Deuteronomy 31 (BOLCB)

1 Awo Musa n’agenda n’abuulira Isirayiri yonna ebigambo bino, n’agamba nti, 2 “Olwa leero mpezezza emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; sikyalina maanyi kusobola kufuluma na kuyingira nga bwe njagala. Sikyasobola kubakulembera. MUKAMA Katonda antegeezezza nti, ‘Togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.’ 3 MUKAMA Katonda wo yennyini y’ajja okukukulembera mu kusomoka. Ajja kuzikiriza amawanga ago agali emitala, nga naawe olaba, olyoke obatwaleko ensi yaabwe. Yoswa yennyini naye yajja okukukulembera mu kusomoka, nga MUKAMA bwe yagambye. 4 Era nga MUKAMA Katonda bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka b’Abamoli n’ensi yaabwe, n’abazikiriza, ne bano bw’alibakola. 5 MUKAMA Katonda agenda kubagabula gye muli, era kiribagwanira okubakolako nga mugobererera ddala ebiragiro byange bye mbawadde nga bwe biri. 6 Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga MUKAMA Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.” 7 Awo Musa n’atumya Yoswa n’amugambira mu maaso ga Isirayiri yenna nti, “Beera wa maanyi era ogume omwoyo; kubanga gw’ojja okugenda n’abantu bano mu nsi MUKAMA Katonda gye yalayirira bajjajjaabwe okugibawa; era gw’ogenda okugibasalirasaliramu ogibakwase okuba obusika bwabwe obw’enkalakkalira. 8 MUKAMA Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.” 9 Awo Musa n’awandiika amateeka ago, n’agakwasa batabani ba Leevi, bakabona, abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya MUKAMA Katonda, era n’awaako n’abakadde bonna abakulembeze b’abaana ba Isirayiri. 10 Musa n’abalagira bw’ati nti, “Ku buli nkomerero ya myaka musanvu, mu mwaka omutegeke ogusonyiyirwamu amabanja, era nga y’Embaga ey’Ensiisira, 11 Isirayiri yenna nga bazze okulabika mu maaso ga MUKAMA Katonda wo mu kifo ky’aneeronderanga, onoosomeranga Isirayiri yenna amateeka gano gonna nga bawulira. 12 Okuŋŋaanyanga abantu: abasajja, n’abakazi, n’abaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya MUKAMA Katonda wammwe, era bagobererenga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano. 13 Bwe batyo abaana baabwe abataamanyanga mateeka gano, balyoke bagawulire bayigenga okutyanga MUKAMA Katonda wammwe, obulamu bwammwe bwonna bwe mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugirya.” 14 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, “Obudde bwo obw’okufa busembedde. Yita Yoswa, mujje mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.” 15 Awo MUKAMA Katonda n’alabikira mu Weema ng’ali mu mpagi ey’ekire; empagi ey’ekire n’eyimirira waggulu w’omulyango gw’Eweema. 16 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, “Mu bbanga ttono ojja kugalamira ne bajjajjaabo. Olwo abantu bano nga batandika okusinzanga bakatonda abalala abalibeera mu bo, nga be bakatonda ab’omu nsi eyo mwe bajja okuyingira. Bagenda kunvaako bamenye endagaano gye nakola nabo. 17 Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’ 18 Ku lunaku olwo ndikwekera ddala amaaso gange olw’ebibi byonna bye banaabanga bakoze nga bakyukidde bakatonda abalala. 19 “Kale nno kaakano wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isirayiri, olubayimbisenga, lulyoke lubeerenga omujulizi wange ku baana ba Isirayiri. 20 Kubanga bwe ndimala okubaleeta mu nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, gye nasuubiza bajjajjaabwe nga ngibalayirira, ne balya ne bakkuta ne bagejja, balikyukira bakatonda abalala ne babasinza nga babaweereza, ne bannyooma ne bamenya endagaano yange. 21 Obubenje obw’akabi bwe bunaabajjiranga, oluyimba luno lunaabasoomozanga ng’omujulizi nga lubalumiriza, kubanga bazzukulu baabwe banaabanga bakyalulina mu kamwa kaabwe nga tebannalwerabira. Kubanga mmanyi bye balowooza okukola nga n’okubatuusa sinnaba kubatuusa mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira.” 22 Bw’atyo, ku lunaku olwo, Musa n’awandiika oluyimba luno n’aluyigiriza abaana ba Isirayiri. 23 Awo MUKAMA n’awa Yoswa mutabani wa Nuuni ekiragiro kino ng’agamba nti, “Beera wa maanyi era guma omwoyo, kubanga ggw’oliyingiza abaana ba Isirayiri mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira; era nange nnaabeeranga naawe.” 24 Musa bwe yamala okuwandiika mu Kitabo ebigambo eby’amateeka gano, okubiggya ku ntandikwa okubituusa ku nkomerero, 25 Musa n’alagira Abaleevi abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya MUKAMA, ng’agamba nti, 26 “Mutwale Ekitabo ky’Amateeka kino mukiteeke awali Essanduuko ey’Endagaano eya MUKAMA Katonda wammwe, kibeerenga awo ng’omujulirwa gy’oli. 27 Kubanga nkumanyi nga bw’oli omujeemu era alina ensingo enkakanyavu. Obanga mubadde mujeemera MUKAMA Katonda nga nkyaliwo nammwe, kale nga mmaze okufa okujeema kwammwe tekuusingewo nnyo! 28 Munkuŋŋaanyize wano abakadde b’ebika byammwe abakulembeze bammwe bonna, njogere ebigambo bino mu matu gaabwe nga bawulira; era mpita eggulu n’ensi bibeere abajulirwa okubalumiriza. 29 Kubanga mmanyi nga bwe nnaamala okufa mujja kwefaafaaganyiza ddala nga mukyama okuleka ekkubo lye mbalagidde okukwatanga. Mu biseera ebijja emitawaana gijjanga kubajjira, nga mukoze ebibi mu maaso ga MUKAMA Katonda mulyoke mumusunguwaze olw’ebyo emikono gyammwe bye ginaabanga gikoze.” 30 Awo Musa n’ayogera, ebigambo by’oluyimba luno okuluggya ku ntandikwa yaalwo n’okulutuusa ku nkomerero ng’ekibiina kya Isirayiri yenna kiwulira.

