Exodus 17 (BOLCB)

1 Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya MUKAMA bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. 2 Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa MUKAMA?” 3 Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?” 4 Musa n’akaabira MUKAMA nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.” 5 MUKAMA n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. 6 Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. 7 Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa MUKAMA nga bagamba nti, “MUKAMA waali mu ffe oba taliiwo?” 8 Awo Abamaleki ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. 9 Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.” 10 Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11 Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12 Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13 Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala. 14 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.” 15 Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya MUKAMA ye Bendera Yange. 16 N’agamba nti, “Kubanga Abamaleki baalwanyisa entebe ya MUKAMA ey’obwakabaka, MUKAMA alayidde okubalwanyisa emirembe gyonna.”

In Other Versions

Exodus 17 in the ANGEFD

Exodus 17 in the ANTPNG2D

Exodus 17 in the AS21

Exodus 17 in the BAGH

Exodus 17 in the BBPNG

Exodus 17 in the BBT1E

Exodus 17 in the BDS

Exodus 17 in the BEV

Exodus 17 in the BHAD

Exodus 17 in the BIB

Exodus 17 in the BLPT

Exodus 17 in the BNT

Exodus 17 in the BNTABOOT

Exodus 17 in the BNTLV

Exodus 17 in the BOATCB

Exodus 17 in the BOATCB2

Exodus 17 in the BOBCV

Exodus 17 in the BOCNT

Exodus 17 in the BOECS

Exodus 17 in the BOGWICC

Exodus 17 in the BOHCB

Exodus 17 in the BOHCV

Exodus 17 in the BOHLNT

Exodus 17 in the BOHNTLTAL

Exodus 17 in the BOICB

Exodus 17 in the BOILNTAP

Exodus 17 in the BOITCV

Exodus 17 in the BOKCV

Exodus 17 in the BOKCV2

Exodus 17 in the BOKHWOG

Exodus 17 in the BOKSSV

Exodus 17 in the BOLCB2

Exodus 17 in the BOMCV

Exodus 17 in the BONAV

Exodus 17 in the BONCB

Exodus 17 in the BONLT

Exodus 17 in the BONUT2

Exodus 17 in the BOPLNT

Exodus 17 in the BOSCB

Exodus 17 in the BOSNC

Exodus 17 in the BOTLNT

Exodus 17 in the BOVCB

Exodus 17 in the BOYCB

Exodus 17 in the BPBB

Exodus 17 in the BPH

Exodus 17 in the BSB

Exodus 17 in the CCB

Exodus 17 in the CUV

Exodus 17 in the CUVS

Exodus 17 in the DBT

Exodus 17 in the DGDNT

Exodus 17 in the DHNT

Exodus 17 in the DNT

Exodus 17 in the ELBE

Exodus 17 in the EMTV

Exodus 17 in the ESV

Exodus 17 in the FBV

Exodus 17 in the FEB

Exodus 17 in the GGMNT

Exodus 17 in the GNT

Exodus 17 in the HARY

Exodus 17 in the HNT

Exodus 17 in the IRVA

Exodus 17 in the IRVB

Exodus 17 in the IRVG

Exodus 17 in the IRVH

Exodus 17 in the IRVK

Exodus 17 in the IRVM

Exodus 17 in the IRVM2

Exodus 17 in the IRVO

Exodus 17 in the IRVP

Exodus 17 in the IRVT

Exodus 17 in the IRVT2

Exodus 17 in the IRVU

Exodus 17 in the ISVN

Exodus 17 in the JSNT

Exodus 17 in the KAPI

Exodus 17 in the KBT1ETNIK

Exodus 17 in the KBV

Exodus 17 in the KJV

Exodus 17 in the KNFD

Exodus 17 in the LBA

Exodus 17 in the LBLA

Exodus 17 in the LNT

Exodus 17 in the LSV

Exodus 17 in the MAAL

Exodus 17 in the MBV

Exodus 17 in the MBV2

Exodus 17 in the MHNT

Exodus 17 in the MKNFD

Exodus 17 in the MNG

Exodus 17 in the MNT

Exodus 17 in the MNT2

Exodus 17 in the MRS1T

Exodus 17 in the NAA

Exodus 17 in the NASB

Exodus 17 in the NBLA

Exodus 17 in the NBS

Exodus 17 in the NBVTP

Exodus 17 in the NET2

Exodus 17 in the NIV11

Exodus 17 in the NNT

Exodus 17 in the NNT2

Exodus 17 in the NNT3

Exodus 17 in the PDDPT

Exodus 17 in the PFNT

Exodus 17 in the RMNT

Exodus 17 in the SBIAS

Exodus 17 in the SBIBS

Exodus 17 in the SBIBS2

Exodus 17 in the SBICS

Exodus 17 in the SBIDS

Exodus 17 in the SBIGS

Exodus 17 in the SBIHS

Exodus 17 in the SBIIS

Exodus 17 in the SBIIS2

Exodus 17 in the SBIIS3

Exodus 17 in the SBIKS

Exodus 17 in the SBIKS2

Exodus 17 in the SBIMS

Exodus 17 in the SBIOS

Exodus 17 in the SBIPS

Exodus 17 in the SBISS

Exodus 17 in the SBITS

Exodus 17 in the SBITS2

Exodus 17 in the SBITS3

Exodus 17 in the SBITS4

Exodus 17 in the SBIUS

Exodus 17 in the SBIVS

Exodus 17 in the SBT

Exodus 17 in the SBT1E

Exodus 17 in the SCHL

Exodus 17 in the SNT

Exodus 17 in the SUSU

Exodus 17 in the SUSU2

Exodus 17 in the SYNO

Exodus 17 in the TBIAOTANT

Exodus 17 in the TBT1E

Exodus 17 in the TBT1E2

Exodus 17 in the TFTIP

Exodus 17 in the TFTU

Exodus 17 in the TGNTATF3T

Exodus 17 in the THAI

Exodus 17 in the TNFD

Exodus 17 in the TNT

Exodus 17 in the TNTIK

Exodus 17 in the TNTIL

Exodus 17 in the TNTIN

Exodus 17 in the TNTIP

Exodus 17 in the TNTIZ

Exodus 17 in the TOMA

Exodus 17 in the TTENT

Exodus 17 in the UBG

Exodus 17 in the UGV

Exodus 17 in the UGV2

Exodus 17 in the UGV3

Exodus 17 in the VBL

Exodus 17 in the VDCC

Exodus 17 in the YALU

Exodus 17 in the YAPE

Exodus 17 in the YBVTP

Exodus 17 in the ZBP