Exodus 23 (BOLCB)

1 “Tosaasaanyanga ŋŋambo. Teweegattanga na muntu mubi, ng’owa obujulirwa obw’obulimba bulyoke bumuyambe. 2 “Tokolagananga na kibiina ky’omanyi nga bye kiriko bikyamu. Bw’obanga owa obujulirwa mu musango, tokkirizanga kusikibwa kibiina ne kikuweesa obujulizi obw’obulimba nga weekubira ku ludda lwe kiriko; 3 era towanga bujulirwa bukyamu oyambe omuntu yenna olwokubanga mwavu. 4 “Bw’osanganga ente y’omulabe wo, oba endogoyi ye, ng’ebuzze ogimuddizangayo eka. 5 Bw’olabanga endogoyi y’omuntu atakwagala, ng’omugugu gugisudde wansi, togirekanga, naye omuyambangako okugiyimusa. 6 “Tolemanga kusalirawo muntu nsonga ze mu bwenkanya, olwokubanga mwavu. 7 Teweeyingizanga mu nsonga za bulimba, era tottanga muntu atalina kibi oba atazzizza musango, kubanga aliko omusango sigenda kumwejjeereza. 8 “Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba omuntu amaaso n’ekyamya n’abatuukirivu. 9 “Temuwalagganyanga munnaggwanga, kubanga mmwe bennyini mumanyi nga bwe kiri okuba bannaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri. 10 “Mu myaka omukaaga osigirangamu emmere yo mu nnimiro zo era n’ogikungula; 11 naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka olirekanga ne liwummula, abaavu mu mmwe basobolenga okulya ku mmere okuva mu bimererezi; eneefikkangawo ebisolo by’omu nsiko binaagiryanga. Era bw’otyo bw’onookolanga n’ennimiro zo ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni. 12 “Mu nnaku omukaaga mw’okoleranga emirimu gyo, naye ku lunaku olw’omusanvu tokolanga, ente yo n’endogoyi yo ziryoke zisobole okuwummulako; ne mutabani w’omuweereza wo, ne munnaggwanga ali mu maka go bawummuleko baddemu endasi. 13 “Weegenderezanga n’okolanga byonna bye nkulagidde. Bakatonda abalala toboogerangako, era amannya gaabwe tegayitanga mu kamwa ko. 14 “Ononkoleranga embaga emirundi esatu buli mwaka. 15 “Onookolanga Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Onoolyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa okumala ennaku musanvu, nga bwe nakulagira. Kino okikolanga mu kiseera ekyategekebwa, mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu mwezi ogwo mwe waviira mu nsi y’e Misiri.“Tewabangawo ajja gye ndi engalo ensa. 16 “Onookolanga Embaga ey’Amakungula ey’ebibala ebibereberye eby’ebirime bye wasiga mu nnimiro yo.“Onookolanga Embaga ey’Amayingiza buli nkomerero ya mwaka, bw’onookuŋŋaanyanga ebibala by’omu nnimiro, n’obiyingiza. 17 “Abasajja bonna banajjanga awali MUKAMA Katonda emirundi egyo esatu buli mwaka. 18 “Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; n’amasavu aga ssaddaaka yange tegasulangawo kutuusa nkeera. 19 “Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya MUKAMA Katonda wo. Tofumbanga akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako. 20 “Laba, ntuma malayika akukulembere, akutuuse bulungi mu kifo kye nteeseteese. 21 Omuwulirizanga, era ogonderanga by’agamba. Tomujeemeranga; bw’olijeema tagenda kukusonyiwa, kubanga aliba akola mu Linnya lyange. 22 Naye bw’onoowulirizanga eddoboozi lye, n’okola nga bwe ŋŋamba, kale nnaakyawanga abakukyawa, n’abalabe bo banaabanga balabe bange. 23 Malayika wange alikwesooka mu maaso akukulemberenga akutuuse mu nsi y’Abamoli, ne mu y’Abakiiti, ne mu y’Abaperezi, ne mu y’Abakanani, ne mu y’Abakiivi, ne mu y’Abayebusi, nange ndibazikiririza ddala. 24 Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, era tokwatanga mpisa zaabwe, wabula obabetetaranga ddala, n’omenyaamenya n’empagi zaabwe. 25 Oweerezanga MUKAMA Katonda wo yekka, emmere yo n’amazzi go ndyoke mbiwe omukisa. Ndiggyawo endwadde mu mmwe; 26 tewaabengawo mugumba wadde avaamu olubuto. Ennaku z’obulamu bwo zonna nnaazituukirizanga. 27 “Nnaasindikanga ekikangabwa mu mawanga agaagala okukwolekera, ne ntabulatabula abo bonna abanaakwegezangamu, era abalabe bo nnaabafuumuulanga emisinde. 28 Ndisindika ennumba ne zikukulembera, ne zigoba Abakiivi, n’Abakanani, n’Abakiiti ne bakuviira mu kkubo lyo. 29 Naye mu nsi omwo siribagobamu mu mwaka gumu, ebikande bireme kusukkirira, n’ensolo ez’omu nsiko ne zaala ne zibayitirira obungi. 30 Nzijanga kubagobamu mpola mpola, okutuusa nga mwaze ne mulyoka mulya ensi eyo. 31 “Ndisala ensalo zammwe okuva ku Nnyanja Emyufu okutuuka ku Nnyanja y’Abafirisuuti, n’okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga Fulaati. Abantu b’omu nsi omwo ndibabawa, ne mubagobamu. 32 Temukolanga nabo ndagaano, wadde ne bakatonda baabwe. 33 Temubakkirizanga kubeera mu nsi yammwe, tebalwa kubanyoomesa biragiro byange; kubanga singa muweereza bakatonda baabwe muliba mugudde mu mutego.”

