Exodus 27 (BOLCB)
1 “Zimba ekyoto mu miti gya akasiya, obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, n’obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. 2 Era ku nsonda zaakyo ennya kolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe bibajjiddwa bumu mu muti gumu; ekyoto kyonna olyoke okibikkeko ekikomo. 3 Kola ebbakuli omunaayoolerwanga evvu lyakyo, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni; ebyo byonna nga bikolebwa mu kikomo. 4 Ekyoto kikolere ekitindiro eky’obutimba eky’ebyuma eby’ekikomo; ku nsonda ennya ez’ekitindiro olyoke okolereko empeta nnya ez’ekikomo. 5 Leebeeseza ekitindiro ekyo mu kyoto, nga waggulu kinyweredde ku muziziko ne kireebeeta okukoma wakati ng’ekyoto bwe kikka. 6 Kola emisituliro gy’ekyoto mu muti gwa akasiya, ogibikkeko ekikomo. 7 Emisituliro egyo ogiyingize mu mpeta ennya, gibeere ku njuyi zombi ez’ekyoto nga kibadde kisitulwa okubaako gye kitwalibwa. 8 Ekyoto kikole n’embaawo, nga wakati kya muwulukwa. Okikole nga bwe kyakulagibwa ku lusozi. 9 “Eweema ya MUKAMA gikolere oluggya. Ku ludda olwa ddyo oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, era nga lulina amagigi aga linena omulebevu alangiddwa, 10 n’entobo amakumi abiri n’ebikolo ebikondo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri; nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11 Ne ku ludda olwakkono oluggya lubeere mita ana mu mukaaga obuwanvu, era ebeeyo amagigi n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo zaabyo eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 12 “Ku ludda olw’obugwanjuba oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi, era lubeere n’amagigi n’ebikondo kkumi awamu n’entobo zaabyo kkumi. 13 Ku ludda olw’ebuvanjuba, enjuba gy’efulumira, nayo oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi. 14 Ku ludda olumu olw’omulyango kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu, 15 ne ku ludda olulala nakwo kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu. 16 “Mu mulyango oguyingira mu luggya wanikamu eggigi mita mwenda obuwanvu, nga lya wuzi za bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena endebevu ennange, nga bikolebwa omutunzi omukugu, era ng’eggigi lirina ebikondo bina n’entobo zaabyo nnya. 17 Ebikondo byonna mu luggya bibeere n’emikiikiro gya ffeeza, n’amalobo ga ffeeza, n’entobo za kikomo. 18 Oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’amagigi aga linena endebevu ennange, mita bbiri ne desimoolo ssatu obugulumivu, n’entobo ez’ekikomo. 19 Ebintu ebirala byonna ebinaakozesebwa ku mirimu gya Weema egya buli ngeri, ng’otaddeko n’obukondo obukomerera Weema n’obw’omu luggya, byonna bibeera bya kikomo. 20 “Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’emizeeyituuni amalungi ennyo ag’okukozesa mu ttaala, eryoke eyakenga obudde bwonna nga tezikira. 21 Mu kisenge kya Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ebweru w’eggigi eribisse Endagaano, awo Alooni ne batabani be we banaabeeranga nga balabirira ettaala eyakirenga awali MUKAMA okuva olweggulo okutuusa mu makya. Lino libeere tteeka abaana ba Isirayiri lye banaakwatanga emirembe gyonna.”