In Other Versions

Deuteronomy 31 in the ANGEFD

Deuteronomy 31 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 31 in the AS21

Deuteronomy 31 in the BAGH

Deuteronomy 31 in the BBPNG

Deuteronomy 31 in the BBT1E

Deuteronomy 31 in the BDS

Deuteronomy 31 in the BEV

Deuteronomy 31 in the BHAD

Deuteronomy 31 in the BIB

Deuteronomy 31 in the BLPT

Deuteronomy 31 in the BNT

Deuteronomy 31 in the BNTABOOT

Deuteronomy 31 in the BNTLV

Deuteronomy 31 in the BOATCB

Deuteronomy 31 in the BOATCB2

Deuteronomy 31 in the BOBCV

Deuteronomy 31 in the BOCNT

Deuteronomy 31 in the BOECS

Deuteronomy 31 in the BOGWICC

Deuteronomy 31 in the BOHCB

Deuteronomy 31 in the BOHCV

Deuteronomy 31 in the BOHLNT

Deuteronomy 31 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 31 in the BOICB

Deuteronomy 31 in the BOILNTAP

Deuteronomy 31 in the BOITCV

Deuteronomy 31 in the BOKCV

Deuteronomy 31 in the BOKCV2

Deuteronomy 31 in the BOKHWOG

Deuteronomy 31 in the BOKSSV

Deuteronomy 31 in the BOLCB2

Deuteronomy 31 in the BOMCV

Deuteronomy 31 in the BONAV

Deuteronomy 31 in the BONCB

Deuteronomy 31 in the BONLT

Deuteronomy 31 in the BONUT2

Deuteronomy 31 in the BOPLNT

Deuteronomy 31 in the BOSCB

Deuteronomy 31 in the BOSNC

Deuteronomy 31 in the BOTLNT

Deuteronomy 31 in the BOVCB

Deuteronomy 31 in the BOYCB

Deuteronomy 31 in the BPBB

Deuteronomy 31 in the BPH

Deuteronomy 31 in the BSB

Deuteronomy 31 in the CCB

Deuteronomy 31 in the CUV

Deuteronomy 31 in the CUVS

Deuteronomy 31 in the DBT

Deuteronomy 31 in the DGDNT

Deuteronomy 31 in the DHNT

Deuteronomy 31 in the DNT

Deuteronomy 31 in the ELBE

Deuteronomy 31 in the EMTV

Deuteronomy 31 in the ESV

Deuteronomy 31 in the FBV

Deuteronomy 31 in the FEB

Deuteronomy 31 in the GGMNT

Deuteronomy 31 in the GNT

Deuteronomy 31 in the HARY

Deuteronomy 31 in the HNT

Deuteronomy 31 in the IRVA

Deuteronomy 31 in the IRVB

Deuteronomy 31 in the IRVG

Deuteronomy 31 in the IRVH

Deuteronomy 31 in the IRVK

Deuteronomy 31 in the IRVM

Deuteronomy 31 in the IRVM2

Deuteronomy 31 in the IRVO

Deuteronomy 31 in the IRVP

Deuteronomy 31 in the IRVT

Deuteronomy 31 in the IRVT2

Deuteronomy 31 in the IRVU

Deuteronomy 31 in the ISVN

Deuteronomy 31 in the JSNT

Deuteronomy 31 in the KAPI

Deuteronomy 31 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 31 in the KBV

Deuteronomy 31 in the KJV

