Banaazingizanga ebibuga byo byonna mu nsi yo yonna okutuusa ebisenge ebiwanvu eby’ebigo bye weesiga lwe birigwa wansi. Banaazingizanga ebibuga byonna mu nsi yonna MUKAMA Katonda wo gy’akuwa. 53 Olw’okubonaabona abalabe bo kwe banaakutuusangako nga bakuzingizza, onoolyanga ebibala by’olubuto lwo, ennyama ya batabani bo ne bawala bo MUKAMA Katonda wo b’anaabanga akuwadde. 54 Omusajja asingira ddala obuntubulamu era omuwombeefu mu mmwe, taasaasirenga na muganda we yennyini, oba mukyala we omwagalwa, oba abaana be abanaabanga bakyasigaddewo; 55 taawengako n’omu ku nnyama y’abaana be b’anaabanga alya. Kubanga nga takyalina ky’asigazza kyonna mu kubonaabona okungi omulabe wo kw’anaabanga akutuusizzaako ng’akuzingirizza mu bibuga byo byonna. 56 Omukazi asinga obuntubulamu n’eggonjebwa mu mmwe, nga mwenaanyi nnyo, ataŋŋanga na kulinnyisa kigere kye ku ttaka nga kyereere, taamanyisenga bba omwagalwa, wadde mutabani we, oba muwala we, 57 ku mwana gw’anaabanga y’akazaala ow’omu lubuto lwe, n’abaana b’anaazaalanga. Kubanga anaabanga ategese okubalyanga mu nkukutu olw’okubulwako ekyokulya ekirala mu biseera eby’okuzingizibwa era eby’ennaku enzibu ennyo, omulabe wo by’anaabanga akutuusizzaako mu bibuga byo. 58 Bw’otoogonderenga na bwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino, n’ototya era n’otossaamu kitiibwa erinnya lino ery’ettendo era ery’entiisa, eriyitibwa: MUKAMA Katonda wo, 59 kale nno, MUKAMA anaakuweerezanga endwadde enkambwe ennyo, eri ggwe n’eri ezzadde lyo; endwadde ez’olutentezi era enkambwe ennyo ez’olukonvuba. 60 Anaakuleeteranga endwadde zonna ez’e Misiri, ezaakutiisa ennyo, ne zikwezingangako. 61 Era MUKAMA anaakuleeteranga endwadde eza buli ngeri, n’ebibonoobono ebitawandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka gano, okutuusa lw’olizikirizibwa. 62 Era mulisigala ng’omuwendo gwammwe gusse nnyo wansi, songa mwali ng’emmunyeenye ez’oku ggulu olw’obungi bwammwe; lwa kubanga tewagonderanga ddoboozi lya MUKAMA Katonda wo. 63 Nga bwe kyasanyusanga ennyo MUKAMA okubagaggawazanga n’okubaazanga mweyongerenga obungi, bwe kityo kinaamusanyusanga okubaavuwazanga n’okubazikirizanga. Olisimbulwa n’oggibwa mu nsi gy’ogenda okuyingira okugirya. 64 MUKAMA anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako. 65 Mu mawanga ago togenda kuweereraweererangayo wadde ebigere byo okufunirangayo ekiwummulo. Eyo, MUKAMA anaakuweerangayo omutima ogujugumira, n’amaaso agaagala okuziba olw’okujulirira, n’emmeeme eweddemu essuubi. 66 Onoobanga mu kubuusabuusa buli kaseera, ng’ojjudde okutya emisana n’ekiro, ng’obulamu bwo tobwekakasa. 67 Mu makya onoogambanga nti, “Singa nno bubadde kiro!” Ate ekiro ng’ogamba nti, “Singa nno bubadde makya!” olw’okutya okunajjulanga mu mutima gwo, n’ebyo amaaso go bye ganaalabanga. 68 MUKAMA anaakuzzangayo mu Misiri mu kyombo, ku lugendo lwe nakugaana okuddayo okutambula. Ng’oli eyo oneewangayo weetunde ng’omuddu omusajja oba ng’omuddu omukazi, naye toofunengayo muntu n’omu akugula.

In Other Versions

Deuteronomy 28 in the ANGEFD

Deuteronomy 28 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 28 in the AS21

Deuteronomy 28 in the BAGH

Deuteronomy 28 in the BBPNG

Deuteronomy 28 in the BBT1E

Deuteronomy 28 in the BDS

Deuteronomy 28 in the BEV

Deuteronomy 28 in the BHAD

Deuteronomy 28 in the BIB

Deuteronomy 28 in the BLPT

Deuteronomy 28 in the BNT

Deuteronomy 28 in the BNTABOOT

Deuteronomy 28 in the BNTLV

Deuteronomy 28 in the BOATCB

Deuteronomy 28 in the BOATCB2

Deuteronomy 28 in the BOBCV

Deuteronomy 28 in the BOCNT

Deuteronomy 28 in the BOECS

Deuteronomy 28 in the BOGWICC

Deuteronomy 28 in the BOHCB

Deuteronomy 28 in the BOHCV

Deuteronomy 28 in the BOHLNT

Deuteronomy 28 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 28 in the BOICB