In Other Versions
Exodus 27 in the ANGEFD
Exodus 27 in the ANTPNG2D
Exodus 27 in the AS21
Exodus 27 in the BAGH
Exodus 27 in the BBPNG
Exodus 27 in the BBT1E
Exodus 27 in the BDS
Exodus 27 in the BEV
Exodus 27 in the BHAD
Exodus 27 in the BIB
Exodus 27 in the BLPT
Exodus 27 in the BNT
Exodus 27 in the BNTABOOT
Exodus 27 in the BNTLV
Exodus 27 in the BOATCB
Exodus 27 in the BOATCB2
Exodus 27 in the BOBCV
Exodus 27 in the BOCNT
Exodus 27 in the BOECS
Exodus 27 in the BOGWICC
Exodus 27 in the BOHCB
Exodus 27 in the BOHCV
Exodus 27 in the BOHLNT
Exodus 27 in the BOHNTLTAL
Exodus 27 in the BOICB
Exodus 27 in the BOILNTAP
Exodus 27 in the BOITCV
Exodus 27 in the BOKCV
Exodus 27 in the BOKCV2
Exodus 27 in the BOKHWOG
Exodus 27 in the BOKSSV
Exodus 27 in the BOLCB2
Exodus 27 in the BOMCV
Exodus 27 in the BONAV
Exodus 27 in the BONCB
Exodus 27 in the BONLT
Exodus 27 in the BONUT2
Exodus 27 in the BOPLNT
Exodus 27 in the BOSCB
Exodus 27 in the BOSNC
Exodus 27 in the BOTLNT
Exodus 27 in the BOVCB
Exodus 27 in the BOYCB
Exodus 27 in the BPBB
Exodus 27 in the BPH
Exodus 27 in the BSB
Exodus 27 in the CCB
Exodus 27 in the CUV
Exodus 27 in the CUVS
Exodus 27 in the DBT
Exodus 27 in the DGDNT
Exodus 27 in the DHNT
Exodus 27 in the DNT
Exodus 27 in the ELBE
Exodus 27 in the EMTV
Exodus 27 in the ESV
Exodus 27 in the FBV
Exodus 27 in the FEB
Exodus 27 in the GGMNT
Exodus 27 in the GNT
Exodus 27 in the HARY
Exodus 27 in the HNT
Exodus 27 in the IRVA
Exodus 27 in the IRVB
Exodus 27 in the IRVG
Exodus 27 in the IRVH
Exodus 27 in the IRVK
Exodus 27 in the IRVM
Exodus 27 in the IRVM2
Exodus 27 in the IRVO
Exodus 27 in the IRVP
Exodus 27 in the IRVT
Exodus 27 in the IRVT2
Exodus 27 in the IRVU
Exodus 27 in the ISVN
Exodus 27 in the JSNT
Exodus 27 in the KAPI
Exodus 27 in the KBT1ETNIK
Exodus 27 in the KBV
Exodus 27 in the KJV
Exodus 27 in the KNFD
Exodus 27 in the LBA
Exodus 27 in the LBLA
Exodus 27 in the LNT
Exodus 27 in the LSV
Exodus 27 in the MAAL
Exodus 27 in the MBV
Exodus 27 in the MBV2
Exodus 27 in the MHNT
Exodus 27 in the MKNFD
Exodus 27 in the MNG
Exodus 27 in the MNT
Exodus 27 in the MNT2
Exodus 27 in the MRS1T
Exodus 27 in the NAA
Exodus 27 in the NASB
Exodus 27 in the NBLA
Exodus 27 in the NBS
Exodus 27 in the NBVTP
Exodus 27 in the NET2
Exodus 27 in the NIV11
Exodus 27 in the NNT
Exodus 27 in the NNT2
Exodus 27 in the NNT3
Exodus 27 in the PDDPT
Exodus 27 in the PFNT
Exodus 27 in the RMNT
Exodus 27 in the SBIAS
Exodus 27 in the SBIBS
Exodus 27 in the SBIBS2
Exodus 27 in the SBICS
Exodus 27 in the SBIDS
Exodus 27 in the SBIGS
Exodus 27 in the SBIHS
Exodus 27 in the SBIIS
Exodus 27 in the SBIIS2
Exodus 27 in the SBIIS3
Exodus 27 in the SBIKS
Exodus 27 in the SBIKS2
Exodus 27 in the SBIMS
Exodus 27 in the SBIOS
Exodus 27 in the SBIPS
Exodus 27 in the SBISS
Exodus 27 in the SBITS
Exodus 27 in the SBITS2
Exodus 27 in the SBITS3
Exodus 27 in the SBITS4
Exodus 27 in the SBIUS
Exodus 27 in the SBIVS
Exodus 27 in the SBT
Exodus 27 in the SBT1E
Exodus 27 in the SCHL
Exodus 27 in the SNT
Exodus 27 in the SUSU
Exodus 27 in the SUSU2
Exodus 27 in the SYNO
Exodus 27 in the TBIAOTANT
Exodus 27 in the TBT1E
Exodus 27 in the TBT1E2
Exodus 27 in the TFTIP
Exodus 27 in the TFTU
Exodus 27 in the TGNTATF3T
Exodus 27 in the THAI
Exodus 27 in the TNFD
Exodus 27 in the TNT
Exodus 27 in the TNTIK
Exodus 27 in the TNTIL
Exodus 27 in the TNTIN
Exodus 27 in the TNTIP
Exodus 27 in the TNTIZ
Exodus 27 in the TOMA
Exodus 27 in the TTENT
Exodus 27 in the UBG
Exodus 27 in the UGV
Exodus 27 in the UGV2
Exodus 27 in the UGV3
Exodus 27 in the VBL
Exodus 27 in the VDCC
Exodus 27 in the YALU
Exodus 27 in the YAPE
Exodus 27 in the YBVTP
Exodus 27 in the ZBP