In Other Versions

Exodus 23 in the ANGEFD

Exodus 23 in the ANTPNG2D

Exodus 23 in the AS21

Exodus 23 in the BAGH

Exodus 23 in the BBPNG

Exodus 23 in the BBT1E

Exodus 23 in the BDS

Exodus 23 in the BEV

Exodus 23 in the BHAD

Exodus 23 in the BIB

Exodus 23 in the BLPT

Exodus 23 in the BNT

Exodus 23 in the BNTABOOT

Exodus 23 in the BNTLV

Exodus 23 in the BOATCB

Exodus 23 in the BOATCB2

Exodus 23 in the BOBCV

Exodus 23 in the BOCNT

Exodus 23 in the BOECS

Exodus 23 in the BOGWICC

Exodus 23 in the BOHCB

Exodus 23 in the BOHCV

Exodus 23 in the BOHLNT

Exodus 23 in the BOHNTLTAL

Exodus 23 in the BOICB

Exodus 23 in the BOILNTAP

Exodus 23 in the BOITCV

Exodus 23 in the BOKCV

Exodus 23 in the BOKCV2

Exodus 23 in the BOKHWOG

Exodus 23 in the BOKSSV

Exodus 23 in the BOLCB2

Exodus 23 in the BOMCV

Exodus 23 in the BONAV

Exodus 23 in the BONCB

Exodus 23 in the BONLT

Exodus 23 in the BONUT2

Exodus 23 in the BOPLNT

Exodus 23 in the BOSCB

Exodus 23 in the BOSNC

Exodus 23 in the BOTLNT

Exodus 23 in the BOVCB

Exodus 23 in the BOYCB

Exodus 23 in the BPBB

Exodus 23 in the BPH

Exodus 23 in the BSB

Exodus 23 in the CCB

Exodus 23 in the CUV

Exodus 23 in the CUVS

Exodus 23 in the DBT

Exodus 23 in the DGDNT

Exodus 23 in the DHNT

Exodus 23 in the DNT

Exodus 23 in the ELBE

Exodus 23 in the EMTV

Exodus 23 in the ESV

Exodus 23 in the FBV

Exodus 23 in the FEB

Exodus 23 in the GGMNT

Exodus 23 in the GNT

Exodus 23 in the HARY

Exodus 23 in the HNT

Exodus 23 in the IRVA

Exodus 23 in the IRVB

Exodus 23 in the IRVG

Exodus 23 in the IRVH

Exodus 23 in the IRVK

Exodus 23 in the IRVM

Exodus 23 in the IRVM2

Exodus 23 in the IRVO

Exodus 23 in the IRVP

Exodus 23 in the IRVT

Exodus 23 in the IRVT2

Exodus 23 in the IRVU

Exodus 23 in the ISVN

Exodus 23 in the JSNT

Exodus 23 in the KAPI

Exodus 23 in the KBT1ETNIK

Exodus 23 in the KBV

Exodus 23 in the KJV