Deuteronomy 31 in the KNFD

Deuteronomy 31 in the LBA

Deuteronomy 31 in the LBLA

Deuteronomy 31 in the LNT

Deuteronomy 31 in the LSV

Deuteronomy 31 in the MAAL

Deuteronomy 31 in the MBV

Deuteronomy 31 in the MBV2

Deuteronomy 31 in the MHNT

Deuteronomy 31 in the MKNFD

Deuteronomy 31 in the MNG

Deuteronomy 31 in the MNT

Deuteronomy 31 in the MNT2

Deuteronomy 31 in the MRS1T

Deuteronomy 31 in the NAA

Deuteronomy 31 in the NASB

Deuteronomy 31 in the NBLA

Deuteronomy 31 in the NBS

Deuteronomy 31 in the NBVTP

Deuteronomy 31 in the NET2

Deuteronomy 31 in the NIV11

Deuteronomy 31 in the NNT

Deuteronomy 31 in the NNT2

Deuteronomy 31 in the NNT3

Deuteronomy 31 in the PDDPT

Deuteronomy 31 in the PFNT

Deuteronomy 31 in the RMNT

Deuteronomy 31 in the SBIAS

Deuteronomy 31 in the SBIBS

Deuteronomy 31 in the SBIBS2

Deuteronomy 31 in the SBICS

Deuteronomy 31 in the SBIDS

Deuteronomy 31 in the SBIGS

Deuteronomy 31 in the SBIHS

Deuteronomy 31 in the SBIIS

Deuteronomy 31 in the SBIIS2

Deuteronomy 31 in the SBIIS3

Deuteronomy 31 in the SBIKS

Deuteronomy 31 in the SBIKS2

Deuteronomy 31 in the SBIMS

Deuteronomy 31 in the SBIOS

Deuteronomy 31 in the SBIPS

Deuteronomy 31 in the SBISS

Deuteronomy 31 in the SBITS

Deuteronomy 31 in the SBITS2

Deuteronomy 31 in the SBITS3

Deuteronomy 31 in the SBITS4

Deuteronomy 31 in the SBIUS

Deuteronomy 31 in the SBIVS

Deuteronomy 31 in the SBT

Deuteronomy 31 in the SBT1E

Deuteronomy 31 in the SCHL

Deuteronomy 31 in the SNT

Deuteronomy 31 in the SUSU

Deuteronomy 31 in the SUSU2

Deuteronomy 31 in the SYNO

Deuteronomy 31 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 31 in the TBT1E

Deuteronomy 31 in the TBT1E2

Deuteronomy 31 in the TFTIP

Deuteronomy 31 in the TFTU

Deuteronomy 31 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 31 in the THAI

Deuteronomy 31 in the TNFD

Deuteronomy 31 in the TNT

Deuteronomy 31 in the TNTIK

Deuteronomy 31 in the TNTIL

Deuteronomy 31 in the TNTIN

Deuteronomy 31 in the TNTIP

Deuteronomy 31 in the TNTIZ

Deuteronomy 31 in the TOMA

Deuteronomy 31 in the TTENT

Deuteronomy 31 in the UBG

Deuteronomy 31 in the UGV

Deuteronomy 31 in the UGV2

Deuteronomy 31 in the UGV3

Deuteronomy 31 in the VBL

Deuteronomy 31 in the VDCC

Deuteronomy 31 in the YALU

Deuteronomy 31 in the YAPE

Deuteronomy 31 in the YBVTP

Deuteronomy 31 in the ZBP