Deuteronomy 28 in the BOILNTAP

Deuteronomy 28 in the BOITCV

Deuteronomy 28 in the BOKCV

Deuteronomy 28 in the BOKCV2

Deuteronomy 28 in the BOKHWOG

Deuteronomy 28 in the BOKSSV

Deuteronomy 28 in the BOLCB2

Deuteronomy 28 in the BOMCV

Deuteronomy 28 in the BONAV

Deuteronomy 28 in the BONCB

Deuteronomy 28 in the BONLT

Deuteronomy 28 in the BONUT2

Deuteronomy 28 in the BOPLNT

Deuteronomy 28 in the BOSCB

Deuteronomy 28 in the BOSNC

Deuteronomy 28 in the BOTLNT

Deuteronomy 28 in the BOVCB

Deuteronomy 28 in the BOYCB

Deuteronomy 28 in the BPBB

Deuteronomy 28 in the BPH

Deuteronomy 28 in the BSB

Deuteronomy 28 in the CCB

Deuteronomy 28 in the CUV

Deuteronomy 28 in the CUVS

Deuteronomy 28 in the DBT

Deuteronomy 28 in the DGDNT

Deuteronomy 28 in the DHNT

Deuteronomy 28 in the DNT

Deuteronomy 28 in the ELBE

Deuteronomy 28 in the EMTV

Deuteronomy 28 in the ESV

Deuteronomy 28 in the FBV

Deuteronomy 28 in the FEB

Deuteronomy 28 in the GGMNT

Deuteronomy 28 in the GNT

Deuteronomy 28 in the HARY

Deuteronomy 28 in the HNT

Deuteronomy 28 in the IRVA

Deuteronomy 28 in the IRVB

Deuteronomy 28 in the IRVG

Deuteronomy 28 in the IRVH

Deuteronomy 28 in the IRVK

Deuteronomy 28 in the IRVM

Deuteronomy 28 in the IRVM2

Deuteronomy 28 in the IRVO

Deuteronomy 28 in the IRVP

Deuteronomy 28 in the IRVT

Deuteronomy 28 in the IRVT2

Deuteronomy 28 in the IRVU

Deuteronomy 28 in the ISVN

Deuteronomy 28 in the JSNT

Deuteronomy 28 in the KAPI

Deuteronomy 28 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 28 in the KBV

Deuteronomy 28 in the KJV

Deuteronomy 28 in the KNFD

Deuteronomy 28 in the LBA

Deuteronomy 28 in the LBLA

Deuteronomy 28 in the LNT

Deuteronomy 28 in the LSV

Deuteronomy 28 in the MAAL

Deuteronomy 28 in the MBV

Deuteronomy 28 in the MBV2

Deuteronomy 28 in the MHNT

Deuteronomy 28 in the MKNFD

Deuteronomy 28 in the MNG

Deuteronomy 28 in the MNT

Deuteronomy 28 in the MNT2

Deuteronomy 28 in the MRS1T

Deuteronomy 28 in the NAA

Deuteronomy 28 in the NASB

Deuteronomy 28 in the NBLA

Deuteronomy 28 in the NBS

Deuteronomy 28 in the NBVTP

Deuteronomy 28 in the NET2

Deuteronomy 28 in the NIV11

Deuteronomy 28 in the NNT

Deuteronomy 28 in the NNT2

Deuteronomy 28 in the NNT3

Deuteronomy 28 in the PDDPT

Deuteronomy 28 in the PFNT

Deuteronomy 28 in the RMNT

Deuteronomy 28 in the SBIAS

Deuteronomy 28 in the SBIBS

Deuteronomy 28 in the SBIBS2

Deuteronomy 28 in the SBICS

Deuteronomy 28 in the SBIDS

Deuteronomy 28 in the SBIGS

Deuteronomy 28 in the SBIHS

Deuteronomy 28 in the SBIIS

Deuteronomy 28 in the SBIIS2

Deuteronomy 28 in the SBIIS3

Deuteronomy 28 in the SBIKS

Deuteronomy 28 in the SBIKS2

Deuteronomy 28 in the SBIMS

Deuteronomy 28 in the SBIOS

Deuteronomy 28 in the SBIPS

Deuteronomy 28 in the SBISS

Deuteronomy 28 in the SBITS

Deuteronomy 28 in the SBITS2

Deuteronomy 28 in the SBITS3

Deuteronomy 28 in the SBITS4

Deuteronomy 28 in the SBIUS

Deuteronomy 28 in the SBIVS

Deuteronomy 28 in the SBT

Deuteronomy 28 in the SBT1E

Deuteronomy 28 in the SCHL

Deuteronomy 28 in the SNT

Deuteronomy 28 in the SUSU

Deuteronomy 28 in the SUSU2

Deuteronomy 28 in the SYNO

Deuteronomy 28 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 28 in the TBT1E

Deuteronomy 28 in the TBT1E2

Deuteronomy 28 in the TFTIP

Deuteronomy 28 in the TFTU

Deuteronomy 28 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 28 in the THAI

Deuteronomy 28 in the TNFD

Deuteronomy 28 in the TNT

Deuteronomy 28 in the TNTIK

Deuteronomy 28 in the TNTIL

Deuteronomy 28 in the TNTIN

Deuteronomy 28 in the TNTIP

Deuteronomy 28 in the TNTIZ

Deuteronomy 28 in the TOMA

Deuteronomy 28 in the TTENT

Deuteronomy 28 in the UBG

Deuteronomy 28 in the UGV

Deuteronomy 28 in the UGV2

Deuteronomy 28 in the UGV3

Deuteronomy 28 in the VBL

Deuteronomy 28 in the VDCC

Deuteronomy 28 in the YALU

Deuteronomy 28 in the YAPE

Deuteronomy 28 in the YBVTP

Deuteronomy 28 in the ZBP