Exodus 23 in the KNFD

Exodus 23 in the LBA

Exodus 23 in the LBLA

Exodus 23 in the LNT

Exodus 23 in the LSV

Exodus 23 in the MAAL

Exodus 23 in the MBV

Exodus 23 in the MBV2

Exodus 23 in the MHNT

Exodus 23 in the MKNFD

Exodus 23 in the MNG

Exodus 23 in the MNT

Exodus 23 in the MNT2

Exodus 23 in the MRS1T

Exodus 23 in the NAA

Exodus 23 in the NASB

Exodus 23 in the NBLA

Exodus 23 in the NBS

Exodus 23 in the NBVTP

Exodus 23 in the NET2

Exodus 23 in the NIV11

Exodus 23 in the NNT

Exodus 23 in the NNT2

Exodus 23 in the NNT3

Exodus 23 in the PDDPT

Exodus 23 in the PFNT

Exodus 23 in the RMNT

Exodus 23 in the SBIAS

Exodus 23 in the SBIBS

Exodus 23 in the SBIBS2

Exodus 23 in the SBICS

Exodus 23 in the SBIDS

Exodus 23 in the SBIGS

Exodus 23 in the SBIHS

Exodus 23 in the SBIIS

Exodus 23 in the SBIIS2

Exodus 23 in the SBIIS3

Exodus 23 in the SBIKS

Exodus 23 in the SBIKS2

Exodus 23 in the SBIMS

Exodus 23 in the SBIOS

Exodus 23 in the SBIPS

Exodus 23 in the SBISS

Exodus 23 in the SBITS

Exodus 23 in the SBITS2

Exodus 23 in the SBITS3

Exodus 23 in the SBITS4

Exodus 23 in the SBIUS

Exodus 23 in the SBIVS

Exodus 23 in the SBT

Exodus 23 in the SBT1E

Exodus 23 in the SCHL

Exodus 23 in the SNT

Exodus 23 in the SUSU

Exodus 23 in the SUSU2

Exodus 23 in the SYNO

Exodus 23 in the TBIAOTANT

Exodus 23 in the TBT1E

Exodus 23 in the TBT1E2

Exodus 23 in the TFTIP

Exodus 23 in the TFTU

Exodus 23 in the TGNTATF3T

Exodus 23 in the THAI

Exodus 23 in the TNFD

Exodus 23 in the TNT

Exodus 23 in the TNTIK

Exodus 23 in the TNTIL

Exodus 23 in the TNTIN

Exodus 23 in the TNTIP

Exodus 23 in the TNTIZ

Exodus 23 in the TOMA

Exodus 23 in the TTENT

Exodus 23 in the UBG

Exodus 23 in the UGV

Exodus 23 in the UGV2

Exodus 23 in the UGV3

Exodus 23 in the VBL

Exodus 23 in the VDCC

Exodus 23 in the YALU

Exodus 23 in the YAPE

Exodus 23 in the YBVTP

Exodus 23 in the ZBP