Esther 2 (BOLCB)

1 Oluvannyuma, obusungu bwa Kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, yasigala ng’alowooza ku Vasuti, kye yakola, n’ekyali kisaliddwawo. 2 Awo abaddu ba Kabaka ne baleeta ekirowoozo nti, “Banoonyeze Kabaka omuwala ku bawala abato abalungi nga mbeerera. 3 Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba y’abakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ng’abawa ne by’okulungiya byonna bye beetaaga. 4 Awo omuwala anasiimibwa kabaka, ye anafuuka Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa kabaka, era n’akissa mu nkola. 5 Mu biro ebyo mu lubiri e Susani, waaliyo Omuyudaaya ow’omu kika kya Benyamini, erinnya lye Moluddekaayi, mutabani wa Yayiri, muzzukulu wa Simeeyi, muzzukulu wa Kiisi, 6 eyawaambibwa Nebukadduneeza, Kabaka we Babulooni n’aleetebwa mu buwaŋŋanguse nga y’omu ku basibe abaasibibwa ne Yekoniya, eyali Kabaka wa Yuda, okuva e Yerusaalemi. 7 Moluddekaayi yalina omuwala omuto erinnya lye Kadasa, gwe yalinako oluganda, eyakulira mu mikono gye, kubanga yali mulekwa nga yafiirwa kitaawe ne nnyina. Erinnya ly’omuwala ono eddala nga ye Eseza, era yali ng’alabika bulungi nnyo. 8 Awo olwatuuka ekiragiro kya Kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi, nga ne Eseza mwali ne baleetebwa mu lubiri e Susani ne bakwasibwa Kegayi eyali alabirira abakyala ba Kabaka. 9 Eseza n’asiimibwa Kegayi, era n’amuwa ebintu eby’okulungiya, n’emmere ey’enjawulo. Era yamuwa n’abazaana musanvu abaalondebwa okuva mu lubiri lwa Kabaka, era n’amuteeka mu kifo ekisinga obulungi awakuumibwa abakyala. 10 Eseza yali tamanyiddwa ggwanga lye, wadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amugaanye okulyogera. 11 Buli lunaku Moluddekaayi yalagangako mu luggya lw’ennyumba ya bakyala okumanya ebyafanga ku Eseza. 12 Awo oluwalo lwa buli muwala bwe lwatuukanga okugenda eri Kabaka Akaswero, omuwala oyo yalinanga okuba ng’amaze emyezi kkumi n’ebiri egy’okufumbirirwa, ng’era mu bbanga eryo, emyezi omukaaga aba ng’akozesa amafuta ag’omugavu n’emyezi omukaaga omulala nga yeyambisa obuwoowo n’ebintu ebirala ebifumbirira. 13 Bw’atyo omuwala n’alyokanga agenda eri Kabaka. Omuwala bwe yatuukanga okugenda ewa Kabaka yabanga wa ddembe okuweebwa kyonna ky’ayagala okuva mu nnyumba y’abakyala. 14 Yagendangayo kawungeezi, ate bwe bwakeeranga, n’addayo mu kifo ekirala era eky’abakyala ekyalabirirwanga Saasugazi, omulaawe wa Kabaka eyakuumanga abakyala ba Kabaka abalala. Era omuwala oyo teyaddanga wa Kabaka wabula ng’amusiimye, era ng’amutumizza. 15 Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira. 16 Yatwalibwa eri Kabaka Akaswero mu lubiri lwe mu mwezi ogw’ekkumi, gwe mwezi Tebesi, mu mwaka ogw’omusanvu ogw’okufuga kwe. 17 Kabaka n’ayagala nnyo Eseza okukira abakyala abalala bonna, era n’aganja mu maaso ge okusinga abawala embeerera bonna. N’amutikkira engule okuba Nnabagereka mu kifo kya Vasuti. 18 Awo Kabaka n’akolera Eseza embaga ennene, n’ayita abakungu be wamu n’abaami be, era n’alangirira abantu okusonyiyibwa emisolo mu bitundu byonna, ate n’agaba n’ebirabo nga bwe yayagala. 19 Olunaku olumu Moluddekaayi bwe yali ng’atudde ku wankaaki w’olubiri lwa Kabaka, abawala ne bakuŋŋaanira eri Kabaka omulundi ogwokubiri. 20 Eseza yakuuma ekyama Moluddekaayi kye yali amukuutidde, eky’obutayogera ekika kye newaakubadde eggwanga lye. 21 Awo mu biro ebyo Moluddekaayi ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka, abalaawe ba Kabaka babiri, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga omulyango, ne banyiigira Kabaka Akaswero, era ne bateesa okumutemula. 22 Naye Moluddekaayi n’agwa mu lukwe olwo, n’ategeezaako Eseza Nnabagereka, eyagenda n’abuulira Kabaka nga Moluddekaayi bwe yamutegeeza. 23 Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.

In Other Versions

Esther 2 in the ANGEFD

Esther 2 in the ANTPNG2D

Esther 2 in the AS21

Esther 2 in the BAGH

Esther 2 in the BBPNG

Esther 2 in the BBT1E

Esther 2 in the BDS

Esther 2 in the BEV

Esther 2 in the BHAD

Esther 2 in the BIB

Esther 2 in the BLPT

Esther 2 in the BNT

Esther 2 in the BNTABOOT

Esther 2 in the BNTLV

Esther 2 in the BOATCB

Esther 2 in the BOATCB2

Esther 2 in the BOBCV

Esther 2 in the BOCNT

Esther 2 in the BOECS

Esther 2 in the BOGWICC

Esther 2 in the BOHCB

Esther 2 in the BOHCV

Esther 2 in the BOHLNT

Esther 2 in the BOHNTLTAL

Esther 2 in the BOICB

Esther 2 in the BOILNTAP

Esther 2 in the BOITCV

Esther 2 in the BOKCV

Esther 2 in the BOKCV2

Esther 2 in the BOKHWOG

Esther 2 in the BOKSSV

Esther 2 in the BOLCB2

Esther 2 in the BOMCV

Esther 2 in the BONAV

Esther 2 in the BONCB

Esther 2 in the BONLT

Esther 2 in the BONUT2

Esther 2 in the BOPLNT

Esther 2 in the BOSCB

Esther 2 in the BOSNC

Esther 2 in the BOTLNT

Esther 2 in the BOVCB

Esther 2 in the BOYCB

Esther 2 in the BPBB

Esther 2 in the BPH

Esther 2 in the BSB

Esther 2 in the CCB

Esther 2 in the CUV

Esther 2 in the CUVS

Esther 2 in the DBT

Esther 2 in the DGDNT

Esther 2 in the DHNT

Esther 2 in the DNT

Esther 2 in the ELBE

Esther 2 in the EMTV

Esther 2 in the ESV

Esther 2 in the FBV

Esther 2 in the FEB

Esther 2 in the GGMNT

Esther 2 in the GNT

Esther 2 in the HARY

Esther 2 in the HNT

Esther 2 in the IRVA

Esther 2 in the IRVB

Esther 2 in the IRVG

Esther 2 in the IRVH

Esther 2 in the IRVK

Esther 2 in the IRVM

Esther 2 in the IRVM2

Esther 2 in the IRVO

Esther 2 in the IRVP

Esther 2 in the IRVT

Esther 2 in the IRVT2

Esther 2 in the IRVU

Esther 2 in the ISVN

Esther 2 in the JSNT

Esther 2 in the KAPI

Esther 2 in the KBT1ETNIK

Esther 2 in the KBV

Esther 2 in the KJV

Esther 2 in the KNFD

Esther 2 in the LBA

Esther 2 in the LBLA

Esther 2 in the LNT

Esther 2 in the LSV

Esther 2 in the MAAL

Esther 2 in the MBV

Esther 2 in the MBV2

Esther 2 in the MHNT

Esther 2 in the MKNFD

Esther 2 in the MNG

Esther 2 in the MNT

Esther 2 in the MNT2

Esther 2 in the MRS1T

Esther 2 in the NAA

Esther 2 in the NASB

Esther 2 in the NBLA

Esther 2 in the NBS

Esther 2 in the NBVTP

Esther 2 in the NET2

Esther 2 in the NIV11

Esther 2 in the NNT

Esther 2 in the NNT2

Esther 2 in the NNT3

Esther 2 in the PDDPT

Esther 2 in the PFNT

Esther 2 in the RMNT

Esther 2 in the SBIAS

Esther 2 in the SBIBS

Esther 2 in the SBIBS2

Esther 2 in the SBICS

Esther 2 in the SBIDS

Esther 2 in the SBIGS

Esther 2 in the SBIHS

Esther 2 in the SBIIS

Esther 2 in the SBIIS2

Esther 2 in the SBIIS3

Esther 2 in the SBIKS

Esther 2 in the SBIKS2

Esther 2 in the SBIMS

Esther 2 in the SBIOS

Esther 2 in the SBIPS

Esther 2 in the SBISS

Esther 2 in the SBITS

Esther 2 in the SBITS2

Esther 2 in the SBITS3

Esther 2 in the SBITS4

Esther 2 in the SBIUS

Esther 2 in the SBIVS

Esther 2 in the SBT

Esther 2 in the SBT1E

Esther 2 in the SCHL

Esther 2 in the SNT

Esther 2 in the SUSU

Esther 2 in the SUSU2

Esther 2 in the SYNO

Esther 2 in the TBIAOTANT

Esther 2 in the TBT1E

Esther 2 in the TBT1E2

Esther 2 in the TFTIP

Esther 2 in the TFTU

Esther 2 in the TGNTATF3T

Esther 2 in the THAI

Esther 2 in the TNFD

Esther 2 in the TNT

Esther 2 in the TNTIK

Esther 2 in the TNTIL

Esther 2 in the TNTIN

Esther 2 in the TNTIP

Esther 2 in the TNTIZ

Esther 2 in the TOMA

Esther 2 in the TTENT

Esther 2 in the UBG

Esther 2 in the UGV

Esther 2 in the UGV2

Esther 2 in the UGV3

Esther 2 in the VBL

Esther 2 in the VDCC

Esther 2 in the YALU

Esther 2 in the YAPE

Esther 2 in the YBVTP

Esther 2 in the ZBP